quranm◉

Omuko 371

Range
from 26:84 to 26:111
Surahs covered
Okuvvuunula
28 Okuvvuunula

◉

26:84

وَٱجۡعَل لِّي لِسَانَ صِدۡقٖ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ ﴿84﴾

. Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma.

26:85

وَٱجۡعَلۡنِي مِن وَرَثَةِ جَنَّةِ ٱلنَّعِيمِ ﴿85﴾

. Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera.

26:86

وَٱغۡفِرۡ لِأَبِيٓ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ ﴿86﴾

. Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze.

26:87

وَلَا تُخۡزِنِي يَوۡمَ يُبۡعَثُونَ ﴿87﴾

. Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa.

26:88

يَوۡمَ لَا يَنفَعُ مَالٞ وَلَا بَنُونَ ﴿88﴾

. Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa.

26:89

إِلَّا مَنۡ أَتَى ٱللَّهَ بِقَلۡبٖ سَلِيمٖ ﴿89﴾

. Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo.

26:90

وَأُزۡلِفَتِ ٱلۡجَنَّةُ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿90﴾

. E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda.

26:91

وَبُرِّزَتِ ٱلۡجَحِيمُ لِلۡغَاوِينَ ﴿91﴾

. N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze.

26:92

وَقِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ ﴿92﴾

. Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga.

26:93

مِن دُونِ ٱللَّهِ هَلۡ يَنصُرُونَكُمۡ أَوۡ يَنتَصِرُونَ ﴿93﴾

. Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa.

26:94

فَكُبۡكِبُواْ فِيهَا هُمۡ وَٱلۡغَاوُۥنَ ﴿94﴾

. Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze.

26:95

وَجُنُودُ إِبۡلِيسَ أَجۡمَعُونَ ﴿95﴾

. Na bonna abali muggye lya Ibuliisu.

26:96

قَالُواْ وَهُمۡ فِيهَا يَخۡتَصِمُونَ ﴿96﴾

. Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti).

26:97

تَٱللَّهِ إِن كُنَّا لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿97﴾

. Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu.

26:98

إِذۡ نُسَوِّيكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿98﴾

. Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:99

وَمَآ أَضَلَّنَآ إِلَّا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿99﴾

. Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi.

26:100

فَمَا لَنَا مِن شَٰفِعِينَ ﴿100﴾

. N'olwekyo tetulina bawolereza.

26:101

وَلَا صَدِيقٍ حَمِيمٖ ﴿101﴾

. Wadde ow'omukwano alumirwa.

26:102

فَلَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةٗ فَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿102﴾

. Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza.

26:103

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿103﴾

. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.

26:104

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿104﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi.

26:105

كَذَّبَتۡ قَوۡمُ نُوحٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿105﴾

. Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka.

26:106

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ نُوحٌ أَلَا تَتَّقُونَ ﴿106﴾

. Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda).

26:107

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ ﴿107﴾

. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.

26:108

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿108﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:109

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿109﴾

. Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:110

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿110﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:111

قَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لَكَ وَٱتَّبَعَكَ ٱلۡأَرۡذَلُونَ ﴿111﴾

. Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi.