quranm◉

Omuko 597

Range
from 95:1 to 96:19
Surahs covered
Okuvvuunula
27 Okuvvuunula

◉

95:1

وَٱلتِّينِ وَٱلزَّيۡتُونِ ﴿1﴾

Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun.

95:2

وَطُورِ سِينِينَ ﴿2﴾

Era ndayira olusozi lw’e Sinai.

95:3

وَهَٰذَا ٱلۡبَلَدِ ٱلۡأَمِينِ ﴿3﴾

Nakino e kibuga (Makkah) eky’emirembe

95:4

لَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ فِيٓ أَحۡسَنِ تَقۡوِيمٖ ﴿4﴾

Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi.

95:5

ثُمَّ رَدَدۡنَٰهُ أَسۡفَلَ سَٰفِلِينَ ﴿5﴾

Ate oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo.

95:6

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَلَهُمۡ أَجۡرٌ غَيۡرُ مَمۡنُونٖ ﴿6﴾

Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi, bagenda kufuna e mpeera etalina kkomo.

95:7

فَمَا يُكَذِّبُكَ بَعۡدُ بِٱلدِّينِ ﴿7﴾

Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero.

95:8

أَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِأَحۡكَمِ ٱلۡحَٰكِمِينَ ﴿8﴾

Tolaba nti Katonda ye Mulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima!?.

96:1

ٱقۡرَأۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلَّذِي خَلَقَ ﴿1﴾

Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu).

96:2

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِنۡ عَلَقٍ ﴿2﴾

Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi.

96:3

ٱقۡرَأۡ وَرَبُّكَ ٱلۡأَكۡرَمُ ﴿3﴾

Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga.

96:4

ٱلَّذِي عَلَّمَ بِٱلۡقَلَمِ ﴿4﴾

Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu.

96:5

عَلَّمَ ٱلۡإِنسَٰنَ مَا لَمۡ يَعۡلَمۡ ﴿5﴾

Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi.

96:6

كَلَّآ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَيَطۡغَىٰٓ ﴿6﴾

Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula.

96:7

أَن رَّءَاهُ ٱسۡتَغۡنَىٰٓ ﴿7﴾

Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina).

96:8

إِنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلرُّجۡعَىٰٓ ﴿8﴾

Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo.

96:9

أَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي يَنۡهَىٰ ﴿9﴾

Olabye omuntu agaana.

96:10

عَبۡدًا إِذَا صَلَّىٰٓ ﴿10﴾

(Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala.

96:11

أَرَءَيۡتَ إِن كَانَ عَلَى ٱلۡهُدَىٰٓ ﴿11﴾

Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu!

96:12

أَوۡ أَمَرَ بِٱلتَّقۡوَىٰٓ ﴿12﴾

Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda.

96:13

أَرَءَيۡتَ إِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰٓ ﴿13﴾

Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima.

96:14

أَلَمۡ يَعۡلَم بِأَنَّ ٱللَّهَ يَرَىٰ ﴿14﴾

Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola).

96:15

كَلَّا لَئِن لَّمۡ يَنتَهِ لَنَسۡفَعَۢا بِٱلنَّاصِيَةِ ﴿15﴾

Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo.

96:16

نَاصِيَةٖ كَٰذِبَةٍ خَاطِئَةٖ ﴿16﴾

Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya.

96:17

فَلۡيَدۡعُ نَادِيَهُۥ ﴿17﴾

Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase).

96:18

سَنَدۡعُ ٱلزَّبَانِيَةَ ﴿18﴾

Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu).

96:19

كَلَّا لَا تُطِعۡهُ وَٱسۡجُدۡۤ وَٱقۡتَرِب۩ ﴿19﴾

Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali.