quranm◉

Omuko 523

Range
from 51:52 to 52:14
Surahs covered
Okuvvuunula
23 Okuvvuunula

◉

51:52

كَذَٰلِكَ مَآ أَتَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا قَالُواْ سَاحِرٌ أَوۡ مَجۡنُونٌ ﴿52﴾

Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu.

51:53

أَتَوَاصَوۡاْ بِهِۦۚ بَلۡ هُمۡ قَوۡمٞ طَاغُونَ ﴿53﴾

Abaffe bakyeramira (nedda ssi bwekiri) wabula bo bantu be wagguzi.

51:54

فَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ فَمَآ أَنتَ بِمَلُومٖ ﴿54﴾

Kale baveeko toli ggwe anenyezebwa.

51:55

وَذَكِّرۡ فَإِنَّ ٱلذِّكۡرَىٰ تَنفَعُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿55﴾

Wabula bulirira anti mazima okubulirira kugasa abakkiriza.

51:56

وَمَا خَلَقۡتُ ٱلۡجِنَّ وَٱلۡإِنسَ إِلَّا لِيَعۡبُدُونِ ﴿56﴾

Era ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze.

51:57

مَآ أُرِيدُ مِنۡهُم مِّن رِّزۡقٖ وَمَآ أُرِيدُ أَن يُطۡعِمُونِ ﴿57﴾

Sibaagalamu Riziki era ssaagala bandiise.

51:58

إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلرَّزَّاقُ ذُو ٱلۡقُوَّةِ ٱلۡمَتِينُ ﴿58﴾

Mazima Katonda yye yaagaba Riziki nannyini maanyi omusobozi.

51:59

فَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ ذَنُوبٗا مِّثۡلَ ذَنُوبِ أَصۡحَٰبِهِمۡ فَلَا يَسۡتَعۡجِلُونِ ﴿59﴾

Mazima abo abeeyisa obubi balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu).

51:60

فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن يَوۡمِهِمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ ﴿60﴾

Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero).

52:1

وَٱلطُّورِ ﴿1﴾

Ndayidde olusozi (Sinaa).

52:2

وَكِتَٰبٖ مَّسۡطُورٖ ﴿2﴾

Ndayidde ekitabo ekiwandiike.

52:3

فِي رَقّٖ مَّنشُورٖ ﴿3﴾

Mu mpapula ennyanjuluze.

52:4

وَٱلۡبَيۡتِ ٱلۡمَعۡمُورِ ﴿4﴾

Era ndayidde e nyumba etaggwako basinza (ba Malayika bagyetoloola olubeerera).

52:5

وَٱلسَّقۡفِ ٱلۡمَرۡفُوعِ ﴿5﴾

Era ndayidde akasolya (k'eggulu) akasitufu.

52:6

وَٱلۡبَحۡرِ ٱلۡمَسۡجُورِ ﴿6﴾

Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi.

52:7

إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ لَوَٰقِعٞ ﴿7﴾

Ddala ebibonerezo bya Mukama omulabirizi wo bya kutuukirira.

52:8

مَّا لَهُۥ مِن دَافِعٖ ﴿8﴾

Tewali kigenda kubiremesa.

52:9

يَوۡمَ تَمُورُ ٱلسَّمَآءُ مَوۡرٗا ﴿9﴾

Ku lunaku eggulu lwe liri yuguuma oluyuguuma.

52:10

وَتَسِيرُ ٱلۡجِبَالُ سَيۡرٗا ﴿10﴾

Ensozi nezitambula butambuzi.

52:11

فَوَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ ﴿11﴾

N’olwekyo okubonabona ku lunaku olwo kuliba ku balimbisa.

52:12

ٱلَّذِينَ هُمۡ فِي خَوۡضٖ يَلۡعَبُونَ ﴿12﴾

Abo bo ababeera mu byolusaago nga bazannya.

52:13

يَوۡمَ يُدَعُّونَ إِلَىٰ نَارِ جَهَنَّمَ دَعًّا ﴿13﴾

Ku lunaku lwe bali sindikirizibwa olusindikirizibwa, okuyingira omuliro Jahannama.

52:14

هَٰذِهِ ٱلنَّارُ ٱلَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ ﴿14﴾

Baligambibwa nti guno gwe muliro ogwo gwe mwali mulimbisa.