quranm◉

Omuko 364

Range
from 25:44 to 25:55
Surahs covered
Okuvvuunula
12 Okuvvuunula

◉

25:44

أَمۡ تَحۡسَبُ أَنَّ أَكۡثَرَهُمۡ يَسۡمَعُونَ أَوۡ يَعۡقِلُونَۚ إِنۡ هُمۡ إِلَّا كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّ سَبِيلًا ﴿44﴾

. Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okugyako balinga nsolo, wabula bo be baabula okuva ku kkubo eggolokofu.

25:45

أَلَمۡ تَرَ إِلَىٰ رَبِّكَ كَيۡفَ مَدَّ ٱلظِّلَّ وَلَوۡ شَآءَ لَجَعَلَهُۥ سَاكِنٗا ثُمَّ جَعَلۡنَا ٱلشَّمۡسَ عَلَيۡهِ دَلِيلٗا ﴿45﴾

. Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.

25:46

ثُمَّ قَبَضۡنَٰهُ إِلَيۡنَا قَبۡضٗا يَسِيرٗا ﴿46﴾

. Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola.

25:47

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِبَاسٗا وَٱلنَّوۡمَ سُبَاتٗا وَجَعَلَ ٱلنَّهَارَ نُشُورٗا ﴿47﴾

. Era yye (Katonda) yooyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, naabateerawo n'okwebaka nga kuwummula naateekawo obudde obw'emisana nga mwe musaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya).

25:48

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦۚ وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ طَهُورٗا ﴿48﴾

. Era yye yooyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa mikono gya kusaasirakwe, era tussa okuva mu ggulu amazzi amayonjo.

25:49

لِّنُحۡـِۧيَ بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗا وَنُسۡقِيَهُۥ مِمَّا خَلَقۡنَآ أَنۡعَٰمٗا وَأَنَاسِيَّ كَثِيرٗا ﴿49﴾

. Tube nga tuzza buggya ekitundu ekikaze era tuganywese bingi mu bye twatonda (nga) ebisolo n'abantu bangi.

25:50

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَٰهُ بَيۡنَهُمۡ لِيَذَّكَّرُواْ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا ﴿50﴾

. Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri.

25:51

وَلَوۡ شِئۡنَا لَبَعَثۡنَا فِي كُلِّ قَرۡيَةٖ نَّذِيرٗا ﴿51﴾

. Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere omubaka eri bonna).

25:52

فَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَجَٰهِدۡهُم بِهِۦ جِهَادٗا كَبِيرٗا ﴿52﴾

. N'olwekyo togondera bakaafiiri (kozesa Kur’ani) obalwanyise olulwana olw'amanyi.

25:53

وَهُوَ ٱلَّذِي مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞ وَجَعَلَ بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٗا وَحِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا ﴿53﴾

. Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.

25:54

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ مِنَ ٱلۡمَآءِ بَشَرٗا فَجَعَلَهُۥ نَسَبٗا وَصِهۡرٗاۗ وَكَانَ رَبُّكَ قَدِيرٗا ﴿54﴾

. Era yye yooyo eyatonda omuntu nga amuggya mu mazzi, (mu muntu oyo yennyini) naggyamu ab'oluganda n'abako. Bulijjo Mukama omulabiriziwo muyinza.

25:55

وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُهُمۡ وَلَا يَضُرُّهُمۡۗ وَكَانَ ٱلۡكَافِرُ عَلَىٰ رَبِّهِۦ ظَهِيرٗا ﴿55﴾

. (Ate abantu balekawo Katonda) ne basinza ebintu ebirala ebitali Katonda ebyo ebitabagasa era ebitayinza kubatuusaako kabi, era bulijjo omukaafiiri ayamba Sitane mu kulwanyisa Mukama omulabiriziwe.