quranm◉

Omuko 373

Range
from 26:137 to 26:159
Surahs covered
Okuvvuunula
23 Okuvvuunula

◉

26:137

إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا خُلُقُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿137﴾

. Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka.

26:138

وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ ﴿138﴾

. Era ffe tetuli ba kubonerezebwa.

26:139

فَكَذَّبُوهُ فَأَهۡلَكۡنَٰهُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿139﴾

. Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.

26:140

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿140﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.

26:141

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿141﴾

. Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka.

26:142

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ صَٰلِحٌ أَلَا تَتَّقُونَ ﴿142﴾

. Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)!.

26:143

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ ﴿143﴾

. Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa.

26:144

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿144﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:145

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿145﴾

. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:146

أَتُتۡرَكُونَ فِي مَا هَٰهُنَآ ءَامِنِينَ ﴿146﴾

. (Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano.

26:147

فِي جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ ﴿147﴾

. (Nga muli) mu malimiro n'emigga.

26:148

وَزُرُوعٖ وَنَخۡلٖ طَلۡعُهَا هَضِيمٞ ﴿148﴾

. N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito.

26:149

وَتَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا فَٰرِهِينَ ﴿149﴾

. Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu.

26:150

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿150﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:151

وَلَا تُطِيعُوٓاْ أَمۡرَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ ﴿151﴾

. Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda.

26:152

ٱلَّذِينَ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ ﴿152﴾

. Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa.

26:153

قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ ﴿153﴾

. Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge.

26:154

مَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا فَأۡتِ بِـَٔايَةٍ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿154﴾

. Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima.

26:155

قَالَ هَٰذِهِۦ نَاقَةٞ لَّهَا شِرۡبٞ وَلَكُمۡ شِرۡبُ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ ﴿155﴾

. Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa.

26:156

وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوٓءٖ فَيَأۡخُذَكُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَظِيمٖ ﴿156﴾

. Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito.

26:157

فَعَقَرُوهَا فَأَصۡبَحُواْ نَٰدِمِينَ ﴿157﴾

. Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa.

26:158

فَأَخَذَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿158﴾

. Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.

26:159

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿159﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.