quranm◉

Omuko 369

Range
from 26:40 to 26:60
Surahs covered
Okuvvuunula
21 Okuvvuunula

◉

26:40

لَعَلَّنَا نَتَّبِعُ ٱلسَّحَرَةَ إِن كَانُواْ هُمُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ﴿40﴾

. Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde.

26:41

فَلَمَّا جَآءَ ٱلسَّحَرَةُ قَالُواْ لِفِرۡعَوۡنَ أَئِنَّ لَنَا لَأَجۡرًا إِن كُنَّا نَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ﴿41﴾

. Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde.

26:42

قَالَ نَعَمۡ وَإِنَّكُمۡ إِذٗا لَّمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ﴿42﴾

. (Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere.

26:43

قَالَ لَهُم مُّوسَىٰٓ أَلۡقُواْ مَآ أَنتُم مُّلۡقُونَ ﴿43﴾

. Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja.

26:44

فَأَلۡقَوۡاْ حِبَالَهُمۡ وَعِصِيَّهُمۡ وَقَالُواْ بِعِزَّةِ فِرۡعَوۡنَ إِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبُونَ ﴿44﴾

. Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula.

26:45

فَأَلۡقَىٰ مُوسَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ تَلۡقَفُ مَا يَأۡفِكُونَ ﴿45﴾

. Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo.

26:46

فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سَٰجِدِينَ ﴿46﴾

. Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama.

26:47

قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿47﴾

. Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde.

26:48

رَبِّ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ﴿48﴾

. Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna.

26:49

قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَ فَلَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَۚ لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿49﴾

. Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba.

26:50

قَالُواْ لَا ضَيۡرَۖ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ ﴿50﴾

. Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.

26:51

إِنَّا نَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لَنَا رَبُّنَا خَطَٰيَٰنَآ أَن كُنَّآ أَوَّلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿51﴾

. Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka.

26:52

وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِيٓ إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ ﴿52﴾

. Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa.

26:53

فَأَرۡسَلَ فِرۡعَوۡنُ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ ﴿53﴾

. Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti).

26:54

إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ لَشِرۡذِمَةٞ قَلِيلُونَ ﴿54﴾

. Mazima abo kabiina ka bantu batono.

26:55

وَإِنَّهُمۡ لَنَا لَغَآئِظُونَ ﴿55﴾

. Era mazima bbo batunyiizizza.

26:56

وَإِنَّا لَجَمِيعٌ حَٰذِرُونَ ﴿56﴾

. Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera.

26:57

فَأَخۡرَجۡنَٰهُم مِّن جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ ﴿57﴾

. (Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta.

26:58

وَكُنُوزٖ وَمَقَامٖ كَرِيمٖ ﴿58﴾

. N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa.

26:59

كَذَٰلِكَۖ وَأَوۡرَثۡنَٰهَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿59﴾

. Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil.

26:60

فَأَتۡبَعُوهُم مُّشۡرِقِينَ ﴿60﴾

. Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana.