quranm◉

Emitwe · lg

72 Aya · Emitwe · lg

Al-Ma'idah 5:52

فَتَرَى ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ يُسَٰرِعُونَ فِيهِمۡ يَقُولُونَ نَخۡشَىٰٓ أَن تُصِيبَنَا دَآئِرَةٞۚ فَعَسَى ٱللَّهُ أَن يَأۡتِيَ بِٱلۡفَتۡحِ أَوۡ أَمۡرٖ مِّنۡ عِندِهِۦ فَيُصۡبِحُواْ عَلَىٰ مَآ أَسَرُّواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ نَٰدِمِينَ ﴿٥٢﴾

Ojja kulaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga babeeyunira nga bagamba nti (ekitukozesa kino) tutya okuba nga tutuukibwako ekitutuusaako obuzibu, naye lumu Katonda agenda kuleeta obuwanguzi oba ekintu kyonna okuva gyali, balikeesa enkya nga bejjusa olwebyo bye baakweeka mu mitima gyabwe.

Al-A'raf 7:89

قَدِ ٱفۡتَرَيۡنَا عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا إِنۡ عُدۡنَا فِي مِلَّتِكُم بَعۡدَ إِذۡ نَجَّىٰنَا ٱللَّهُ مِنۡهَاۚ وَمَا يَكُونُ لَنَآ أَن نَّعُودَ فِيهَآ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّنَاۚ وَسِعَ رَبُّنَا كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمًاۚ عَلَى ٱللَّهِ تَوَكَّلۡنَاۚ رَبَّنَا ٱفۡتَحۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَ قَوۡمِنَا بِٱلۡحَقِّ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡفَٰتِحِينَ ﴿٨٩﴾

(Ne tumala tukikola) mazima tunaaba tugunjizza ku Katonda e bigambo e byobulimba singa tudda mu ddiini ya mmwe, oluvanyuma lwa Katonda okugituwonya, era tewali nsonga egituddisaamu, beppo nga Mukama omulabirizi waffe yaayagadde, Mukama omulabirizi waffe okumanyakwe kubuna buli kintu, ku Katonda kwe twekutte, ayi Mukama omulabirizi waffe salawo wakati waffe n’abantu baffe mu mazima, anti ggwe osinga abasalawo bonna.

Al-Anfal 8:19

إِن تَسۡتَفۡتِحُواْ فَقَدۡ جَآءَكُمُ ٱلۡفَتۡحُۖ وَإِن تَنتَهُواْ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۖ وَإِن تَعُودُواْ نَعُدۡ وَلَن تُغۡنِيَ عَنكُمۡ فِئَتُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَوۡ كَثُرَتۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٩﴾

(Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza.

Ash-Shu'ara 26:116

قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰنُوحُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمَرۡجُومِينَ ﴿١١٦﴾

. Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja.

Ash-Shu'ara 26:117

قَالَ رَبِّ إِنَّ قَوۡمِي كَذَّبُونِ ﴿١١٧﴾

. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza.

Ash-Shu'ara 26:118

فَٱفۡتَحۡ بَيۡنِي وَبَيۡنَهُمۡ فَتۡحٗا وَنَجِّنِي وَمَن مَّعِيَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١١٨﴾

. Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo.

As-Sajdah 32:28

وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡفَتۡحُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٢٨﴾

. Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima?.

As-Sajdah 32:29

قُلۡ يَوۡمَ ٱلۡفَتۡحِ لَا يَنفَعُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِيمَٰنُهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿٢٩﴾

. Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa.

Saba 34:26

قُلۡ يَجۡمَعُ بَيۡنَنَا رَبُّنَا ثُمَّ يَفۡتَحُ بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَهُوَ ٱلۡفَتَّاحُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٢٦﴾

. Bagambe nti Mukama omulabirizi waffe agenda ku tukungaanya oluvanyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti yye ye mutaawuluza asinga, omumanyi ennyo.

Fatir 35:2

مَّا يَفۡتَحِ ٱللَّهُ لِلنَّاسِ مِن رَّحۡمَةٖ فَلَا مُمۡسِكَ لَهَاۖ وَمَا يُمۡسِكۡ فَلَا مُرۡسِلَ لَهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٢﴾

. Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

Al-Fath 48:1

إِنَّا فَتَحۡنَا لَكَ فَتۡحٗا مُّبِينٗا ﴿١﴾

Mazima ffe tukugguliddewo oluggulawo olweyolefu.

Al-Fath 48:2

لِّيَغۡفِرَ لَكَ ٱللَّهُ مَا تَقَدَّمَ مِن ذَنۢبِكَ وَمَا تَأَخَّرَ وَيُتِمَّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكَ وَيَهۡدِيَكَ صِرَٰطٗا مُّسۡتَقِيمٗا ﴿٢﴾

Katonda alyoke akusonyiwe ebyonoono byo ebyakulembera, n'ebyo ebyoluvanyuma, era ajjuze ekyengera kye kye yakuwa, era akulungamye mu kkubo eggolokofu.

Al-Fath 48:3

وَيَنصُرَكَ ٱللَّهُ نَصۡرًا عَزِيزًا ﴿٣﴾

Era akutaase olutaasa olwa nnamaddala.

Al-Fath 48:4

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ ٱلسَّكِينَةَ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِيمَٰنٗا مَّعَ إِيمَٰنِهِمۡۗ وَلِلَّهِ جُنُودُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿٤﴾

Yye yooyo eyassa obutebenkevu mu mitima gya bakkiriza babe nga beyongera obukkiriza ku bukkiriza bwabwe (obwasooka), amagye go mu ggulu omusanvu ne nsi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

Al-Fath 48:18

۞لَّقَدۡ رَضِيَ ٱللَّهُ عَنِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذۡ يُبَايِعُونَكَ تَحۡتَ ٱلشَّجَرَةِ فَعَلِمَ مَا فِي قُلُوبِهِمۡ فَأَنزَلَ ٱلسَّكِينَةَ عَلَيۡهِمۡ وَأَثَٰبَهُمۡ فَتۡحٗا قَرِيبٗا ﴿١٨﴾

Katonda yasiima abakkiriza bwe baalangirira obuwagizi bwabwe gyoli (bwe mwali) wansi wo muti olwo nno yamanya ebiri mu mitima gya bwe kwe kussa obutebenkevu ku bo, era nabasasula n'abawa obuwanguzi obwali okumpi.

Al-Fath 48:27

لَّقَدۡ صَدَقَ ٱللَّهُ رَسُولَهُ ٱلرُّءۡيَا بِٱلۡحَقِّۖ لَتَدۡخُلُنَّ ٱلۡمَسۡجِدَ ٱلۡحَرَامَ إِن شَآءَ ٱللَّهُ ءَامِنِينَ مُحَلِّقِينَ رُءُوسَكُمۡ وَمُقَصِّرِينَ لَا تَخَافُونَۖ فَعَلِمَ مَا لَمۡ تَعۡلَمُواْ فَجَعَلَ مِن دُونِ ذَٰلِكَ فَتۡحٗا قَرِيبًا ﴿٢٧﴾

Mazima Katonda yatuukiririza omubaka we endooto gye yamulaga eya mazima (bwe yaloota nti) ddala mujja kuyingira omuzikiti ogwemizizo Katonda bwaliba ayagadde. (muliguyingira) nga muli mirembe, nga mumwedde emitwe gya mmwe, nga (abalala) mukendezezzaako bukendeeza nga temutya. (Yamanya kye mutaamanya), nateekawo obuwanguzi obwokumpi (nga ekyo tekinnabaawo, bwe mwakola endagaano ye Hudaibiyah).

Al-Qamar 54:9

۞كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ فَكَذَّبُواْ عَبۡدَنَا وَقَالُواْ مَجۡنُونٞ وَٱزۡدُجِرَ ﴿٩﴾

Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa.

Al-Qamar 54:10

فَدَعَا رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَغۡلُوبٞ فَٱنتَصِرۡ ﴿١٠﴾

Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nemerdeddwa n’olwekyo nziruukirira.

Al-Qamar 54:11

فَفَتَحۡنَآ أَبۡوَٰبَ ٱلسَّمَآءِ بِمَآءٖ مُّنۡهَمِرٖ ﴿١١﴾

Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka.

As-Saf 61:9

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ رَسُولَهُۥ بِٱلۡهُدَىٰ وَدِينِ ٱلۡحَقِّ لِيُظۡهِرَهُۥ عَلَى ٱلدِّينِ كُلِّهِۦ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُشۡرِكُونَ ﴿٩﴾

Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala.

As-Saf 61:10

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ تِجَٰرَةٖ تُنجِيكُم مِّنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿١٠﴾

Abange mmwe abakkiriza mwandyagadde mbalagirire ebyettunzi ebiribawonya e bibonerezo ebiruma.

As-Saf 61:11

تُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَتُجَٰهِدُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ بِأَمۡوَٰلِكُمۡ وَأَنفُسِكُمۡۚ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿١١﴾

(Nabyo) muteekwa okukkiriza Katonda n'omubakawe, ne mulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, nga muwaayo emmaali yammwe, nga nammwe mwennyini mwenyigiramu. Ekyo nno kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi.

As-Saf 61:12

يَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡ وَيُدۡخِلۡكُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ وَمَسَٰكِنَ طَيِّبَةٗ فِي جَنَّـٰتِ عَدۡنٖۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿١٢﴾

(Anti bwe mukola ebyo) Katonda ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, abayingize e jjana ezikulukutiramu emigga era mugenda kufuna obutuulo obulungi mu jjana ez'olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusuffu.

As-Saf 61:13

وَأُخۡرَىٰ تُحِبُّونَهَاۖ نَصۡرٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَتۡحٞ قَرِيبٞۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٣﴾

Era mufune n'ekirala nga nakyo mukyagala, nakyo kwe kutaasa kwa Katonda n'obuwanguzi obwamangu. Era sanyusa abakkiriza (nti byonna bagenda kubifuna).

An-Nasr 110:1

إِذَا جَآءَ نَصۡرُ ٱللَّهِ وَٱلۡفَتۡحُ ﴿١﴾

Okutaasa kwa Katonda n’obuwanguzi bwe bijjanga;

An-Nasr 110:2

وَرَأَيۡتَ ٱلنَّاسَ يَدۡخُلُونَ فِي دِينِ ٱللَّهِ أَفۡوَاجٗا ﴿٢﴾

N’olaba abantu nga bayingira e ddiini ya Katonda mu bibinja;

An-Nasr 110:3

فَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ وَٱسۡتَغۡفِرۡهُۚ إِنَّهُۥ كَانَ تَوَّابَۢا ﴿٣﴾

Otenderezanga Mukama Katondawo n’ebitendobye, era omwetondere, mazima yye akkiriza okwenenya.

Al-Baqarah 2:48

وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا لَّا تَجۡزِي نَفۡسٌ عَن نَّفۡسٖ شَيۡـٔٗا وَلَا يُقۡبَلُ مِنۡهَا شَفَٰعَةٞ وَلَا يُؤۡخَذُ مِنۡهَا عَدۡلٞ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ ﴿٤٨﴾

Era mutye olunaku omuntu lwataligasa muntu mulala mu kintu kyonna, era lwatalikkirizibwa kuwolereza wadde okuwa e nnunuzi. Era abantu abo ssi bakutaasibwa.

Al-Baqarah 2:214

أَمۡ حَسِبۡتُمۡ أَن تَدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ وَلَمَّا يَأۡتِكُم مَّثَلُ ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلِكُمۖ مَّسَّتۡهُمُ ٱلۡبَأۡسَآءُ وَٱلضَّرَّآءُ وَزُلۡزِلُواْ حَتَّىٰ يَقُولَ ٱلرَّسُولُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ مَتَىٰ نَصۡرُ ٱللَّهِۗ أَلَآ إِنَّ نَصۡرَ ٱللَّهِ قَرِيبٞ ﴿٢١٤﴾

Oba musuubira okuyingira e jjana nga temutuukiddwako ebyo ebyatuuka ku baabakulembera! Baatuukibwako ebizibu n'okubonaabona, era nebakankanyizibwa okutuusa omubaka n'abakkiriza abaali awamu naye nebagamba nti Katonda atutaasa ddi? Naye, okutaasa kwa Katonda kuba kumpi.

Al-Baqarah 2:250

وَلَمَّا بَرَزُواْ لِجَالُوتَ وَجُنُودِهِۦ قَالُواْ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَثَبِّتۡ أَقۡدَامَنَا وَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٥٠﴾

Bwebaayolekaganya obwanga ne Jaaluuta n'eggye lye nebagamba nti, Ayi Katonda waffe tuwe obugumiikiriza otunyweze, era otutaase ku bantu abakaafiiri.

Al-Baqarah 2:251

فَهَزَمُوهُم بِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَقَتَلَ دَاوُۥدُ جَالُوتَ وَءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَهُۥ مِمَّا يَشَآءُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّفَسَدَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٥١﴾

Ku lw'obuyinza bwa Katonda baabawangula. Dauda natta Jaaluuta era Katonda naamuwa obufuzi n'amagezi era nga bweyamuwa okumanya ebyo byeyayagala amanye. Singa tekyali nti Katonda aggyawo abantu nga akozesa abamu okugyawo bannaabwe, ensi yandiyonoonese. Naye mazima ddala Katonda ebitondebye abyagaliza bulungi.

Ali 'Imran 3:13

قَدۡ كَانَ لَكُمۡ ءَايَةٞ فِي فِئَتَيۡنِ ٱلۡتَقَتَاۖ فِئَةٞ تُقَٰتِلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَأُخۡرَىٰ كَافِرَةٞ يَرَوۡنَهُم مِّثۡلَيۡهِمۡ رَأۡيَ ٱلۡعَيۡنِۚ وَٱللَّهُ يُؤَيِّدُ بِنَصۡرِهِۦ مَن يَشَآءُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿١٣﴾

Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu.

Ali 'Imran 3:91

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٞ فَلَن يُقۡبَلَ مِنۡ أَحَدِهِم مِّلۡءُ ٱلۡأَرۡضِ ذَهَبٗا وَلَوِ ٱفۡتَدَىٰ بِهِۦٓۗ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿٩١﴾

Mazima abo abaakafuwala nebafiira ku bukaafiiri tewali n'omu ku bo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza ensi, abo nno balina ebibonerezo ebiruma ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna.

Ali 'Imran 3:111

لَن يَضُرُّوكُمۡ إِلَّآ أَذٗىۖ وَإِن يُقَٰتِلُوكُمۡ يُوَلُّوكُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ثُمَّ لَا يُنصَرُونَ ﴿١١١﴾

Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa.

Ali 'Imran 3:150

بَلِ ٱللَّهُ مَوۡلَىٰكُمۡۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلنَّـٰصِرِينَ ﴿١٥٠﴾

Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna

Ali 'Imran 3:160

إِن يَنصُرۡكُمُ ٱللَّهُ فَلَا غَالِبَ لَكُمۡۖ وَإِن يَخۡذُلۡكُمۡ فَمَن ذَا ٱلَّذِي يَنصُرُكُم مِّنۢ بَعۡدِهِۦۗ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿١٦٠﴾

Katonda bwabataasa teri ayinza kubawangula naye singa aba abavuddemu ani oyo ayinza okubataasa atali yye, bulijjo Abakkiriza bateekwa okwessa mu mikono gya Katonda mu nsonga zonna.

An-Nisa 4:45

وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِأَعۡدَآئِكُمۡۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَلِيّٗا وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ نَصِيرٗا ﴿٤٥﴾

Bulijjo Katonda amanyi nnyo ebikwata ku balabe ba mmwe, Katonda amala okuba nga ye mukuumi, era Katonda amala okuba nga ye mutaasa.

An-Nisa 4:52

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُۖ وَمَن يَلۡعَنِ ٱللَّهُ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ نَصِيرًا ﴿٥٢﴾

Abo nno beebo Katonda beyakolimira, ate nga oyo yenna Katonda gweyakolimira, toyinza kumufunira mutaasa yenna.

An-Nisa 4:75

وَمَا لَكُمۡ لَا تُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلۡمُسۡتَضۡعَفِينَ مِنَ ٱلرِّجَالِ وَٱلنِّسَآءِ وَٱلۡوِلۡدَٰنِ ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا مِنۡ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلظَّالِمِ أَهۡلُهَا وَٱجۡعَل لَّنَا مِن لَّدُنكَ وَلِيّٗا وَٱجۡعَل لَّنَا مِن لَّدُنكَ نَصِيرًا ﴿٧٥﴾

Ngeriki bwemutalwana mu kutaasa ddiini ya Katonda, n'okutaasa abanyigirizibwa mu basajja n'abakyala n'abaana, nebatuuka okugamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu nsi eno, abantu baamu abanyigiriza bannaabwe, otuteerewo okuva gyoli omukuumi era otuteerewo okuva gyoli omutaasa.

An-Nisa 4:123

لَّيۡسَ بِأَمَانِيِّكُمۡ وَلَآ أَمَانِيِّ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِۗ مَن يَعۡمَلۡ سُوٓءٗا يُجۡزَ بِهِۦ وَلَا يَجِدۡ لَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿١٢٣﴾

(Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa.

Al-An'am 6:34

وَلَقَدۡ كُذِّبَتۡ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِكَ فَصَبَرُواْ عَلَىٰ مَا كُذِّبُواْ وَأُوذُواْ حَتَّىٰٓ أَتَىٰهُمۡ نَصۡرُنَاۚ وَلَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِ ٱللَّهِۚ وَلَقَدۡ جَآءَكَ مِن نَّبَإِيْ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿٣٤﴾

Mazima ababaka bangi olubereberye lwo baalimbisibwa ne bagumiikiriza ku e byo byebalimbisibwa, era ne bayisibwa bubi okutuusa okutaasa kwaffe lwe kwabajjira era tewali akyusa bigambo bya Katonda. Mazima ojjiddwa e bimu ku bigambo e bikwata ku babaka.

Al-Anfal 8:26

وَٱذۡكُرُوٓاْ إِذۡ أَنتُمۡ قَلِيلٞ مُّسۡتَضۡعَفُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ تَخَافُونَ أَن يَتَخَطَّفَكُمُ ٱلنَّاسُ فَـَٔاوَىٰكُمۡ وَأَيَّدَكُم بِنَصۡرِهِۦ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿٢٦﴾

Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza.

Al-Anfal 8:62

وَإِن يُرِيدُوٓاْ أَن يَخۡدَعُوكَ فَإِنَّ حَسۡبَكَ ٱللَّهُۚ هُوَ ٱلَّذِيٓ أَيَّدَكَ بِنَصۡرِهِۦ وَبِٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٦٢﴾

Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza.

At-Tawbah 9:14

قَٰتِلُوهُمۡ يُعَذِّبۡهُمُ ٱللَّهُ بِأَيۡدِيكُمۡ وَيُخۡزِهِمۡ وَيَنصُرۡكُمۡ عَلَيۡهِمۡ وَيَشۡفِ صُدُورَ قَوۡمٖ مُّؤۡمِنِينَ ﴿١٤﴾

Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza.

At-Tawbah 9:40

إِلَّا تَنصُرُوهُ فَقَدۡ نَصَرَهُ ٱللَّهُ إِذۡ أَخۡرَجَهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ثَانِيَ ٱثۡنَيۡنِ إِذۡ هُمَا فِي ٱلۡغَارِ إِذۡ يَقُولُ لِصَٰحِبِهِۦ لَا تَحۡزَنۡ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَنَاۖ فَأَنزَلَ ٱللَّهُ سَكِينَتَهُۥ عَلَيۡهِ وَأَيَّدَهُۥ بِجُنُودٖ لَّمۡ تَرَوۡهَا وَجَعَلَ كَلِمَةَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلسُّفۡلَىٰۗ وَكَلِمَةُ ٱللَّهِ هِيَ ٱلۡعُلۡيَاۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ ﴿٤٠﴾

Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

Hud 11:63

قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَءَيۡتُمۡ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَءَاتَىٰنِي مِنۡهُ رَحۡمَةٗ فَمَن يَنصُرُنِي مِنَ ٱللَّهِ إِنۡ عَصَيۡتُهُۥۖ فَمَا تَزِيدُونَنِي غَيۡرَ تَخۡسِيرٖ ﴿٦٣﴾

Naagamba nti abange bantu bange, mukiraba nti singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange, era nenfuna okusaasira okuva gyali, kale ani anantaasa ku Katonda bwe mmugyemera (singa nkolera ku bya mmwe), temulina kye munnyogera okugyako okufiirwa.

Yusuf 12:110

حَتَّىٰٓ إِذَا ٱسۡتَيۡـَٔسَ ٱلرُّسُلُ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ قَدۡ كُذِبُواْ جَآءَهُمۡ نَصۡرُنَا فَنُجِّيَ مَن نَّشَآءُۖ وَلَا يُرَدُّ بَأۡسُنَا عَنِ ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿١١٠﴾

(Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa.

Al-Isra 17:80

وَقُل رَّبِّ أَدۡخِلۡنِي مُدۡخَلَ صِدۡقٖ وَأَخۡرِجۡنِي مُخۡرَجَ صِدۡقٖ وَٱجۡعَل لِّي مِن لَّدُنكَ سُلۡطَٰنٗا نَّصِيرٗا ﴿٨٠﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira.

Al-Kahf 18:43

وَلَمۡ تَكُن لَّهُۥ فِئَةٞ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مُنتَصِرًا ﴿٤٣﴾

. Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa.

Al-Anbya 21:43

أَمۡ لَهُمۡ ءَالِهَةٞ تَمۡنَعُهُم مِّن دُونِنَاۚ لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَ أَنفُسِهِمۡ وَلَا هُم مِّنَّا يُصۡحَبُونَ ﴿٤٣﴾

. Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe.

Emitwe