quranm◉

Emitwe · lg

710 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:165

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَتَّخِذُ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَندَادٗا يُحِبُّونَهُمۡ كَحُبِّ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَشَدُّ حُبّٗا لِّلَّهِۗ وَلَوۡ يَرَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِذۡ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ أَنَّ ٱلۡقُوَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا وَأَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعَذَابِ ﴿١٦٥﴾

Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza.

Al-Baqarah 2:166

إِذۡ تَبَرَّأَ ٱلَّذِينَ ٱتُّبِعُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُواْ وَرَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَ وَتَقَطَّعَتۡ بِهِمُ ٱلۡأَسۡبَابُ ﴿١٦٦﴾

Mu kiseera abaagobererwa webalyegaanira abaabagobereranga era ne baliraba ku bibonerezo, n'ensonga ezaabagattanga ne zikutukawo.

Al-Baqarah 2:167

وَقَالَ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُواْ لَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةٗ فَنَتَبَرَّأَ مِنۡهُمۡ كَمَا تَبَرَّءُواْ مِنَّاۗ كَذَٰلِكَ يُرِيهِمُ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡ حَسَرَٰتٍ عَلَيۡهِمۡۖ وَمَا هُم بِخَٰرِجِينَ مِنَ ٱلنَّارِ ﴿١٦٧﴾

Abaagobereranga bagenda kugamba nti; singa tubadde baakudda ku nsi naffe netubeegaana nga bwe batwegaanyi. Bwatyo Katonda agenda kubalaga okufaafaagana kw'emirimu gyabwe (gyebaakolanga ku nsi) era si bakuva mu muliro.

Al-Baqarah 2:255

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُۚ لَا تَأۡخُذُهُۥ سِنَةٞ وَلَا نَوۡمٞۚ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ مَن ذَا ٱلَّذِي يَشۡفَعُ عِندَهُۥٓ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۖ وَلَا يُحِيطُونَ بِشَيۡءٖ مِّنۡ عِلۡمِهِۦٓ إِلَّا بِمَا شَآءَۚ وَسِعَ كُرۡسِيُّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۖ وَلَا يَـُٔودُهُۥ حِفۡظُهُمَاۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡعَظِيمُ ﴿٢٥٥﴾

Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu.

Ali 'Imran 3:2

ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُ ﴿٢﴾

Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna.

Ali 'Imran 3:3

نَزَّلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَأَنزَلَ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ﴿٣﴾

Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili.

Ali 'Imran 3:4

مِن قَبۡلُ هُدٗى لِّلنَّاسِ وَأَنزَلَ ٱلۡفُرۡقَانَۗ إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٍ ﴿٤﴾

Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza.

Ali 'Imran 3:10

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗاۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمۡ وَقُودُ ٱلنَّارِ ﴿١٠﴾

Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini zeeziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo).

Ali 'Imran 3:11

كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿١١﴾

Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza.

Ali 'Imran 3:12

قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ سَتُغۡلَبُونَ وَتُحۡشَرُونَ إِلَىٰ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿١٢﴾

Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo.

Ali 'Imran 3:13

قَدۡ كَانَ لَكُمۡ ءَايَةٞ فِي فِئَتَيۡنِ ٱلۡتَقَتَاۖ فِئَةٞ تُقَٰتِلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَأُخۡرَىٰ كَافِرَةٞ يَرَوۡنَهُم مِّثۡلَيۡهِمۡ رَأۡيَ ٱلۡعَيۡنِۚ وَٱللَّهُ يُؤَيِّدُ بِنَصۡرِهِۦ مَن يَشَآءُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿١٣﴾

Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu.

Ali 'Imran 3:86

كَيۡفَ يَهۡدِي ٱللَّهُ قَوۡمٗا كَفَرُواْ بَعۡدَ إِيمَٰنِهِمۡ وَشَهِدُوٓاْ أَنَّ ٱلرَّسُولَ حَقّٞ وَجَآءَهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٨٦﴾

Katonda ayinza atya okulungamya abo abawakanya (obubaka bwa Nabbi Muhammad () oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe nebawa n'obujulizi nti omubaka (Muhammad ()) w’amazima era nga n'obujulizi obukakasa obwa Nabbi bwe bwa baggyira, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

Ali 'Imran 3:87

أُوْلَـٰٓئِكَ جَزَآؤُهُمۡ أَنَّ عَلَيۡهِمۡ لَعۡنَةَ ٱللَّهِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ﴿٨٧﴾

Abo nno okusasulwa kwabwe kuli nti mazima Katonda yabassaako ekikolimo n'ekya ba Malayika n’ekya bantu bonna.

Ali 'Imran 3:88

خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿٨٨﴾

(Abeeyisa obubi abo) Baakubeera mu muliro olubeerera tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo ate tebagenda kulindirizibwa.

Ali 'Imran 3:89

إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ وَأَصۡلَحُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ ﴿٨٩﴾

Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lwokukafuwala kwabwe era nebalongoosa, anti bulijjo Katonda musonyiyi nnyo era musaasizi.

Ali 'Imran 3:90

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بَعۡدَ إِيمَٰنِهِمۡ ثُمَّ ٱزۡدَادُواْ كُفۡرٗا لَّن تُقۡبَلَ تَوۡبَتُهُمۡ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلضَّآلُّونَ ﴿٩٠﴾

Mazima abo abaakafuwala oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe, oluvanyuma nebeeyongera okukaafuwala, okwenenya kwabwe tekugenda kukkirizibwa, era abo be babuze abannamaddala.

Ali 'Imran 3:91

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٞ فَلَن يُقۡبَلَ مِنۡ أَحَدِهِم مِّلۡءُ ٱلۡأَرۡضِ ذَهَبٗا وَلَوِ ٱفۡتَدَىٰ بِهِۦٓۗ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿٩١﴾

Mazima abo abaakafuwala nebafiira ku bukaafiiri tewali n'omu ku bo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza ensi, abo nno balina ebibonerezo ebiruma ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna.

Ali 'Imran 3:176

وَلَا يَحۡزُنكَ ٱلَّذِينَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡكُفۡرِۚ إِنَّهُمۡ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۚ يُرِيدُ ٱللَّهُ أَلَّا يَجۡعَلَ لَهُمۡ حَظّٗا فِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ ﴿١٧٦﴾

Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obukafiiri, mazima bo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala babe nga tebaba namugabo gwonna ku lunaku lw’enkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi.

Ali 'Imran 3:177

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلۡكُفۡرَ بِٱلۡإِيمَٰنِ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿١٧٧﴾

Mazima abo abawaanyisa obukafiiri mu bukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebiruma.

Ali 'Imran 3:178

وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ خَيۡرٞ لِّأَنفُسِهِمۡۚ إِنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِثۡمٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿١٧٨﴾

Era abo abakaafuwala tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyomesa.

An-Nisa 4:56

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِنَا سَوۡفَ نُصۡلِيهِمۡ نَارٗا كُلَّمَا نَضِجَتۡ جُلُودُهُم بَدَّلۡنَٰهُمۡ جُلُودًا غَيۡرَهَا لِيَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَزِيزًا حَكِيمٗا ﴿٥٦﴾

Mazima abo abaawakanya ebigambo byaffe, ddala tujja kubayingiza omuliro, buli lwegalisiriira amaliba g’emibiri gyabwe, nga tubassaako amaliba amalala, balyoke bakombe ku bibonerezo. Mazima Katonda bulijjo nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

An-Nisa 4:93

وَمَن يَقۡتُلۡ مُؤۡمِنٗا مُّتَعَمِّدٗا فَجَزَآؤُهُۥ جَهَنَّمُ خَٰلِدٗا فِيهَا وَغَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ وَلَعَنَهُۥ وَأَعَدَّ لَهُۥ عَذَابًا عَظِيمٗا ﴿٩٣﴾

Omuntu atta omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, w'akugubeeramu bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, naamukolimira, era naamutegekera ebibonerezo ebiyitirivu.

An-Nisa 4:115

وَمَن يُشَاقِقِ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُ ٱلۡهُدَىٰ وَيَتَّبِعۡ غَيۡرَ سَبِيلِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ نُوَلِّهِۦ مَا تَوَلَّىٰ وَنُصۡلِهِۦ جَهَنَّمَۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرًا ﴿١١٥﴾

N'omuntu ayawukana ku Mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okumweyoleka, naakwata ekkubo eritali lya bakkiriza tumulekera ekyo kyaaba asazeewo, era tugenda kumukasuka mu muliro Jahannama, obwo nno buddo bubi ddala.

An-Nisa 4:116

إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَغۡفِرُ أَن يُشۡرَكَ بِهِۦ وَيَغۡفِرُ مَا دُونَ ذَٰلِكَ لِمَن يَشَآءُۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا ﴿١١٦﴾

Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula oluyitirivu.

An-Nisa 4:117

إِن يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦٓ إِلَّآ إِنَٰثٗا وَإِن يَدۡعُونَ إِلَّا شَيۡطَٰنٗا مَّرِيدٗا ﴿١١٧﴾

Buli byebasaba ebitali ye baabituuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebasaba (mu nkola yaabwe eyo) okugyako Sitane eyeewaggula.

An-Nisa 4:118

لَّعَنَهُ ٱللَّهُۘ وَقَالَ لَأَتَّخِذَنَّ مِنۡ عِبَادِكَ نَصِيبٗا مَّفۡرُوضٗا ﴿١١٨﴾

Katonda yagikolimira era neegamba nti nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo.

An-Nisa 4:119

وَلَأُضِلَّنَّهُمۡ وَلَأُمَنِّيَنَّهُمۡ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُبَتِّكُنَّ ءَاذَانَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُغَيِّرُنَّ خَلۡقَ ٱللَّهِۚ وَمَن يَتَّخِذِ ٱلشَّيۡطَٰنَ وَلِيّٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِ فَقَدۡ خَسِرَ خُسۡرَانٗا مُّبِينٗا ﴿١١٩﴾

Njakubabuliza ddala, era nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe naaleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olwolwatu.

An-Nisa 4:120

يَعِدُهُمۡ وَيُمَنِّيهِمۡۖ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا ﴿١٢٠﴾

(Sitane) abalagaanyisa naabawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna byabalagaanyisa tebiri okugyako byabutaliimu.

An-Nisa 4:121

أُوْلَـٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُ وَلَا يَجِدُونَ عَنۡهَا مَحِيصٗا ﴿١٢١﴾

(Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona.

An-Nisa 4:167

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ قَدۡ ضَلُّواْ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا ﴿١٦٧﴾

Mazima abo abaakaafuwala nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, mazima baabula olubula oluyitirivu.

An-Nisa 4:168

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَظَلَمُواْ لَمۡ يَكُنِ ٱللَّهُ لِيَغۡفِرَ لَهُمۡ وَلَا لِيَهۡدِيَهُمۡ طَرِيقًا ﴿١٦٨﴾

Mazima abo abaakaafuwala era nebeeyisa obubi, Katonda si waakubasonyiwa wadde okubalungamya mu kkubo.

An-Nisa 4:169

إِلَّا طَرِيقَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا ﴿١٦٩﴾

Mpozzi ekkubo erigenda mu muliro Jahannama gwebalibeeramu obugenderevu, era bulijjo ekyo ku Katonda kyangu nnyo.

Al-Ma'idah 5:36

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡ أَنَّ لَهُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا وَمِثۡلَهُۥ مَعَهُۥ لِيَفۡتَدُواْ بِهِۦ مِنۡ عَذَابِ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَا تُقُبِّلَ مِنۡهُمۡۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٣٦﴾

Mazima abo abaakaafuwala singa mazima byonna ebiri mu nsi n’ebiringa byo nga obitadde wamu nebaagala okwenunula nabyo okuwona ebibonerezo by’olunaku lw’enkomerero, tebyandikkiriziddwa okuva gyebali, era baakussibwako e bibonerezo e biruma e nnyo.

Al-Ma'idah 5:37

يُرِيدُونَ أَن يَخۡرُجُواْ مِنَ ٱلنَّارِ وَمَا هُم بِخَٰرِجِينَ مِنۡهَاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ مُّقِيمٞ ﴿٣٧﴾

Baliyagala okufuluma mu muliro ng’ate sibaakugufuluma, bagenda kutuukwako ebibonerezo e byolubeerera.

Al-An'am 6:10

وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَحَاقَ بِٱلَّذِينَ سَخِرُواْ مِنۡهُم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿١٠﴾

Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaajeeja mu bo ababaka, baatuukwako e bibonerezo by'okujeeja kwabwe.

Al-An'am 6:11

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ ثُمَّ ٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ﴿١١﴾

Gamba nti, mutambule mu nsi olwo nno mulabe e nkomerero y’abaalimbisa yali e tya.

Al-An'am 6:27

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ وُقِفُواْ عَلَى ٱلنَّارِ فَقَالُواْ يَٰلَيۡتَنَا نُرَدُّ وَلَا نُكَذِّبَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّنَا وَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٢٧﴾

Singa olisobola okubalaba bwe baliyimirizibwa ku muliro, olwo nno ne bagamba nti nga tulabye singa tuzzibwaayo (ku nsi) ne tutalimbisa bigambo bya Mukama omulabirizi waffe olwo nno tube mu bakkiriza.

Al-An'am 6:28

بَلۡ بَدَا لَهُم مَّا كَانُواْ يُخۡفُونَ مِن قَبۡلُۖ وَلَوۡ رُدُّواْ لَعَادُواْ لِمَا نُهُواْ عَنۡهُ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ﴿٢٨﴾

Olwo nno biriba bye yolese gye bali e byo bye baakwekanga mu kusooka, ne bwe baaliziddwaayo baalizzeemu okukola e kya bagaanibwa, era bo baliba balimba (mu byonna bye baliba boogera).

Al-An'am 6:29

وَقَالُوٓاْ إِنۡ هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا ٱلدُّنۡيَا وَمَا نَحۡنُ بِمَبۡعُوثِينَ ﴿٢٩﴾

Era bagamba nti tewali bulamu bulala, okugyako buno bwe tuwangala obw'okunsi, era tetugenda kuzuukizibwa.

Al-An'am 6:30

وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ وُقِفُواْ عَلَىٰ رَبِّهِمۡۚ قَالَ أَلَيۡسَ هَٰذَا بِٱلۡحَقِّۚ قَالُواْ بَلَىٰ وَرَبِّنَاۚ قَالَ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿٣٠﴾

Waalisaanye olabe, e mbeera gye balibeeramu nga bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, n’abagamba nti kino kye mulaba si mazima, bagenda kugamba nti bwe gutyo bwe guli ayi Mukama omulabirizi waffe naagamba nti: kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olwe'byo bye mwawakanya.

Al-An'am 6:31

قَدۡ خَسِرَ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِلِقَآءِ ٱللَّهِۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَتۡهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةٗ قَالُواْ يَٰحَسۡرَتَنَا عَلَىٰ مَا فَرَّطۡنَا فِيهَا وَهُمۡ يَحۡمِلُونَ أَوۡزَارَهُمۡ عَلَىٰ ظُهُورِهِمۡۚ أَلَا سَآءَ مَا يَزِرُونَ ﴿٣١﴾

Mazima baafaafaganirwa abo abaalimbisa okusisinkana Katonda, okutuusiza ddala olunaku lwe nkomerero lwe lulibatuukako e kibwatukira, ne bagamba nti nga tulabye olw'ebyo bye twayonoona mu nsi, olwo nno nga beetisse e bibi bya bwe ku migongo gyabwe abange bibi ddala bye bakola.

Al-An'am 6:42

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰٓ أُمَمٖ مِّن قَبۡلِكَ فَأَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ لَعَلَّهُمۡ يَتَضَرَّعُونَ ﴿٤٢﴾

Mazima twatuma ababaka eri e bibinja bya bantu oluberyeberyelwo, netubagezesa n'ebizibu by'obwavu n’obubenje balyoke beetowaze (basinze Katonda omu).

Al-An'am 6:43

فَلَوۡلَآ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَا تَضَرَّعُواْ وَلَٰكِن قَسَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿٤٣﴾

Kale nno singa e bizibu bwe byabajjira beetoowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye e myoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane naabawundira e byo bye baali bakola.

Al-An'am 6:44

فَلَمَّا نَسُواْ مَا ذُكِّرُواْ بِهِۦ فَتَحۡنَا عَلَيۡهِمۡ أَبۡوَٰبَ كُلِّ شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ إِذَا فَرِحُواْ بِمَآ أُوتُوٓاْ أَخَذۡنَٰهُم بَغۡتَةٗ فَإِذَا هُم مُّبۡلِسُونَ ﴿٤٤﴾

Kavuna baaleka e byo bye bajjukizibwa na byo, netubaggulirawo e miryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mu e byo bye twabawa, netubabonereza mbagirawo nebatuuka n’okuba nti tebalina kantu konna.

Al-An'am 6:45

فَقُطِعَ دَابِرُ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْۚ وَٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٤٥﴾

Katonda yabazikiriza okutuusiza ddala ku asembayo mwabo abeeyisa obubi, bulijjo okutenderezebwa kwonna kwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

Al-An'am 6:93

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ قَالَ أُوحِيَ إِلَيَّ وَلَمۡ يُوحَ إِلَيۡهِ شَيۡءٞ وَمَن قَالَ سَأُنزِلُ مِثۡلَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّـٰلِمُونَ فِي غَمَرَٰتِ ٱلۡمَوۡتِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَاسِطُوٓاْ أَيۡدِيهِمۡ أَخۡرِجُوٓاْ أَنفُسَكُمُۖ ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَكُنتُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهِۦ تَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٩٣﴾

Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.

Al-An'am 6:94

وَلَقَدۡ جِئۡتُمُونَا فُرَٰدَىٰ كَمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةٖ وَتَرَكۡتُم مَّا خَوَّلۡنَٰكُمۡ وَرَآءَ ظُهُورِكُمۡۖ وَمَا نَرَىٰ مَعَكُمۡ شُفَعَآءَكُمُ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُمۡ أَنَّهُمۡ فِيكُمۡ شُرَكَـٰٓؤُاْۚ لَقَد تَّقَطَّعَ بَيۡنَكُمۡ وَضَلَّ عَنكُم مَّا كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ ﴿٩٤﴾

Mutujjidde omu omu, nga bwe twabatonda mu kusooka, byonna bye twabawa mubirese mabega wa mmwe, era tulaba bwe muzze temuleese bawolereza ba mmwe, abo be mwawozanga, nti mazima bo ne Katonda bakolera wamu ku mmwe, e nkolagana ekutuseewo wakati wa mmwe nebababulako abo be mwali mulowooza nti b’akubawolereza.

Al-An'am 6:112

وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوّٗا شَيَٰطِينَ ٱلۡإِنسِ وَٱلۡجِنِّ يُوحِي بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ زُخۡرُفَ ٱلۡقَوۡلِ غُرُورٗاۚ وَلَوۡ شَآءَ رَبُّكَ مَا فَعَلُوهُۖ فَذَرۡهُمۡ وَمَا يَفۡتَرُونَ ﴿١١٢﴾

(Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo.

Al-An'am 6:113

وَلِتَصۡغَىٰٓ إِلَيۡهِ أَفۡـِٔدَةُ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ وَلِيَرۡضَوۡهُ وَلِيَقۡتَرِفُواْ مَا هُم مُّقۡتَرِفُونَ ﴿١١٣﴾

Era e mitima gy'abo abatakkiriza lunaku lw'enkomerero gibe nga gibiwuliriza, era babisiime era bagende mu maaso n’okukola e byo bye bakola.

Emitwe