quranm◉

Emitwe · lg

481 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:21

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱعۡبُدُواْ رَبَّكُمُ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ ﴿٢١﴾

Abange (mmwe) abantu musinze omulezi wa mmwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala.

Al-Baqarah 2:22

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ فِرَٰشٗا وَٱلسَّمَآءَ بِنَآءٗ وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجَ بِهِۦ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ رِزۡقٗا لَّكُمۡۖ فَلَا تَجۡعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٢٢﴾

(Katonda) y'oyo eyabakolera e nsi nga kyaliiro n'abakolera e ggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, n'ameza nago e bibala bibeere eby'okulya bya mmwe. Kale nno Katonda temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi (nti ye yekka y'ateekwa okusinzibwa)

Al-Baqarah 2:23

وَإِن كُنتُمۡ فِي رَيۡبٖ مِّمَّا نَزَّلۡنَا عَلَىٰ عَبۡدِنَا فَأۡتُواْ بِسُورَةٖ مِّن مِّثۡلِهِۦ وَٱدۡعُواْ شُهَدَآءَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٢٣﴾

Naye bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu waffe (Nabbi Muhammad), kale muleeteeyo E ssuula emu efaananako nga Kur'ani, muyite abajulizi ba mmwe (bemulowooza nti bayinza okubayamba) nga ssi Katonda, bwe muba nga muli b'amazima.

Al-Baqarah 2:24

فَإِن لَّمۡ تَفۡعَلُواْ وَلَن تَفۡعَلُواْ فَٱتَّقُواْ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي وَقُودُهَا ٱلنَّاسُ وَٱلۡحِجَارَةُۖ أُعِدَّتۡ لِلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٤﴾

Bwe muba nga temukikoze, era nga temugenda kukikola, muteekwa mwerinde omuliro, nga enku zaagwo bantu n'amayinja, ogwategekerwa abawakanya amateeka ga Katonda.

Al-Baqarah 2:163

وَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلرَّحۡمَٰنُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٦٣﴾

Mazima Katonda wa mmwe ali omu, tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye omusaasizi omuyitirivu wokusaasira aliba n'okusaasira okwenjawulo (ku lunaku lw'enkomerero).

Al-Baqarah 2:164

إِنَّ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَٱلۡفُلۡكِ ٱلَّتِي تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِمَا يَنفَعُ ٱلنَّاسَ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن مَّآءٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَآبَّةٖ وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ وَٱلسَّحَابِ ٱلۡمُسَخَّرِ بَيۡنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿١٦٤﴾

Mazima mu kutonda eggulu ery'emiko omusanvu ne nsi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Katonda gassa okuva wa ggulu, n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okuba nga efudde, nassa mu nsi buli kiramu ekigiriko, n'okutambuza empewo era n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu ne nsi. (Ebyo byonna) bubonero obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe eri abantu abategeera.

Al-Baqarah 2:255

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُۚ لَا تَأۡخُذُهُۥ سِنَةٞ وَلَا نَوۡمٞۚ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ مَن ذَا ٱلَّذِي يَشۡفَعُ عِندَهُۥٓ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۖ وَلَا يُحِيطُونَ بِشَيۡءٖ مِّنۡ عِلۡمِهِۦٓ إِلَّا بِمَا شَآءَۚ وَسِعَ كُرۡسِيُّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۖ وَلَا يَـُٔودُهُۥ حِفۡظُهُمَاۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡعَظِيمُ ﴿٢٥٥﴾

Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu.

Ali 'Imran 3:2

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُ ﴿٢﴾

Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna.

Ali 'Imran 3:3

نَزَّلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَأَنزَلَ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ﴿٣﴾

Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili.

Ali 'Imran 3:4

مِن قَبۡلُ هُدٗى لِّلنَّاسِ وَأَنزَلَ ٱلۡفُرۡقَانَۗ إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٍ ﴿٤﴾

Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza.

Ali 'Imran 3:5

إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَخۡفَىٰ عَلَيۡهِ شَيۡءٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ ﴿٥﴾

Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu nsi ne mu ggulu.

Ali 'Imran 3:6

هُوَ ٱلَّذِي يُصَوِّرُكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ كَيۡفَ يَشَآءُۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٦﴾

Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

Ali 'Imran 3:26

قُلِ ٱللَّهُمَّ مَٰلِكَ ٱلۡمُلۡكِ تُؤۡتِي ٱلۡمُلۡكَ مَن تَشَآءُ وَتَنزِعُ ٱلۡمُلۡكَ مِمَّن تَشَآءُ وَتُعِزُّ مَن تَشَآءُ وَتُذِلُّ مَن تَشَآءُۖ بِيَدِكَ ٱلۡخَيۡرُۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٢٦﴾

(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu.

Ali 'Imran 3:27

تُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَتُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِۖ وَتُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَتُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّۖ وَتَرۡزُقُ مَن تَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿٢٧﴾

Oyingiza ekiro mu musana, nga bwoyingiza omusana mu kiro. Era ogya ekiramu mu kifu, nga bwogya ekifu mu kiramu era owa riziki oyo yenna gwoba oyagadde awatali kubalirira.

An-Nisa 4:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَخَلَقَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا وَبَثَّ مِنۡهُمَا رِجَالٗا كَثِيرٗا وَنِسَآءٗۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِي تَسَآءَلُونَ بِهِۦ وَٱلۡأَرۡحَامَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَيۡكُمۡ رَقِيبٗا ﴿١﴾

Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga agya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi nagyamu abasajja n’abakyala bangi, era mutye Katonda oyo gwemukozesa erinnya lye nga musaba, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abataddeko eriiso egyogi.

An-Nisa 4:131

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَلَقَدۡ وَصَّيۡنَا ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَإِيَّاكُمۡ أَنِ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ وَإِن تَكۡفُرُواْ فَإِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَنِيًّا حَمِيدٗا ﴿١٣١﴾

Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda, era mazima twalaamira abo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, nammwe netubalaamira nti mutye Katonda, wabula bwemugyema mazima ddala bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebiri mu nsi. Era bulijjo Katonda talina kyeyetaaga era atenderezebwa.

An-Nisa 4:132

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلًا ﴿١٣٢﴾

Era bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Era bulijo Katonda yaakola ku nsonga z’ebitonde byonna.

An-Nisa 4:133

إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ أَيُّهَا ٱلنَّاسُ وَيَأۡتِ بِـَٔاخَرِينَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ ذَٰلِكَ قَدِيرٗا ﴿١٣٣﴾

(Okukakasa ekyo) singa aba ayagadde asobola okubagyawo abange mmwe abantu naaleeta abalala, bulijjo Katonda kwekyo musobozi.

An-Nisa 4:134

مَّن كَانَ يُرِيدُ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا فَعِندَ ٱللَّهِ ثَوَابُ ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ سَمِيعَۢا بَصِيرٗا ﴿١٣٤﴾

Omuntu ayagala empeera y’okunsi, Katonda yaafuga empeera y’okunsi n'e yokunkomerero bulijjo Katonda awulira era alaba nnyo.

Al-An'am 6:1

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ ٱلظُّلُمَٰتِ وَٱلنُّورَۖ ثُمَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ يَعۡدِلُونَ ﴿١﴾

Ebitendo byonna e birungi bya Katonda oyo eyakola e ggulu omusanvu ne nsi n’assaawo e nzikiza ne kitangaala, wabula abo abagyemera Mukama omulabirizi waabwe bava ku mazima.

Al-An'am 6:2

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن طِينٖ ثُمَّ قَضَىٰٓ أَجَلٗاۖ وَأَجَلٞ مُّسَمًّى عِندَهُۥۖ ثُمَّ أَنتُمۡ تَمۡتَرُونَ ﴿٢﴾

Yye yooyo (Katonda) e yabatonda nga abajja mu ttaka, oluvanyuma naasalawo buli omu mu mmwe e bbanga lya naawangaala, ate nassaawo e bbanga e ddala e ggere e rimanyiddwa yye yekka, ensi lwerikoma. Ate oluvanyuma mmwe mubuusabuusa.

Al-An'am 6:3

وَهُوَ ٱللَّهُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ يَعۡلَمُ سِرَّكُمۡ وَجَهۡرَكُمۡ وَيَعۡلَمُ مَا تَكۡسِبُونَ ﴿٣﴾

Era yye, ye Katonda mu ggulu omusanvu ne nsi, amanya bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanya byonna bye mukola.

Al-An'am 6:4

وَمَا تَأۡتِيهِم مِّنۡ ءَايَةٖ مِّنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِمۡ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ ﴿٤﴾

Tewali kabonero konna kabajjira mu bubonero bwa Katonda okugyako bwonna babwawukanako.

Al-An'am 6:5

فَقَدۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَسَوۡفَ يَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَـٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿٥﴾

Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo e bituufu e bikwata kwebyo bye baajeejanga biri bajjira.

Al-An'am 6:12

قُل لِّمَن مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُل لِّلَّهِۚ كَتَبَ عَلَىٰ نَفۡسِهِ ٱلرَّحۡمَةَۚ لَيَجۡمَعَنَّكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِۚ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿١٢﴾

Gamba nti, byani e byo e biri mu ggulu omusanvu ne nsi (bwomala) gamba nti bya Katonda, yeekakasaako okusaasira era nga agenda kubakunganyiza ddala ku lunaku lw’enkomerero, tekiriimu kubuusabuusa (wabula) abo abafaafaganirwa e myoyo gyabwe tebagenda kukkiriza.

Al-An'am 6:13

۞وَلَهُۥ مَا سَكَنَ فِي ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿١٣﴾

Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo.

Al-An'am 6:59

۞وَعِندَهُۥ مَفَاتِحُ ٱلۡغَيۡبِ لَا يَعۡلَمُهَآ إِلَّا هُوَۚ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۚ وَمَا تَسۡقُطُ مِن وَرَقَةٍ إِلَّا يَعۡلَمُهَا وَلَا حَبَّةٖ فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡأَرۡضِ وَلَا رَطۡبٖ وَلَا يَابِسٍ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ ﴿٥٩﴾

Era yye y'alina e bisumuluzo bye by’ekusifu tewali abimanyi okugyako yye, era amanyi e biri ku lukalu ne mu nyanja, era tewali kikoola kigwa okugyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza bye ttaka wadde e kibisi oba e kikalu kyonna okugyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu.

Al-An'am 6:60

وَهُوَ ٱلَّذِي يَتَوَفَّىٰكُم بِٱلَّيۡلِ وَيَعۡلَمُ مَا جَرَحۡتُم بِٱلنَّهَارِ ثُمَّ يَبۡعَثُكُمۡ فِيهِ لِيُقۡضَىٰٓ أَجَلٞ مُّسَمّٗىۖ ثُمَّ إِلَيۡهِ مَرۡجِعُكُمۡ ثُمَّ يُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٦٠﴾

Era yye yooyo abeebasa e kiro (nemuba nga abafudde) era amanyi bye mwakoze e misana, ate oluvanyuma abazza e ngulu nga bukedde (ne kifanana nga abazuukizza okuva mu kufa,) ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvanyuma gyali yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno abategeeza byonna bye mwakolanga.

Al-An'am 6:61

وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۖ وَيُرۡسِلُ عَلَيۡكُمۡ حَفَظَةً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ تَوَفَّتۡهُ رُسُلُنَا وَهُمۡ لَا يُفَرِّطُونَ ﴿٦١﴾

Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa.

Al-An'am 6:62

ثُمَّ رُدُّوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ مَوۡلَىٰهُمُ ٱلۡحَقِّۚ أَلَا لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَهُوَ أَسۡرَعُ ٱلۡحَٰسِبِينَ ﴿٦٢﴾

Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Katonda Mukama waabwe owanamaddala, mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna.

Al-An'am 6:73

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۖ وَيَوۡمَ يَقُولُ كُن فَيَكُونُۚ قَوۡلُهُ ٱلۡحَقُّۚ وَلَهُ ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿٧٣﴾

Era yye yooyo, eyakola e ggulu omusanvu n'ensi nga byebyo bye nnyini, era obufuzi buliba bubwe olunaku e ngombe lwelifuyibwa, omumanyi w’ebyekusifu n'ebirabikako, era yye ye mugoba nsonga, omumanyi ennyo.

Al-An'am 6:95

۞إِنَّ ٱللَّهَ فَالِقُ ٱلۡحَبِّ وَٱلنَّوَىٰۖ يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَمُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتِ مِنَ ٱلۡحَيِّۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ ﴿٩٥﴾

Mazima Katonda y’ayasa e mpeke n’omuwula (ameza e bimera) aggya e kiramu mu kifu era yagya e kifu mu kiramu oyo nno ye Katonda wa mmwe. Ate muwugulwa mutya.

Al-An'am 6:96

فَالِقُ ٱلۡإِصۡبَاحِ وَجَعَلَ ٱلَّيۡلَ سَكَنٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ حُسۡبَانٗاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿٩٦﴾

(Era ye yooyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka e misana, e kiro naakifuula e kiwummulo e njuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera e nkola gye yabiteerawo, okwo kwekusalawo kwa nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.

Al-An'am 6:97

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلنُّجُومَ لِتَهۡتَدُواْ بِهَا فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٩٧﴾

Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi.

Al-An'am 6:98

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ فَمُسۡتَقَرّٞ وَمُسۡتَوۡدَعٞۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَفۡقَهُونَ ﴿٩٨﴾

Era ye yooyo eyabakola nga abaggya mu muntu omu, nga musinziira mu nnabaana wa ba maama ba mmwe, era nga musinziira mu migongo gya bataata, tunnyonnyodde e bigambo (olunnyonnyola olumala) eri abantu abategeera.

Al-An'am 6:99

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦ نَبَاتَ كُلِّ شَيۡءٖ فَأَخۡرَجۡنَا مِنۡهُ خَضِرٗا نُّخۡرِجُ مِنۡهُ حَبّٗا مُّتَرَاكِبٗا وَمِنَ ٱلنَّخۡلِ مِن طَلۡعِهَا قِنۡوَانٞ دَانِيَةٞ وَجَنَّـٰتٖ مِّنۡ أَعۡنَابٖ وَٱلزَّيۡتُونَ وَٱلرُّمَّانَ مُشۡتَبِهٗا وَغَيۡرَ مُتَشَٰبِهٍۗ ٱنظُرُوٓاْ إِلَىٰ ثَمَرِهِۦٓ إِذَآ أَثۡمَرَ وَيَنۡعِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكُمۡ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿٩٩﴾

Era yye yooyo atonnyesa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, netumeza nago e bimera bya buli kintu, ne tuggya mu byo e bya kiragala, nga tuggya mu byo e mpeke ezeeweese ku zinnaazo, ne mu mitende ne mubaamu egirina e birimba e bireebeeta, n’ennimiro ez’emizabibu n’e za zaitun ne nkomamawanga, e bifaanagana n'ebitafaanagana, tunuulira e bibala bya byo bwebiba bissizza n'okwengera kwabyo mazima ddala mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza.

Al-An'am 6:100

وَجَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ ٱلۡجِنَّ وَخَلَقَهُمۡۖ وَخَرَقُواْ لَهُۥ بَنِينَ وَبَنَٰتِۭ بِغَيۡرِ عِلۡمٖۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿١٠٠﴾

Bateeka ku Katonda ababeezi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate nebamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina wekiva, Katonda asukkulumye era yeesambye ku ebyo bye bamutemerera.

Al-An'am 6:101

بَدِيعُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُۥ وَلَدٞ وَلَمۡ تَكُن لَّهُۥ صَٰحِبَةٞۖ وَخَلَقَ كُلَّ شَيۡءٖۖ وَهُوَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿١٠١﴾

(Yye Katonda) ye w’eggulu n’ensi nga tewali kyarabirako, ayinza atya okubeera n’omwana ate nga talina mukyala! era nga ye yatonda buli kintu era nga yye (Katonda) ku buli kintu mumanyi.

Al-An'am 6:102

ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖ فَٱعۡبُدُوهُۚ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ وَكِيلٞ ﴿١٠٢﴾

Oyo nno ye Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okugyako yye yekka, omutonzi wa buli kintu, kale nno ggwe mubamusinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu.

Al-An'am 6:103

لَّا تُدۡرِكُهُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَهُوَ يُدۡرِكُ ٱلۡأَبۡصَٰرَۖ وَهُوَ ٱللَّطِيفُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿١٠٣﴾

Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate ye agalaba n’amalayo e bintu byonna, anti ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka.

Al-An'am 6:104

قَدۡ جَآءَكُم بَصَآئِرُ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَنۡ أَبۡصَرَ فَلِنَفۡسِهِۦۖ وَمَنۡ عَمِيَ فَعَلَيۡهَاۚ وَمَآ أَنَا۠ عَلَيۡكُم بِحَفِيظٖ ﴿١٠٤﴾

Mazima obujulizi bubajjidde nga buva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, omuntu anaalaba anaaba ye yambye yekka, ate oyo anaaziba amaaso akabi k’ekyo kadda ku ye. Nze siri wa kuddaawo kubalunda.

Al-A'raf 7:54

إِنَّ رَبَّكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ يُغۡشِي ٱلَّيۡلَ ٱلنَّهَارَ يَطۡلُبُهُۥ حَثِيثٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ وَٱلنُّجُومَ مُسَخَّرَٰتِۭ بِأَمۡرِهِۦٓۗ أَلَا لَهُ ٱلۡخَلۡقُ وَٱلۡأَمۡرُۗ تَبَارَكَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٥٤﴾

Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe Katonda, yooyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi mu nnaku mukaaga, olwo nno naatuula ku Arish, e kiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda e njuba n’omwezi ne munyenye nga byonna bitambulira ku kiragiro kye, abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde.

Al-A'raf 7:55

ٱدۡعُواْ رَبَّكُمۡ تَضَرُّعٗا وَخُفۡيَةًۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُعۡتَدِينَ ﴿٥٥﴾

(kale nno) musabe Mukama omulabirizi wa mmwe nga muli bakkakkamu ( mu lwatu) ne mu kyama, anti mazima yye tayagala basukka nsalo.

Al-A'raf 7:56

وَلَا تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ بَعۡدَ إِصۡلَٰحِهَا وَٱدۡعُوهُ خَوۡفٗا وَطَمَعًاۚ إِنَّ رَحۡمَتَ ٱللَّهِ قَرِيبٞ مِّنَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٥٦﴾

Era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugirongoosa, era Katonda mumusabenga olw'okutya e bibonerezobye, oba olw'okululunkanira e birungi bye, anti mazima okusaasira kwa Katonda kuba kumpi n’abalongoosa (e mirimu gyabwe).

Al-A'raf 7:57

وَهُوَ ٱلَّذِي يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦۖ حَتَّىٰٓ إِذَآ أَقَلَّتۡ سَحَابٗا ثِقَالٗا سُقۡنَٰهُ لِبَلَدٖ مَّيِّتٖ فَأَنزَلۡنَا بِهِ ٱلۡمَآءَ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦ مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِۚ كَذَٰلِكَ نُخۡرِجُ ٱلۡمَوۡتَىٰ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ ﴿٥٧﴾

Era Katonda yooyo asindika e mpewo, nga zireeta amawulire agessanyu okuva mu kusaasirakwe, olwo nno bwezisindika e bire e bizito, e birimu amazzi tubiweereza eri e kitundu e kikalu, ne tukitonnyesaamu e nkuba, olwo nno netumeza nayo e bimera, era bwe tutyo nno naabafu bwetugenda okubazuukiza,mulyoke mwebuulirire (nakyo).

Yunus 10:3

إِنَّ رَبَّكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَۖ مَا مِن شَفِيعٍ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ إِذۡنِهِۦۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ ﴿٣﴾

Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe ye Katonda oyo eyatonda e ggulu (omusanvu) n'ensi mu nnaku mukaaga bwe yamala naatereera ku Arish nga atambuza buli kimu, tewali agenda kwetantala kuwolereza okugyako nga Katonda amaze okukkiriza. Oyo nno mwe, ye Katonda, omulabirizi wa mmwe. Kale nno mumusinze, abaffe temwebuulirira.

Yunus 10:4

إِلَيۡهِ مَرۡجِعُكُمۡ جَمِيعٗاۖ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقًّاۚ إِنَّهُۥ يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ لِيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ بِٱلۡقِسۡطِۚ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ شَرَابٞ مِّنۡ حَمِيمٖ وَعَذَابٌ أَلِيمُۢ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿٤﴾

Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Katonda, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu ate abo abakaafuwala bagenda kuweebwa e byokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko e bibonerezo e biruma olw'ebyo bye baawakanyanga.

Yunus 10:5

هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ ٱلشَّمۡسَ ضِيَآءٗ وَٱلۡقَمَرَ نُورٗا وَقَدَّرَهُۥ مَنَازِلَ لِتَعۡلَمُواْ عَدَدَ ٱلسِّنِينَ وَٱلۡحِسَابَۚ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ ذَٰلِكَ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ يُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٥﴾

(Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera e bifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Katonda teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Katonda annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi.

Yunus 10:6

إِنَّ فِي ٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَمَا خَلَقَ ٱللَّهُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَّقُونَ ﴿٦﴾

Mazima okwawukana kw'ekiro n'emisana n'ebyo Katonda bye yatonda mu ggulu omusanvu n'ensi ddala mulimu obubonero eri abantu abatya Katonda (obubayamba okutegeera e kitiibwa n'obuyinza bwa Katonda).

Emitwe