quranm◉

Omuko 595

Range
from 91:1 to 92:14
Surahs covered
Okuvvuunula
29 Okuvvuunula

◉

91:1

وَٱلشَّمۡسِ وَضُحَىٰهَا ﴿1﴾

Ndayira e njuba n’okwaka kwayo.

91:2

وَٱلۡقَمَرِ إِذَا تَلَىٰهَا ﴿2﴾

Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde)

91:3

وَٱلنَّهَارِ إِذَا جَلَّىٰهَا ﴿3﴾

Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba.

91:4

وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰهَا ﴿4﴾

Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse.

91:5

وَٱلسَّمَآءِ وَمَا بَنَىٰهَا ﴿5﴾

Era ndayira e ggulu n’eyalitonda.

91:6

وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا طَحَىٰهَا ﴿6﴾

Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira.

91:7

وَنَفۡسٖ وَمَا سَوَّىٰهَا ﴿7﴾

Era ndayira omuntu n’eyamutonda.

91:8

فَأَلۡهَمَهَا فُجُورَهَا وَتَقۡوَىٰهَا ﴿8﴾

N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi.

91:9

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن زَكَّىٰهَا ﴿9﴾

Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi.

91:10

وَقَدۡ خَابَ مَن دَسَّىٰهَا ﴿10﴾

Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi.

91:11

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ بِطَغۡوَىٰهَآ ﴿11﴾

Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe).

91:12

إِذِ ٱنۢبَعَثَ أَشۡقَىٰهَا ﴿12﴾

Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya).

91:13

فَقَالَ لَهُمۡ رَسُولُ ٱللَّهِ نَاقَةَ ٱللَّهِ وَسُقۡيَٰهَا ﴿13﴾

Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo”.

91:14

فَكَذَّبُوهُ فَعَقَرُوهَا فَدَمۡدَمَ عَلَيۡهِمۡ رَبُّهُم بِذَنۢبِهِمۡ فَسَوَّىٰهَا ﴿14﴾

Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona

91:15

وَلَا يَخَافُ عُقۡبَٰهَا ﴿15﴾

Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza).

92:1

وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰ ﴿1﴾

Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi).

92:2

وَٱلنَّهَارِ إِذَا تَجَلَّىٰ ﴿2﴾

Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde.

92:3

وَمَا خَلَقَ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ ﴿3﴾

Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi.

92:4

إِنَّ سَعۡيَكُمۡ لَشَتَّىٰ ﴿4﴾

Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu.

92:5

فَأَمَّا مَنۡ أَعۡطَىٰ وَٱتَّقَىٰ ﴿5﴾

N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda.

92:6

وَصَدَّقَ بِٱلۡحُسۡنَىٰ ﴿6﴾

Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda).

92:7

فَسَنُيَسِّرُهُۥ لِلۡيُسۡرَىٰ ﴿7﴾

Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu.

92:8

وَأَمَّا مَنۢ بَخِلَ وَٱسۡتَغۡنَىٰ ﴿8﴾

Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga).

92:9

وَكَذَّبَ بِٱلۡحُسۡنَىٰ ﴿9﴾

N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad.

92:10

فَسَنُيَسِّرُهُۥ لِلۡعُسۡرَىٰ ﴿10﴾

Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu.

92:11

وَمَا يُغۡنِي عَنۡهُ مَالُهُۥٓ إِذَا تَرَدَّىٰٓ ﴿11﴾

N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi)

92:12

إِنَّ عَلَيۡنَا لَلۡهُدَىٰ ﴿12﴾

Mazima kuli ku ffe okulungamya.

92:13

وَإِنَّ لَنَا لَلۡأٓخِرَةَ وَٱلۡأُولَىٰ ﴿13﴾

Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe.

92:14

فَأَنذَرۡتُكُمۡ نَارٗا تَلَظَّىٰ ﴿14﴾

Mbeekesa omuliro ogubumbujja.