quranm◉

Omuko 365

Range
from 25:56 to 25:67
Surahs covered
Okuvvuunula
12 Okuvvuunula

◉

25:56

وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا ﴿56﴾

. Era tetwakutuma okugyako nga oli omusanyusa era omutiisa.

25:57

قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍ إِلَّا مَن شَآءَ أَن يَتَّخِذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلٗا ﴿57﴾

. Gamba nti: (kino kye nkola) sikibasabaako mpeera (era sirina kye njagala) okugyako oyo asalawo okweteerawo ekkubo erimutwala eri Mukama omulabiriziwe.

25:58

وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡحَيِّ ٱلَّذِي لَا يَمُوتُ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِهِۦۚ وَكَفَىٰ بِهِۦ بِذُنُوبِ عِبَادِهِۦ خَبِيرًا ﴿58﴾

. Era weekwate ku mulamu oyo atafa, era otendereze ebitendobye. Kimala okuba nti yye amanyidde ddala ebyonoono bya baddube.

25:59

ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَسۡـَٔلۡ بِهِۦ خَبِيرٗا ﴿59﴾

. Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga oluvanyuma naatereera ku Arishi (Katonda) omusaasizi ow'ekisa ekingi (bwoba oyagala okumumanya) buuza abakenkufu ku bimukwatako.

25:60

وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱسۡجُدُواْۤ لِلرَّحۡمَٰنِ قَالُواْ وَمَا ٱلرَّحۡمَٰنُ أَنَسۡجُدُ لِمَا تَأۡمُرُنَا وَزَادَهُمۡ نُفُورٗا۩ ﴿60﴾

. (Abakaafiiri) bwe bagambibwa nti muvunnamire omusaasizi ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti omusaasizi ow'ekisa ekingi oyo yaani! Tumale gavunnamira oyo gwotulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini).

25:61

تَبَارَكَ ٱلَّذِي جَعَلَ فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَجَعَلَ فِيهَا سِرَٰجٗا وَقَمَرٗا مُّنِيرٗا ﴿61﴾

. Musukkulumu oyo eyassa mu ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era nassaamu ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala.

25:62

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ خِلۡفَةٗ لِّمَنۡ أَرَادَ أَن يَذَّكَّرَ أَوۡ أَرَادَ شُكُورٗا ﴿62﴾

. Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza.

25:63

وَعِبَادُ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلَّذِينَ يَمۡشُونَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ هَوۡنٗا وَإِذَا خَاطَبَهُمُ ٱلۡجَٰهِلُونَ قَالُواْ سَلَٰمٗا ﴿63﴾

. Bo abaddu ba Katonda beebo abatambula ku nsi nga bakkakkamu. Abatategeera bwe boogera nabo (ebintu by'ekiyaaye) bo baddamu nti mirembe.

25:64

وَٱلَّذِينَ يَبِيتُونَ لِرَبِّهِمۡ سُجَّدٗا وَقِيَٰمٗا ﴿64﴾

. Era beebo kulwa Mukama omulabirizi waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala).

25:65

وَٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا ٱصۡرِفۡ عَنَّا عَذَابَ جَهَنَّمَۖ إِنَّ عَذَابَهَا كَانَ غَرَامًا ﴿65﴾

. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwuguleko ebibonerezo by'omuliro Jahannama anti mazima ebibonerezo byagwo bya lubeerera.

25:66

إِنَّهَا سَآءَتۡ مُسۡتَقَرّٗا وَمُقَامٗا ﴿66﴾

. Mazima ggwo kifo era butuulo bubi.

25:67

وَٱلَّذِينَ إِذَآ أَنفَقُواْ لَمۡ يُسۡرِفُواْ وَلَمۡ يَقۡتُرُواْ وَكَانَ بَيۡنَ ذَٰلِكَ قَوَامٗا ﴿67﴾

. (Abaddu ba Katonda) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwa bwe kuli wakati w'ebyo byombi.