quranm◉

Omuko 577

Range
from 74:48 to 75:19
Surahs covered
Okuvvuunula
28 Okuvvuunula

◉

74:48

فَمَا تَنفَعُهُمۡ شَفَٰعَةُ ٱلشَّـٰفِعِينَ ﴿48﴾

Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza.

74:49

فَمَا لَهُمۡ عَنِ ٱلتَّذۡكِرَةِ مُعۡرِضِينَ ﴿49﴾

Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno).

74:50

كَأَنَّهُمۡ حُمُرٞ مُّسۡتَنفِرَةٞ ﴿50﴾

Nga balinga entulege ezigobeddwa.

74:51

فَرَّتۡ مِن قَسۡوَرَةِۭ ﴿51﴾

Ezidduka e mpologoma.

74:52

بَلۡ يُرِيدُ كُلُّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ أَن يُؤۡتَىٰ صُحُفٗا مُّنَشَّرَةٗ ﴿52﴾

Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa.

74:53

كَلَّاۖ بَل لَّا يَخَافُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ ﴿53﴾

Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero.

74:54

كَلَّآ إِنَّهُۥ تَذۡكِرَةٞ ﴿54﴾

Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira.

74:55

فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ ﴿55﴾

Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo.

74:56

وَمَا يَذۡكُرُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ هُوَ أَهۡلُ ٱلتَّقۡوَىٰ وَأَهۡلُ ٱلۡمَغۡفِرَةِ ﴿56﴾

Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa.

75:1

لَآ أُقۡسِمُ بِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ ﴿1﴾

Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira.

75:2

وَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلنَّفۡسِ ٱللَّوَّامَةِ ﴿2﴾

Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa.

75:3

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَلَّن نَّجۡمَعَ عِظَامَهُۥ ﴿3﴾

Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage.

75:4

بَلَىٰ قَٰدِرِينَ عَلَىٰٓ أَن نُّسَوِّيَ بَنَانَهُۥ ﴿4﴾

Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe.

75:5

بَلۡ يُرِيدُ ٱلۡإِنسَٰنُ لِيَفۡجُرَ أَمَامَهُۥ ﴿5﴾

Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona.

75:6

يَسۡـَٔلُ أَيَّانَ يَوۡمُ ٱلۡقِيَٰمَةِ ﴿6﴾

Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi.

75:7

فَإِذَا بَرِقَ ٱلۡبَصَرُ ﴿7﴾

Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya.

75:8

وَخَسَفَ ٱلۡقَمَرُ ﴿8﴾

Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo.

75:9

وَجُمِعَ ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ ﴿9﴾

Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana).

75:10

يَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذٍ أَيۡنَ ٱلۡمَفَرُّ ﴿10﴾

Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa!.

75:11

كَلَّا لَا وَزَرَ ﴿11﴾

Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka.

75:12

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمُسۡتَقَرُّ ﴿12﴾

Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo.

75:13

يُنَبَّؤُاْ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذِۭ بِمَا قَدَّمَ وَأَخَّرَ ﴿13﴾

Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola.

75:14

بَلِ ٱلۡإِنسَٰنُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ بَصِيرَةٞ ﴿14﴾

Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda).

75:15

وَلَوۡ أَلۡقَىٰ مَعَاذِيرَهُۥ ﴿15﴾

Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda.

75:16

لَا تُحَرِّكۡ بِهِۦ لِسَانَكَ لِتَعۡجَلَ بِهِۦٓ ﴿16﴾

Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza.

75:17

إِنَّ عَلَيۡنَا جَمۡعَهُۥ وَقُرۡءَانَهُۥ ﴿17﴾

Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi.

75:18

فَإِذَا قَرَأۡنَٰهُ فَٱتَّبِعۡ قُرۡءَانَهُۥ ﴿18﴾

Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo.

75:19

ثُمَّ إِنَّ عَلَيۡنَا بَيَانَهُۥ ﴿19﴾

Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe.