quranm◉

Emitwe · lg

66 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:83

وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ لَا تَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَانٗا وَذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَقُولُواْ لِلنَّاسِ حُسۡنٗا وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ ثُمَّ تَوَلَّيۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنكُمۡ وَأَنتُم مُّعۡرِضُونَ ﴿٨٣﴾

Era mujjukire lwe twakozesa abaana ba Israel endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okugyako Katonda. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo e sswala, mutoole ne zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okugyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano.

Al-Baqarah 2:180

كُتِبَ عَلَيۡكُمۡ إِذَا حَضَرَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ إِن تَرَكَ خَيۡرًا ٱلۡوَصِيَّةُ لِلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَ بِٱلۡمَعۡرُوفِۖ حَقًّا عَلَى ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿١٨٠﴾

Mulaalikiddwako singa (kirabika nti) omu ku mmwe atuuse okufa n'aba nga aleseewo ebintu, ateekwa okulaamira bazaddebe bombi n'aboolugandalwe olw'okumpi nga akikola mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu ku batya Katonda.

Al-Baqarah 2:215

يَسۡـَٔلُونَكَ مَاذَا يُنفِقُونَۖ قُلۡ مَآ أَنفَقۡتُم مِّنۡ خَيۡرٖ فَلِلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِۗ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٞ ﴿٢١٥﴾

Bakubuuza biki bye baba bawaayo. Bagambe nti buli kyonna kyemuwaayo mu birungi kiweebwa abazadde ababiri, abooluganda, bamulekwa, abeetaavu nabatambuze. Era (mukimanye) buli kalungi konna kemukola mazima ddala Katonda akamanyi.

An-Nisa 4:8

وَإِذَا حَضَرَ ٱلۡقِسۡمَةَ أُوْلُواْ ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينُ فَٱرۡزُقُوهُم مِّنۡهُ وَقُولُواْ لَهُمۡ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا ﴿٨﴾

Ab’oluganda ab'okumpi ne bamulekwa n’abanaku bwebabaawo nga emmaali y’omufu egabwa mubagabirenga ko, era mubagambe ebigambo ebirungi.

An-Nisa 4:36

۞وَٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَلَا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗا وَبِذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱلۡجَارِ ذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡجَارِ ٱلۡجُنُبِ وَٱلصَّاحِبِ بِٱلۡجَنۢبِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِ وَمَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ مَن كَانَ مُخۡتَالٗا فَخُورًا ﴿٣٦﴾

Era musinze Katonda awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, nemuliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okumpi n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Katonda tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize.

Ali 'Imran 3:14

زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ﴿١٤﴾

Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.

Ali 'Imran 3:36

فَلَمَّا وَضَعَتۡهَا قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي وَضَعۡتُهَآ أُنثَىٰ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا وَضَعَتۡ وَلَيۡسَ ٱلذَّكَرُ كَٱلۡأُنثَىٰۖ وَإِنِّي سَمَّيۡتُهَا مَرۡيَمَ وَإِنِّيٓ أُعِيذُهَا بِكَ وَذُرِّيَّتَهَا مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ ﴿٣٦﴾

(Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo.

Ali 'Imran 3:37

فَتَقَبَّلَهَا رَبُّهَا بِقَبُولٍ حَسَنٖ وَأَنۢبَتَهَا نَبَاتًا حَسَنٗا وَكَفَّلَهَا زَكَرِيَّاۖ كُلَّمَا دَخَلَ عَلَيۡهَا زَكَرِيَّا ٱلۡمِحۡرَابَ وَجَدَ عِندَهَا رِزۡقٗاۖ قَالَ يَٰمَرۡيَمُ أَنَّىٰ لَكِ هَٰذَاۖ قَالَتۡ هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ إِنَّ ٱللَّهَ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٍ ﴿٣٧﴾

Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era naamukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakaria abe omukuza, buli Zakaria lweyayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olwokusinza ng’amusanga alina ebyokulya. Naagamba nti owange Mariam bino obifuna kuva wa, naamuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gwayagadde awatali kubalirira.

Ali 'Imran 3:38

هُنَالِكَ دَعَا زَكَرِيَّا رَبَّهُۥۖ قَالَ رَبِّ هَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ ذُرِّيَّةٗ طَيِّبَةًۖ إِنَّكَ سَمِيعُ ٱلدُّعَآءِ ﴿٣٨﴾

Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gyoli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira edduwa y’omusabi.

Al-Ma'idah 5:27

۞وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ ٱبۡنَيۡ ءَادَمَ بِٱلۡحَقِّ إِذۡ قَرَّبَا قُرۡبَانٗا فَتُقُبِّلَ مِنۡ أَحَدِهِمَا وَلَمۡ يُتَقَبَّلۡ مِنَ ٱلۡأٓخَرِ قَالَ لَأَقۡتُلَنَّكَۖ قَالَ إِنَّمَا يَتَقَبَّلُ ٱللَّهُ مِنَ ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿٢٧﴾

Era basomere mu bulambulukufu ebikwata ku baana ba Adam ababiri bwe baawa ewa Katonda Saddaka, ey’omu nekkirizibwa, ate ey’omulala n’etakkirizibwa, kwekugamba nti nja kukuttira ddala (ye oli) naagamba nti mazima ddala Katonda akkiriza mirimu gyabo abamutya.

Al-Ma'idah 5:28

لَئِنۢ بَسَطتَ إِلَيَّ يَدَكَ لِتَقۡتُلَنِي مَآ أَنَا۠ بِبَاسِطٖ يَدِيَ إِلَيۡكَ لِأَقۡتُلَكَۖ إِنِّيٓ أَخَافُ ٱللَّهَ رَبَّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٨﴾

(Naye) bwonongalulira omukono gwo onzite, nze sigenda ku kugalulira mukono gwange ku kutta, mazima nze ntya Katonda omulabirizi w’ebitonde.

Al-Ma'idah 5:29

إِنِّيٓ أُرِيدُ أَن تَبُوٓأَ بِإِثۡمِي وَإِثۡمِكَ فَتَكُونَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلنَّارِۚ وَذَٰلِكَ جَزَـٰٓؤُاْ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٢٩﴾

Mazima nze njagala ogende n’ekibi kyange n’ekikyo (singa onzita), olwo nno obeere mu bantu bo mu muliro, era nga bulijjo eyo ye mpeera y’abantu abeeyisa obubi.

Al-Ma'idah 5:30

فَطَوَّعَتۡ لَهُۥ نَفۡسُهُۥ قَتۡلَ أَخِيهِ فَقَتَلَهُۥ فَأَصۡبَحَ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿٣٠﴾

Omwoyo gwe omubi negumusalirawo okutta muganda we, era n'amutta naabeera mu baafaafaganirwa.

Al-An'am 6:151

۞قُلۡ تَعَالَوۡاْ أَتۡلُ مَا حَرَّمَ رَبُّكُمۡ عَلَيۡكُمۡۖ أَلَّا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗاۖ وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُم مِّنۡ إِمۡلَٰقٖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكُمۡ وَإِيَّاهُمۡۖ وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلۡفَوَٰحِشَ مَا ظَهَرَ مِنۡهَا وَمَا بَطَنَۖ وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿١٥١﴾

Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera.

Al-A'raf 7:43

وَنَزَعۡنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنۡ غِلّٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمُ ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَقَالُواْ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي هَدَىٰنَا لِهَٰذَا وَمَا كُنَّا لِنَهۡتَدِيَ لَوۡلَآ أَنۡ هَدَىٰنَا ٱللَّهُۖ لَقَدۡ جَآءَتۡ رُسُلُ رَبِّنَا بِٱلۡحَقِّۖ وَنُودُوٓاْ أَن تِلۡكُمُ ٱلۡجَنَّةُ أُورِثۡتُمُوهَا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٤٣﴾

Era tugenda kujja mu bifuba byabwe obukukuuzi bwonna, (balibeera mu jjana) nga ekulukutiramu e migga, era baligamba nti amatendo gonna ga Katonda oyo eyatulungamya eri e kkubo erituuka eri kino, tetwali baakulungama singa Katonda teyatulungamya mazima ababaka ba Mukama omulabirizi waffe bye baaleeta mazima meereere, era balikowoolwa nti eyo e jjana mugifunye olw'ebyo bye mwaali mukola.

Al-Hijr 15:47

وَنَزَعۡنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنۡ غِلٍّ إِخۡوَٰنًا عَلَىٰ سُرُرٖ مُّتَقَٰبِلِينَ ﴿٤٧﴾

Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya).

An-Nahl 16:90

۞إِنَّ ٱللَّهَ يَأۡمُرُ بِٱلۡعَدۡلِ وَٱلۡإِحۡسَٰنِ وَإِيتَآيِٕ ذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَيَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِ وَٱلۡبَغۡيِۚ يَعِظُكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ ﴿٩٠﴾

Mazima Katonda alagira obwenkanya, n'okuyisa, obulungi n'okugabira ab'oluganda olw'okumpi. Era aziza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuUlirira mube nga mujjukira.

Al-Isra 17:23

۞وَقَضَىٰ رَبُّكَ أَلَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّآ إِيَّاهُ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنًاۚ إِمَّا يَبۡلُغَنَّ عِندَكَ ٱلۡكِبَرَ أَحَدُهُمَآ أَوۡ كِلَاهُمَا فَلَا تَقُل لَّهُمَآ أُفّٖ وَلَا تَنۡهَرۡهُمَا وَقُل لَّهُمَا قَوۡلٗا كَرِيمٗا ﴿٢٣﴾

. Mukama omulabiriziwo yasalawo okuba nga temusinza okugyako yye, yekka. Era yasalawo abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa.

Al-Isra 17:24

وَٱخۡفِضۡ لَهُمَا جَنَاحَ ٱلذُّلِّ مِنَ ٱلرَّحۡمَةِ وَقُل رَّبِّ ٱرۡحَمۡهُمَا كَمَا رَبَّيَانِي صَغِيرٗا ﴿٢٤﴾

. Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto.

Al-Isra 17:25

رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا فِي نُفُوسِكُمۡۚ إِن تَكُونُواْ صَٰلِحِينَ فَإِنَّهُۥ كَانَ لِلۡأَوَّـٰبِينَ غَفُورٗا ﴿٢٥﴾

. Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera.

Al-Isra 17:26

وَءَاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَلَا تُبَذِّرۡ تَبۡذِيرًا ﴿٢٦﴾

. Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.

Yusuf 12:99

فَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَىٰ يُوسُفَ ءَاوَىٰٓ إِلَيۡهِ أَبَوَيۡهِ وَقَالَ ٱدۡخُلُواْ مِصۡرَ إِن شَآءَ ٱللَّهُ ءَامِنِينَ ﴿٩٩﴾

Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde.

Yusuf 12:100

وَرَفَعَ أَبَوَيۡهِ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ وَخَرُّواْ لَهُۥ سُجَّدٗاۖ وَقَالَ يَـٰٓأَبَتِ هَٰذَا تَأۡوِيلُ رُءۡيَٰيَ مِن قَبۡلُ قَدۡ جَعَلَهَا رَبِّي حَقّٗاۖ وَقَدۡ أَحۡسَنَ بِيٓ إِذۡ أَخۡرَجَنِي مِنَ ٱلسِّجۡنِ وَجَآءَ بِكُم مِّنَ ٱلۡبَدۡوِ مِنۢ بَعۡدِ أَن نَّزَغَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بَيۡنِي وَبَيۡنَ إِخۡوَتِيٓۚ إِنَّ رَبِّي لَطِيفٞ لِّمَا يَشَآءُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١٠٠﴾

Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga.

Yusuf 12:90

قَالُوٓاْ أَءِنَّكَ لَأَنتَ يُوسُفُۖ قَالَ أَنَا۠ يُوسُفُ وَهَٰذَآ أَخِيۖ قَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَآۖ إِنَّهُۥ مَن يَتَّقِ وَيَصۡبِرۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٩٠﴾

Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi.

Yusuf 12:91

قَالُواْ تَٱللَّهِ لَقَدۡ ءَاثَرَكَ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا وَإِن كُنَّا لَخَٰطِـِٔينَ ﴿٩١﴾

Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya.

Yusuf 12:92

قَالَ لَا تَثۡرِيبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَۖ يَغۡفِرُ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ وَهُوَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٩٢﴾

Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna.

Yusuf 12:93

ٱذۡهَبُواْ بِقَمِيصِي هَٰذَا فَأَلۡقُوهُ عَلَىٰ وَجۡهِ أَبِي يَأۡتِ بَصِيرٗا وَأۡتُونِي بِأَهۡلِكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿٩٣﴾

Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna.

Ibrahim 14:40

رَبِّ ٱجۡعَلۡنِي مُقِيمَ ٱلصَّلَوٰةِ وَمِن ذُرِّيَّتِيۚ رَبَّنَا وَتَقَبَّلۡ دُعَآءِ ﴿٤٠﴾

Ayi Mukama omulabirizi wange nfuula ayimirizaawo e sswala, ne muzadde lyange (ojjemu abakola ekyo) ayi Mukama omulabirizi waffe nkusaba okkirize okusaba kwange.

Al-Kahf 18:80

وَأَمَّا ٱلۡغُلَٰمُ فَكَانَ أَبَوَاهُ مُؤۡمِنَيۡنِ فَخَشِينَآ أَن يُرۡهِقَهُمَا طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗا ﴿٨٠﴾

. Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala.

Al-Kahf 18:81

فَأَرَدۡنَآ أَن يُبۡدِلَهُمَا رَبُّهُمَا خَيۡرٗا مِّنۡهُ زَكَوٰةٗ وَأَقۡرَبَ رُحۡمٗا ﴿٨١﴾

. Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi.

Maryam 19:5

وَإِنِّي خِفۡتُ ٱلۡمَوَٰلِيَ مِن وَرَآءِي وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا فَهَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ وَلِيّٗا ﴿٥﴾

. Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana.

Maryam 19:6

يَرِثُنِي وَيَرِثُ مِنۡ ءَالِ يَعۡقُوبَۖ وَٱجۡعَلۡهُ رَبِّ رَضِيّٗا ﴿٦﴾

. Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange.

Maryam 19:12

يَٰيَحۡيَىٰ خُذِ ٱلۡكِتَٰبَ بِقُوَّةٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحُكۡمَ صَبِيّٗا ﴿١٢﴾

. (Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto.

Maryam 19:13

وَحَنَانٗا مِّن لَّدُنَّا وَزَكَوٰةٗۖ وَكَانَ تَقِيّٗا ﴿١٣﴾

. Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda.

Maryam 19:14

وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَيۡهِ وَلَمۡ يَكُن جَبَّارًا عَصِيّٗا ﴿١٤﴾

. Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu.

Maryam 19:15

وَسَلَٰمٌ عَلَيۡهِ يَوۡمَ وُلِدَ وَيَوۡمَ يَمُوتُ وَيَوۡمَ يُبۡعَثُ حَيّٗا ﴿١٥﴾

. Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu.

Maryam 19:19

قَالَ إِنَّمَآ أَنَا۠ رَسُولُ رَبِّكِ لِأَهَبَ لَكِ غُلَٰمٗا زَكِيّٗا ﴿١٩﴾

. (Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu.

Maryam 19:30

قَالَ إِنِّي عَبۡدُ ٱللَّهِ ءَاتَىٰنِيَ ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلَنِي نَبِيّٗا ﴿٣٠﴾

. (Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi.

Maryam 19:31

وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيّٗا ﴿٣١﴾

. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.

Maryam 19:32

وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَتِي وَلَمۡ يَجۡعَلۡنِي جَبَّارٗا شَقِيّٗا ﴿٣٢﴾

. Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu.

Maryam 19:33

وَٱلسَّلَٰمُ عَلَيَّ يَوۡمَ وُلِدتُّ وَيَوۡمَ أَمُوتُ وَيَوۡمَ أُبۡعَثُ حَيّٗا ﴿٣٣﴾

. Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu.

Al-Anbya 21:89

وَزَكَرِيَّآ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ رَبِّ لَا تَذَرۡنِي فَرۡدٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡوَٰرِثِينَ ﴿٨٩﴾

. Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna.

Al-Anbya 21:90

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَوَهَبۡنَا لَهُۥ يَحۡيَىٰ وَأَصۡلَحۡنَا لَهُۥ زَوۡجَهُۥٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَيَدۡعُونَنَا رَغَبٗا وَرَهَبٗاۖ وَكَانُواْ لَنَا خَٰشِعِينَ ﴿٩٠﴾

. Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.

An-Nur 24:22

وَلَا يَأۡتَلِ أُوْلُواْ ٱلۡفَضۡلِ مِنكُمۡ وَٱلسَّعَةِ أَن يُؤۡتُوٓاْ أُوْلِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينَ وَٱلۡمُهَٰجِرِينَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ وَلۡيَعۡفُواْ وَلۡيَصۡفَحُوٓاْۗ أَلَا تُحِبُّونَ أَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٌ ﴿٢٢﴾

. Abeeyisa obulungi mu ddiini era abagaziyizibwa mu byenfuna tebalayiranga obutawa ab'oluganda olw'okumpi n'abanaku n'abaasenguka olw'okuweereza mu kkubo lya Katonda. Basaana basonyiwe era balekere, abaffe (mmwe) temwagala Katonda kubasonyiwa era nga bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.

Al-Furqan 25:74

وَٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا هَبۡ لَنَا مِنۡ أَزۡوَٰجِنَا وَذُرِّيَّـٰتِنَا قُرَّةَ أَعۡيُنٖ وَٱجۡعَلۡنَا لِلۡمُتَّقِينَ إِمَامًا ﴿٧٤﴾

. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya.

Al-Furqan 25:75

أُوْلَـٰٓئِكَ يُجۡزَوۡنَ ٱلۡغُرۡفَةَ بِمَا صَبَرُواْ وَيُلَقَّوۡنَ فِيهَا تَحِيَّةٗ وَسَلَٰمًا ﴿٧٥﴾

. Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu ba Malayika).

An-Naml 27:19

فَتَبَسَّمَ ضَاحِكٗا مِّن قَوۡلِهَا وَقَالَ رَبِّ أَوۡزِعۡنِيٓ أَنۡ أَشۡكُرَ نِعۡمَتَكَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَٰلِدَيَّ وَأَنۡ أَعۡمَلَ صَٰلِحٗا تَرۡضَىٰهُ وَأَدۡخِلۡنِي بِرَحۡمَتِكَ فِي عِبَادِكَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿١٩﴾

. Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, nyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengerabyo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi byosiima era ku lw'okusaasirakwo onnyingize mu baddubo abalongoofu.

Al-Qasas 28:9

وَقَالَتِ ٱمۡرَأَتُ فِرۡعَوۡنَ قُرَّتُ عَيۡنٖ لِّي وَلَكَۖ لَا تَقۡتُلُوهُ عَسَىٰٓ أَن يَنفَعَنَآ أَوۡ نَتَّخِذَهُۥ وَلَدٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿٩﴾

. Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera).

Al-Qasas 28:10

وَأَصۡبَحَ فُؤَادُ أُمِّ مُوسَىٰ فَٰرِغًاۖ إِن كَادَتۡ لَتُبۡدِي بِهِۦ لَوۡلَآ أَن رَّبَطۡنَا عَلَىٰ قَلۡبِهَا لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٠﴾

. Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza.

Al-Qasas 28:13

فَرَدَدۡنَٰهُ إِلَىٰٓ أُمِّهِۦ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَ وَلِتَعۡلَمَ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿١٣﴾

. Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

Emitwe