Al-Baqarah 2:30وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنِّي جَاعِلٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ خَلِيفَةٗۖ قَالُوٓاْ أَتَجۡعَلُ فِيهَا مَن يُفۡسِدُ فِيهَا وَيَسۡفِكُ ٱلدِّمَآءَ وَنَحۡنُ نُسَبِّحُ بِحَمۡدِكَ وَنُقَدِّسُ لَكَۖ قَالَ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٣٠﴾
Jjukira Mukama (Katonda) wo bwe yagamba ba malayika nti mazima nja kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, ng'ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! Katonda (naddamu) n’abagamba nti nze mmanyi ebyo byemutamanyi.
Al-Baqarah 2:205وَإِذَا تَوَلَّىٰ سَعَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ لِيُفۡسِدَ فِيهَا وَيُهۡلِكَ ٱلۡحَرۡثَ وَٱلنَّسۡلَۚ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَسَادَ ﴿٢٠٥﴾
Bw'ava awo assa amaanyi mu kusaasanya obwonoonefu mu nsi, era n'azikiriza ebirime n'ebisolo, ngate Katonda tayagala bwonoonefu.
Al-Baqarah 2:220فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۗ وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡيَتَٰمَىٰۖ قُلۡ إِصۡلَاحٞ لَّهُمۡ خَيۡرٞۖ وَإِن تُخَالِطُوهُمۡ فَإِخۡوَٰنُكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ ٱلۡمُفۡسِدَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَأَعۡنَتَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٢٠﴾
(Musobole okutegeera) ebikwata ku bulamu buno obw'okunsi n'obwoluvanyuma. Era bakubuuza ku bikwata ku bamulekwa, bagambe nti okubakolera ebyabwe nga byetongoredde kirungi, naye singa mubigatta n'ebyammwe anti baganda ba mmwe, era Katonda amanyi omwonoonyi n'omukozi w'obulungi. Singa Katonda yayagala yandibakaluubirizza. Mazima Katonda wa maanyi wa magezi.
Al-Baqarah 2:221وَلَا تَنكِحُواْ ٱلۡمُشۡرِكَٰتِ حَتَّىٰ يُؤۡمِنَّۚ وَلَأَمَةٞ مُّؤۡمِنَةٌ خَيۡرٞ مِّن مُّشۡرِكَةٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَتۡكُمۡۗ وَلَا تُنكِحُواْ ٱلۡمُشۡرِكِينَ حَتَّىٰ يُؤۡمِنُواْۚ وَلَعَبۡدٞ مُّؤۡمِنٌ خَيۡرٞ مِّن مُّشۡرِكٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَكُمۡۗ أُوْلَـٰٓئِكَ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلنَّارِۖ وَٱللَّهُ يَدۡعُوٓاْ إِلَى ٱلۡجَنَّةِ وَٱلۡمَغۡفِرَةِ بِإِذۡنِهِۦۖ وَيُبَيِّنُ ءَايَٰتِهِۦ لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ ﴿٢٢١﴾
Temuwasanga abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe bakkiriza. Omuzaana omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. Era temufumbizanga bawala ba mmwe eri abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe basiramuka. Omuddu omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. (Mumbeera zaabwe zonna) bakoowoola abantu nga babazza eri omuliro, so nga ate Katonda abakoowoola kubazza eri jjana n'ekisonyiwo okusinziira ku kwagala kwe, era annyonnyola abantu ebigambo bye balyoke basobole okwekuba mu kifuba.
Al-Baqarah 2:222وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡمَحِيضِۖ قُلۡ هُوَ أَذٗى فَٱعۡتَزِلُواْ ٱلنِّسَآءَ فِي ٱلۡمَحِيضِ وَلَا تَقۡرَبُوهُنَّ حَتَّىٰ يَطۡهُرۡنَۖ فَإِذَا تَطَهَّرۡنَ فَأۡتُوهُنَّ مِنۡ حَيۡثُ أَمَرَكُمُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلتَّوَّـٰبِينَ وَيُحِبُّ ٱلۡمُتَطَهِّرِينَ ﴿٢٢٢﴾
Era bakubuuza ebikwata ku kusuulumba, bagambe nti kyo kyabulabe, kale nno mwesambe abakyala nga bali mu kusuulumba, era temubasemberera okutuusa lwe batukula, olwo nno bwe beetukuza mugende gye bali nga muyita mu kkubo eryo Katonda lye yabalagira. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abeenenya era nga bw'ayagala abeetukuza.
Al-Baqarah 2:268ٱلشَّيۡطَٰنُ يَعِدُكُمُ ٱلۡفَقۡرَ وَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ وَٱللَّهُ يَعِدُكُم مَّغۡفِرَةٗ مِّنۡهُ وَفَضۡلٗاۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿٢٦٨﴾
Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo.
Al-Baqarah 2:275ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ ٱلرِّبَوٰاْ لَا يَقُومُونَ إِلَّا كَمَا يَقُومُ ٱلَّذِي يَتَخَبَّطُهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مِنَ ٱلۡمَسِّۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡبَيۡعُ مِثۡلُ ٱلرِّبَوٰاْۗ وَأَحَلَّ ٱللَّهُ ٱلۡبَيۡعَ وَحَرَّمَ ٱلرِّبَوٰاْۚ فَمَن جَآءَهُۥ مَوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ فَٱنتَهَىٰ فَلَهُۥ مَا سَلَفَ وَأَمۡرُهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِۖ وَمَنۡ عَادَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢٧٥﴾
Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu.
Ali 'Imran 3:14زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ﴿١٤﴾
Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.
Ali 'Imran 3:119هَـٰٓأَنتُمۡ أُوْلَآءِ تُحِبُّونَهُمۡ وَلَا يُحِبُّونَكُمۡ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱلۡكِتَٰبِ كُلِّهِۦ وَإِذَا لَقُوكُمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ عَضُّواْ عَلَيۡكُمُ ٱلۡأَنَامِلَ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۚ قُلۡ مُوتُواْ بِغَيۡظِكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿١١٩﴾
(Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
Ali 'Imran 3:135وَٱلَّذِينَ إِذَا فَعَلُواْ فَٰحِشَةً أَوۡ ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ ذَكَرُواْ ٱللَّهَ فَٱسۡتَغۡفَرُواْ لِذُنُوبِهِمۡ وَمَن يَغۡفِرُ ٱلذُّنُوبَ إِلَّا ٱللَّهُ وَلَمۡ يُصِرُّواْ عَلَىٰ مَا فَعَلُواْ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿١٣٥﴾
Era abo bwebaba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Katonda nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okugyako Katonda! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu.
Ali 'Imran 3:197مَتَٰعٞ قَلِيلٞ ثُمَّ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿١٩٧﴾
Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvanyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era obwo buddo bubi.
An-Nisa 4:15وَٱلَّـٰتِي يَأۡتِينَ ٱلۡفَٰحِشَةَ مِن نِّسَآئِكُمۡ فَٱسۡتَشۡهِدُواْ عَلَيۡهِنَّ أَرۡبَعَةٗ مِّنكُمۡۖ فَإِن شَهِدُواْ فَأَمۡسِكُوهُنَّ فِي ٱلۡبُيُوتِ حَتَّىٰ يَتَوَفَّىٰهُنَّ ٱلۡمَوۡتُ أَوۡ يَجۡعَلَ ٱللَّهُ لَهُنَّ سَبِيلٗا ﴿١٥﴾
Naabo abakyala ba mmwe ababa bakoze eby’obwenzi mubateekeko abajulizi bana (4) nga bava mu mmwe, bwebabawaako obujulizi olwonno abakyala abo mubasibire mu mayumba okutuusa okufa lwekulibatuukako, oba Katonda naabateerawo enkola endala.
An-Nisa 4:16وَٱلَّذَانِ يَأۡتِيَٰنِهَا مِنكُمۡ فَـَٔاذُوهُمَاۖ فَإِن تَابَا وَأَصۡلَحَا فَأَعۡرِضُواْ عَنۡهُمَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ تَوَّابٗا رَّحِيمًا ﴿١٦﴾
Naabo bombi mu mmwe ababa bakikoze mubabonerezenga, naye bwebeenenya nebeeyisa obulungi mubaleke, mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi.
An-Nisa 4:22وَلَا تَنكِحُواْ مَا نَكَحَ ءَابَآؤُكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ إِلَّا مَا قَدۡ سَلَفَۚ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَمَقۡتٗا وَسَآءَ سَبِيلًا ﴿٢٢﴾
Temuwasanga abakyala ba kitammwe bebaawasa, okugyako ebyo byemwakola emabega (nga temunnamanya tteeka lino) mazima ekikolwa ekyo kya buwemu, ekisunguwaza Katonda, era nga nkola mbi.
An-Nisa 4:77أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ قِيلَ لَهُمۡ كُفُّوٓاْ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ فَلَمَّا كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقِتَالُ إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ يَخۡشَوۡنَ ٱلنَّاسَ كَخَشۡيَةِ ٱللَّهِ أَوۡ أَشَدَّ خَشۡيَةٗۚ وَقَالُواْ رَبَّنَا لِمَ كَتَبۡتَ عَلَيۡنَا ٱلۡقِتَالَ لَوۡلَآ أَخَّرۡتَنَآ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖۗ قُلۡ مَتَٰعُ ٱلدُّنۡيَا قَلِيلٞ وَٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لِّمَنِ ٱتَّقَىٰ وَلَا تُظۡلَمُونَ فَتِيلًا ﴿٧٧﴾
Tolaba abo abaagambwa nti mulekere awo okulwana, era muyimirizeewo e sswala, era mutoole e Zakka, naye ate bwe baalagirwa okulwana, wagenda okulaba ng’abamu mu bo batya abantu, nga balinga abatya Katonda. Si nakindi n’okusingawo, nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe lwaki otulaaliseeko okulwana, singa otulindirizzaako okumala akaseera katono, gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) nti ebyokweyagala kwensi byabutaliimu, era enkomerero yenungi eri atya Katonda, era nga temugenda kulyazamanyizibwa wadde omuwula gwe ntende.
Al-Ma'idah 5:33إِنَّمَا جَزَـٰٓؤُاْ ٱلَّذِينَ يُحَارِبُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَسۡعَوۡنَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَسَادًا أَن يُقَتَّلُوٓاْ أَوۡ يُصَلَّبُوٓاْ أَوۡ تُقَطَّعَ أَيۡدِيهِمۡ وَأَرۡجُلُهُم مِّنۡ خِلَٰفٍ أَوۡ يُنفَوۡاْ مِنَ ٱلۡأَرۡضِۚ ذَٰلِكَ لَهُمۡ خِزۡيٞ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٌ ﴿٣٣﴾
Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali.
Al-Ma'idah 5:41۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلرَّسُولُ لَا يَحۡزُنكَ ٱلَّذِينَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡكُفۡرِ مِنَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِأَفۡوَٰهِهِمۡ وَلَمۡ تُؤۡمِن قُلُوبُهُمۡۛ وَمِنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْۛ سَمَّـٰعُونَ لِلۡكَذِبِ سَمَّـٰعُونَ لِقَوۡمٍ ءَاخَرِينَ لَمۡ يَأۡتُوكَۖ يُحَرِّفُونَ ٱلۡكَلِمَ مِنۢ بَعۡدِ مَوَاضِعِهِۦۖ يَقُولُونَ إِنۡ أُوتِيتُمۡ هَٰذَا فَخُذُوهُ وَإِن لَّمۡ تُؤۡتَوۡهُ فَٱحۡذَرُواْۚ وَمَن يُرِدِ ٱللَّهُ فِتۡنَتَهُۥ فَلَن تَمۡلِكَ لَهُۥ مِنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَمۡ يُرِدِ ٱللَّهُ أَن يُطَهِّرَ قُلُوبَهُمۡۚ لَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٞ ﴿٤١﴾
Owange ggwe omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo abagamba n'emimwa gyaabwe nti tukkirizza so nga e mitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza e bigambo byobulimba, era abawuliriza kulwa bantu abalala ababa tebazze mu nkungaanazo nebakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwemuweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Katonda gwaba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Katonda, abo beebo Katonda baatayagala kutukuza mitima gyaabwe, obuswaavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kussibwaako ebibonerezo ebikambwe.
Al-Ma'idah 5:95يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَقۡتُلُواْ ٱلصَّيۡدَ وَأَنتُمۡ حُرُمٞۚ وَمَن قَتَلَهُۥ مِنكُم مُّتَعَمِّدٗا فَجَزَآءٞ مِّثۡلُ مَا قَتَلَ مِنَ ٱلنَّعَمِ يَحۡكُمُ بِهِۦ ذَوَا عَدۡلٖ مِّنكُمۡ هَدۡيَۢا بَٰلِغَ ٱلۡكَعۡبَةِ أَوۡ كَفَّـٰرَةٞ طَعَامُ مَسَٰكِينَ أَوۡ عَدۡلُ ذَٰلِكَ صِيَامٗا لِّيَذُوقَ وَبَالَ أَمۡرِهِۦۗ عَفَا ٱللَّهُ عَمَّا سَلَفَۚ وَمَنۡ عَادَ فَيَنتَقِمُ ٱللَّهُ مِنۡهُۚ وَٱللَّهُ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٍ ﴿٩٥﴾
Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gwaba asazeewo okubonereza.
An-Nisa 4:25وَمَن لَّمۡ يَسۡتَطِعۡ مِنكُمۡ طَوۡلًا أَن يَنكِحَ ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ فَمِن مَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُم مِّن فَتَيَٰتِكُمُ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۚ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِإِيمَٰنِكُمۚ بَعۡضُكُم مِّنۢ بَعۡضٖۚ فَٱنكِحُوهُنَّ بِإِذۡنِ أَهۡلِهِنَّ وَءَاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِ مُحۡصَنَٰتٍ غَيۡرَ مُسَٰفِحَٰتٖ وَلَا مُتَّخِذَٰتِ أَخۡدَانٖۚ فَإِذَآ أُحۡصِنَّ فَإِنۡ أَتَيۡنَ بِفَٰحِشَةٖ فَعَلَيۡهِنَّ نِصۡفُ مَا عَلَى ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ مِنَ ٱلۡعَذَابِۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَشِيَ ٱلۡعَنَتَ مِنكُمۡۚ وَأَن تَصۡبِرُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡۗ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٢٥﴾
Nooyo aba talina mu mmwe busobozi okuba nga awasa abaana baboobwe abakkiriza, awase mwabo emikono gyammwe begyaafuna nga eminyago mu bawala ba mmwe abakkiriza, Katonda amanyidde ddala obukkiriza bwa mmwe, mwenna abamu bava mu bannaabwe. Wabula mubawase kasita bakama baabwe bakkiriza era mubawe Amahare gaabwe mu buntu bulamu, bateekeddwa okuba abensa nga si bamalaaya wadde ab'eteerawo baganzi baabwe, bwebaba bafumbiddwa ate nebayingira mu bwenzi, mubasseeko kitundu kya kibonerezo, ekiweebwa abakyala abaana ba'boobwe. Ekyo nno (ekyokubawasa) kyoyo aba atidde mu mmwe okugwa mu kibi kyobwenzi, naye singa muba musobodde okugumiikiriza ekyo kyekisinga obulungi gyemuli, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
Al-An'am 6:151۞قُلۡ تَعَالَوۡاْ أَتۡلُ مَا حَرَّمَ رَبُّكُمۡ عَلَيۡكُمۡۖ أَلَّا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗاۖ وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُم مِّنۡ إِمۡلَٰقٖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكُمۡ وَإِيَّاهُمۡۖ وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلۡفَوَٰحِشَ مَا ظَهَرَ مِنۡهَا وَمَا بَطَنَۖ وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿١٥١﴾
Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera.
Al-A'raf 7:27يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ لَا يَفۡتِنَنَّكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ كَمَآ أَخۡرَجَ أَبَوَيۡكُم مِّنَ ٱلۡجَنَّةِ يَنزِعُ عَنۡهُمَا لِبَاسَهُمَا لِيُرِيَهُمَا سَوۡءَٰتِهِمَآۚ إِنَّهُۥ يَرَىٰكُمۡ هُوَ وَقَبِيلُهُۥ مِنۡ حَيۡثُ لَا تَرَوۡنَهُمۡۗ إِنَّا جَعَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ أَوۡلِيَآءَ لِلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٢٧﴾
Abange mmwe abaana ba Adam, Sitane tababuzaabuzanga, nga bweyajja bakadde ba mmwe mu jjana n'aba nga abajjako e byambalo bya bwe olwo nno abenga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitane) ne banne babalaba mmwe wemutabalabira, anti twafuula zi Sitane okuba mikwano ffa nfe eri abo abatakkiriza.
Al-A'raf 7:28وَإِذَا فَعَلُواْ فَٰحِشَةٗ قَالُواْ وَجَدۡنَا عَلَيۡهَآ ءَابَآءَنَا وَٱللَّهُ أَمَرَنَا بِهَاۗ قُلۡ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَأۡمُرُ بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ أَتَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٢٨﴾
Bwe baba bakoze e kyobuwemu bagamba nti twasanga bakadde baffe bwe bakola, era nga Katonda ye yakitulagira, gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima Katonda talagira bya buwemu, mutuuka okwogera ku Katonda e byo bye mutamanyi!
Al-A'raf 7:33قُلۡ إِنَّمَا حَرَّمَ رَبِّيَ ٱلۡفَوَٰحِشَ مَا ظَهَرَ مِنۡهَا وَمَا بَطَنَ وَٱلۡإِثۡمَ وَٱلۡبَغۡيَ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَأَن تُشۡرِكُواْ بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗا وَأَن تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٣٣﴾
Gamba ggwe Muhammad nti Mukama omulabirizi wange yaziza e by'obuwemu eby'olwaatu n’ebyenkiso era yaziza obwonoonyi n’okulumbagana abantu awatali nsonga ntuufu, era naaziza okuba nga mugatta ku Katonda e bintu e birala e kintu kyatassaako bujulizi era naaziza okuba nga mwogera ku Katonda bye mutamanyi.
Al-A'raf 7:46وَبَيۡنَهُمَا حِجَابٞۚ وَعَلَى ٱلۡأَعۡرَافِ رِجَالٞ يَعۡرِفُونَ كُلَّۢا بِسِيمَىٰهُمۡۚ وَنَادَوۡاْ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ أَن سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡۚ لَمۡ يَدۡخُلُوهَا وَهُمۡ يَطۡمَعُونَ ﴿٤٦﴾
Era wakati w’a bantu b’o mu muliro n’a bo mu jjana wagenda kubaawo e kikomera, nga waggulu ku kikomera waliyo abasajja abaawula buli muntu okusinziira ku bulambebwe, (abantu abo) balikoowoola abantu b’o mu jjana, nebabagamba nti e mirembe gibeere ku mmwe, anti (abalibeera mu kifo e kyo), baliba tebannayingira jjana era nga amaddu gabatta.
Al-A'raf 7:102وَمَا وَجَدۡنَا لِأَكۡثَرِهِم مِّنۡ عَهۡدٖۖ وَإِن وَجَدۡنَآ أَكۡثَرَهُمۡ لَفَٰسِقِينَ ﴿١٠٢﴾
Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi.
Yunus 10:70مَتَٰعٞ فِي ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ ٱلۡعَذَابَ ٱلشَّدِيدَ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿٧٠﴾
Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga.
Hud 11:43قَالَ سَـَٔاوِيٓ إِلَىٰ جَبَلٖ يَعۡصِمُنِي مِنَ ٱلۡمَآءِۚ قَالَ لَا عَاصِمَ ٱلۡيَوۡمَ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِ إِلَّا مَن رَّحِمَۚ وَحَالَ بَيۡنَهُمَا ٱلۡمَوۡجُ فَكَانَ مِنَ ٱلۡمُغۡرَقِينَ ﴿٤٣﴾
(Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo.
Hud 11:64وَيَٰقَوۡمِ هَٰذِهِۦ نَاقَةُ ٱللَّهِ لَكُمۡ ءَايَةٗۖ فَذَرُوهَا تَأۡكُلۡ فِيٓ أَرۡضِ ٱللَّهِۖ وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوٓءٖ فَيَأۡخُذَكُمۡ عَذَابٞ قَرِيبٞ ﴿٦٤﴾
Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu.
Hud 11:78وَجَآءَهُۥ قَوۡمُهُۥ يُهۡرَعُونَ إِلَيۡهِ وَمِن قَبۡلُ كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ هَـٰٓؤُلَآءِ بَنَاتِي هُنَّ أَطۡهَرُ لَكُمۡۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَلَا تُخۡزُونِ فِي ضَيۡفِيٓۖ أَلَيۡسَ مِنكُمۡ رَجُلٞ رَّشِيدٞ ﴿٧٨﴾
Abantube nebajja gyali nga banguwa naye nga okusooka baali bakola ebibi (Luutu) naagamba nti abange bantu bange bawala bange baabo be balungi gye muli, mutye Katonda temunswaza eri abagenyi bange, abaffe mu mmwe temuli musajja mulungamu!.
Yusuf 12:23وَرَٰوَدَتۡهُ ٱلَّتِي هُوَ فِي بَيۡتِهَا عَن نَّفۡسِهِۦ وَغَلَّقَتِ ٱلۡأَبۡوَٰبَ وَقَالَتۡ هَيۡتَ لَكَۚ قَالَ مَعَاذَ ٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ رَبِّيٓ أَحۡسَنَ مَثۡوَايَۖ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿٢٣﴾
(Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Katonda”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.
Yusuf 12:24وَلَقَدۡ هَمَّتۡ بِهِۦۖ وَهَمَّ بِهَا لَوۡلَآ أَن رَّءَا بُرۡهَٰنَ رَبِّهِۦۚ كَذَٰلِكَ لِنَصۡرِفَ عَنۡهُ ٱلسُّوٓءَ وَٱلۡفَحۡشَآءَۚ إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُخۡلَصِينَ ﴿٢٤﴾
Mazima (omukyala) yamwegomba ne (Yusuf) namwegomba (omukyala), naye singa (Yusuf) teyalaba kabonero ka Mukama omulabiriziwe (yandigudde mu nsobi) twakola bwe tutyo tube nga tumuwugulako obwonoonefu n'obuwemu, anti mazima ye wa mu baddu baffe abasengejje.
Yusuf 12:25وَٱسۡتَبَقَا ٱلۡبَابَ وَقَدَّتۡ قَمِيصَهُۥ مِن دُبُرٖ وَأَلۡفَيَا سَيِّدَهَا لَدَا ٱلۡبَابِۚ قَالَتۡ مَا جَزَآءُ مَنۡ أَرَادَ بِأَهۡلِكَ سُوٓءًا إِلَّآ أَن يُسۡجَنَ أَوۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٢٥﴾
Nebagobagana nga badda ku mulyango, (mu mbeera eyo) omukyala naayuza ekyambalo (kya Yusuf) emabega, nebasanga bba (w'omukyala) ku mulyango, omukyala naagamba nti kibonerezo ki ekisaanira okuweebwa omuntu ayagala okukola ku mukyalawo ekivve,okugyako okuba nga asibwa oba okumussaako e kibonerezo ekiruma?.
Yusuf 12:26قَالَ هِيَ رَٰوَدَتۡنِي عَن نَّفۡسِيۚ وَشَهِدَ شَاهِدٞ مِّنۡ أَهۡلِهَآ إِن كَانَ قَمِيصُهُۥ قُدَّ مِن قُبُلٖ فَصَدَقَتۡ وَهُوَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿٢٦﴾
(Yusuf) naagamba nti ye yanneegwanyizza, omu ku bantu bo mu nyumba y'omukyala naawa obujulizi nti ekyambalokye (Yusuf) bwe kiba kiyuziddwa mu maaso gaakyo, omukyala yaanaaba ayogedde amazima ate yye (Yusuf (naaba ow'omu balimba.
Yusuf 12:27وَإِن كَانَ قَمِيصُهُۥ قُدَّ مِن دُبُرٖ فَكَذَبَتۡ وَهُوَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿٢٧﴾
Naye ekyambalokye (Yusuf) bwe kinaaba nga kiyuziddwa mabega (omukyala) anaaba alimbye, olwo nno ye naabeera mu ba mazima.
Yusuf 12:28فَلَمَّا رَءَا قَمِيصَهُۥ قُدَّ مِن دُبُرٖ قَالَ إِنَّهُۥ مِن كَيۡدِكُنَّۖ إِنَّ كَيۡدَكُنَّ عَظِيمٞ ﴿٢٨﴾
(Olwo bba w'omukyala) bwe yamala okulaba ekyambalokye nga kiyuziddwa mabega kwe kugamba nti “ezo nkwe zammwe (mwe abakyala) anti mazima bulijjo enkwe za mmwe za kabi nnyo.
Yusuf 12:29يُوسُفُ أَعۡرِضۡ عَنۡ هَٰذَاۚ وَٱسۡتَغۡفِرِي لِذَنۢبِكِۖ إِنَّكِ كُنتِ مِنَ ٱلۡخَاطِـِٔينَ ﴿٢٩﴾
Gwe (Yusuf) bino biveeko (tobinyega) ate ggwe weetonde olw'ekibikyo, mazima ddala ggwe obadde mu basobya.
Yusuf 12:30۞وَقَالَ نِسۡوَةٞ فِي ٱلۡمَدِينَةِ ٱمۡرَأَتُ ٱلۡعَزِيزِ تُرَٰوِدُ فَتَىٰهَا عَن نَّفۡسِهِۦۖ قَدۡ شَغَفَهَا حُبًّاۖ إِنَّا لَنَرَىٰهَا فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿٣٠﴾
Abakyala bo mu kibuga nebagamba nti Muka omukulu yeegwanyizza omuweerezaawe! mazima okwagala kumumazeemu, mazima ffe ye tumulaba nga ali mu bubuze obweyolefu.
Yusuf 12:31فَلَمَّا سَمِعَتۡ بِمَكۡرِهِنَّ أَرۡسَلَتۡ إِلَيۡهِنَّ وَأَعۡتَدَتۡ لَهُنَّ مُتَّكَـٔٗا وَءَاتَتۡ كُلَّ وَٰحِدَةٖ مِّنۡهُنَّ سِكِّينٗا وَقَالَتِ ٱخۡرُجۡ عَلَيۡهِنَّۖ فَلَمَّا رَأَيۡنَهُۥٓ أَكۡبَرۡنَهُۥ وَقَطَّعۡنَ أَيۡدِيَهُنَّ وَقُلۡنَ حَٰشَ لِلَّهِ مَا هَٰذَا بَشَرًا إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا مَلَكٞ كَرِيمٞ ﴿٣١﴾
Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa.
Yusuf 12:32قَالَتۡ فَذَٰلِكُنَّ ٱلَّذِي لُمۡتُنَّنِي فِيهِۖ وَلَقَدۡ رَٰوَدتُّهُۥ عَن نَّفۡسِهِۦ فَٱسۡتَعۡصَمَۖ وَلَئِن لَّمۡ يَفۡعَلۡ مَآ ءَامُرُهُۥ لَيُسۡجَنَنَّ وَلَيَكُونٗا مِّنَ ٱلصَّـٰغِرِينَ ﴿٣٢﴾
Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa.
Yusuf 12:33قَالَ رَبِّ ٱلسِّجۡنُ أَحَبُّ إِلَيَّ مِمَّا يَدۡعُونَنِيٓ إِلَيۡهِۖ وَإِلَّا تَصۡرِفۡ عَنِّي كَيۡدَهُنَّ أَصۡبُ إِلَيۡهِنَّ وَأَكُن مِّنَ ٱلۡجَٰهِلِينَ ﴿٣٣﴾
(Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera.
Yusuf 12:34فَٱسۡتَجَابَ لَهُۥ رَبُّهُۥ فَصَرَفَ عَنۡهُ كَيۡدَهُنَّۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٣٤﴾
Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo.
Yusuf 12:50وَقَالَ ٱلۡمَلِكُ ٱئۡتُونِي بِهِۦۖ فَلَمَّا جَآءَهُ ٱلرَّسُولُ قَالَ ٱرۡجِعۡ إِلَىٰ رَبِّكَ فَسۡـَٔلۡهُ مَا بَالُ ٱلنِّسۡوَةِ ٱلَّـٰتِي قَطَّعۡنَ أَيۡدِيَهُنَّۚ إِنَّ رَبِّي بِكَيۡدِهِنَّ عَلِيمٞ ﴿٥٠﴾
Kabaka naagamba nti: mumundeetere, gwebaatuma bwe yamala okumutuukako (Yusuf) naagamba nti ddayo ewa Mukamaawo omubuuze ebikwata ku bakyala abo abeesala engalo, mazima Mukama omulabirizi wange amanyidde ddala ebikwata ku nkwe zaabwe.
Yusuf 12:51قَالَ مَا خَطۡبُكُنَّ إِذۡ رَٰوَدتُّنَّ يُوسُفَ عَن نَّفۡسِهِۦۚ قُلۡنَ حَٰشَ لِلَّهِ مَا عَلِمۡنَا عَلَيۡهِ مِن سُوٓءٖۚ قَالَتِ ٱمۡرَأَتُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡـَٰٔنَ حَصۡحَصَ ٱلۡحَقُّ أَنَا۠ رَٰوَدتُّهُۥ عَن نَّفۡسِهِۦ وَإِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿٥١﴾
(Kabaka) yagamba (abakyala abo nti) kiki ekyabatuusa kukwegwanyiza Yusuf, nebagamba nti amazima ga Katonda tetumumanyangako kibi kyonna, muka omukulu naagamba nti kaakati amazima geeyolese nze namwegwanyiza era mazima yye wa mu bantu aboogera amazima.
Yusuf 12:52ذَٰلِكَ لِيَعۡلَمَ أَنِّي لَمۡ أَخُنۡهُ بِٱلۡغَيۡبِ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي كَيۡدَ ٱلۡخَآئِنِينَ ﴿٥٢﴾
(Yusuf naagamba nti ekyo kyali bwekiti Kabaka) asobole okumanya nti nze sigezangako kumukumpanya nga taliiwo, bulijjo Katonda talungamya nkwe za bakumpanya.
Yusuf 12:53۞وَمَآ أُبَرِّئُ نَفۡسِيٓۚ إِنَّ ٱلنَّفۡسَ لَأَمَّارَةُۢ بِٱلسُّوٓءِ إِلَّا مَا رَحِمَ رَبِّيٓۚ إِنَّ رَبِّي غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٥٣﴾
Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.
Ibrahim 14:30وَجَعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلُّواْ عَن سَبِيلِهِۦۗ قُلۡ تَمَتَّعُواْ فَإِنَّ مَصِيرَكُمۡ إِلَى ٱلنَّارِ ﴿٣٠﴾
Nebateeka ku Katonda ebisinzibwa ebirala babe nga babuza abantu okubaggya ku kkubolye, bagambe nti mweyagale, mazima ddala obuddo bwa mmwe buli mu muliro.
Al-Hijr 15:17وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ ﴿١٧﴾
Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.
An-Nahl 16:90۞إِنَّ ٱللَّهَ يَأۡمُرُ بِٱلۡعَدۡلِ وَٱلۡإِحۡسَٰنِ وَإِيتَآيِٕ ذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَيَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِ وَٱلۡبَغۡيِۚ يَعِظُكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ ﴿٩٠﴾
Mazima Katonda alagira obwenkanya, n'okuyisa, obulungi n'okugabira ab'oluganda olw'okumpi. Era aziza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuUlirira mube nga mujjukira.
Al-Isra 17:16وَإِذَآ أَرَدۡنَآ أَن نُّهۡلِكَ قَرۡيَةً أَمَرۡنَا مُتۡرَفِيهَا فَفَسَقُواْ فِيهَا فَحَقَّ عَلَيۡهَا ٱلۡقَوۡلُ فَدَمَّرۡنَٰهَا تَدۡمِيرٗا ﴿١٦﴾
. Bwetuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate nebeeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) nekikikakata, olwo nno netukisesebbula olusesebbula.
Al-Isra 17:32وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلزِّنَىٰٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَسَآءَ سَبِيلٗا ﴿٣٢﴾
. Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kya buwemu era kkubo bbi.