quranm◉

Sura Al-A'la الأعلى

#
87
↓
M
Aya
19
Okuvvuunula
African Development Foundation

◉

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

87:1

سَبِّحِ ٱسۡمَ رَبِّكَ ٱلۡأَعۡلَى ﴿١﴾

Tendereza erinnya ly’omulabiriziwo owa waggulu.

87:2

ٱلَّذِي خَلَقَ فَسَوَّىٰ ﴿٢﴾

Oyo eyatonda n'atereeza.

87:3

وَٱلَّذِي قَدَّرَ فَهَدَىٰ ﴿٣﴾

Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya.

87:4

وَٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلۡمَرۡعَىٰ ﴿٤﴾

Era oyo ameza omuddo oguliibwa e bisolo.

87:5

فَجَعَلَهُۥ غُثَآءً أَحۡوَىٰ ﴿٥﴾

Oluvanyuma agufuula omukalu.

87:6

سَنُقۡرِئُكَ فَلَا تَنسَىٰٓ ﴿٦﴾

Tujja kukusomesa (Kur'ani) obeere nga teweerabira.

87:7

إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلۡجَهۡرَ وَمَا يَخۡفَىٰ ﴿٧﴾

Okugyako ebyo Katonda by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Katonda y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama.

87:8

وَنُيَسِّرُكَ لِلۡيُسۡرَىٰ ﴿٨﴾

Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu.

87:9

فَذَكِّرۡ إِن نَّفَعَتِ ٱلذِّكۡرَىٰ ﴿٩﴾

Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa.

87:10

سَيَذَّكَّرُ مَن يَخۡشَىٰ ﴿١٠﴾

Anaaganyulwa oyo atya Katonda.

87:11

وَيَتَجَنَّبُهَا ٱلۡأَشۡقَى ﴿١١﴾

Omwonoonyi ajja ku kwesamba (okubuulirira okwo).

87:12

ٱلَّذِي يَصۡلَى ٱلنَّارَ ٱلۡكُبۡرَىٰ ﴿١٢﴾

Oyo alyesogga omuliro ogwamaanyi.

87:13

ثُمَّ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ ﴿١٣﴾

Ng’amaze (okusonsekebwa mu muliro ogwo), tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa).

87:14

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن تَزَكَّىٰ ﴿١٤﴾

Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza.

87:15

وَذَكَرَ ٱسۡمَ رَبِّهِۦ فَصَلَّىٰ ﴿١٥﴾

N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala.

87:16

بَلۡ تُؤۡثِرُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا ﴿١٦﴾

Wabula mmwe musukkulumya obulamu obw’ensi.

87:17

وَٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ ﴿١٧﴾

So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwo kusigalawo.

87:18

إِنَّ هَٰذَا لَفِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ ﴿١٨﴾

Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka.

87:19

صُحُفِ إِبۡرَٰهِيمَ وَمُوسَىٰ ﴿١٩﴾

Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa.