quranm◉

Omuko 363

Range
from 25:33 to 25:43
Surahs covered
Okuvvuunula
11 Okuvvuunula

◉

25:33

وَلَا يَأۡتُونَكَ بِمَثَلٍ إِلَّا جِئۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَأَحۡسَنَ تَفۡسِيرًا ﴿33﴾

. Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi.

25:34

ٱلَّذِينَ يُحۡشَرُونَ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ إِلَىٰ جَهَنَّمَ أُوْلَـٰٓئِكَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضَلُّ سَبِيلٗا ﴿34﴾

. Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo.

25:35

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلۡنَا مَعَهُۥٓ أَخَاهُ هَٰرُونَ وَزِيرٗا ﴿35﴾

. Mazima twawa Musa ekitabo ne tumussaako Mugandawe Haruna nga muyambi.

25:36

فَقُلۡنَا ٱذۡهَبَآ إِلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَدَمَّرۡنَٰهُمۡ تَدۡمِيرٗا ﴿36﴾

. Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza.

25:37

وَقَوۡمَ نُوحٖ لَّمَّا كَذَّبُواْ ٱلرُّسُلَ أَغۡرَقۡنَٰهُمۡ وَجَعَلۡنَٰهُمۡ لِلنَّاسِ ءَايَةٗۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِلظَّـٰلِمِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿37﴾

. N'abantu ba Nuhu bwe baalimbisa ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebiruma.

25:38

وَعَادٗا وَثَمُودَاْ وَأَصۡحَٰبَ ٱلرَّسِّ وَقُرُونَۢا بَيۡنَ ذَٰلِكَ كَثِيرٗا ﴿38﴾

. Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo.

25:39

وَكُلّٗا ضَرَبۡنَا لَهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَۖ وَكُلّٗا تَبَّرۡنَا تَتۡبِيرٗا ﴿39﴾

. Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe).

25:40

وَلَقَدۡ أَتَوۡاْ عَلَى ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِيٓ أُمۡطِرَتۡ مَطَرَ ٱلسَّوۡءِۚ أَفَلَمۡ يَكُونُواْ يَرَوۡنَهَاۚ بَلۡ كَانُواْ لَا يَرۡجُونَ نُشُورٗا ﴿40﴾

. (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira.

25:41

وَإِذَا رَأَوۡكَ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي بَعَثَ ٱللَّهُ رَسُولًا ﴿41﴾

. Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!.

25:42

إِن كَادَ لَيُضِلُّنَا عَنۡ ءَالِهَتِنَا لَوۡلَآ أَن صَبَرۡنَا عَلَيۡهَاۚ وَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ حِينَ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ مَنۡ أَضَلُّ سَبِيلًا ﴿42﴾

. Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu).

25:43

أَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ أَفَأَنتَ تَكُونُ عَلَيۡهِ وَكِيلًا ﴿43﴾

. Abaffe olaba oyo afuula okwagalakwe nga ye Katonda we, abaffe ggwe onoobeera ku ye omweyimirize.