quranm◉

Sura At-Takwir التكوير

#
81
↓
M
Aya
29
Okuvvuunula
African Development Foundation

◉

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

81:1

إِذَا ٱلشَّمۡسُ كُوِّرَتۡ ﴿١﴾

Enjuba bw'erizingwako.

81:2

وَإِذَا ٱلنُّجُومُ ٱنكَدَرَتۡ ﴿٢﴾

Nga n’emunyeenye zikunkumuse.

81:3

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ ﴿٣﴾

Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo).

81:4

وَإِذَا ٱلۡعِشَارُ عُطِّلَتۡ ﴿٤﴾

Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako).

81:5

وَإِذَا ٱلۡوُحُوشُ حُشِرَتۡ ﴿٥﴾

N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa.

81:6

وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ سُجِّرَتۡ ﴿٦﴾

Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja).

81:7

وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ ﴿٧﴾

Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi).

81:8

وَإِذَا ٱلۡمَوۡءُۥدَةُ سُئِلَتۡ ﴿٨﴾

Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa.

81:9

بِأَيِّ ذَنۢبٖ قُتِلَتۡ ﴿٩﴾

Kibi ki ekyamussa?.

81:10

وَإِذَا ٱلصُّحُفُ نُشِرَتۡ ﴿١٠﴾

Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi).

81:11

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ كُشِطَتۡ ﴿١١﴾

E ggulu bwe liriba liggyiddwawo.

81:12

وَإِذَا ٱلۡجَحِيمُ سُعِّرَتۡ ﴿١٢﴾

Nga n’omuliro gukoleezeddwa.

81:13

وَإِذَا ٱلۡجَنَّةُ أُزۡلِفَتۡ ﴿١٣﴾

Nga n’ejjana esembezeddwa.

81:14

عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّآ أَحۡضَرَتۡ ﴿١٤﴾

Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi).

81:15

فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلۡخُنَّسِ ﴿١٥﴾

Ndayira e munyeenye ezibulawo.

81:16

ٱلۡجَوَارِ ٱلۡكُنَّسِ ﴿١٦﴾

Ezibula emisana ne zirabika ekiro.

81:17

وَٱلَّيۡلِ إِذَا عَسۡعَسَ ﴿١٧﴾

Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo.

81:18

وَٱلصُّبۡحِ إِذَا تَنَفَّسَ ﴿١٨﴾

Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana.

81:19

إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٖ كَرِيمٖ ﴿١٩﴾

Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad).

81:20

ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي ٱلۡعَرۡشِ مَكِينٖ ﴿٢٠﴾

Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi.

81:21

مُّطَاعٖ ثَمَّ أَمِينٖ ﴿٢١﴾

Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa.

81:22

وَمَا صَاحِبُكُم بِمَجۡنُونٖ ﴿٢٢﴾

Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu.

81:23

وَلَقَدۡ رَءَاهُ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡمُبِينِ ﴿٢٣﴾

Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula.

81:24

وَمَا هُوَ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ بِضَنِينٖ ﴿٢٤﴾

Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza.

81:25

وَمَا هُوَ بِقَوۡلِ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٖ ﴿٢٥﴾

(Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire.

81:26

فَأَيۡنَ تَذۡهَبُونَ ﴿٢٦﴾

Naye ddala mulaga wa?

81:27

إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٧﴾

Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna.

81:28

لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَسۡتَقِيمَ ﴿٢٨﴾

Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama.

81:29

وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٩﴾

Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde.