quranm◉

Surah At-Takwir transliteration

◉ Sura · ∞

81:1

إِذَا ٱلشَّمۡسُ كُوِّرَتۡ ﴿1﴾

Transliteration: Itha alshshamsu kuwwirat

Translation: Enjuba bw'erizingwako.

81:2

وَإِذَا ٱلنُّجُومُ ٱنكَدَرَتۡ ﴿2﴾

Transliteration: Waitha alnnujoomu inkadarat

Translation: Nga n’emunyeenye zikunkumuse.

81:3

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ ﴿3﴾

Transliteration: Waitha aljibalu suyyirat

Translation: Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo).

81:4

وَإِذَا ٱلۡعِشَارُ عُطِّلَتۡ ﴿4﴾

Transliteration: Waitha alAAisharu AAuttilat

Translation: Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako).

81:5

وَإِذَا ٱلۡوُحُوشُ حُشِرَتۡ ﴿5﴾

Transliteration: Waitha alwuhooshu hushirat

Translation: N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa.

81:6

وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ سُجِّرَتۡ ﴿6﴾

Transliteration: Waitha albiharu sujjirat

Translation: Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja).

81:7

وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ ﴿7﴾

Transliteration: Waitha alnnufoosu zuwwijat

Translation: Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi).

81:8

وَإِذَا ٱلۡمَوۡءُۥدَةُ سُئِلَتۡ ﴿8﴾

Transliteration: Waitha almawoodatu suilat

Translation: Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa.

81:9

بِأَيِّ ذَنۢبٖ قُتِلَتۡ ﴿9﴾

Transliteration: Biayyi thanbin qutilat

Translation: Kibi ki ekyamussa?.

81:10

وَإِذَا ٱلصُّحُفُ نُشِرَتۡ ﴿10﴾

Transliteration: Waitha alssuhufu nushirat

Translation: Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi).

81:11

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ كُشِطَتۡ ﴿11﴾

Transliteration: Waitha alssamao kushitat

Translation: E ggulu bwe liriba liggyiddwawo.

81:12

وَإِذَا ٱلۡجَحِيمُ سُعِّرَتۡ ﴿12﴾

Transliteration: Waitha aljaheemu suAAAAirat

Translation: Nga n’omuliro gukoleezeddwa.

81:13

وَإِذَا ٱلۡجَنَّةُ أُزۡلِفَتۡ ﴿13﴾

Transliteration: Waitha aljannatu ozlifat

Translation: Nga n’ejjana esembezeddwa.

81:14

عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّآ أَحۡضَرَتۡ ﴿14﴾

Transliteration: AAalimat nafsun ma ahdarat

Translation: Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi).

81:15

فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلۡخُنَّسِ ﴿15﴾

Transliteration: Fala oqsimu bialkhunnasi

Translation: Ndayira e munyeenye ezibulawo.

81:16

ٱلۡجَوَارِ ٱلۡكُنَّسِ ﴿16﴾

Transliteration: Aljawari alkunnasi

Translation: Ezibula emisana ne zirabika ekiro.

81:17

وَٱلَّيۡلِ إِذَا عَسۡعَسَ ﴿17﴾

Transliteration: Waallayli itha AAasAAasa

Translation: Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo.

81:18

وَٱلصُّبۡحِ إِذَا تَنَفَّسَ ﴿18﴾

Transliteration: Waalssubhi itha tanaffasa

Translation: Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana.

81:19

إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٖ كَرِيمٖ ﴿19﴾

Transliteration: Innahu laqawlu rasoolin kareemin

Translation: Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad).

81:20

ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي ٱلۡعَرۡشِ مَكِينٖ ﴿20﴾

Transliteration: Thee quwwatin AAinda thee alAAarshi makeenin

Translation: Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi.

81:21

مُّطَاعٖ ثَمَّ أَمِينٖ ﴿21﴾

Transliteration: MutaAAin thamma ameenin

Translation: Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa.

81:22

وَمَا صَاحِبُكُم بِمَجۡنُونٖ ﴿22﴾

Transliteration: Wama sahibukum bimajnoonin

Translation: Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu.

81:23

وَلَقَدۡ رَءَاهُ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡمُبِينِ ﴿23﴾

Transliteration: Walaqad raahu bialofuqi almubeeni

Translation: Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula.

81:24

وَمَا هُوَ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ بِضَنِينٖ ﴿24﴾

Transliteration: Wama huwa AAala alghaybi bidaneenin

Translation: Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza.

81:25

وَمَا هُوَ بِقَوۡلِ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٖ ﴿25﴾

Transliteration: Wama huwa biqawli shaytanin rajeemin

Translation: (Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire.

81:26

فَأَيۡنَ تَذۡهَبُونَ ﴿26﴾

Transliteration: Faayna tathhaboona

Translation: Naye ddala mulaga wa?

81:27

إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿27﴾

Transliteration: In huwa illa thikrun lilAAalameena

Translation: Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna.

81:28

لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَسۡتَقِيمَ ﴿28﴾

Transliteration: Liman shaa minkum an yastaqeema

Translation: Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama.

81:29

وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿29﴾

Transliteration: Wama tashaoona illa an yashaa Allahu rabbu alAAalameena

Translation: Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde.

Transliteration source: English Transliteration by Tanzil. Used under Tanzil's non-commercial terms; see the source and latest updates at Tanzil. Tanzil translation download