quranm◉

Emitwe · lg

60 Aya · Emitwe · lg

Al-Anfal 8:53

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ لَمۡ يَكُ مُغَيِّرٗا نِّعۡمَةً أَنۡعَمَهَا عَلَىٰ قَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿٥٣﴾

Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo.

Hud 11:10

وَلَئِنۡ أَذَقۡنَٰهُ نَعۡمَآءَ بَعۡدَ ضَرَّآءَ مَسَّتۡهُ لَيَقُولَنَّ ذَهَبَ ٱلسَّيِّـَٔاتُ عَنِّيٓۚ إِنَّهُۥ لَفَرِحٞ فَخُورٌ ﴿١٠﴾

Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga.

Ibrahim 14:34

وَءَاتَىٰكُم مِّن كُلِّ مَا سَأَلۡتُمُوهُۚ وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَظَلُومٞ كَفَّارٞ ﴿٣٤﴾

Era naabawa ekyo kyonna kye mumusaba, singa mugezaako okubala ebyengera bya Katonda temuyinza kubimalayo, anti mazima bulijjo omuntu yeeyisa bubi, yeewakana ebyengera.

An-Nahl 16:18

وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٨﴾

Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

An-Nahl 16:53

وَمَا بِكُم مِّن نِّعۡمَةٖ فَمِنَ ٱللَّهِۖ ثُمَّ إِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فَإِلَيۡهِ تَجۡـَٔرُونَ ﴿٥٣﴾

Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa.

An-Nahl 16:54

ثُمَّ إِذَا كَشَفَ ٱلضُّرَّ عَنكُمۡ إِذَا فَرِيقٞ مِّنكُم بِرَبِّهِمۡ يُشۡرِكُونَ ﴿٥٤﴾

Ate bwabajjako obuzibu ogenda okulaba nga ekitundu ku mmwe bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe.

Al-Isra 17:83

وَإِذَآ أَنۡعَمۡنَا عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ أَعۡرَضَ وَنَـَٔا بِجَانِبِهِۦ وَإِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ كَانَ يَـُٔوسٗا ﴿٨٣﴾

. Bwetuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako neyeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako akutuka n'okusuubira.

Al-Isra 17:84

قُلۡ كُلّٞ يَعۡمَلُ عَلَىٰ شَاكِلَتِهِۦ فَرَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَنۡ هُوَ أَهۡدَىٰ سَبِيلٗا ﴿٨٤﴾

. Bagambe nti buli omu akolere ku ngeriye, Mukama omulabirizi wa mmwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddungamu.

Sad 38:41

وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَآ أَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِنُصۡبٖ وَعَذَابٍ ﴿٤١﴾

Era jjukira omuddu waffe Ayub bwe yakoowoola Mukama omulabirizi we (naagamba nti) mazima nze Sitane andeEtedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye).

Sad 38:42

ٱرۡكُضۡ بِرِجۡلِكَۖ هَٰذَا مُغۡتَسَلُۢ بَارِدٞ وَشَرَابٞ ﴿٤٢﴾

(Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa).

Sad 38:43

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنَّا وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٤٣﴾

Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi.

Sad 38:44

وَخُذۡ بِيَدِكَ ضِغۡثٗا فَٱضۡرِب بِّهِۦ وَلَا تَحۡنَثۡۗ إِنَّا وَجَدۡنَٰهُ صَابِرٗاۚ نِّعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٞ ﴿٤٤﴾

Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda.

Az-Zumar 39:8

۞وَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ضُرّٞ دَعَا رَبَّهُۥ مُنِيبًا إِلَيۡهِ ثُمَّ إِذَا خَوَّلَهُۥ نِعۡمَةٗ مِّنۡهُ نَسِيَ مَا كَانَ يَدۡعُوٓاْ إِلَيۡهِ مِن قَبۡلُ وَجَعَلَ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلَّ عَن سَبِيلِهِۦۚ قُلۡ تَمَتَّعۡ بِكُفۡرِكَ قَلِيلًا إِنَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلنَّارِ ﴿٨﴾

Akabi bwe katuuka ku muntu asaba Mukama omulabiriziwe ng'amwenenyeza, oluvanyuma bwamuwa ekyengera kyonna okuva gyali, nga yeerabira oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno nassa ku Katonda abasinzibwa abalala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku kkubo lye (Katonda). Gamba nti weeyagale katono n'obukaafiiri bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu bo mu muliro.

Az-Zumar 39:49

فَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ضُرّٞ دَعَانَا ثُمَّ إِذَا خَوَّلۡنَٰهُ نِعۡمَةٗ مِّنَّا قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمِۭۚ بَلۡ هِيَ فِتۡنَةٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٤٩﴾

Omuntu bwatuukibwako akabi olwo nno nga atusaba oluvanyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva gye tuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.

Fussilat 41:49

لَّا يَسۡـَٔمُ ٱلۡإِنسَٰنُ مِن دُعَآءِ ٱلۡخَيۡرِ وَإِن مَّسَّهُ ٱلشَّرُّ فَيَـُٔوسٞ قَنُوطٞ ﴿٤٩﴾

Omuntu takoowa kusaba (okufuna) obulungi naye akabi bwe kamutuukako aggwamu essuubi naakutuka n'okusuubira.

Fussilat 41:50

وَلَئِنۡ أَذَقۡنَٰهُ رَحۡمَةٗ مِّنَّا مِنۢ بَعۡدِ ضَرَّآءَ مَسَّتۡهُ لَيَقُولَنَّ هَٰذَا لِي وَمَآ أَظُنُّ ٱلسَّاعَةَ قَآئِمَةٗ وَلَئِن رُّجِعۡتُ إِلَىٰ رَبِّيٓ إِنَّ لِي عِندَهُۥ لَلۡحُسۡنَىٰۚ فَلَنُنَبِّئَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِمَا عَمِلُواْ وَلَنُذِيقَنَّهُم مِّنۡ عَذَابٍ غَلِيظٖ ﴿٥٠﴾

Naye bwetumukombya ku kusaasira okuva gye tuli oluvanyuma lwakabi akaba kamutuseeko, ddala agamba nti kino nkifunye lwa kukola kwange era ssirowooza nti olunaku lw'enkomerero lulibaawo (naye) ne bwendizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange, mazima nze ndiba nina okufuna ebirungi waali, kale nno ddala tugenda kutegeeza abo abakafuwala, ebyo bye baakola era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebizito ennyo.

Fussilat 41:51

وَإِذَآ أَنۡعَمۡنَا عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ أَعۡرَضَ وَنَـَٔا بِجَانِبِهِۦ وَإِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ فَذُو دُعَآءٍ عَرِيضٖ ﴿٥١﴾

Bwetugabira omuntu ebyengera awuguka (naava ku ddiini) nadda ku bbali (nga takyayagala kubeera na bantu balala) olwokwekuza naye akabi bwe kamutuukako (olwo adda eri Katonda) era n'aba nga asaba okusaba okutakoma.

Al-Qalam 68:48

فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ ٱلۡحُوتِ إِذۡ نَادَىٰ وَهُوَ مَكۡظُومٞ ﴿٤٨﴾

Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu.

Al-Qalam 68:49

لَّوۡلَآ أَن تَدَٰرَكَهُۥ نِعۡمَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ لَنُبِذَ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ مَذۡمُومٞ ﴿٤٩﴾

Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa.

Al-Qalam 68:50

فَٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَجَعَلَهُۥ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٥٠﴾

Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu.

Al-Fajr 89:15

فَأَمَّا ٱلۡإِنسَٰنُ إِذَا مَا ٱبۡتَلَىٰهُ رَبُّهُۥ فَأَكۡرَمَهُۥ وَنَعَّمَهُۥ فَيَقُولُ رَبِّيٓ أَكۡرَمَنِ ﴿١٥﴾

Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira e birungi, omuntu oyo agamba nti Katonda wange ampadde.

Al-Fajr 89:16

وَأَمَّآ إِذَا مَا ٱبۡتَلَىٰهُ فَقَدَرَ عَلَيۡهِ رِزۡقَهُۥ فَيَقُولُ رَبِّيٓ أَهَٰنَنِ ﴿١٦﴾

Ku ludda olulala bw'aba amugezesezza n'amufundiza ebyenfunaye agamba nti omulezi wange (Katonda) anzikakkanyiza.

Al-Anbya 21:83

۞وَأَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلضُّرُّ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٨٣﴾

. Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.

Al-Anbya 21:84

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَكَشَفۡنَا مَا بِهِۦ مِن ضُرّٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰبِدِينَ ﴿٨٤﴾

. Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).

Al-Anbya 21:85

وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِدۡرِيسَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ كُلّٞ مِّنَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿٨٥﴾

. Era (jjukira) Ismail ne Idrisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza.

Al-Anbya 21:86

وَأَدۡخَلۡنَٰهُمۡ فِي رَحۡمَتِنَآۖ إِنَّهُم مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٨٦﴾

. Era twabayingiza mu kusaasira kwaffe mazima bo ba mu balongoofu.

Al-Anbya 21:87

وَذَا ٱلنُّونِ إِذ ذَّهَبَ مُغَٰضِبٗا فَظَنَّ أَن لَّن نَّقۡدِرَ عَلَيۡهِ فَنَادَىٰ فِي ٱلظُّلُمَٰتِ أَن لَّآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنتَ سُبۡحَٰنَكَ إِنِّي كُنتُ مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٨٧﴾

. Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi.

Al-Anbya 21:88

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡغَمِّۚ وَكَذَٰلِكَ نُـۨجِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٨٨﴾

. Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza.

Al-Anbya 21:89

وَزَكَرِيَّآ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ رَبِّ لَا تَذَرۡنِي فَرۡدٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡوَٰرِثِينَ ﴿٨٩﴾

. Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna.

Al-Anbya 21:90

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَوَهَبۡنَا لَهُۥ يَحۡيَىٰ وَأَصۡلَحۡنَا لَهُۥ زَوۡجَهُۥٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَيَدۡعُونَنَا رَغَبٗا وَرَهَبٗاۖ وَكَانُواْ لَنَا خَٰشِعِينَ ﴿٩٠﴾

. Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.

Al-Anbya 21:91

وَٱلَّتِيٓ أَحۡصَنَتۡ فَرۡجَهَا فَنَفَخۡنَا فِيهَا مِن رُّوحِنَا وَجَعَلۡنَٰهَا وَٱبۡنَهَآ ءَايَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿٩١﴾

. Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna.

Al-Anbya 21:92

إِنَّ هَٰذِهِۦٓ أُمَّتُكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَأَنَا۠ رَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُونِ ﴿٩٢﴾

. Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale munsinze.

Az-Zumar 39:36

أَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِكَافٍ عَبۡدَهُۥۖ وَيُخَوِّفُونَكَ بِٱلَّذِينَ مِن دُونِهِۦۚ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٖ ﴿٣٦﴾

Abaffe Katonda tamala muddu we, balyoke batuuke okukutiisatiisa n'abo abatali yye, oyo yenna Katonda gwabuza tagenda kufuna mulungamya.

Az-Zumar 39:37

وَمَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِن مُّضِلٍّۗ أَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِعَزِيزٖ ذِي ٱنتِقَامٖ ﴿٣٧﴾

Oyo yenna Katonda gwalungamya tabaako amubuza, abaffe Katonda ssi ye nantakubwa ku mukono asobola okubonereza abo (abeeyisa obubi mu baddube).

Az-Zumar 39:38

وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلۡ أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ إِنۡ أَرَادَنِيَ ٱللَّهُ بِضُرٍّ هَلۡ هُنَّ كَٰشِفَٰتُ ضُرِّهِۦٓ أَوۡ أَرَادَنِي بِرَحۡمَةٍ هَلۡ هُنَّ مُمۡسِكَٰتُ رَحۡمَتِهِۦۚ قُلۡ حَسۡبِيَ ٱللَّهُۖ عَلَيۡهِ يَتَوَكَّلُ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿٣٨﴾

Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe (mmwe) mulaba nti ebyo bye musaba nemuleka Katonda singa Katonda aba anjagalizza akabi byo bisobola okugyawo akabiike, oba singa aba anjagalizza kusaasira (kirungi) abaffe byo bisobola okuziyiza okusaasira kwe, gamba nti Katonda ammala (era bulijjo) abaagala ow'okwesiga ye yekka gwe beesiga.

Al-Baqarah 2:153

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿١٥٣﴾

Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza.

Al-Baqarah 2:154

وَلَا تَقُولُواْ لِمَن يُقۡتَلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتُۢۚ بَلۡ أَحۡيَآءٞ وَلَٰكِن لَّا تَشۡعُرُونَ ﴿١٥٤﴾

Era temwogeranga kwabo abattibwa mu kkubo lya Katonda mbu bafu. Go amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe).

Al-Baqarah 2:155

وَلَنَبۡلُوَنَّكُم بِشَيۡءٖ مِّنَ ٱلۡخَوۡفِ وَٱلۡجُوعِ وَنَقۡصٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَنفُسِ وَٱلثَّمَرَٰتِۗ وَبَشِّرِ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿١٥٥﴾

Era ddala tujja kubagezesa, mu bintu nga okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kwa bantu, n'okukendeera kwe bibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza.

Al-Baqarah 2:156

ٱلَّذِينَ إِذَآ أَصَٰبَتۡهُم مُّصِيبَةٞ قَالُوٓاْ إِنَّا لِلَّهِ وَإِنَّآ إِلَيۡهِ رَٰجِعُونَ ﴿١٥٦﴾

Abo b'ebo bwe baba nga batuukiddwako obuzibu bwonna bagamba (nti) mazima ffe twava eri Katonda era ddala tuli bakudda gy'ali.

Al-Baqarah 2:157

أُوْلَـٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ صَلَوَٰتٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَرَحۡمَةٞۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُهۡتَدُونَ ﴿١٥٧﴾

Abo nno balina okusonyiyibwa n'okusaasirwa okuva eri mukama Katonda waabwe, era abo be baluŋŋamu.

Al-Baqarah 2:186

وَإِذَا سَأَلَكَ عِبَادِي عَنِّي فَإِنِّي قَرِيبٌۖ أُجِيبُ دَعۡوَةَ ٱلدَّاعِ إِذَا دَعَانِۖ فَلۡيَسۡتَجِيبُواْ لِي وَلۡيُؤۡمِنُواْ بِي لَعَلَّهُمۡ يَرۡشُدُونَ ﴿١٨٦﴾

Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera ebiragiro byange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu.

Al-An'am 6:17

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يَمۡسَسۡكَ بِخَيۡرٖ فَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٧﴾

Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu.

Yunus 10:12

وَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ٱلضُّرُّ دَعَانَا لِجَنۢبِهِۦٓ أَوۡ قَاعِدًا أَوۡ قَآئِمٗا فَلَمَّا كَشَفۡنَا عَنۡهُ ضُرَّهُۥ مَرَّ كَأَن لَّمۡ يَدۡعُنَآ إِلَىٰ ضُرّٖ مَّسَّهُۥۚ كَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِلۡمُسۡرِفِينَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٢﴾

Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola.

Yunus 10:107

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يُرِدۡكَ بِخَيۡرٖ فَلَا رَآدَّ لِفَضۡلِهِۦۚ يُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٠٧﴾

Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala.

An-Naml 27:62

أَمَّن يُجِيبُ ٱلۡمُضۡطَرَّ إِذَا دَعَاهُ وَيَكۡشِفُ ٱلسُّوٓءَ وَيَجۡعَلُكُمۡ خُلَفَآءَ ٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ ﴿٦٢﴾

. Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bwaba amusabye, era naggyawo akabi, era naabafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! mujjukira kitono.

Ali 'Imran 3:146

وَكَأَيِّن مِّن نَّبِيّٖ قَٰتَلَ مَعَهُۥ رِبِّيُّونَ كَثِيرٞ فَمَا وَهَنُواْ لِمَآ أَصَابَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَمَا ضَعُفُواْ وَمَا ٱسۡتَكَانُواْۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿١٤٦﴾

Ba Nabbi bangi, ebibinja bya bagoberezi baabwe bingi byabanga nabo mu kulwana, tebaaterebukanga olw'ebizibu ebyabatuukangako mu kulwana mu kkubo lya Katonda tebanafuwa wadde okwewaayo eri omulabe bulijjo Katonda ayagala abagumiikiriza.

Ali 'Imran 3:166

وَمَآ أَصَٰبَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ فَبِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَلِيَعۡلَمَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٦٦﴾

N’ekyo ekyabatuukako olunaku ebibinja ebibiri lwebyasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima.

Al-Hajj 22:34

وَلِكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكٗا لِّيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۗ فَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَلَهُۥٓ أَسۡلِمُواْۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُخۡبِتِينَ ﴿٣٤﴾

. Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku linnya lya Katonda olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, yye Katonda wa mmwe ali Katonda omu, yye gwe muba mu siramuka ku lulwe, era sanyusa (ggwe Muhammad) abo abatebenkedde (ku kusinza Katonda.)

Al-Hajj 22:35

ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَٱلصَّـٰبِرِينَ عَلَىٰ مَآ أَصَابَهُمۡ وَٱلۡمُقِيمِي ٱلصَّلَوٰةِ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿٣٥﴾

. (Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira.

Ar-Rum 30:36

وَإِذَآ أَذَقۡنَا ٱلنَّاسَ رَحۡمَةٗ فَرِحُواْ بِهَاۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ إِذَا هُمۡ يَقۡنَطُونَ ﴿٣٦﴾

. Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira kwaffe basanyuka nakwo, bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ogenda okulaba nga bakutuka n'okusuubira (okusaasira kwa) Katonda.

Emitwe