Al-Baqarah 2:25وَبَشِّرِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ كُلَّمَا رُزِقُواْ مِنۡهَا مِن ثَمَرَةٖ رِّزۡقٗا قَالُواْ هَٰذَا ٱلَّذِي رُزِقۡنَا مِن قَبۡلُۖ وَأُتُواْ بِهِۦ مُتَشَٰبِهٗاۖ وَلَهُمۡ فِيهَآ أَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞۖ وَهُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢٥﴾
Ate sanyusa abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi nti bajja kufuna e jjana ezikulukutiramu e migga. Buli lwe banaaweebwanga e kibala mu jjana banaagambanga nti ekyo kye twaweebwanga edda (nga tuli ku nsi), binabaweebwanga nga mundabika bifaanana nabiri ebyo ku nsi (naye nga mu buwoomi byanjawulo), era abasajja baliweebwa abakyala abaatukuzibwa, era ba kubeeramu lubeerera.
Al-Baqarah 2:30وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنِّي جَاعِلٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ خَلِيفَةٗۖ قَالُوٓاْ أَتَجۡعَلُ فِيهَا مَن يُفۡسِدُ فِيهَا وَيَسۡفِكُ ٱلدِّمَآءَ وَنَحۡنُ نُسَبِّحُ بِحَمۡدِكَ وَنُقَدِّسُ لَكَۖ قَالَ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٣٠﴾
Jjukira Mukama (Katonda) wo bwe yagamba ba malayika nti mazima nja kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, ng'ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! Katonda (naddamu) n’abagamba nti nze mmanyi ebyo byemutamanyi.
Al-Baqarah 2:31وَعَلَّمَ ءَادَمَ ٱلۡأَسۡمَآءَ كُلَّهَا ثُمَّ عَرَضَهُمۡ عَلَى ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ فَقَالَ أَنۢبِـُٔونِي بِأَسۡمَآءِ هَـٰٓؤُلَآءِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٣١﴾
(Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga ba Malayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (Nti mwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi).
Al-Baqarah 2:97قُلۡ مَن كَانَ عَدُوّٗا لِّـجِبۡرِيلَ فَإِنَّهُۥ نَزَّلَهُۥ عَلَىٰ قَلۡبِكَ بِإِذۡنِ ٱللَّهِ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَهُدٗى وَبُشۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٩٧﴾
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti omuntu awalana Jiburilu, (ateekwa amanye nti) mazima ye Jiburilu yakuleetera Kur'ani nga asinziira ku kiragiro kya Katonda, ng'ekakasa ebitabo ebyagikulembera era nga kyakulungamya na kusanyusa eri abakkiriza.
Al-Baqarah 2:98مَن كَانَ عَدُوّٗا لِّلَّهِ وَمَلَـٰٓئِكَتِهِۦ وَرُسُلِهِۦ وَجِبۡرِيلَ وَمِيكَىٰلَ فَإِنَّ ٱللَّهَ عَدُوّٞ لِّلۡكَٰفِرِينَ ﴿٩٨﴾
Omuntu abeera omulabe wa Katonda ne Ba malayika be, n'ababaka be, (nga mwe muli) Jiburilu ne Miika'ilu, mazima ddala Katonda naye mulabe wa batakkiriza.
Ali 'Imran 3:18شَهِدَ ٱللَّهُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَأُوْلُواْ ٱلۡعِلۡمِ قَآئِمَۢا بِٱلۡقِسۡطِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١٨﴾
Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.
Ali 'Imran 3:42وَإِذۡ قَالَتِ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَٰمَرۡيَمُ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰكِ وَطَهَّرَكِ وَٱصۡطَفَىٰكِ عَلَىٰ نِسَآءِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٤٢﴾
Era jjukira Malayika bweyagamba Mariam nti mazima Katonda akulonze naakutukuza naakwawula ku Bakyala abalala bonna.
Ali 'Imran 3:80وَلَا يَأۡمُرَكُمۡ أَن تَتَّخِذُواْ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ أَرۡبَابًاۚ أَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡكُفۡرِ بَعۡدَ إِذۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ ﴿٨٠﴾
Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu.
Al-An'am 6:8وَقَالُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ مَلَكٞۖ وَلَوۡ أَنزَلۡنَا مَلَكٗا لَّقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ ثُمَّ لَا يُنظَرُونَ ﴿٨﴾
Era nebagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika, naye singa twassa Malayika e nsonga yandiggweredde awo era ne batarindirizibwa.
Al-An'am 6:9وَلَوۡ جَعَلۡنَٰهُ مَلَكٗا لَّجَعَلۡنَٰهُ رَجُلٗا وَلَلَبَسۡنَا عَلَيۡهِم مَّا يَلۡبِسُونَ ﴿٩﴾
Era singa twasalawo okuweereza Malayika twandimuweerezza nga muntu, era e kibatabula kyandibadde kibatabula.
Al-An'am 6:61وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۖ وَيُرۡسِلُ عَلَيۡكُمۡ حَفَظَةً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ تَوَفَّتۡهُ رُسُلُنَا وَهُمۡ لَا يُفَرِّطُونَ ﴿٦١﴾
Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa.
Al-An'am 6:62ثُمَّ رُدُّوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ مَوۡلَىٰهُمُ ٱلۡحَقِّۚ أَلَا لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَهُوَ أَسۡرَعُ ٱلۡحَٰسِبِينَ ﴿٦٢﴾
Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Katonda Mukama waabwe owanamaddala, mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna.
Ar-Ra'd 13:13وَيُسَبِّحُ ٱلرَّعۡدُ بِحَمۡدِهِۦ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ مِنۡ خِيفَتِهِۦ وَيُرۡسِلُ ٱلصَّوَٰعِقَ فَيُصِيبُ بِهَا مَن يَشَآءُ وَهُمۡ يُجَٰدِلُونَ فِي ٱللَّهِ وَهُوَ شَدِيدُ ٱلۡمِحَالِ ﴿١٣﴾
Okubwatuka okuva waggulu kutendereza Katonda nga bwe kumusuuta, ba Malayika (nabo bamutendereza) olw'okumutya era asindika okubwatuka kwe ggulu naazikiriza nakwo oyo gwaba ayagadde okuzikiriza. (Awamu n'ekyo) bo abakaafiiri bagenda mu maaso nga bawakana ku bwomu bwa Katonda mazima yye Katonda amaanyige masuffu.
Ar-Ra'd 13:23جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا وَمَن صَلَحَ مِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَأَزۡوَٰجِهِمۡ وَذُرِّيَّـٰتِهِمۡۖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَدۡخُلُونَ عَلَيۡهِم مِّن كُلِّ بَابٖ ﴿٢٣﴾
(Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango.
Ar-Ra'd 13:24سَلَٰمٌ عَلَيۡكُم بِمَا صَبَرۡتُمۡۚ فَنِعۡمَ عُقۡبَى ٱلدَّارِ ﴿٢٤﴾
(Balibagambanga) nti emirembe gibe ku mmwe olw'ebyo bye mwagumiikiriza, ekyengera ekisinga obulungi kye kifo ekyo ekirisiimwa ku nkomerero.
Al-Hijr 15:6وَقَالُواْ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِي نُزِّلَ عَلَيۡهِ ٱلذِّكۡرُ إِنَّكَ لَمَجۡنُونٞ ﴿٦﴾
Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu.
Al-Hijr 15:7لَّوۡمَا تَأۡتِينَا بِٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿٧﴾
Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima.
Al-Hijr 15:8مَا نُنَزِّلُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَمَا كَانُوٓاْ إِذٗا مُّنظَرِينَ ﴿٨﴾
(Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa.
An-Nahl 16:28ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡۖ فَأَلۡقَوُاْ ٱلسَّلَمَ مَا كُنَّا نَعۡمَلُ مِن سُوٓءِۭۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٨﴾
Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga.
An-Nahl 16:29فَٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَلَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿٢٩﴾
Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi.
An-Nahl 16:33هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ يَأۡتِيَ أَمۡرُ رَبِّكَۚ كَذَٰلِكَ فَعَلَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ وَمَا ظَلَمَهُمُ ٱللَّهُ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿٣٣﴾
Abaffe balina kye balinda mpozzi ba Malayika okubajjira oba nekijja ekyo Mukama omulabiriziwo kye yasalawo bwe batyo abaaliwo oluberyeberye lwabwe bwe baakola era Katonda teyabayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.
An-Nahl 16:34فَأَصَابَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿٣٤﴾
Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola.
Al-Isra 17:94وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰٓ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ أَبَعَثَ ٱللَّهُ بَشَرٗا رَّسُولٗا ﴿٩٤﴾
. Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira okugyako okuba nti bagamba nti omuntu obuntu Katonda gwatumye nga mubaka.
Al-Isra 17:95قُل لَّوۡ كَانَ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَلَـٰٓئِكَةٞ يَمۡشُونَ مُطۡمَئِنِّينَ لَنَزَّلۡنَا عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَلَكٗا رَّسُولٗا ﴿٩٥﴾
. Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka.
Maryam 19:64وَمَا نَتَنَزَّلُ إِلَّا بِأَمۡرِ رَبِّكَۖ لَهُۥ مَا بَيۡنَ أَيۡدِينَا وَمَا خَلۡفَنَا وَمَا بَيۡنَ ذَٰلِكَۚ وَمَا كَانَ رَبُّكَ نَسِيّٗا ﴿٦٤﴾
. Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira.
Al-Anbya 21:103لَا يَحۡزُنُهُمُ ٱلۡفَزَعُ ٱلۡأَكۡبَرُ وَتَتَلَقَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ هَٰذَا يَوۡمُكُمُ ٱلَّذِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ ﴿١٠٣﴾
. Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa..
Al-Hajj 22:75ٱللَّهُ يَصۡطَفِي مِنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ رُسُلٗا وَمِنَ ٱلنَّاسِۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ ﴿٧٥﴾
. Katonda alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Katonda muwulizi alaba nnyo.
Al-Furqan 25:21۞وَقَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ لِقَآءَنَا لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ نَرَىٰ رَبَّنَاۗ لَقَدِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ وَعَتَوۡ عُتُوّٗا كَبِيرٗا ﴿٢١﴾
. Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu.
Al-Furqan 25:22يَوۡمَ يَرَوۡنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ لَا بُشۡرَىٰ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُجۡرِمِينَ وَيَقُولُونَ حِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا ﴿٢٢﴾
. Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).
Al-Furqan 25:25وَيَوۡمَ تَشَقَّقُ ٱلسَّمَآءُ بِٱلۡغَمَٰمِ وَنُزِّلَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ تَنزِيلًا ﴿٢٥﴾
. N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa.
Al-Furqan 25:26ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّ لِلرَّحۡمَٰنِۚ وَكَانَ يَوۡمًا عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ عَسِيرٗا ﴿٢٦﴾
. Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri.
Ash-Shu'ara 26:192وَإِنَّهُۥ لَتَنزِيلُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٩٢﴾
. Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
Ash-Shu'ara 26:193نَزَلَ بِهِ ٱلرُّوحُ ٱلۡأَمِينُ ﴿١٩٣﴾
. Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu).
Ash-Shu'ara 26:194عَلَىٰ قَلۡبِكَ لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ ﴿١٩٤﴾
. (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi).
As-Sajdah 32:11۞قُلۡ يَتَوَفَّىٰكُم مَّلَكُ ٱلۡمَوۡتِ ٱلَّذِي وُكِّلَ بِكُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمۡ تُرۡجَعُونَ ﴿١١﴾
. Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.
Saba 34:23وَلَا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ عِندَهُۥٓ إِلَّا لِمَنۡ أَذِنَ لَهُۥۚ حَتَّىٰٓ إِذَا فُزِّعَ عَن قُلُوبِهِمۡ قَالُواْ مَاذَا قَالَ رَبُّكُمۡۖ قَالُواْ ٱلۡحَقَّۖ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ ﴿٢٣﴾
. Era mu maasoge okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) okugyako oyo gwaliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gya bwe baligamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe agambyeki? (ba Malayika) baligamba nti (ayogedde) amazima, era yye wa waggulu omusukkulumu.
Saba 34:40وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا ثُمَّ يَقُولُ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ أَهَـٰٓؤُلَآءِ إِيَّاكُمۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ﴿٤٠﴾
. Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe.
Saba 34:41قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ أَنتَ وَلِيُّنَا مِن دُونِهِمۖ بَلۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ٱلۡجِنَّۖ أَكۡثَرُهُم بِهِم مُّؤۡمِنُونَ ﴿٤١﴾
. Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu.
Saba 34:42فَٱلۡيَوۡمَ لَا يَمۡلِكُ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٖ نَّفۡعٗا وَلَا ضَرّٗا وَنَقُولُ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ ﴿٤٢﴾
. (Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.
Fatir 35:1ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ فَاطِرِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ جَاعِلِ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ رُسُلًا أُوْلِيٓ أَجۡنِحَةٖ مَّثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۚ يَزِيدُ فِي ٱلۡخَلۡقِ مَا يَشَآءُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١﴾
. Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
As-Saffat 37:1وَٱلصَّـٰٓفَّـٰتِ صَفّٗا ﴿١﴾
Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu.
As-Saffat 37:2فَٱلزَّـٰجِرَٰتِ زَجۡرٗا ﴿٢﴾
Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba).
As-Saffat 37:3فَٱلتَّـٰلِيَٰتِ ذِكۡرًا ﴿٣﴾
N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira.
As-Saffat 37:4إِنَّ إِلَٰهَكُمۡ لَوَٰحِدٞ ﴿٤﴾
Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu.
As-Saffat 37:5رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَرَبُّ ٱلۡمَشَٰرِقِ ﴿٥﴾
Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba).
As-Saffat 37:6إِنَّا زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِزِينَةٍ ٱلۡكَوَاكِبِ ﴿٦﴾
Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde).
As-Saffat 37:7وَحِفۡظٗا مِّن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ مَّارِدٖ ﴿٧﴾
N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula.
As-Saffat 37:8لَّا يَسَّمَّعُونَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰ وَيُقۡذَفُونَ مِن كُلِّ جَانِبٖ ﴿٨﴾
Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi.
As-Saffat 37:9دُحُورٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ وَاصِبٌ ﴿٩﴾
Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma.
As-Saffat 37:10إِلَّا مَنۡ خَطِفَ ٱلۡخَطۡفَةَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ ثَاقِبٞ ﴿١٠﴾
Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja.