quranm◉

Emitwe · lg

163 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:3

ٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡغَيۡبِ وَيُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿٣﴾

Abo abakkiriza ebitalabikako ne bayimirizaawo e sswala, era nga bagaba ku ebyo byetubagabirira.

Al-Baqarah 2:43

وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱرۡكَعُواْ مَعَ ٱلرَّـٰكِعِينَ ﴿٤٣﴾

Muyimirizeewo e sswala, mutoole zzaka, era mukutame n'abo abakutama.

Al-Baqarah 2:45

وَٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ وَإِنَّهَا لَكَبِيرَةٌ إِلَّا عَلَى ٱلۡخَٰشِعِينَ ﴿٤٥﴾

Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo e sswala ekaluubirira nnyo abantu, okugyako abo abagondera Katonda.

Al-Baqarah 2:110

وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَمَا تُقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُم مِّنۡ خَيۡرٖ تَجِدُوهُ عِندَ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿١١٠﴾

Era muyimirizeewo e sswala, mutoole ne zzaka. Na buli kalungi konna kemwekolera mugenda kukasanga ewa Katonda. Mazima Katonda alaba mu bujjuvu ebyo bye mukola.

Al-Baqarah 2:153

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿١٥٣﴾

Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza.

Al-Baqarah 2:177

۞لَّيۡسَ ٱلۡبِرَّ أَن تُوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ قِبَلَ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَلَٰكِنَّ ٱلۡبِرَّ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ وَٱلۡكِتَٰبِ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ وَءَاتَى ٱلۡمَالَ عَلَىٰ حُبِّهِۦ ذَوِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَٱلسَّآئِلِينَ وَفِي ٱلرِّقَابِ وَأَقَامَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَى ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُوفُونَ بِعَهۡدِهِمۡ إِذَا عَٰهَدُواْۖ وَٱلصَّـٰبِرِينَ فِي ٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ وَحِينَ ٱلۡبَأۡسِۗ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ صَدَقُواْۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُتَّقُونَ ﴿١٧٧﴾

Obulungi obubalibwa eri Katonda, tebwemalidde mu kwolekera kwa mmwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, ne ba malayika n'ekitabo (Kur’ani) ne bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugaggabwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa abooluganda olwokumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo e sswala, n'atoola ne zzaka mu by'obugaggabwe. N abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwebaba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera bye ntalo. Abo nno be bakkiriza okukkiriza okwannamaddala, era abo bo be batya Katonda.

Al-Baqarah 2:238

حَٰفِظُواْ عَلَى ٱلصَّلَوَٰتِ وَٱلصَّلَوٰةِ ٱلۡوُسۡطَىٰ وَقُومُواْ لِلَّهِ قَٰنِتِينَ ﴿٢٣٨﴾

Munyiikirire nnyo e sswala zonna ettaano, naddala e sswala y'omumakkati; muyimirire mu maaso ga Katonda nga muli bakkakkamu.

Al-Baqarah 2:277

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٢٧٧﴾

Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.

Ali 'Imran 3:39

فَنَادَتۡهُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَهُوَ قَآئِمٞ يُصَلِّي فِي ٱلۡمِحۡرَابِ أَنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكَ بِيَحۡيَىٰ مُصَدِّقَۢا بِكَلِمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَسَيِّدٗا وَحَصُورٗا وَنَبِيّٗا مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٣٩﴾

Malayika naamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ngasaba n’amugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu.

An-Nisa 4:102

وَإِذَا كُنتَ فِيهِمۡ فَأَقَمۡتَ لَهُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَلۡتَقُمۡ طَآئِفَةٞ مِّنۡهُم مَّعَكَ وَلۡيَأۡخُذُوٓاْ أَسۡلِحَتَهُمۡۖ فَإِذَا سَجَدُواْ فَلۡيَكُونُواْ مِن وَرَآئِكُمۡ وَلۡتَأۡتِ طَآئِفَةٌ أُخۡرَىٰ لَمۡ يُصَلُّواْ فَلۡيُصَلُّواْ مَعَكَ وَلۡيَأۡخُذُواْ حِذۡرَهُمۡ وَأَسۡلِحَتَهُمۡۗ وَدَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡ تَغۡفُلُونَ عَنۡ أَسۡلِحَتِكُمۡ وَأَمۡتِعَتِكُمۡ فَيَمِيلُونَ عَلَيۡكُم مَّيۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِن كَانَ بِكُمۡ أَذٗى مِّن مَّطَرٍ أَوۡ كُنتُم مَّرۡضَىٰٓ أَن تَضَعُوٓاْ أَسۡلِحَتَكُمۡۖ وَخُذُواْ حِذۡرَكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ أَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا ﴿١٠٢﴾

Ggwe (Nabbi Muhammad) bwobanga mu lutalo n’abakkiriza, nobakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bo kiyimiriranga naawe musaale, era nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, bwebamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala naawe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, abo Abakaafuwala bandyagadde singa mugayaalirira ebyokulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olwenkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi ebyokulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abakafiiri ebibonerezo ebinyoomesa.

An-Nisa 4:103

فَإِذَا قَضَيۡتُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ قِيَٰمٗا وَقُعُودٗا وَعَلَىٰ جُنُوبِكُمۡۚ فَإِذَا ٱطۡمَأۡنَنتُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ كَانَتۡ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ كِتَٰبٗا مَّوۡقُوتٗا ﴿١٠٣﴾

Bwemumala e sswala, mutendereze Katonda mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwe muba mu mirembe musaale e sswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima e sswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere.

An-Nisa 4:162

لَّـٰكِنِ ٱلرَّـٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ مِنۡهُمۡ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ يُؤۡمِنُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَۚ وَٱلۡمُقِيمِينَ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَٱلۡمُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ أُوْلَـٰٓئِكَ سَنُؤۡتِيهِمۡ أَجۡرًا عَظِيمًا ﴿١٦٢﴾

Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’abakkiriza ebyassibwa gyoli, n'ebyassibwa oluberyeberyelwo, era abayimirizaawo e sswala, nebawaayo nezzaka, era abakkiriza Katonda n’olunaku lwe nkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu.

Al-Ma'idah 5:12

۞وَلَقَدۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَبَعَثۡنَا مِنۡهُمُ ٱثۡنَيۡ عَشَرَ نَقِيبٗاۖ وَقَالَ ٱللَّهُ إِنِّي مَعَكُمۡۖ لَئِنۡ أَقَمۡتُمُ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَيۡتُمُ ٱلزَّكَوٰةَ وَءَامَنتُم بِرُسُلِي وَعَزَّرۡتُمُوهُمۡ وَأَقۡرَضۡتُمُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا لَّأُكَفِّرَنَّ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَلَأُدۡخِلَنَّكُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ فَمَن كَفَرَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ مِنكُمۡ فَقَدۡ ضَلَّ سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ ﴿١٢﴾

Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu.

Al-Ma'idah 5:55

إِنَّمَا وَلِيُّكُمُ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَهُمۡ رَٰكِعُونَ ﴿٥٥﴾

Mazima mukwano gwa mmwe ow’omunda Katonda, n’omubaka we naabo abakkiriza, abo abayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka, era nga bakutama ku maviivi (nga basaala).

Al-Ma'idah 5:91

إِنَّمَا يُرِيدُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَن يُوقِعَ بَيۡنَكُمُ ٱلۡعَدَٰوَةَ وَٱلۡبَغۡضَآءَ فِي ٱلۡخَمۡرِ وَٱلۡمَيۡسِرِ وَيَصُدَّكُمۡ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَعَنِ ٱلصَّلَوٰةِۖ فَهَلۡ أَنتُم مُّنتَهُونَ ﴿٩١﴾

Mazima ddala Sitane ayagala okussa wakati wa mmwe obulabe n’obukyayi olw’omwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Katonda n’okusaala, abaffe e bikolwa e byo munaabireka.

Al-An'am 6:72

وَأَنۡ أَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَٱتَّقُوهُۚ وَهُوَ ٱلَّذِيٓ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ﴿٧٢﴾

(Era twalagirwa nti) muyimirizeewo e sswala era mutye Katonda era yye yooyo, gyali gyemulikunganyizibwa.

Al-An'am 6:92

وَهَٰذَا كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ مُبَارَكٞ مُّصَدِّقُ ٱلَّذِي بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَلِتُنذِرَ أُمَّ ٱلۡقُرَىٰ وَمَنۡ حَوۡلَهَاۚ وَٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۖ وَهُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ يُحَافِظُونَ ﴿٩٢﴾

Kura’ni eno kitabo twakissa nga kya mukisa, nga kikakasa e byo e byakulembera, era okikozese nga otiisa abantu b’omu (Makkah), maama w'ebibuga, n'abantu bo'mu bitundu e bikyetoolodde. Bo abo abakkiriza olunaku lw’enkomerero bakkiriza e kitabo kino, era bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri.

Al-An'am 6:162

قُلۡ إِنَّ صَلَاتِي وَنُسُكِي وَمَحۡيَايَ وَمَمَاتِي لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٦٢﴾

Gamba (Ggwe Muhammad) nti mazima okusaala kwange, n’okusaddaaka kwange e bisolo, n’obulamu bwange, n’okufa kwange, byonna biri eri Mukama omulabirizi w’ebitonde.

Al-A'raf 7:170

وَٱلَّذِينَ يُمَسِّكُونَ بِٱلۡكِتَٰبِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ إِنَّا لَا نُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ ﴿١٧٠﴾

Ate abo abeekwata ku kitabo nebayimirizaawo e sswala, mazima ffe tetugenda kwonoona mpeera y’abalongoofu.

Al-Anfal 8:2

إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَإِذَا تُلِيَتۡ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُهُۥ زَادَتۡهُمۡ إِيمَٰنٗا وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ ﴿٢﴾

Mazima ddala abakkiriza, be bo buli Katonda lwayogerwako, e mitima gy'abwe gitya, era bwe basomerwa e bigambobye, kibongera obukkiriza, era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beekwasa.

Al-Anfal 8:3

ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿٣﴾

Abo abayimirizaawo e sswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako.

At-Tawbah 9:11

فَإِن تَابُواْ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ فَإِخۡوَٰنُكُمۡ فِي ٱلدِّينِۗ وَنُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿١١﴾

Naye (awamu n'ekyo) bwe baba beenenyezza (nebava ku bikolwa ebyo) ne bayimirizaawo e sswala nebawa zzaka, olwo nno baba bafuuse baganda ba mmwe mu ddiini, era bulijjo tunnyonnyola mu bulambulukufu e bigambo byaffe eri abantu abamanyi (abeegasa nabyo).

At-Tawbah 9:18

إِنَّمَا يَعۡمُرُ مَسَٰجِدَ ٱللَّهِ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَأَقَامَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَى ٱلزَّكَوٰةَ وَلَمۡ يَخۡشَ إِلَّا ٱللَّهَۖ فَعَسَىٰٓ أُوْلَـٰٓئِكَ أَن يَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿١٨﴾

Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, n’ayimirizaawo e sswala, n'atoola zzaka, era n’atatya okugyako Katonda, abo nno be bookubeera mu balungamu.

At-Tawbah 9:71

وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتُ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۚ يَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَيُطِيعُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ أُوْلَـٰٓئِكَ سَيَرۡحَمُهُمُ ٱللَّهُۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٧١﴾

Abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi, abamu mikwano gya bannaabwe, balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi, era ne bayimirizaawo e sswala ne batoola zzaka, era ne bagondera Katonda n’omubakawe, abo Katonda ajja kubasaasira. Anti mazima ddala Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

Yunus 10:87

وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰ وَأَخِيهِ أَن تَبَوَّءَا لِقَوۡمِكُمَا بِمِصۡرَ بُيُوتٗا وَٱجۡعَلُواْ بُيُوتَكُمۡ قِبۡلَةٗ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٨٧﴾

Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu ba mmwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo e sswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza.

Hud 11:87

قَالُواْ يَٰشُعَيۡبُ أَصَلَوٰتُكَ تَأۡمُرُكَ أَن نَّتۡرُكَ مَا يَعۡبُدُ ءَابَآؤُنَآ أَوۡ أَن نَّفۡعَلَ فِيٓ أَمۡوَٰلِنَا مَا نَشَـٰٓؤُاْۖ إِنَّكَ لَأَنتَ ٱلۡحَلِيمُ ٱلرَّشِيدُ ﴿٨٧﴾

Nebagamba nti owange Swaibu okusaalakwo kwe kukulagira okuba nga tuleka bakadde baffe bye basinza, oba tukkirizibwa okukola mu mmaali yaffe bye twagala, anti ggwe oli alumirwa ow'amagezi.

Hud 11:114

وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ طَرَفَيِ ٱلنَّهَارِ وَزُلَفٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِۚ إِنَّ ٱلۡحَسَنَٰتِ يُذۡهِبۡنَ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ ذَٰلِكَ ذِكۡرَىٰ لِلذَّـٰكِرِينَ ﴿١١٤﴾

Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira.

Ar-Ra'd 13:22

وَٱلَّذِينَ صَبَرُواْ ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ رَبِّهِمۡ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عُقۡبَى ٱلدَّارِ ﴿٢٢﴾

Era abo abagumiikiriza ku lw'okwagala okubeera ku ludda lwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo e sswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero.

Ibrahim 14:31

قُل لِّعِبَادِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُنفِقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا بَيۡعٞ فِيهِ وَلَا خِلَٰلٌ ﴿٣١﴾

Gamba abaddu bange abo abakkiriza babe nga bayimirizaawo e sswala era baweeyo mu ebyo bye tubagabira (bakikole) mu kyama ne mu lwatu nga olunaku olutalibaamu bya maguzi wadde ab'emikwano telunnajja.

Ibrahim 14:37

رَّبَّنَآ إِنِّيٓ أَسۡكَنتُ مِن ذُرِّيَّتِي بِوَادٍ غَيۡرِ ذِي زَرۡعٍ عِندَ بَيۡتِكَ ٱلۡمُحَرَّمِ رَبَّنَا لِيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ فَٱجۡعَلۡ أَفۡـِٔدَةٗ مِّنَ ٱلنَّاسِ تَهۡوِيٓ إِلَيۡهِمۡ وَٱرۡزُقۡهُم مِّنَ ٱلثَّمَرَٰتِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡكُرُونَ ﴿٣٧﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima nze nsenzezza abamu ku zzadde lyange mu lusenyi olutaliimu birime awali enyumba yo ey'emizizo, ayi Mukama omulabirizi waffe olwo babe, nga bayimirizaawo e sswala kale nno, fuula emitima gy'abantu egyagala okujja gye bali era obagabirire mu bibala basobole okwebaza.

Ibrahim 14:40

رَبِّ ٱجۡعَلۡنِي مُقِيمَ ٱلصَّلَوٰةِ وَمِن ذُرِّيَّتِيۚ رَبَّنَا وَتَقَبَّلۡ دُعَآءِ ﴿٤٠﴾

Ayi Mukama omulabirizi wange nfuula ayimirizaawo e sswala, ne muzadde lyange (ojjemu abakola ekyo) ayi Mukama omulabirizi waffe nkusaba okkirize okusaba kwange.

Al-Isra 17:78

أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِدُلُوكِ ٱلشَّمۡسِ إِلَىٰ غَسَقِ ٱلَّيۡلِ وَقُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِۖ إِنَّ قُرۡءَانَ ٱلۡفَجۡرِ كَانَ مَشۡهُودٗا ﴿٧٨﴾

. Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako.

Al-Isra 17:79

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَتَهَجَّدۡ بِهِۦ نَافِلَةٗ لَّكَ عَسَىٰٓ أَن يَبۡعَثَكَ رَبُّكَ مَقَامٗا مَّحۡمُودٗا ﴿٧٩﴾

. Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa.

Al-Isra 17:110

قُلِ ٱدۡعُواْ ٱللَّهَ أَوِ ٱدۡعُواْ ٱلرَّحۡمَٰنَۖ أَيّٗا مَّا تَدۡعُواْ فَلَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَلَا تَجۡهَرۡ بِصَلَاتِكَ وَلَا تُخَافِتۡ بِهَا وَٱبۡتَغِ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلٗا ﴿١١٠﴾

. Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo.

Maryam 19:31

وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيّٗا ﴿٣١﴾

. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.

Maryam 19:55

وَكَانَ يَأۡمُرُ أَهۡلَهُۥ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ وَكَانَ عِندَ رَبِّهِۦ مَرۡضِيّٗا ﴿٥٥﴾

. Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe.

Taha 20:14

إِنَّنِيٓ أَنَا ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدۡنِي وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِذِكۡرِيٓ ﴿١٤﴾

. Mazima nze, nze Katonda nga tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo.

Taha 20:132

وَأۡمُرۡ أَهۡلَكَ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱصۡطَبِرۡ عَلَيۡهَاۖ لَا نَسۡـَٔلُكَ رِزۡقٗاۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكَۗ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلتَّقۡوَىٰ ﴿١٣٢﴾

. Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda.

Al-Anbya 21:73

وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَهۡدُونَ بِأَمۡرِنَا وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِمۡ فِعۡلَ ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَإِقَامَ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءَ ٱلزَّكَوٰةِۖ وَكَانُواْ لَنَا عَٰبِدِينَ ﴿٧٣﴾

. Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza.

Al-Hajj 22:35

ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَٱلصَّـٰبِرِينَ عَلَىٰ مَآ أَصَابَهُمۡ وَٱلۡمُقِيمِي ٱلصَّلَوٰةِ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿٣٥﴾

. (Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira.

Al-Hajj 22:41

ٱلَّذِينَ إِن مَّكَّنَّـٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَمَرُواْ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَنَهَوۡاْ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۗ وَلِلَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ ﴿٤١﴾

. (Katonda baataasa) beebo bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka nebalagira okuyisa obulungi, nebaziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Katonda.

Al-Hajj 22:77

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱرۡكَعُواْ وَٱسۡجُدُواْۤ وَٱعۡبُدُواْ رَبَّكُمۡ وَٱفۡعَلُواْ ٱلۡخَيۡرَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ۩ ﴿٧٧﴾

. Abange mmwe abakkiriza mukutame (nga mukutte ku maviivi) era muvunname, musinze Mukama omulabirizi wa mmwe, era mukole obulungi musobole okutuuka ku buwanguzi.

Al-Hajj 22:78

وَجَٰهِدُواْ فِي ٱللَّهِ حَقَّ جِهَادِهِۦۚ هُوَ ٱجۡتَبَىٰكُمۡ وَمَا جَعَلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلدِّينِ مِنۡ حَرَجٖۚ مِّلَّةَ أَبِيكُمۡ إِبۡرَٰهِيمَۚ هُوَ سَمَّىٰكُمُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ مِن قَبۡلُ وَفِي هَٰذَا لِيَكُونَ ٱلرَّسُولُ شَهِيدًا عَلَيۡكُمۡ وَتَكُونُواْ شُهَدَآءَ عَلَى ٱلنَّاسِۚ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱعۡتَصِمُواْ بِٱللَّهِ هُوَ مَوۡلَىٰكُمۡۖ فَنِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ ﴿٧٨﴾

. Era mulafuubane nga muweereza (mu kkubo lya) Katonda mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo, yye (Katonda) ye yabalonda (ku lwe ddiiniye) era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna, nga ye ddiini ya Mukadde wa mmwe Ibrahimu, yye y'eyabatuuma abasiraamu oluberyeberye (mu bitabo ebyakulembera) ne mu (Kur’ani) eno olwo nno omubaka abeere mujulizi ku mmwe nammwe mubeere bajulizi ku bantu (abalala) kaakano nno muyimirizeewo e sswala muwe ne Zakka era mwekwase Katonda yye ye mukuumi wa mmwe, kale mulungi nnyo omukuumi (oyo) era mulungi nnyo omutaasa oyo.

Al-Mu'minun 23:1

قَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿١﴾

. Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi.

Al-Mu'minun 23:2

ٱلَّذِينَ هُمۡ فِي صَلَاتِهِمۡ خَٰشِعُونَ ﴿٢﴾

. Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe.

Al-Mu'minun 23:9

وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَوَٰتِهِمۡ يُحَافِظُونَ ﴿٩﴾

. Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe.

An-Nur 24:37

رِجَالٞ لَّا تُلۡهِيهِمۡ تِجَٰرَةٞ وَلَا بَيۡعٌ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَإِقَامِ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءِ ٱلزَّكَوٰةِ يَخَافُونَ يَوۡمٗا تَتَقَلَّبُ فِيهِ ٱلۡقُلُوبُ وَٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿٣٧﴾

. Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.

An-Nur 24:41

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُسَبِّحُ لَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلطَّيۡرُ صَـٰٓفَّـٰتٖۖ كُلّٞ قَدۡ عَلِمَ صَلَاتَهُۥ وَتَسۡبِيحَهُۥۗ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِمَا يَفۡعَلُونَ ﴿٤١﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

An-Nur 24:56

وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ﴿٥٦﴾

. Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa.

Al-'Ankabut 29:45

ٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَۖ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ تَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۗ وَلَذِكۡرُ ٱللَّهِ أَكۡبَرُۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَصۡنَعُونَ ﴿٤٥﴾

. Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola.

Emitwe