quranm◉

Omuko 578

Range
from 75:20 to 76:5
Surahs covered
Okuvvuunula
26 Okuvvuunula

◉

75:20

كَلَّا بَلۡ تُحِبُّونَ ٱلۡعَاجِلَةَ ﴿20﴾

(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mmwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu.

75:21

وَتَذَرُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ ﴿21﴾

Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero.

75:22

وُجُوهٞ يَوۡمَئِذٖ نَّاضِرَةٌ ﴿22﴾

Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana.

75:23

إِلَىٰ رَبِّهَا نَاظِرَةٞ ﴿23﴾

Bigenda kutunula ku Mukama Katonda waabyo.

75:24

وَوُجُوهٞ يَوۡمَئِذِۭ بَاسِرَةٞ ﴿24﴾

Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu.

75:25

تَظُنُّ أَن يُفۡعَلَ بِهَا فَاقِرَةٞ ﴿25﴾

Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi.

75:26

كَلَّآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلتَّرَاقِيَ ﴿26﴾

Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli.

75:27

وَقِيلَ مَنۡۜ رَاقٖ ﴿27﴾

Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya.

75:28

وَظَنَّ أَنَّهُ ٱلۡفِرَاقُ ﴿28﴾

Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa.

75:29

وَٱلۡتَفَّتِ ٱلسَّاقُ بِٱلسَّاقِ ﴿29﴾

Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe.

75:30

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمَسَاقُ ﴿30﴾

Olwo nno obuddo buba busigadde eri Katondawo.

75:31

فَلَا صَدَّقَ وَلَا صَلَّىٰ ﴿31﴾

Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala.

75:32

وَلَٰكِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ ﴿32﴾

Wabula yalimbisa ebigambo bya Katonda nabyesamba.

75:33

ثُمَّ ذَهَبَ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ يَتَمَطَّىٰٓ ﴿33﴾

Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga.

75:34

أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰ ﴿34﴾

(Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi).

75:35

ثُمَّ أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰٓ ﴿35﴾

Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde.

75:36

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَن يُتۡرَكَ سُدًى ﴿36﴾

Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala.

75:37

أَلَمۡ يَكُ نُطۡفَةٗ مِّن مَّنِيّٖ يُمۡنَىٰ ﴿37﴾

Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana.

75:38

ثُمَّ كَانَ عَلَقَةٗ فَخَلَقَ فَسَوَّىٰ ﴿38﴾

Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu.

75:39

فَجَعَلَ مِنۡهُ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ ﴿39﴾

Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi.

75:40

أَلَيۡسَ ذَٰلِكَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰ ﴿40﴾

Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu!.

76:1

هَلۡ أَتَىٰ عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ حِينٞ مِّنَ ٱلدَّهۡرِ لَمۡ يَكُن شَيۡـٔٗا مَّذۡكُورًا ﴿1﴾

Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa).

76:2

إِنَّا خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٍ أَمۡشَاجٖ نَّبۡتَلِيهِ فَجَعَلۡنَٰهُ سَمِيعَۢا بَصِيرًا ﴿2﴾

Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba.

76:3

إِنَّا هَدَيۡنَٰهُ ٱلسَّبِيلَ إِمَّا شَاكِرٗا وَإِمَّا كَفُورًا ﴿3﴾

Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya.

76:4

إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ سَلَٰسِلَاْ وَأَغۡلَٰلٗا وَسَعِيرًا ﴿4﴾

Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka.

76:5

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ يَشۡرَبُونَ مِن كَأۡسٖ كَانَ مِزَاجُهَا كَافُورًا ﴿5﴾

Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura.