quranm◉

Omuko 445

Range
from 36:71 to 36:83
Surahs covered
Okuvvuunula
13 Okuvvuunula

◉

36:71

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا خَلَقۡنَا لَهُم مِّمَّا عَمِلَتۡ أَيۡدِينَآ أَنۡعَٰمٗا فَهُمۡ لَهَا مَٰلِكُونَ ﴿71﴾

. Abaffe tebalaba nti mu bye twabatondera ebyakolebwa e mikono gyaffe z'ensolo bo zebafuga!.

36:72

وَذَلَّلۡنَٰهَا لَهُمۡ فَمِنۡهَا رَكُوبُهُمۡ وَمِنۡهَا يَأۡكُلُونَ ﴿72﴾

. Era twabibagondeza, mulimu bye beebagala era nga mulimu bye balya.

36:73

وَلَهُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ وَمَشَارِبُۚ أَفَلَا يَشۡكُرُونَ ﴿73﴾

. Era mu byo balina emigaso (emirala) n'eby'okunywa abaffe tebeebaza!.

36:74

وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةٗ لَّعَلَّهُمۡ يُنصَرُونَ ﴿74﴾

. Ate abakaafiiri baleka Katonda ne beeteerawo ebisinzibwa ebirala mbu babe nga bataasibwa.

36:75

لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَهُمۡ وَهُمۡ لَهُمۡ جُندٞ مُّحۡضَرُونَ ﴿75﴾

. So nga tebasobola kubataasa awamu n'okuba nti bo nabyo baliba kibinja ekirireetebwa mu muliro.

36:76

فَلَا يَحۡزُنكَ قَوۡلُهُمۡۘ إِنَّا نَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَ ﴿76﴾

. Kale nno tebikunyiiza ebigambo bya bwe mazima ffe tumanyi ebyo bye bakweka ne bye bakola mu lwatu.

36:77

أَوَلَمۡ يَرَ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ ﴿77﴾

. Abaffe omuntu talaba nti mazima ffe twamutonda nga tumujja mu mazzi agazaala, ogenda okulaba nga ye muyitirivu wa kukaayana okw'olwatu.

36:78

وَضَرَبَ لَنَا مَثَلٗا وَنَسِيَ خَلۡقَهُۥۖ قَالَ مَن يُحۡيِ ٱلۡعِظَٰمَ وَهِيَ رَمِيمٞ ﴿78﴾

. Naatukubira ekifaananyi neyeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu.

36:79

قُلۡ يُحۡيِيهَا ٱلَّذِيٓ أَنشَأَهَآ أَوَّلَ مَرَّةٖۖ وَهُوَ بِكُلِّ خَلۡقٍ عَلِيمٌ ﴿79﴾

. Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde.

36:80

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلشَّجَرِ ٱلۡأَخۡضَرِ نَارٗا فَإِذَآ أَنتُم مِّنۡهُ تُوقِدُونَ ﴿80﴾

. Oyo eyabateerawo omuliro okuva mu muti omubisi okugenda okulaba nga mmwe mukuma omuliro okuva mu gwo (omuti).

36:81

أَوَلَيۡسَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يَخۡلُقَ مِثۡلَهُمۚ بَلَىٰ وَهُوَ ٱلۡخَلَّـٰقُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿81﴾

. Abaffe oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biringa byo, weewaawo (asobolera ddala) era ddala yye ye mutonzi omumanyi ennyo.

36:82

إِنَّمَآ أَمۡرُهُۥٓ إِذَآ أَرَادَ شَيۡـًٔا أَن يَقُولَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿82﴾

. Mazima ekiragirokye bwaba ayagadde ekintu (kibeewo) agamba bugambi nti bba ne kiba.

36:83

فَسُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي بِيَدِهِۦ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيۡءٖ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿83﴾

. N’olwekyo musukkulumu nnyo oyo mu mikono gye mwokka mwemuli obufuzi bwa buli kintu ate nga gyali yokka gye mulizzibwa.