quranm◉

Omuko 293

Range
from 17:105 to 18:4
Surahs covered
Okuvvuunula
11 Okuvvuunula

◉

17:105

وَبِٱلۡحَقِّ أَنزَلۡنَٰهُ وَبِٱلۡحَقِّ نَزَلَۗ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا ﴿105﴾

. (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa.

17:106

وَقُرۡءَانٗا فَرَقۡنَٰهُ لِتَقۡرَأَهُۥ عَلَى ٱلنَّاسِ عَلَىٰ مُكۡثٖ وَنَزَّلۡنَٰهُ تَنزِيلٗا ﴿106﴾

. Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu).

17:107

قُلۡ ءَامِنُواْ بِهِۦٓ أَوۡ لَا تُؤۡمِنُوٓاْۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهِۦٓ إِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ يَخِرُّونَۤ لِلۡأَذۡقَانِۤ سُجَّدٗاۤ ﴿107﴾

. Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga tonajja, bwe basomerwa bagwira ku bulevu bwa bwe nga bavunnama.

17:108

وَيَقُولُونَ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِن كَانَ وَعۡدُ رَبِّنَا لَمَفۡعُولٗا ﴿108﴾

. Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa.

17:109

وَيَخِرُّونَ لِلۡأَذۡقَانِ يَبۡكُونَ وَيَزِيدُهُمۡ خُشُوعٗا۩ ﴿109﴾

. Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda.

17:110

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱللَّهَ أَوِ ٱدۡعُواْ ٱلرَّحۡمَٰنَۖ أَيّٗا مَّا تَدۡعُواْ فَلَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَلَا تَجۡهَرۡ بِصَلَاتِكَ وَلَا تُخَافِتۡ بِهَا وَٱبۡتَغِ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلٗا ﴿110﴾

. Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo.

17:111

وَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَمۡ يَتَّخِذۡ وَلَدٗا وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ شَرِيكٞ فِي ٱلۡمُلۡكِ وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ وَلِيّٞ مِّنَ ٱلذُّلِّۖ وَكَبِّرۡهُ تَكۡبِيرَۢا ﴿111﴾

. Era gamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu bufuzibwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumize olugulumiza.

18:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَىٰ عَبۡدِهِ ٱلۡكِتَٰبَ وَلَمۡ يَجۡعَل لَّهُۥ عِوَجَاۜ ﴿1﴾

. Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna.

18:2

قَيِّمٗا لِّيُنذِرَ بَأۡسٗا شَدِيدٗا مِّن لَّدُنۡهُ وَيُبَشِّرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ أَجۡرًا حَسَنٗا ﴿2﴾

. Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi.

18:3

مَّـٰكِثِينَ فِيهِ أَبَدٗا ﴿3﴾

. Baakugibeeramu olubeerera.

18:4

وَيُنذِرَ ٱلَّذِينَ قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗا ﴿4﴾

. Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana.