quranm◉

Omuko 531

Range
from 54:50 to 55:16
Surahs covered
Okuvvuunula
22 Okuvvuunula

◉

54:50

وَمَآ أَمۡرُنَآ إِلَّا وَٰحِدَةٞ كَلَمۡحِۭ بِٱلۡبَصَرِ ﴿50﴾

(Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso.

54:51

وَلَقَدۡ أَهۡلَكۡنَآ أَشۡيَاعَكُمۡ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٖ ﴿51﴾

Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde.

54:52

وَكُلُّ شَيۡءٖ فَعَلُوهُ فِي ٱلزُّبُرِ ﴿52﴾

Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo.

54:53

وَكُلُّ صَغِيرٖ وَكَبِيرٖ مُّسۡتَطَرٌ ﴿53﴾

Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa.

54:54

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّـٰتٖ وَنَهَرٖ ﴿54﴾

Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo).

54:55

فِي مَقۡعَدِ صِدۡقٍ عِندَ مَلِيكٖ مُّقۡتَدِرِۭ ﴿55﴾

Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza.

55:1

ٱلرَّحۡمَٰنُ ﴿1﴾

(Katonda) omusaasizi ennyo.

55:2

عَلَّمَ ٱلۡقُرۡءَانَ ﴿2﴾

Yayigiriza (omuntu) Kur’ani.

55:3

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ ﴿3﴾

Yatonda omuntu.

55:4

عَلَّمَهُ ٱلۡبَيَانَ ﴿4﴾

Yamuyizigiriza okunnyonnyola.

55:5

ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ بِحُسۡبَانٖ ﴿5﴾

Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa).

55:6

وَٱلنَّجۡمُ وَٱلشَّجَرُ يَسۡجُدَانِ ﴿6﴾

Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda).

55:7

وَٱلسَّمَآءَ رَفَعَهَا وَوَضَعَ ٱلۡمِيزَانَ ﴿7﴾

Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya.

55:8

أَلَّا تَطۡغَوۡاْ فِي ٱلۡمِيزَانِ ﴿8﴾

Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya).

55:9

وَأَقِيمُواْ ٱلۡوَزۡنَ بِٱلۡقِسۡطِ وَلَا تُخۡسِرُواْ ٱلۡمِيزَانَ ﴿9﴾

Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane.

55:10

وَٱلۡأَرۡضَ وَضَعَهَا لِلۡأَنَامِ ﴿10﴾

N'ensi yagiteerawo ebitonde.

55:11

فِيهَا فَٰكِهَةٞ وَٱلنَّخۡلُ ذَاتُ ٱلۡأَكۡمَامِ ﴿11﴾

Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba.

55:12

وَٱلۡحَبُّ ذُو ٱلۡعَصۡفِ وَٱلرَّيۡحَانُ ﴿12﴾

N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo.

55:13

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿13﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

55:14

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٖ كَٱلۡفَخَّارِ ﴿14﴾

Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye.

55:15

وَخَلَقَ ٱلۡجَآنَّ مِن مَّارِجٖ مِّن نَّارٖ ﴿15﴾

Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro.

55:16

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿16﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).