quranm◉

Hizb 15

Range
from 6:127 to 7:30
Surahs covered
Okuvvuunula
69 Okuvvuunula

◉

6:127

لَهُمۡ دَارُ ٱلسَّلَٰمِ عِندَ رَبِّهِمۡۖ وَهُوَ وَلِيُّهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿127﴾

Olw'ebyo bye baali bakola ku nsi bagenda kufuna e nyumba ey'emirembe ewa Mukama omulabirizi waabwe, era yye ye mutaasa waabwe.

6:128

وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ قَدِ ٱسۡتَكۡثَرۡتُم مِّنَ ٱلۡإِنسِۖ وَقَالَ أَوۡلِيَآؤُهُم مِّنَ ٱلۡإِنسِ رَبَّنَا ٱسۡتَمۡتَعَ بَعۡضُنَا بِبَعۡضٖ وَبَلَغۡنَآ أَجَلَنَا ٱلَّذِيٓ أَجَّلۡتَ لَنَاۚ قَالَ ٱلنَّارُ مَثۡوَىٰكُمۡ خَٰلِدِينَ فِيهَآ إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿128﴾

(Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya.

6:129

وَكَذَٰلِكَ نُوَلِّي بَعۡضَ ٱلظَّـٰلِمِينَ بَعۡضَۢا بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿129﴾

Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola.

6:130

يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَقُصُّونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِي وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ شَهِدۡنَا عَلَىٰٓ أَنفُسِنَاۖ وَغَرَّتۡهُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَشَهِدُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ كَٰفِرِينَ ﴿130﴾

Abange mmwe amajinni n'abantu ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza e bigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwa mmwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye e kyabaleetera okubula) obulamu bwe nsi bwabagayaaza, olwo nno nebaba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri.

6:131

ذَٰلِكَ أَن لَّمۡ يَكُن رَّبُّكَ مُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ بِظُلۡمٖ وَأَهۡلُهَا غَٰفِلُونَ ﴿131﴾

Ekyo nno (e kyokutuma ababaka) kyaliwo lwakuba nti Mukama omulabiriziwo yali tayinza kuzirikiza bantu ba kitundu kyonna olw'okweyisa obubi nga abantu b'omukitundu e kyo tebamaze kumanyisibwa (mateekage).

6:132

وَلِكُلّٖ دَرَجَٰتٞ مِّمَّا عَمِلُواْۚ وَمَا رَبُّكَ بِغَٰفِلٍ عَمَّا يَعۡمَلُونَ ﴿132﴾

Buli omu ku bo alina amadaala okusinziira ku bye yakola Mukama Katonda omulabiriziwo tayinza kumala galeka e byo bye bakola.

6:133

وَرَبُّكَ ٱلۡغَنِيُّ ذُو ٱلرَّحۡمَةِۚ إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ وَيَسۡتَخۡلِفۡ مِنۢ بَعۡدِكُم مَّا يَشَآءُ كَمَآ أَنشَأَكُم مِّن ذُرِّيَّةِ قَوۡمٍ ءَاخَرِينَ ﴿133﴾

Mukama omulabiriziwo y’atalina kye yeetaaga, ye nannyini kusaasira, bwaba ayagadde asobola okubajjawo oluvanyuma lwa mmwe naaleeta abo baaba ayagadde, nga nammwe bwe yabassaawo nga abajja mu zzadde ly’abantu abalala.

6:134

إِنَّ مَا تُوعَدُونَ لَأٓتٖۖ وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ ﴿134﴾

Mazima e byo bye mulagaanyisibwa bya kutuukirira ate mmwe temugenda kusobola kubiremesa.

6:135

قُلۡ يَٰقَوۡمِ ٱعۡمَلُواْ عَلَىٰ مَكَانَتِكُمۡ إِنِّي عَامِلٞۖ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ مَن تَكُونُ لَهُۥ عَٰقِبَةُ ٱلدَّارِۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿135﴾

Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) abange abantu bange mubeere ku nkola ya mmwe nange, nkole e byange, kyaddaaki mujja kumanya obuddo obw'enkomerero e nnungi bwani, mazima ddala bulijjo abeeyisa obubi tebagenda kutuuka ku buwanguzi.

6:136

وَجَعَلُواْ لِلَّهِ مِمَّا ذَرَأَ مِنَ ٱلۡحَرۡثِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ نَصِيبٗا فَقَالُواْ هَٰذَا لِلَّهِ بِزَعۡمِهِمۡ وَهَٰذَا لِشُرَكَآئِنَاۖ فَمَا كَانَ لِشُرَكَآئِهِمۡ فَلَا يَصِلُ إِلَى ٱللَّهِۖ وَمَا كَانَ لِلَّهِ فَهُوَ يَصِلُ إِلَىٰ شُرَكَآئِهِمۡۗ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ ﴿136﴾

(Mu bibi abantu abatagenda kutuuka ku buwanguzi bye bakola kwe kuba nti) bateerawo Katonda omugabo mu birime ne mu bisolo, mu kujweteka kwabwe ne bagamba nti, guno omugabo gw’a Katonda, naguno gwa ba katonda baffe abalala, oguba ogwa ba katonda baabwe tegutuuka w’a Katonda, ate oguba ogwa Katonda, gwo gutuuka ku ba katonda baabwe abalala, e nnamula yaabwe mbi.

6:137

وَكَذَٰلِكَ زَيَّنَ لِكَثِيرٖ مِّنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ قَتۡلَ أَوۡلَٰدِهِمۡ شُرَكَآؤُهُمۡ لِيُرۡدُوهُمۡ وَلِيَلۡبِسُواْ عَلَيۡهِمۡ دِينَهُمۡۖ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا فَعَلُوهُۖ فَذَرۡهُمۡ وَمَا يَفۡتَرُونَ ﴿137﴾

Mu ngeri yeemu, abagatta ku Katonda e bintu e birala, ba katonda baabwe baabalaga nti kirungi okutta abaana baabwe, nebabatuusa okukola ekivve (eky'okutta omuntu ) nga bababuza, era babe nga babuzaabuza e ddiini yaabwe, singa Katonda yayagala tebandikikoze kale baleke n'ebyo bye bagunja.

6:138

وَقَالُواْ هَٰذِهِۦٓ أَنۡعَٰمٞ وَحَرۡثٌ حِجۡرٞ لَّا يَطۡعَمُهَآ إِلَّا مَن نَّشَآءُ بِزَعۡمِهِمۡ وَأَنۡعَٰمٌ حُرِّمَتۡ ظُهُورُهَا وَأَنۡعَٰمٞ لَّا يَذۡكُرُونَ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَيۡهَا ٱفۡتِرَآءً عَلَيۡهِۚ سَيَجۡزِيهِم بِمَا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿138﴾

Era abagatta ku Katonda ebintu e birala mu ndaba yaabwe bagamba nti, bino e bisolo n’ebirime tebikkirizibwa kuriibwa okugyako oyo gwetuba twagadde, ate nebaba n’ebisolo bye baziza okwebagala, ate nebaba n’ebisolo e birala bye batayogererako linnya lya Katonda ( nga bagenda okubisala) byonna nga bigambo bigunje ku Katonda, Katonda ajja kubasasula olw'ebyo bye baali bagunja.

6:139

وَقَالُواْ مَا فِي بُطُونِ هَٰذِهِ ٱلۡأَنۡعَٰمِ خَالِصَةٞ لِّذُكُورِنَا وَمُحَرَّمٌ عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِنَاۖ وَإِن يَكُن مَّيۡتَةٗ فَهُمۡ فِيهِ شُرَكَآءُۚ سَيَجۡزِيهِمۡ وَصۡفَهُمۡۚ إِنَّهُۥ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿139﴾

Era (abagatta ku Katonda e bintu e birala) baagamba nti amawako g’ebisolo gakkirizibwa kuliibwa basajja bokka mu ffe, era tegakkirizibwa bakyala baffe, naye (amawako ago) bwegavaamu nga gafudde olwo bonna bakkiziribwa okubirya, Katonda ajja kubasasula olw'okutetenkanya kwabwe okwo, anti mazima Katonda mugoba nsonga, muyitirizu wa kumanya.

6:140

قَدۡ خَسِرَ ٱلَّذِينَ قَتَلُوٓاْ أَوۡلَٰدَهُمۡ سَفَهَۢا بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَحَرَّمُواْ مَا رَزَقَهُمُ ٱللَّهُ ٱفۡتِرَآءً عَلَى ٱللَّهِۚ قَدۡ ضَلُّواْ وَمَا كَانُواْ مُهۡتَدِينَ ﴿140﴾

Mazima bafaafaaganirwa abo abatta abaana baabwe mu busiru olw'obutamanya, era mu ngeri y'okutemerera Katonda ne baziza e byo Katonda bye yabagabira, mazima baabula era tebaali balungamu.

6:141

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَ جَنَّـٰتٖ مَّعۡرُوشَٰتٖ وَغَيۡرَ مَعۡرُوشَٰتٖ وَٱلنَّخۡلَ وَٱلزَّرۡعَ مُخۡتَلِفًا أُكُلُهُۥ وَٱلزَّيۡتُونَ وَٱلرُّمَّانَ مُتَشَٰبِهٗا وَغَيۡرَ مُتَشَٰبِهٖۚ كُلُواْ مِن ثَمَرِهِۦٓ إِذَآ أَثۡمَرَ وَءَاتُواْ حَقَّهُۥ يَوۡمَ حَصَادِهِۦۖ وَلَا تُسۡرِفُوٓاْۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُسۡرِفِينَ ﴿141﴾

Era yye (Katonda) yooyo eyateekawo amalimiro agabalira ku ttaka naago agatabalira ku ttaka, n’emitende n'ebimera ( ebirala) nga okuwooma kwabyo kwawukamu, n'e mizayituuni n’enkoma mawanga ebifaanagana mundabika yaabyo ate nga obuwoomu bwabyo bwawukamu, mulye e bibala byabyo bwe biba nga bibaze ate mujjemu n'omugabo gwabyo (gwa Zakka) olunaku lwemuba lwe mubikungula, wabula temusukkanga e kigero kyabyo ( mu nkozesa ne mu kutoola zzaka), anti Katonda tayagala basukka kigero.

6:142

وَمِنَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ حَمُولَةٗ وَفَرۡشٗاۚ كُلُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿142﴾

Era Katonda yateekawo e bisolo e byetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye mu ebyo Katonda bye yabagabira temugobereranga obuwufu bwa Sitane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango.

6:143

ثَمَٰنِيَةَ أَزۡوَٰجٖۖ مِّنَ ٱلضَّأۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَمِنَ ٱلۡمَعۡزِ ٱثۡنَيۡنِۗ قُلۡ ءَآلذَّكَرَيۡنِ حَرَّمَ أَمِ ٱلۡأُنثَيَيۡنِ أَمَّا ٱشۡتَمَلَتۡ عَلَيۡهِ أَرۡحَامُ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۖ نَبِّـُٔونِي بِعِلۡمٍ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿143﴾

E bisolo e birundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, e biri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti e nsajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba e nkazi, oba amawako g’azombiriri, mumbulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima.

6:144

وَمِنَ ٱلۡإِبِلِ ٱثۡنَيۡنِ وَمِنَ ٱلۡبَقَرِ ٱثۡنَيۡنِۗ قُلۡ ءَآلذَّكَرَيۡنِ حَرَّمَ أَمِ ٱلۡأُنثَيَيۡنِ أَمَّا ٱشۡتَمَلَتۡ عَلَيۡهِ أَرۡحَامُ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۖ أَمۡ كُنتُمۡ شُهَدَآءَ إِذۡ وَصَّىٰكُمُ ٱللَّهُ بِهَٰذَاۚ فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا لِّيُضِلَّ ٱلنَّاسَ بِغَيۡرِ عِلۡمٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿144﴾

Ne mu ngamiya e mitindo e biri, ne mu nte e mitindo e biri, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) e nsajja z’ombiriri zeyaziza oba e nkazi, oba amawako g’a zombiriri, abaffe mwaliwo nga Katonda akibalagira! olwo ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda obulimba, atuuke okubuza abantu awatali kumanya, bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

6:145

قُل لَّآ أَجِدُ فِي مَآ أُوحِيَ إِلَيَّ مُحَرَّمًا عَلَىٰ طَاعِمٖ يَطۡعَمُهُۥٓ إِلَّآ أَن يَكُونَ مَيۡتَةً أَوۡ دَمٗا مَّسۡفُوحًا أَوۡ لَحۡمَ خِنزِيرٖ فَإِنَّهُۥ رِجۡسٌ أَوۡ فِسۡقًا أُهِلَّ لِغَيۡرِ ٱللَّهِ بِهِۦۚ فَمَنِ ٱضۡطُرَّ غَيۡرَ بَاغٖ وَلَا عَادٖ فَإِنَّ رَبَّكَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿145﴾

Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti: mu bubaka obwampebwa temuli kiri Haramu kwoyo aba ayagadde okukirya, be ppo nga ebadde nnyamanfu oba omusaayi ogwa kafekye, oba e nnyama ye mbizzi, mazima e kikolwa e ky’okulya e bintu e byo kivve, oba (mu biri haram) y'ensolo esalibwa mu bugyemu nga eyogereddwaako e rinnya eritali lya Katonda. Wabula omuntu aba alemereddwa nga takikola lwa jjoogo wadde okumenya amateeka ga Katonda, mazima Mukama omulabiriziwo musonyiyi era musaasizi.

6:146

وَعَلَى ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا كُلَّ ذِي ظُفُرٖۖ وَمِنَ ٱلۡبَقَرِ وَٱلۡغَنَمِ حَرَّمۡنَا عَلَيۡهِمۡ شُحُومَهُمَآ إِلَّا مَا حَمَلَتۡ ظُهُورُهُمَآ أَوِ ٱلۡحَوَايَآ أَوۡ مَا ٱخۡتَلَطَ بِعَظۡمٖۚ ذَٰلِكَ جَزَيۡنَٰهُم بِبَغۡيِهِمۡۖ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ ﴿146﴾

Era twaziza ku bayudaaya buli kisolo ekirina e njala, ate nga ente n'embuzi, twaziza ku bo amasavu gaazo okugyako ag'oku mugongo oba e byenda oba agali mu nnyama e y'okuggumba ekyo twababonereza nakyo lwabubuze bwabwe, mazima ffe buli lwe twogera kiba kyekyo.

6:147

فَإِن كَذَّبُوكَ فَقُل رَّبُّكُمۡ ذُو رَحۡمَةٖ وَٰسِعَةٖ وَلَا يُرَدُّ بَأۡسُهُۥ عَنِ ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿147﴾

Bwebakulimbisa gamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe okusaasira kwe kugazi, kyokka ate e bibonerezo bye tebiyinza kuwonebwa bantu boonoonyi.

6:148

سَيَقُولُ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ لَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَآ أَشۡرَكۡنَا وَلَآ ءَابَآؤُنَا وَلَا حَرَّمۡنَا مِن شَيۡءٖۚ كَذَٰلِكَ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ حَتَّىٰ ذَاقُواْ بَأۡسَنَاۗ قُلۡ هَلۡ عِندَكُم مِّنۡ عِلۡمٖ فَتُخۡرِجُوهُ لَنَآۖ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَإِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا تَخۡرُصُونَ ﴿148﴾

Abo abagatta ebintu e birala ku Katonda bajja kugamba nti singa Katonda yayagala ffe ne bakadde baffe tetwandigasse kintu kirala ku Katonda, era tewali kintu kye twandifudde Haramu, bwe batyo n'abaakulembera bwe baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bwe bibonerezo byaffe, gamba nti abaffe (mwogera e byo) nga mulina kye musinziirako! kale mu kitulage, tewali kye mugoberera okugyako okufumiitiriza era kye mukola si kirala okugyako okuteebereza.

6:149

قُلۡ فَلِلَّهِ ٱلۡحُجَّةُ ٱلۡبَٰلِغَةُۖ فَلَوۡ شَآءَ لَهَدَىٰكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿149﴾

Gamba (Ggwe Muhammad) obujulizi obumatiza bwa Katonda. Kale nno singa yayagala mwenna yaalibalungamizza.

6:150

قُلۡ هَلُمَّ شُهَدَآءَكُمُ ٱلَّذِينَ يَشۡهَدُونَ أَنَّ ٱللَّهَ حَرَّمَ هَٰذَاۖ فَإِن شَهِدُواْ فَلَا تَشۡهَدۡ مَعَهُمۡۚ وَلَا تَتَّبِعۡ أَهۡوَآءَ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ وَهُم بِرَبِّهِمۡ يَعۡدِلُونَ ﴿150﴾

Gamba (Ggwe Muhammad) muleete abajulizi ba mmwe abo abajulira nti mazima Katonda yaziyiza e kintu gundi, bwe bajulira ne bakikakasa gwe toba nabo, era togoberera n'omulundi n'ogumu okwagala kw'abo abalimbisa e bigambo byaffe, n'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero, era nga bo bagatta e bintu e birala ku Katonda.

6:151

قُلۡ تَعَالَوۡاْ أَتۡلُ مَا حَرَّمَ رَبُّكُمۡ عَلَيۡكُمۡۖ أَلَّا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗاۖ وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُم مِّنۡ إِمۡلَٰقٖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكُمۡ وَإِيَّاهُمۡۖ وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلۡفَوَٰحِشَ مَا ظَهَرَ مِنۡهَا وَمَا بَطَنَۖ وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿151﴾

Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera.

6:152

وَلَا تَقۡرَبُواْ مَالَ ٱلۡيَتِيمِ إِلَّا بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ أَشُدَّهُۥۚ وَأَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ وَٱلۡمِيزَانَ بِٱلۡقِسۡطِۖ لَا نُكَلِّفُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَاۖ وَإِذَا قُلۡتُمۡ فَٱعۡدِلُواْ وَلَوۡ كَانَ ذَا قُرۡبَىٰۖ وَبِعَهۡدِ ٱللَّهِ أَوۡفُواْۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ ﴿152﴾

Era temusembereranga e mmaali ya ba mulekwa okugyako mu ngeri esinga okuba e nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize e bipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okugyako e kyo kyasobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima aweebwako obujulizi ne bwaba wa luganda, era mu ngeri e yenjawulo mutuukirize obweyamu bwa mmwe bwe mwawa Katonda. E byo nno Katonda yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba).

6:153

وَأَنَّ هَٰذَا صِرَٰطِي مُسۡتَقِيمٗا فَٱتَّبِعُوهُۖ وَلَا تَتَّبِعُواْ ٱلسُّبُلَ فَتَفَرَّقَ بِكُمۡ عَن سَبِيلِهِۦۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ ﴿153﴾

Era mazima ddala e kkubo lyange lino ggolokofu kale nno lyemuba mukwata, temugobereranga obukubo obulala ne kibakyusa okuva ku kkubo lye, e byo nno yabibakalaatira mmwe mulyoke mube abamutya.

6:154

ثُمَّ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ تَمَامًا عَلَى ٱلَّذِيٓ أَحۡسَنَ وَتَفۡصِيلٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لَّعَلَّهُم بِلِقَآءِ رَبِّهِمۡ يُؤۡمِنُونَ ﴿154﴾

Era (mukimanye) nti twawa Musa e kitabo nga kujjuuliriza eri oyo akola obulungi era nga kittottola buli kintu, era nga bulungamu na kusaasira, kibasobozese okukkiriza nti bagenda kusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.

6:155

وَهَٰذَا كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ مُبَارَكٞ فَٱتَّبِعُوهُ وَٱتَّقُواْ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ﴿155﴾

Na kino e kitabo (Kur’ani) twakissa nga kya mukisa kale nno mukigoberere era mutye Katonda olwo nno musaasirwe.

6:156

أَن تَقُولُوٓاْ إِنَّمَآ أُنزِلَ ٱلۡكِتَٰبُ عَلَىٰ طَآئِفَتَيۡنِ مِن قَبۡلِنَا وَإِن كُنَّا عَن دِرَاسَتِهِمۡ لَغَٰفِلِينَ ﴿156﴾

Muleme kugamba nti bwo obubaka bwa weebwa e bibinja bya mirundi e biri e byatukulembera ate nga twali tetufaayo ku bye basoma.

6:157

أَوۡ تَقُولُواْ لَوۡ أَنَّآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا ٱلۡكِتَٰبُ لَكُنَّآ أَهۡدَىٰ مِنۡهُمۡۚ فَقَدۡ جَآءَكُم بَيِّنَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞۚ فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن كَذَّبَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَصَدَفَ عَنۡهَاۗ سَنَجۡزِي ٱلَّذِينَ يَصۡدِفُونَ عَنۡ ءَايَٰتِنَا سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ بِمَا كَانُواْ يَصۡدِفُونَ ﴿157﴾

Oba muleme kugamba nti singa mazima ddala twassibwako e kitabo twandibadde balungamu okusinga bali, mazima obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe n'obulungamu n’okusaasira byabajjira, kaakati ani eyeeyisa obubi okusinga oyo alimbisa e bigambo bya Katonda n'abyawukanako, abo abaawukana ku bigambo byaffe tugenda kubasasula nga tubatuusaako e bibonerezo e bikakali olw'okuva kwabwe ku bigambo bya Katonda.

6:158

هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ يَأۡتِيَ رَبُّكَ أَوۡ يَأۡتِيَ بَعۡضُ ءَايَٰتِ رَبِّكَۗ يَوۡمَ يَأۡتِي بَعۡضُ ءَايَٰتِ رَبِّكَ لَا يَنفَعُ نَفۡسًا إِيمَٰنُهَا لَمۡ تَكُنۡ ءَامَنَتۡ مِن قَبۡلُ أَوۡ كَسَبَتۡ فِيٓ إِيمَٰنِهَا خَيۡرٗاۗ قُلِ ٱنتَظِرُوٓاْ إِنَّا مُنتَظِرُونَ ﴿158﴾

Abaffe balina kye balindirira mpozzi ba malayika okubajjira, oba Mukama omulabirizi wo ajje, oba obumu ku bubonero bwa Mukama omulabiriziwo bujje, (wabula) olunaku, obumu ku bubonero bwa mukama omulabiriziwo lwe burijja, omuntu tagenda kuganyulwa mu kukkiriza kwe kavuna aliba nga mu kusooka teyali mukkiriza oba obukkiriza bwe nga tebwamuyamba kukola burungi gamba (ggwe Muhammad) nti mulindirire mazima naffe tulindiridde.

6:159

إِنَّ ٱلَّذِينَ فَرَّقُواْ دِينَهُمۡ وَكَانُواْ شِيَعٗا لَّسۡتَ مِنۡهُمۡ فِي شَيۡءٍۚ إِنَّمَآ أَمۡرُهُمۡ إِلَى ٱللَّهِ ثُمَّ يُنَبِّئُهُم بِمَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ ﴿159﴾

Mazima ddala abo abatemaatema mu ddiini yaabwe, nebafuuka biwayi tolina kakaatwe nabo ku kintu kyonna, mazima e nsonga zaabwe ziri wa Katonda (yaagenda okubalamula), olwo nno alyoke abategeeze e byo bye baakolanga.

6:160

مَن جَآءَ بِٱلۡحَسَنَةِ فَلَهُۥ عَشۡرُ أَمۡثَالِهَاۖ وَمَن جَآءَ بِٱلسَّيِّئَةِ فَلَا يُجۡزَىٰٓ إِلَّا مِثۡلَهَا وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿160﴾

Omuntu alijja nga akoze e kirungi kimu, alifuna e mpeera yaakyo e mirundi kkumi, ate oyo alijja nga akoze e kibi, tagenda kusasulwa okugyako e kyenkana n'ekyo kye yakola, era nga bulijjo, nabo tebagenda kuyisibwa bubi.

6:161

قُلۡ إِنَّنِي هَدَىٰنِي رَبِّيٓ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ دِينٗا قِيَمٗا مِّلَّةَ إِبۡرَٰهِيمَ حَنِيفٗاۚ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿161﴾

Gamba mazima nze Mukama omulabirizi wange yannungamya ku kkubo e ggolokofu, nga ddiini e nnambulukufu, nga ye ddiini ya Ibrahim, eyali omwesimbu munzikiriza, era tabangako wa mubagatta ku Katonda kintu kirala.

6:162

قُلۡ إِنَّ صَلَاتِي وَنُسُكِي وَمَحۡيَايَ وَمَمَاتِي لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿162﴾

Gamba (Ggwe Muhammad) nti mazima okusaala kwange, n’okusaddaaka kwange e bisolo, n’obulamu bwange, n’okufa kwange, byonna biri eri Mukama omulabirizi w’ebitonde.

6:163

لَا شَرِيكَ لَهُۥۖ وَبِذَٰلِكَ أُمِرۡتُ وَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ ﴿163﴾

Tewali kimugattibwako, bwentyo nno bwe nnalagirwa, era nze musaale mu beewaayo ewa Katonda.

6:164

قُلۡ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ أَبۡغِي رَبّٗا وَهُوَ رَبُّ كُلِّ شَيۡءٖۚ وَلَا تَكۡسِبُ كُلُّ نَفۡسٍ إِلَّا عَلَيۡهَاۚ وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰۚ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُم مَّرۡجِعُكُمۡ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ ﴿164﴾

Gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) abaffe nyinza okuleka Katonda nenfuula e kintu e kirala kyonna okuba nga ye mulabirizi wange, so ng’ate yye ye mulabirizi w’abuli kintu, tewali kibi muntu kyakola okugyako nga kidda gyali, era tewali muntu yeetikka kibi kya mulala. Oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe yeeri obuddo bwa mmwe.

6:165

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَكُمۡ خَلَـٰٓئِفَ ٱلۡأَرۡضِ وَرَفَعَ بَعۡضَكُمۡ فَوۡقَ بَعۡضٖ دَرَجَٰتٖ لِّيَبۡلُوَكُمۡ فِي مَآ ءَاتَىٰكُمۡۗ إِنَّ رَبَّكَ سَرِيعُ ٱلۡعِقَابِ وَإِنَّهُۥ لَغَفُورٞ رَّحِيمُۢ ﴿165﴾

Era yye yooyo eyabateekawo nga mujja musikira obuvunaanyizibwa ku nsi, era naasitula abamu ku mmwe mu madaala, olwo nno abenga abagezesa mu ebyo bye yabawa, mazima Mukama omulabirizi wo mwangu wa kubonereza, era mazima ddala yye musonyiyi nnyo musaasizi.

7:1

الٓمٓصٓ ﴿1﴾

Alif Laam Miim Swad

7:2

كِتَٰبٌ أُنزِلَ إِلَيۡكَ فَلَا يَكُن فِي صَدۡرِكَ حَرَجٞ مِّنۡهُ لِتُنذِرَ بِهِۦ وَذِكۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿2﴾

Kino kitabo e kyassibwa gyoli, tekisaanye kukuleetera nkeka, batiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri abakkiriza.

7:3

ٱتَّبِعُواْ مَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُم مِّن رَّبِّكُمۡ وَلَا تَتَّبِعُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَۗ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ ﴿3﴾

Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, temumulekangawo nemugoberera abalala, (ekibi) mujjukira kitono.

7:4

وَكَم مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَا فَجَآءَهَا بَأۡسُنَا بَيَٰتًا أَوۡ هُمۡ قَآئِلُونَ ﴿4﴾

E bitundu bimeka bye twazikiriza! E bibonerezo byaffe ne bibatuukako e kiro, nga beebase oba ne bibatuukako e misana nga bawumuddeko.

7:5

فَمَا كَانَ دَعۡوَىٰهُمۡ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَآ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿5﴾

Ebibonerezo byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okugyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi.

7:6

فَلَنَسۡـَٔلَنَّ ٱلَّذِينَ أُرۡسِلَ إِلَيۡهِمۡ وَلَنَسۡـَٔلَنَّ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿6﴾

Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa.

7:7

فَلَنَقُصَّنَّ عَلَيۡهِم بِعِلۡمٖۖ وَمَا كُنَّا غَآئِبِينَ ﴿7﴾

Tugenda kubatottolera ddala olw'okumanya (kwaffe), anti tetubulangako (webakolera kintu kyonna).

7:8

وَٱلۡوَزۡنُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّۚ فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿8﴾

Okupima ku lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna e birizitowa e bipimwa bye, abo nno be bagenda okubalibwa nti batuuse ku buwanguzi.

7:9

وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُم بِمَا كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَظۡلِمُونَ ﴿9﴾

Oyo yenna e biriwewuka e bipimwa bye, abo nno beebo abafaafaaganirwa e myooyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku bigambo byaffe.

7:10

وَلَقَدۡ مَكَّنَّـٰكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلۡنَا لَكُمۡ فِيهَا مَعَٰيِشَۗ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ ﴿10﴾

Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu e bibabeezaawo (wabula) musiima kitono.

7:11

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَٰكُمۡ ثُمَّ صَوَّرۡنَٰكُمۡ ثُمَّ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ لَمۡ يَكُن مِّنَ ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿11﴾

Era mazima twabatonda mmwe, oluvanyuma twabawa e bifaananyi bya mmwe oluvanyuma ne tugamba ba malayika muvunnamire Adam ne bavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) ataali mu baavunnama.

7:12

قَالَ مَا مَنَعَكَ أَلَّا تَسۡجُدَ إِذۡ أَمَرۡتُكَۖ قَالَ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡهُ خَلَقۡتَنِي مِن نَّارٖ وَخَلَقۡتَهُۥ مِن طِينٖ ﴿12﴾

Katonda naagamba nti: kiki ekikugaanye okuvunnama bwe nkulagidde, (Sitane) naagamba nti nze mulungi okusinga yye, wantonda mu muliro, ate yye n'omutonda mu ttaka.

7:13

قَالَ فَٱهۡبِطۡ مِنۡهَا فَمَا يَكُونُ لَكَ أَن تَتَكَبَّرَ فِيهَا فَٱخۡرُجۡ إِنَّكَ مِنَ ٱلصَّـٰغِرِينَ ﴿13﴾

Katonda naagamba nti gifulume (e jjana), tolina lukusa kuwaganyaliramu, kale fuluma mazima ggwe oli mu bakkakkanyiziddwa.

7:14

قَالَ أَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ﴿14﴾

(Sitane) naagamba nti nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.

7:15

قَالَ إِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ ﴿15﴾

(Katonda), naagamba nti, mazima ggwe okkiriziddwa okubeera mu balindirizibwa.

7:16

قَالَ فَبِمَآ أَغۡوَيۡتَنِي لَأَقۡعُدَنَّ لَهُمۡ صِرَٰطَكَ ٱلۡمُسۡتَقِيمَ ﴿16﴾

(Sitane) naagamba nti, nga bwombuzizza nja kubateeganga ku kkubo lyo e ggolokofu.

7:17

ثُمَّ لَأٓتِيَنَّهُم مِّنۢ بَيۡنِ أَيۡدِيهِمۡ وَمِنۡ خَلۡفِهِمۡ وَعَنۡ أَيۡمَٰنِهِمۡ وَعَن شَمَآئِلِهِمۡۖ وَلَا تَجِدُ أَكۡثَرَهُمۡ شَٰكِرِينَ ﴿17﴾

Olwo nno ndyoke mbalumbire ddala nga mbava mu maaso ne mabega waabwe ne ku ddyo waabwe ne kkono, era togenda kusanga abasinga obungi mu bo nga beebaza.

7:18

قَالَ ٱخۡرُجۡ مِنۡهَا مَذۡءُومٗا مَّدۡحُورٗاۖ لَّمَن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿18﴾

(Katonda) naagamba nti gifulume ng’ovumirirwa ng’ogobeddwa, oyo yenna alikugoberera mu bo ggwe nabo mwenna ngenda kubajjuza mu muliro.

7:19

وَيَـٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ فَكُلَا مِنۡ حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿19﴾

Era netugamba Adam nti ggwe ne Mukyalawo mubeere mu jjana mwembi mulye wonna wemwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi.

7:20

فَوَسۡوَسَ لَهُمَا ٱلشَّيۡطَٰنُ لِيُبۡدِيَ لَهُمَا مَا وُۥرِيَ عَنۡهُمَا مِن سَوۡءَٰتِهِمَا وَقَالَ مَا نَهَىٰكُمَا رَبُّكُمَا عَنۡ هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةِ إِلَّآ أَن تَكُونَا مَلَكَيۡنِ أَوۡ تَكُونَا مِنَ ٱلۡخَٰلِدِينَ ﴿20﴾

Sitane naababuzaabuza neeba e nsonga gye yayitamu okubalaga obwereere bwabwe obwo obwali butabamanyisiddwa. (Sitane) naagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri teyabagaana muti guno okugyako lwakuba nti mwembiriri mwandibadde ba Malayika oba mwembiriri okubeera abalamu olubeerera.

7:21

وَقَاسَمَهُمَآ إِنِّي لَكُمَا لَمِنَ ٱلنَّـٰصِحِينَ ﴿21﴾

(Sitane) naabalayirira nti mazima ddala nze era ku mmwe mwembiriri ndi omu kubawi ba magezi.

7:22

فَدَلَّىٰهُمَا بِغُرُورٖۚ فَلَمَّا ذَاقَا ٱلشَّجَرَةَ بَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۖ وَنَادَىٰهُمَا رَبُّهُمَآ أَلَمۡ أَنۡهَكُمَا عَن تِلۡكُمَا ٱلشَّجَرَةِ وَأَقُل لَّكُمَآ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لَكُمَا عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿22﴾

Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya, bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwa beeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga nga bwe beebikkako e bikoola byo mu jjana Mukama omulabirizi waabwe naabakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti, ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri nembagamba nti mazima ddala Sitane mulabe ow'olwatu ku mmwe mwembiriri.

7:23

قَالَا رَبَّنَا ظَلَمۡنَآ أَنفُسَنَا وَإِن لَّمۡ تَغۡفِرۡ لَنَا وَتَرۡحَمۡنَا لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿23﴾

Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tweyisizza bubi, bwonooba totusonyiwe n’otusaasira tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.

7:24

قَالَ ٱهۡبِطُواْ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ وَلَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُسۡتَقَرّٞ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ ﴿24﴾

(Katonda) naagamba nti mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa e kiseera e kigere.

7:25

قَالَ فِيهَا تَحۡيَوۡنَ وَفِيهَا تَمُوتُونَ وَمِنۡهَا تُخۡرَجُونَ ﴿25﴾

(Katonda) naagamba nti mu yo mwemujja okuwangaaliranga, mu yo mwemulifiira, era nga mu yo mwemugenda okujjibwa (muzuukire).

7:26

يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ قَدۡ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكُمۡ لِبَاسٗا يُوَٰرِي سَوۡءَٰتِكُمۡ وَرِيشٗاۖ وَلِبَاسُ ٱلتَّقۡوَىٰ ذَٰلِكَ خَيۡرٞۚ ذَٰلِكَ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ لَعَلَّهُمۡ يَذَّكَّرُونَ ﴿26﴾

Abange mmwe abaana ba Adam mazima twabawae byambalo e bibikka obwereere bwa mmwe, netubawa ne byambalo bye mwewunda nabyo, wabula e kyambalo ky’okutya Katonda kyo kye kisinga obulungi. Bino bye bimu ku bigambo bya Katonda (bya batumira babe nga beebuulirira).

7:27

يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ لَا يَفۡتِنَنَّكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ كَمَآ أَخۡرَجَ أَبَوَيۡكُم مِّنَ ٱلۡجَنَّةِ يَنزِعُ عَنۡهُمَا لِبَاسَهُمَا لِيُرِيَهُمَا سَوۡءَٰتِهِمَآۚ إِنَّهُۥ يَرَىٰكُمۡ هُوَ وَقَبِيلُهُۥ مِنۡ حَيۡثُ لَا تَرَوۡنَهُمۡۗ إِنَّا جَعَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ أَوۡلِيَآءَ لِلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿27﴾

Abange mmwe abaana ba Adam, Sitane tababuzaabuzanga, nga bweyajja bakadde ba mmwe mu jjana n'aba nga abajjako e byambalo bya bwe olwo nno abenga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitane) ne banne babalaba mmwe wemutabalabira, anti twafuula zi Sitane okuba mikwano ffa nfe eri abo abatakkiriza.

7:28

وَإِذَا فَعَلُواْ فَٰحِشَةٗ قَالُواْ وَجَدۡنَا عَلَيۡهَآ ءَابَآءَنَا وَٱللَّهُ أَمَرَنَا بِهَاۗ قُلۡ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَأۡمُرُ بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ أَتَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿28﴾

Bwe baba bakoze e kyobuwemu bagamba nti twasanga bakadde baffe bwe bakola, era nga Katonda ye yakitulagira, gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima Katonda talagira bya buwemu, mutuuka okwogera ku Katonda e byo bye mutamanyi!

7:29

قُلۡ أَمَرَ رَبِّي بِٱلۡقِسۡطِۖ وَأَقِيمُواْ وُجُوهَكُمۡ عِندَ كُلِّ مَسۡجِدٖ وَٱدۡعُوهُ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَۚ كَمَا بَدَأَكُمۡ تَعُودُونَ ﴿29﴾

Ggwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Mukama omulabirizi wange yalagira okukola obwenkanya, era mubeerenga beesimbu mu kusinza mu buli Ibaada, (okusingira ddala) buli lwemugenda mu Mizikiti, era bwe muba nga musaba musabe ye yekka, olwo nno mube nga e ddiini mugikolera ye yekka, anti nga bwe yabatandika (mu ku batonda) mugenda kuddawo (oluvanyuma lw'okufa).

7:30

فَرِيقًا هَدَىٰ وَفَرِيقًا حَقَّ عَلَيۡهِمُ ٱلضَّلَٰلَةُۚ إِنَّهُمُ ٱتَّخَذُواْ ٱلشَّيَٰطِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَيَحۡسَبُونَ أَنَّهُم مُّهۡتَدُونَ ﴿30﴾

E kibinja e kimu yakilungamya ate nga e kibinja e kirala baakakatwako obubuze, anti mazima bo Sitane baazifuula mikwano gyabwe ffa nfe ne baleka Katonda, ate ne beebala nti mazima bo balungamu.