quranm◉

Omuko 444

Range
from 36:55 to 36:70
Surahs covered
Okuvvuunula
16 Okuvvuunula

◉

36:55

إِنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ ٱلۡيَوۡمَ فِي شُغُلٖ فَٰكِهُونَ ﴿55﴾

. Mazima abantu b'omu jjana ku lunaku olwo balibeera mu kwetala olw'amasanyu gebalibeeramu.

36:56

هُمۡ وَأَزۡوَٰجُهُمۡ فِي ظِلَٰلٍ عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ مُتَّكِـُٔونَ ﴿56﴾

. Bo n'abo be baafumbiriganwa nabo bagenda kubeera mu bisiikirize nga beesigamye ebitanda ebiwunde.

36:57

لَهُمۡ فِيهَا فَٰكِهَةٞ وَلَهُم مَّا يَدَّعُونَ ﴿57﴾

. Balina mu yo buli kika kya bibala era bagenda kufuna buli kye baliba basabye.

36:58

سَلَٰمٞ قَوۡلٗا مِّن رَّبّٖ رَّحِيمٖ ﴿58﴾

. (Bagenda kufuna ekyengera ekisinga ebyo) nakyo salaamu nga kigambo ekiriva ewa Mukama omulabirizi waabwe ow'ekisa ekingi.

36:59

وَٱمۡتَٰزُواْ ٱلۡيَوۡمَ أَيُّهَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿59﴾

. Naye bo aboonoonyi bagenda kugambibwa nti: abange mmwe aboonoonyi olwa leero mweyawule (ku bakkiriza).

36:60

أَلَمۡ أَعۡهَدۡ إِلَيۡكُمۡ يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ أَن لَّا تَعۡبُدُواْ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿60﴾

. Abange mmwe ezadde lya Adam abaffe ssaabakozesa endagaano nti: temusinzanga Sitane olw'okuba yye mulabe wa mmwe omweyolefu!.

36:61

وَأَنِ ٱعۡبُدُونِيۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ ﴿61﴾

. Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo lye kkubo ettuufu.

36:62

وَلَقَدۡ أَضَلَّ مِنكُمۡ جِبِلّٗا كَثِيرًاۖ أَفَلَمۡ تَكُونُواْ تَعۡقِلُونَ ﴿62﴾

. Mazima (sitane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera.

36:63

هَٰذِهِۦ جَهَنَّمُ ٱلَّتِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ ﴿63﴾

. Guno nno gwe muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi).

36:64

ٱصۡلَوۡهَا ٱلۡيَوۡمَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿64﴾

. Muguyingire olwa leero olw'ebyo bye mwalinga muwakanya.

36:65

ٱلۡيَوۡمَ نَخۡتِمُ عَلَىٰٓ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَتُكَلِّمُنَآ أَيۡدِيهِمۡ وَتَشۡهَدُ أَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿65﴾

. Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola.

36:66

وَلَوۡ نَشَآءُ لَطَمَسۡنَا عَلَىٰٓ أَعۡيُنِهِمۡ فَٱسۡتَبَقُواْ ٱلصِّرَٰطَ فَأَنَّىٰ يُبۡصِرُونَ ﴿66﴾

. Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno nebaba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya!.

36:67

وَلَوۡ نَشَآءُ لَمَسَخۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ مَكَانَتِهِمۡ فَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ مُضِيّٗا وَلَا يَرۡجِعُونَ ﴿67﴾

. Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde.

36:68

وَمَن نُّعَمِّرۡهُ نُنَكِّسۡهُ فِي ٱلۡخَلۡقِۚ أَفَلَا يَعۡقِلُونَ ﴿68﴾

. Oyo yenna gwe tuba tuwangaazizza tumuzzaayo n'aba munafu mu butonde, abaffe tebategeera!.

36:69

وَمَا عَلَّمۡنَٰهُ ٱلشِّعۡرَ وَمَا يَنۢبَغِي لَهُۥٓۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ وَقُرۡءَانٞ مُّبِينٞ ﴿69﴾

. (Nabbi Muhammad) tetumuyigirizanga kutontoma era tekimugwanira, bye yajja nabyo tebiri okugyako nga bya kujjukiza era nga Kur’ani ennyonnyola.

36:70

لِّيُنذِرَ مَن كَانَ حَيّٗا وَيَحِقَّ ٱلۡقَوۡلُ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿70﴾

. (Nabbi Muhmmad) alyoke atiise oyo yenna omulamu era ekigambo (eky'ebibonerezo) kikakate ku bakaafiiri.