At-Tawbah 9:84وَلَا تُصَلِّ عَلَىٰٓ أَحَدٖ مِّنۡهُم مَّاتَ أَبَدٗا وَلَا تَقُمۡ عَلَىٰ قَبۡرِهِۦٓۖ إِنَّهُمۡ كَفَرُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَمَاتُواْ وَهُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿٨٤﴾
Era tosaaliranga oyo yenna aba afudde mu bo, era toyimiriranga ku kabbuliye, anti mazima bbo baagyemera Katonda n’omubakawe, era ne bafa nga boonoonyi.
Al-Hajj 22:6ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّهُۥ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَأَنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٦﴾
. Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu.
Al-Hajj 22:7وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٞ لَّا رَيۡبَ فِيهَا وَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡعَثُ مَن فِي ٱلۡقُبُورِ ﴿٧﴾
. Era nti mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era nti mazima ddala Katonda agenda kuzuukiza abali mu kabbuli.
Fatir 35:22وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَحۡيَآءُ وَلَا ٱلۡأَمۡوَٰتُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُسۡمِعُ مَن يَشَآءُۖ وَمَآ أَنتَ بِمُسۡمِعٖ مَّن فِي ٱلۡقُبُورِ ﴿٢٢﴾
. Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli.
Al-Mumtahanah 60:13يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَوَلَّوۡاْ قَوۡمًا غَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡ قَدۡ يَئِسُواْ مِنَ ٱلۡأٓخِرَةِ كَمَا يَئِسَ ٱلۡكُفَّارُ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡقُبُورِ ﴿١٣﴾
Abange mmwe abakkiriza temukwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira. Anti bo tebalina ssuubi ku lunaku lw'enkomerero, nga abakafiiri bwebatalina ssuubi ku bikwata ku bantu abali emagombe.
'Abasa 80:17قُتِلَ ٱلۡإِنسَٰنُ مَآ أَكۡفَرَهُۥ ﴿١٧﴾
Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda?
'Abasa 80:18مِنۡ أَيِّ شَيۡءٍ خَلَقَهُۥ ﴿١٨﴾
(Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda?
'Abasa 80:19مِن نُّطۡفَةٍ خَلَقَهُۥ فَقَدَّرَهُۥ ﴿١٩﴾
Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako).
'Abasa 80:20ثُمَّ ٱلسَّبِيلَ يَسَّرَهُۥ ﴿٢٠﴾
Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa;
'Abasa 80:21ثُمَّ أَمَاتَهُۥ فَأَقۡبَرَهُۥ ﴿٢١﴾
Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli.
'Abasa 80:22ثُمَّ إِذَا شَآءَ أَنشَرَهُۥ ﴿٢٢﴾
Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde.
Al-Infitar 82:1إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنفَطَرَتۡ ﴿١﴾
E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu.
Al-Infitar 82:2وَإِذَا ٱلۡكَوَاكِبُ ٱنتَثَرَتۡ ﴿٢﴾
N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana.
Al-Infitar 82:3وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ فُجِّرَتۡ ﴿٣﴾
N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde.
Al-Infitar 82:4وَإِذَا ٱلۡقُبُورُ بُعۡثِرَتۡ ﴿٤﴾
Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo).
Al-Infitar 82:5عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّا قَدَّمَتۡ وَأَخَّرَتۡ ﴿٥﴾
Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo.
Al-'Adiyat 100:9۞أَفَلَا يَعۡلَمُ إِذَا بُعۡثِرَ مَا فِي ٱلۡقُبُورِ ﴿٩﴾
Abaffe (omuntu) tamanyi nti ebiri mu kabbuli bwe biriba bizuukiziddwa.
Al-'Adiyat 100:10وَحُصِّلَ مَا فِي ٱلصُّدُورِ ﴿١٠﴾
N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa.
Al-'Adiyat 100:11إِنَّ رَبَّهُم بِهِمۡ يَوۡمَئِذٖ لَّخَبِيرُۢ ﴿١١﴾
Mazima Katonda omulezi waabwe (nga bulijjo ne) ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako.
At-Takathur 102:1أَلۡهَىٰكُمُ ٱلتَّكَاثُرُ ﴿١﴾
Okunoonya okufuna ebingi, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda).
At-Takathur 102:2حَتَّىٰ زُرۡتُمُ ٱلۡمَقَابِرَ ﴿٢﴾
Okutuusa lwe muyingira kabbuli.
Ya-Sin 36:51وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَإِذَا هُم مِّنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يَنسِلُونَ ﴿٥١﴾
. Olwo engombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga bagenda eri Mukama omulabirizi waabwe nga baanguwa byansusso.
Ya-Sin 36:52قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا مَنۢ بَعَثَنَا مِن مَّرۡقَدِنَاۜۗ هَٰذَا مَا وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَصَدَقَ ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿٥٢﴾
. Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okutujja gye tubadde twebase (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima.
Ya-Sin 36:53إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ ﴿٥٣﴾
. (Okubazuukiza) tekugenda kuba okugyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa.
Al-Qamar 54:7خُشَّعًا أَبۡصَٰرُهُمۡ يَخۡرُجُونَ مِنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ كَأَنَّهُمۡ جَرَادٞ مُّنتَشِرٞ ﴿٧﴾
Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye.
Al-Ma'arij 70:43يَوۡمَ يَخۡرُجُونَ مِنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ سِرَاعٗا كَأَنَّهُمۡ إِلَىٰ نُصُبٖ يُوفِضُونَ ﴿٤٣﴾
Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo.
Yunus 10:18وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَضُرُّهُمۡ وَلَا يَنفَعُهُمۡ وَيَقُولُونَ هَـٰٓؤُلَآءِ شُفَعَـٰٓؤُنَا عِندَ ٱللَّهِۚ قُلۡ أَتُنَبِّـُٔونَ ٱللَّهَ بِمَا لَا يَعۡلَمُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿١٨﴾
Nebatuuka okusinza ebirala ebitali Katonda ebyo ebitayinza kubatuusaako kabi era ebitayinza kubagasa nebagamba nti bano, be bawolereza baffe ewa Katonda, gamba (Ggwe Muhammad nti mu kukola ekyo) mutegeeza Katonda ekyo kyatamanyi mu ggulu (omusanvu) wadde mu nsi, Musukkulumu era yeesambye nnyo kw'ebyo bye bumugattako.
Al-A'raf 7:194إِنَّ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ عِبَادٌ أَمۡثَالُكُمۡۖ فَٱدۡعُوهُمۡ فَلۡيَسۡتَجِيبُواْ لَكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿١٩٤﴾
Mazima abo bemusaba nemuva ku Katonda, baddu nga mmwe, kale mubasabe babaanukule bwe muba nga mwogera mazima.
Yunus 10:104قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِن كُنتُمۡ فِي شَكّٖ مِّن دِينِي فَلَآ أَعۡبُدُ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلَٰكِنۡ أَعۡبُدُ ٱللَّهَ ٱلَّذِي يَتَوَفَّىٰكُمۡۖ وَأُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٠٤﴾
Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Katonda oyo abatta ,era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza.
Ibrahim 14:35وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِيمُ رَبِّ ٱجۡعَلۡ هَٰذَا ٱلۡبَلَدَ ءَامِنٗا وَٱجۡنُبۡنِي وَبَنِيَّ أَن نَّعۡبُدَ ٱلۡأَصۡنَامَ ﴿٣٥﴾
Era Jjukira Ibrahim bwe yagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange ekibuga kino (Makkah) kifuule kya mirembe, onneekese n'abaana bange okuba nga tusinza amasanamu.
Al-Kahf 18:102أَفَحَسِبَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَن يَتَّخِذُواْ عِبَادِي مِن دُونِيٓ أَوۡلِيَآءَۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا جَهَنَّمَ لِلۡكَٰفِرِينَ نُزُلٗا ﴿١٠٢﴾
. Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri.
Al-Anbya 21:66قَالَ أَفَتَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يَضُرُّكُمۡ ﴿٦٦﴾
. (Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi.
Al-Anbya 21:67أُفّٖ لَّكُمۡ وَلِمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿٦٧﴾
. Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera!.
Ash-Shu'ara 26:69وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ إِبۡرَٰهِيمَ ﴿٦٩﴾
. Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim.
Ash-Shu'ara 26:70إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا تَعۡبُدُونَ ﴿٧٠﴾
. Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki.
Ash-Shu'ara 26:71قَالُواْ نَعۡبُدُ أَصۡنَامٗا فَنَظَلُّ لَهَا عَٰكِفِينَ ﴿٧١﴾
. Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza.
Al-'Ankabut 29:17إِنَّمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنٗا وَتَخۡلُقُونَ إِفۡكًاۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ لَكُمۡ رِزۡقٗا فَٱبۡتَغُواْ عِندَ ٱللَّهِ ٱلرِّزۡقَ وَٱعۡبُدُوهُ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥٓۖ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿١٧﴾
. Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa.
Saba 34:40وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا ثُمَّ يَقُولُ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ أَهَـٰٓؤُلَآءِ إِيَّاكُمۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ﴿٤٠﴾
. Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe.
Saba 34:41قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ أَنتَ وَلِيُّنَا مِن دُونِهِمۖ بَلۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ٱلۡجِنَّۖ أَكۡثَرُهُم بِهِم مُّؤۡمِنُونَ ﴿٤١﴾
. Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu.
Az-Zumar 39:3أَلَا لِلَّهِ ٱلدِّينُ ٱلۡخَالِصُۚ وَٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ مَا نَعۡبُدُهُمۡ إِلَّا لِيُقَرِّبُونَآ إِلَى ٱللَّهِ زُلۡفَىٰٓ إِنَّ ٱللَّهَ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡ فِي مَا هُمۡ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَنۡ هُوَ كَٰذِبٞ كَفَّارٞ ﴿٣﴾
Abange eddiini ensengejje ya Katonda yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okugyako lwa kutusembeza kumpi ne Katonda, mazima Katonda agenda kulamula wakati waabwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Katonda talungamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka.
An-Naml 27:80إِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ ﴿٨٠﴾
. (Awamu n'ekyo) mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola, kasita bakyuka nebakubayo amabega.
Ash-Shuraa 42:9أَمِ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَۖ فَٱللَّهُ هُوَ ٱلۡوَلِيُّ وَهُوَ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٩﴾
Oba baaleka Katonda nebeeterawo ba katonda (abalala) so nno Katonda ye ye mukuumi, era yye ye wokulamusa abafu, era ye (bulijjo) muyinza ku buli kintu kyonna.
Al-Mursalat 77:25أَلَمۡ نَجۡعَلِ ٱلۡأَرۡضَ كِفَاتًا ﴿٢٥﴾
Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya.
Al-Mursalat 77:26أَحۡيَآءٗ وَأَمۡوَٰتٗا ﴿٢٦﴾
Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo).
Al-Baqarah 2:259أَوۡ كَٱلَّذِي مَرَّ عَلَىٰ قَرۡيَةٖ وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا قَالَ أَنَّىٰ يُحۡيِۦ هَٰذِهِ ٱللَّهُ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۖ فَأَمَاتَهُ ٱللَّهُ مِاْئَةَ عَامٖ ثُمَّ بَعَثَهُۥۖ قَالَ كَمۡ لَبِثۡتَۖ قَالَ لَبِثۡتُ يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۖ قَالَ بَل لَّبِثۡتَ مِاْئَةَ عَامٖ فَٱنظُرۡ إِلَىٰ طَعَامِكَ وَشَرَابِكَ لَمۡ يَتَسَنَّهۡۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰ حِمَارِكَ وَلِنَجۡعَلَكَ ءَايَةٗ لِّلنَّاسِۖ وَٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡعِظَامِ كَيۡفَ نُنشِزُهَا ثُمَّ نَكۡسُوهَا لَحۡمٗاۚ فَلَمَّا تَبَيَّنَ لَهُۥ قَالَ أَعۡلَمُ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٢٥٩﴾
Oba twala ekyokulabirako kyoyo eyayita ku kyalo nga obusolya bwakyo buguddemu naagamba nti ekyalo kino Katonda agenda kukizzaawo atya nga kyafa dda! Katonda naamutta okumala emyaka kikumi oluvanyuma naamuzuukiza naamugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? Naamuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, naamugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule ekyokulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba ge ndogoyi yo nga bwetugayunga olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli naagamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu.
Al-Baqarah 2:260وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٦٠﴾
Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.
Al-An'am 6:36۞إِنَّمَا يَسۡتَجِيبُ ٱلَّذِينَ يَسۡمَعُونَۘ وَٱلۡمَوۡتَىٰ يَبۡعَثُهُمُ ٱللَّهُ ثُمَّ إِلَيۡهِ يُرۡجَعُونَ ﴿٣٦﴾
Abo abawulira okuwulira okutuufu, mazima bajja kwanukula okukoowoola (kwo), sso abafu Katonda agenda kubazuukiza era gyali gye balizzibwa.
An-Nahl 16:20وَٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَخۡلُقُونَ شَيۡـٔٗا وَهُمۡ يُخۡلَقُونَ ﴿٢٠﴾
Era abo bebasaba nebaleka Katonda tebatonda kintu kyonna ate nga bo batondebwa butondebwa.
Al-Baqarah 2:257ٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُخۡرِجُهُم مِّنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَوۡلِيَآؤُهُمُ ٱلطَّـٰغُوتُ يُخۡرِجُونَهُم مِّنَ ٱلنُّورِ إِلَى ٱلظُّلُمَٰتِۗ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢٥٧﴾
Katonda yemweyimirize wa bakkiriza, abaggya mu bizikiza naabazza eri ekitangaala, bo abakafiiri, ebintu bya Sitane ye mweyimirize waabwe, bibaggya mu kitangaala nebibazza mu nzikiza, abo be bantu b'omu muliro b'akugutuulamu olubeerera.
Al-An'am 6:121وَلَا تَأۡكُلُواْ مِمَّا لَمۡ يُذۡكَرِ ٱسۡمُ ٱللَّهِ عَلَيۡهِ وَإِنَّهُۥ لَفِسۡقٞۗ وَإِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ لَيُوحُونَ إِلَىٰٓ أَوۡلِيَآئِهِمۡ لِيُجَٰدِلُوكُمۡۖ وَإِنۡ أَطَعۡتُمُوهُمۡ إِنَّكُمۡ لَمُشۡرِكُونَ ﴿١٢١﴾
Temulyanga e byo e bitayogereddwaako linnya lya Katonda mazima ddala okukola e kyo bwonoonyi bwennyini, era ddala Sitane ziwa mikwano gyaazo e bigambo babawakanye nabyo, singa mubagondera, nammwe olwo muba mu bagatta ku Katonda e bintu e birala.