quranm◉

Omuko 374

Range
from 26:160 to 26:183
Surahs covered
Okuvvuunula
24 Okuvvuunula

◉

26:160

كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿160﴾

. Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka.

26:161

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ لُوطٌ أَلَا تَتَّقُونَ ﴿161﴾

. Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)!.

26:162

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ ﴿162﴾

. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.

26:163

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿163﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:164

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿164﴾

. Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:165

أَتَأۡتُونَ ٱلذُّكۡرَانَ مِنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿165﴾

. Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja!.

26:166

وَتَذَرُونَ مَا خَلَقَ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٌ عَادُونَ ﴿166﴾

. Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo.

26:167

قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰلُوطُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُخۡرَجِينَ ﴿167﴾

. Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno).

26:168

قَالَ إِنِّي لِعَمَلِكُم مِّنَ ٱلۡقَالِينَ ﴿168﴾

. Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga).

26:169

رَبِّ نَجِّنِي وَأَهۡلِي مِمَّا يَعۡمَلُونَ ﴿169﴾

. Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola.

26:170

فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ ﴿170﴾

. Netumuwonya n'abantu be bonna.

26:171

إِلَّا عَجُوزٗا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ ﴿171﴾

. Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala.

26:172

ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ ﴿172﴾

. Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna).

26:173

وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرٗاۖ فَسَآءَ مَطَرُ ٱلۡمُنذَرِينَ ﴿173﴾

. Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira).

26:174

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿174﴾

. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.

26:175

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿175﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.

26:176

كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿176﴾

. Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka.

26:177

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ شُعَيۡبٌ أَلَا تَتَّقُونَ ﴿177﴾

. Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!.

26:178

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ ﴿178﴾

. Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa.

26:179

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿179﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:180

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿180﴾

. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:181

أَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُخۡسِرِينَ ﴿181﴾

. Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala.

26:182

وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِ ﴿182﴾

. Mupimisenga ebipimo ebituufu.

26:183

وَلَا تَبۡخَسُواْ ٱلنَّاسَ أَشۡيَآءَهُمۡ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ ﴿183﴾

. Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi.