At-Tawbah 9:14قَٰتِلُوهُمۡ يُعَذِّبۡهُمُ ٱللَّهُ بِأَيۡدِيكُمۡ وَيُخۡزِهِمۡ وَيَنصُرۡكُمۡ عَلَيۡهِمۡ وَيَشۡفِ صُدُورَ قَوۡمٖ مُّؤۡمِنِينَ ﴿١٤﴾
Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza.
At-Tawbah 9:15وَيُذۡهِبۡ غَيۡظَ قُلُوبِهِمۡۗ وَيَتُوبُ ٱللَّهُ عَلَىٰ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ ﴿١٥﴾
Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga.
Yunus 10:57يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ قَدۡ جَآءَتۡكُم مَّوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَشِفَآءٞ لِّمَا فِي ٱلصُّدُورِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٥٧﴾
Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza.
An-Nahl 16:69ثُمَّ كُلِي مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ فَٱسۡلُكِي سُبُلَ رَبِّكِ ذُلُلٗاۚ يَخۡرُجُ مِنۢ بُطُونِهَا شَرَابٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ فِيهِ شِفَآءٞ لِّلنَّاسِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿٦٩﴾
Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza.
Al-Isra 17:82وَنُنَزِّلُ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِ مَا هُوَ شِفَآءٞ وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَا يَزِيدُ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا خَسَارٗا ﴿٨٢﴾
. Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa.
Ash-Shu'ara 26:80وَإِذَا مَرِضۡتُ فَهُوَ يَشۡفِينِ ﴿٨٠﴾
. Era bwe ndwala yye y'amponya.
Fussilat 41:44وَلَوۡ جَعَلۡنَٰهُ قُرۡءَانًا أَعۡجَمِيّٗا لَّقَالُواْ لَوۡلَا فُصِّلَتۡ ءَايَٰتُهُۥٓۖ ءَا۬عۡجَمِيّٞ وَعَرَبِيّٞۗ قُلۡ هُوَ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ هُدٗى وَشِفَآءٞۚ وَٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٞ وَهُوَ عَلَيۡهِمۡ عَمًىۚ أُوْلَـٰٓئِكَ يُنَادَوۡنَ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ ﴿٤٤﴾
Singa twafuula Kur’ani eno nga ya lulimi olutali luwarabu (abawarabu) ddala baligambye nti singa ebigambo byayo byannyonnyolwa (netuba nga tubitegeera, kati ate) eri mu lumimi olutali luwarabu ate nga ekkira ku muwarabu, bagambe nti yyo ku bakkiriza kya kulungama era kya kuwonya, ate abo abatakkiriza amatu gaabwe galimu envumbo, olwo nno yo ku bo buzibe bwa maaso, abo bakowoolwa okuva mu kifo ekyewala (n'olwekyo ssi bangu ba kuwuliza).
Al-Baqarah 2:35وَقُلۡنَا يَـٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ وَكُلَا مِنۡهَا رَغَدًا حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٣٥﴾
Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi.
Al-Baqarah 2:248وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ءَايَةَ مُلۡكِهِۦٓ أَن يَأۡتِيَكُمُ ٱلتَّابُوتُ فِيهِ سَكِينَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَبَقِيَّةٞ مِّمَّا تَرَكَ ءَالُ مُوسَىٰ وَءَالُ هَٰرُونَ تَحۡمِلُهُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿٢٤٨﴾
Nabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwekuba nti mujja kujjirwa essanduuke ng'erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda wa mmwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haruna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba esituddwa ba malayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu obujulizi gyemuli, bwe muba ddala nga muli bakkiriza.
Al-An'am 6:13۞وَلَهُۥ مَا سَكَنَ فِي ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿١٣﴾
Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo.
Al-An'am 6:96فَالِقُ ٱلۡإِصۡبَاحِ وَجَعَلَ ٱلَّيۡلَ سَكَنٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ حُسۡبَانٗاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿٩٦﴾
(Era ye yooyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka e misana, e kiro naakifuula e kiwummulo e njuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera e nkola gye yabiteerawo, okwo kwekusalawo kwa nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.
Al-A'raf 7:189۞هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَجَعَلَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا لِيَسۡكُنَ إِلَيۡهَاۖ فَلَمَّا تَغَشَّىٰهَا حَمَلَتۡ حَمۡلًا خَفِيفٗا فَمَرَّتۡ بِهِۦۖ فَلَمَّآ أَثۡقَلَت دَّعَوَا ٱللَّهَ رَبَّهُمَا لَئِنۡ ءَاتَيۡتَنَا صَٰلِحٗا لَّنَكُونَنَّ مِنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿١٨٩﴾
Katonda yye yooyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, ng’ate mu ye mwe yaggya mukyalawe, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu, bwe yamala okulabagana naye, naafuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera (olubuto mweruyita) olw’amala okukula, baasaba Mukama omulabirizi waabwe, nebagamba nti, singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza.
At-Tawbah 9:26ثُمَّ أَنزَلَ ٱللَّهُ سَكِينَتَهُۥ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ وَعَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَأَنزَلَ جُنُودٗا لَّمۡ تَرَوۡهَا وَعَذَّبَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ وَذَٰلِكَ جَزَآءُ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٦﴾
Oluvanyuma Katonda yassa obuteefu ku mubakawe, ne ku bakkiriza era nassa amagye gemutaalaba, era naabonereza abo abaakaafuwala. Era nga bulijjo empeera y’abakafiiri bwetyo bweba.
At-Tawbah 9:40إِلَّا تَنصُرُوهُ فَقَدۡ نَصَرَهُ ٱللَّهُ إِذۡ أَخۡرَجَهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ثَانِيَ ٱثۡنَيۡنِ إِذۡ هُمَا فِي ٱلۡغَارِ إِذۡ يَقُولُ لِصَٰحِبِهِۦ لَا تَحۡزَنۡ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَنَاۖ فَأَنزَلَ ٱللَّهُ سَكِينَتَهُۥ عَلَيۡهِ وَأَيَّدَهُۥ بِجُنُودٖ لَّمۡ تَرَوۡهَا وَجَعَلَ كَلِمَةَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلسُّفۡلَىٰۗ وَكَلِمَةُ ٱللَّهِ هِيَ ٱلۡعُلۡيَاۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ ﴿٤٠﴾
Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
At-Tawbah 9:103خُذۡ مِنۡ أَمۡوَٰلِهِمۡ صَدَقَةٗ تُطَهِّرُهُمۡ وَتُزَكِّيهِم بِهَا وَصَلِّ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّ صَلَوٰتَكَ سَكَنٞ لَّهُمۡۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿١٠٣﴾
(Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo mumanyi nnyo.
Yunus 10:67هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ ﴿٦٧﴾
Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira.
An-Nahl 16:80وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّنۢ بُيُوتِكُمۡ سَكَنٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّن جُلُودِ ٱلۡأَنۡعَٰمِ بُيُوتٗا تَسۡتَخِفُّونَهَا يَوۡمَ ظَعۡنِكُمۡ وَيَوۡمَ إِقَامَتِكُمۡ وَمِنۡ أَصۡوَافِهَا وَأَوۡبَارِهَا وَأَشۡعَارِهَآ أَثَٰثٗا وَمَتَٰعًا إِلَىٰ حِينٖ ﴿٨٠﴾
Era Katonda yabateerawo mu mayumba gammwe obuwummuliro, era naabateerawo mu maliba gebisolo amayumba agabanguyira lwe muba mutambudde ne lwe muba temutambudde, ate nabaggira mu byoya bye ndiga ne bye ngamiya ne mu bye mbuzi ebyokukozesa era nga byakweyagala kwa mmwe okumala akabanga.
Al-Furqan 25:45أَلَمۡ تَرَ إِلَىٰ رَبِّكَ كَيۡفَ مَدَّ ٱلظِّلَّ وَلَوۡ شَآءَ لَجَعَلَهُۥ سَاكِنٗا ثُمَّ جَعَلۡنَا ٱلشَّمۡسَ عَلَيۡهِ دَلِيلٗا ﴿٤٥﴾
. Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.
An-Naml 27:86أَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ لِيَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿٨٦﴾
. Abaffe tebalaba nti mazima ffe twateekawo ekiro babe nga bakiwummuliramu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala (babe nga bakoleramu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu o bubonero eri abantu abakkiriza.
Al-Qasas 28:71قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلَّيۡلَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِضِيَآءٍۚ أَفَلَا تَسۡمَعُونَ ﴿٧١﴾
. Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira!.
Al-Qasas 28:72قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلنَّهَارَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِلَيۡلٖ تَسۡكُنُونَ فِيهِۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ ﴿٧٢﴾
. Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba!.
Al-Qasas 28:73وَمِن رَّحۡمَتِهِۦ جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿٧٣﴾
. Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza.
Ar-Rum 30:21وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنۡ خَلَقَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا لِّتَسۡكُنُوٓاْ إِلَيۡهَا وَجَعَلَ بَيۡنَكُم مَّوَدَّةٗ وَرَحۡمَةًۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿٢١﴾
. Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.
Ash-Shuraa 42:33إِن يَشَأۡ يُسۡكِنِ ٱلرِّيحَ فَيَظۡلَلۡنَ رَوَاكِدَ عَلَىٰ ظَهۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٍ ﴿٣٣﴾
Bwaba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) negabeera nga gayimiridde ku ngulu kwayo (ennyanja, nga tegabbira), mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo omwebaza.
Al-Fath 48:4هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ ٱلسَّكِينَةَ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِيمَٰنٗا مَّعَ إِيمَٰنِهِمۡۗ وَلِلَّهِ جُنُودُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿٤﴾
Yye yooyo eyassa obutebenkevu mu mitima gya bakkiriza babe nga beyongera obukkiriza ku bukkiriza bwabwe (obwasooka), amagye go mu ggulu omusanvu ne nsi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
Al-Fath 48:18۞لَّقَدۡ رَضِيَ ٱللَّهُ عَنِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذۡ يُبَايِعُونَكَ تَحۡتَ ٱلشَّجَرَةِ فَعَلِمَ مَا فِي قُلُوبِهِمۡ فَأَنزَلَ ٱلسَّكِينَةَ عَلَيۡهِمۡ وَأَثَٰبَهُمۡ فَتۡحٗا قَرِيبٗا ﴿١٨﴾
Katonda yasiima abakkiriza bwe baalangirira obuwagizi bwabwe gyoli (bwe mwali) wansi wo muti olwo nno yamanya ebiri mu mitima gya bwe kwe kussa obutebenkevu ku bo, era nabasasula n'abawa obuwanguzi obwali okumpi.
Al-Fath 48:26إِذۡ جَعَلَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلۡحَمِيَّةَ حَمِيَّةَ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِ فَأَنزَلَ ٱللَّهُ سَكِينَتَهُۥ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ وَعَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَأَلۡزَمَهُمۡ كَلِمَةَ ٱلتَّقۡوَىٰ وَكَانُوٓاْ أَحَقَّ بِهَا وَأَهۡلَهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا ﴿٢٦﴾
Jjukira abo abaakafuwala bwe bassa mu mitima gyabwe effutwa, effutwa lyo mu biseera eby'obutamanya, olwonno Katonda nassa obukkakkamu ku mubaka we, ne ku bakkiriza nabanywereza ku kigambo kyo kutya Katonda era nga be baali basinga okukisaanira, era nga be baali ba nannyinikyo era bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu.
Al-Baqarah 2:186وَإِذَا سَأَلَكَ عِبَادِي عَنِّي فَإِنِّي قَرِيبٌۖ أُجِيبُ دَعۡوَةَ ٱلدَّاعِ إِذَا دَعَانِۖ فَلۡيَسۡتَجِيبُواْ لِي وَلۡيُؤۡمِنُواْ بِي لَعَلَّهُمۡ يَرۡشُدُونَ ﴿١٨٦﴾
Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera ebiragiro byange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu.
Yusuf 12:34فَٱسۡتَجَابَ لَهُۥ رَبُّهُۥ فَصَرَفَ عَنۡهُ كَيۡدَهُنَّۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٣٤﴾
Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo.
Al-Anbya 21:83۞وَأَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلضُّرُّ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٨٣﴾
. Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.
Al-Anbya 21:84فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَكَشَفۡنَا مَا بِهِۦ مِن ضُرّٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰبِدِينَ ﴿٨٤﴾
. Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).
Al-Anbya 21:87وَذَا ٱلنُّونِ إِذ ذَّهَبَ مُغَٰضِبٗا فَظَنَّ أَن لَّن نَّقۡدِرَ عَلَيۡهِ فَنَادَىٰ فِي ٱلظُّلُمَٰتِ أَن لَّآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنتَ سُبۡحَٰنَكَ إِنِّي كُنتُ مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٨٧﴾
. Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi.
Al-Anbya 21:88فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡغَمِّۚ وَكَذَٰلِكَ نُـۨجِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٨٨﴾
. Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza.
An-Naml 27:62أَمَّن يُجِيبُ ٱلۡمُضۡطَرَّ إِذَا دَعَاهُ وَيَكۡشِفُ ٱلسُّوٓءَ وَيَجۡعَلُكُمۡ خُلَفَآءَ ٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ ﴿٦٢﴾
. Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bwaba amusabye, era naggyawo akabi, era naabafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! mujjukira kitono.
As-Saffat 37:75وَلَقَدۡ نَادَىٰنَا نُوحٞ فَلَنِعۡمَ ٱلۡمُجِيبُونَ ﴿٧٥﴾
Mazima Nuhu yatukoowoola naffe nno twali abaamwanukula obulungi.
Ghafir 40:60وَقَالَ رَبُّكُمُ ٱدۡعُونِيٓ أَسۡتَجِبۡ لَكُمۡۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِي سَيَدۡخُلُونَ جَهَنَّمَ دَاخِرِينَ ﴿٦٠﴾
Mukama omulabirizi wa mmwe yagamba nti munsabe nja kubaanukula ,mazima abo abeekuza nebatansinza bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu.
Al-An'am 6:17وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يَمۡسَسۡكَ بِخَيۡرٖ فَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٧﴾
Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu.
Yunus 10:107وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يُرِدۡكَ بِخَيۡرٖ فَلَا رَآدَّ لِفَضۡلِهِۦۚ يُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٠٧﴾
Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala.
Az-Zumar 39:38وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلۡ أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ إِنۡ أَرَادَنِيَ ٱللَّهُ بِضُرٍّ هَلۡ هُنَّ كَٰشِفَٰتُ ضُرِّهِۦٓ أَوۡ أَرَادَنِي بِرَحۡمَةٍ هَلۡ هُنَّ مُمۡسِكَٰتُ رَحۡمَتِهِۦۚ قُلۡ حَسۡبِيَ ٱللَّهُۖ عَلَيۡهِ يَتَوَكَّلُ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿٣٨﴾
Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe (mmwe) mulaba nti ebyo bye musaba nemuleka Katonda singa Katonda aba anjagalizza akabi byo bisobola okugyawo akabiike, oba singa aba anjagalizza kusaasira (kirungi) abaffe byo bisobola okuziyiza okusaasira kwe, gamba nti Katonda ammala (era bulijjo) abaagala ow'okwesiga ye yekka gwe beesiga.
Al-Mujadila 58:10إِنَّمَا ٱلنَّجۡوَىٰ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ لِيَحۡزُنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَيۡسَ بِضَآرِّهِمۡ شَيۡـًٔا إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿١٠﴾
Mazima okuteeseganya mu kyama mu ngeri embi n'okukola obulabe kikolwa kya Sitaane (nga nekigendererwa kye) kunyiiza bakkiriza. Ekyo tekiyinza kubaleetera kabi konna, okugyako nga Katonda akkirizza era abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka.
Al-Baqarah 2:260وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٦٠﴾
Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.
Ali 'Imran 3:126وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ لَكُمۡ وَلِتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُكُم بِهِۦۗ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿١٢٦﴾
Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
Al-Ma'idah 5:113قَالُواْ نُرِيدُ أَن نَّأۡكُلَ مِنۡهَا وَتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُنَا وَنَعۡلَمَ أَن قَدۡ صَدَقۡتَنَا وَنَكُونَ عَلَيۡهَا مِنَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿١١٣﴾
Nebagamba nti twagala tukiryeko, era e mitima gyaffe gitebenkere, era tumanye nti wewaawo byo tugamba byonna bya mazima, era naffe tufuuke abajulizi ku ekyo.
Ar-Ra'd 13:28ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَتَطۡمَئِنُّ قُلُوبُهُم بِذِكۡرِ ٱللَّهِۗ أَلَا بِذِكۡرِ ٱللَّهِ تَطۡمَئِنُّ ٱلۡقُلُوبُ ﴿٢٨﴾
(Abeenenya) be bo abakkiriza Katonda, era nga emitima gya bwe gitebenkera olw'okwogera ku Katonda. Abange anti bulijjo emitima gitebenkera olw'okwogera ku Katonda.
An-Nahl 16:106مَن كَفَرَ بِٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ إِيمَٰنِهِۦٓ إِلَّا مَنۡ أُكۡرِهَ وَقَلۡبُهُۥ مُطۡمَئِنُّۢ بِٱلۡإِيمَٰنِ وَلَٰكِن مَّن شَرَحَ بِٱلۡكُفۡرِ صَدۡرٗا فَعَلَيۡهِمۡ غَضَبٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ ﴿١٠٦﴾
Oyo yenna awakanya Katonda oluvanyuma lwokukkirizakwe (kagenda kumujjutuka), okugyako oyo akakiddwa naye nga omutima gwe gunyweredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjuliriza obukaafiiri ekifubakye, abo baliko obusungu okuva eri Katonda, era balituusibwako ebibonerezo ebiyitirivu.
Al-Isra 17:95قُل لَّوۡ كَانَ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَلَـٰٓئِكَةٞ يَمۡشُونَ مُطۡمَئِنِّينَ لَنَزَّلۡنَا عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَلَكٗا رَّسُولٗا ﴿٩٥﴾
. Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka.