quranm◉

Omuko 372

Range
from 26:112 to 26:136
Surahs covered
Okuvvuunula
25 Okuvvuunula

◉

26:112

قَالَ وَمَا عِلۡمِي بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿112﴾

. Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola.

26:113

إِنۡ حِسَابُهُمۡ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّيۖ لَوۡ تَشۡعُرُونَ ﴿113﴾

. Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi.

26:114

وَمَآ أَنَا۠ بِطَارِدِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿114﴾

. Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi).

26:115

إِنۡ أَنَا۠ إِلَّا نَذِيرٞ مُّبِينٞ ﴿115﴾

. Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu.

26:116

قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰنُوحُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمَرۡجُومِينَ ﴿116﴾

. Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja.

26:117

قَالَ رَبِّ إِنَّ قَوۡمِي كَذَّبُونِ ﴿117﴾

. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza.

26:118

فَٱفۡتَحۡ بَيۡنِي وَبَيۡنَهُمۡ فَتۡحٗا وَنَجِّنِي وَمَن مَّعِيَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿118﴾

. Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo.

26:119

فَأَنجَيۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ فِي ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ ﴿119﴾

. Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde.

26:120

ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا بَعۡدُ ٱلۡبَاقِينَ ﴿120﴾

. Oluvanyuma twazikiriza abaasigala.

26:121

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿121﴾

. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.

26:122

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ﴿122﴾

. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.

26:123

كَذَّبَتۡ عَادٌ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿123﴾

. Abantu ba A’di baalimbisa ababaka.

26:124

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ هُودٌ أَلَا تَتَّقُونَ ﴿124﴾

. Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!.

26:125

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ ﴿125﴾

. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.

26:126

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿126﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:127

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿127﴾

. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

26:128

أَتَبۡنُونَ بِكُلِّ رِيعٍ ءَايَةٗ تَعۡبَثُونَ ﴿128﴾

. Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi.

26:129

وَتَتَّخِذُونَ مَصَانِعَ لَعَلَّكُمۡ تَخۡلُدُونَ ﴿129﴾

. Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera.

26:130

وَإِذَا بَطَشۡتُم بَطَشۡتُمۡ جَبَّارِينَ ﴿130﴾

. Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe).

26:131

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿131﴾

. Kale mutye Katonda era mungondere.

26:132

وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِيٓ أَمَدَّكُم بِمَا تَعۡلَمُونَ ﴿132﴾

. Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi.

26:133

أَمَدَّكُم بِأَنۡعَٰمٖ وَبَنِينَ ﴿133﴾

. Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana.

26:134

وَجَنَّـٰتٖ وَعُيُونٍ ﴿134﴾

. N'amalimiro n'emigga.

26:135

إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ ﴿135﴾

. Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu.

26:136

قَالُواْ سَوَآءٌ عَلَيۡنَآ أَوَعَظۡتَ أَمۡ لَمۡ تَكُن مِّنَ ٱلۡوَٰعِظِينَ ﴿136﴾

. Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira.