quranm◉

Omuko 575

Range
from 73:20 to 74:17
Surahs covered
Okuvvuunula
18 Okuvvuunula

◉

73:20

إِنَّ رَبَّكَ يَعۡلَمُ أَنَّكَ تَقُومُ أَدۡنَىٰ مِن ثُلُثَيِ ٱلَّيۡلِ وَنِصۡفَهُۥ وَثُلُثَهُۥ وَطَآئِفَةٞ مِّنَ ٱلَّذِينَ مَعَكَۚ وَٱللَّهُ يُقَدِّرُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَۚ عَلِمَ أَن لَّن تُحۡصُوهُ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱقۡرَءُواْ مَا تَيَسَّرَ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِۚ عَلِمَ أَن سَيَكُونُ مِنكُم مَّرۡضَىٰ وَءَاخَرُونَ يَضۡرِبُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَبۡتَغُونَ مِن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَءَاخَرُونَ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ فَٱقۡرَءُواْ مَا تَيَسَّرَ مِنۡهُۚ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَقۡرِضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗاۚ وَمَا تُقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُم مِّنۡ خَيۡرٖ تَجِدُوهُ عِندَ ٱللَّهِ هُوَ خَيۡرٗا وَأَعۡظَمَ أَجۡرٗاۚ وَٱسۡتَغۡفِرُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمُۢ ﴿20﴾

Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa.

74:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُدَّثِّرُ ﴿1﴾

Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda).

74:2

قُمۡ فَأَنذِرۡ ﴿2﴾

Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda.

74:3

وَرَبَّكَ فَكَبِّرۡ ﴿3﴾

Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza.

74:4

وَثِيَابَكَ فَطَهِّرۡ ﴿4﴾

N'engoyezo zitukuze.

74:5

وَٱلرُّجۡزَ فَٱهۡجُرۡ ﴿5﴾

Amasanamu geewalire ddala.

74:6

وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ ﴿6﴾

Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi.

74:7

وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ ﴿7﴾

Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo.

74:8

فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ ﴿8﴾

Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira).

74:9

فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٖ يَوۡمٌ عَسِيرٌ ﴿9﴾

Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito.

74:10

عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٖ ﴿10﴾

Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri.

74:11

ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدٗا ﴿11﴾

(Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera.

74:12

وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا ﴿12﴾

Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu.

74:13

وَبَنِينَ شُهُودٗا ﴿13﴾

Nemuwa nabaana abatutumufu.

74:14

وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدٗا ﴿14﴾

Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa).

74:15

ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ ﴿15﴾

Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo.

74:16

كَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدٗا ﴿16﴾

Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani).

74:17

سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا ﴿17﴾

Nja kumussaako e bibonerezo e bizito.