quranm◉

Omuko 370

Range
from 26:61 to 26:83
Surahs covered
Okuvvuunula
23 Okuvvuunula

◉

26:61

فَلَمَّا تَرَـٰٓءَا ٱلۡجَمۡعَانِ قَالَ أَصۡحَٰبُ مُوسَىٰٓ إِنَّا لَمُدۡرَكُونَ ﴿61﴾

. Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte).

26:62

قَالَ كَلَّآۖ إِنَّ مَعِيَ رَبِّي سَيَهۡدِينِ ﴿62﴾

. (Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola.

26:63

فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡبَحۡرَۖ فَٱنفَلَقَ فَكَانَ كُلُّ فِرۡقٖ كَٱلطَّوۡدِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿63﴾

. Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene.

26:64

وَأَزۡلَفۡنَا ثَمَّ ٱلۡأٓخَرِينَ ﴿64﴾

. Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja).

26:65

وَأَنجَيۡنَا مُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ ﴿65﴾

. Netuwonya Musa n'abaali naye bonna.

26:66

ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ ﴿66﴾

. Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde.

26:67

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿67﴾

. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza.

26:68

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿68﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.

26:69

وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ إِبۡرَٰهِيمَ ﴿69﴾

. Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim.

26:70

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا تَعۡبُدُونَ ﴿70﴾

. Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki.

26:71

قَالُواْ نَعۡبُدُ أَصۡنَامٗا فَنَظَلُّ لَهَا عَٰكِفِينَ ﴿71﴾

. Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza.

26:72

قَالَ هَلۡ يَسۡمَعُونَكُمۡ إِذۡ تَدۡعُونَ ﴿72﴾

. (Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira.

26:73

أَوۡ يَنفَعُونَكُمۡ أَوۡ يَضُرُّونَ ﴿73﴾

. Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi.

26:74

قَالُواْ بَلۡ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا كَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ ﴿74﴾

. Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola.

26:75

قَالَ أَفَرَءَيۡتُم مَّا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ ﴿75﴾

. Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza.

26:76

أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمُ ٱلۡأَقۡدَمُونَ ﴿76﴾

. Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera.

26:77

فَإِنَّهُمۡ عَدُوّٞ لِّيٓ إِلَّا رَبَّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿77﴾

. Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:78

ٱلَّذِي خَلَقَنِي فَهُوَ يَهۡدِينِ ﴿78﴾

. Oyo eyantonda, yye y'annungamya.

26:79

وَٱلَّذِي هُوَ يُطۡعِمُنِي وَيَسۡقِينِ ﴿79﴾

. Era yye yooyo andiisa nannyweesa.

26:80

وَإِذَا مَرِضۡتُ فَهُوَ يَشۡفِينِ ﴿80﴾

. Era bwe ndwala yye y'amponya.

26:81

وَٱلَّذِي يُمِيتُنِي ثُمَّ يُحۡيِينِ ﴿81﴾

. Era yooyo anzita ate nampa obulamu.

26:82

وَٱلَّذِيٓ أَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لِي خَطِيٓـَٔتِي يَوۡمَ ٱلدِّينِ ﴿82﴾

. Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa.

26:83

رَبِّ هَبۡ لِي حُكۡمٗا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿83﴾

. Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu.