quranm◉

Emitwe · lg

240 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:31

وَعَلَّمَ ءَادَمَ ٱلۡأَسۡمَآءَ كُلَّهَا ثُمَّ عَرَضَهُمۡ عَلَى ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ فَقَالَ أَنۢبِـُٔونِي بِأَسۡمَآءِ هَـٰٓؤُلَآءِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٣١﴾

(Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga ba Malayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (Nti mwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi).

Al-Baqarah 2:32

قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ لَا عِلۡمَ لَنَآ إِلَّا مَا عَلَّمۡتَنَآۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٣٢﴾

Nebagamba nga batendereza nti; oli wanjawulo, ffe tetulina kyetumanyi okugyako ekyo kyoba otuyigirizza. Mazima ggwe muyitirivu w'okumanya omuyitirivu wa magezi.

Al-Baqarah 2:75

۞أَفَتَطۡمَعُونَ أَن يُؤۡمِنُواْ لَكُمۡ وَقَدۡ كَانَ فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ يَسۡمَعُونَ كَلَٰمَ ٱللَّهِ ثُمَّ يُحَرِّفُونَهُۥ مِنۢ بَعۡدِ مَا عَقَلُوهُ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿٧٥﴾

Abaffe (abakkiriza) mwettanira (Abayudaaya) okuba nga bakkiriza eddiini yammwe, so nga ekiwayi ekimu mu bo bawulira ebigambo bya Katonda ne babikyusa oluvanyuma lw'okubitegeera. Kino nga bakikola mu bugenderevu.

Al-Baqarah 2:78

وَمِنۡهُمۡ أُمِّيُّونَ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّآ أَمَانِيَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَظُنُّونَ ﴿٧٨﴾

Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taurat). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kyebaliko, okugyako bateebereza buteebereza.

Al-Baqarah 2:114

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن مَّنَعَ مَسَٰجِدَ ٱللَّهِ أَن يُذۡكَرَ فِيهَا ٱسۡمُهُۥ وَسَعَىٰ فِي خَرَابِهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ مَا كَانَ لَهُمۡ أَن يَدۡخُلُوهَآ إِلَّا خَآئِفِينَۚ لَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٞ ﴿١١٤﴾

Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo aziyiza okutendereza erinnya lya Katonda mu mizikiti gye, ng'afuba okugyonoona. Tebasaana kugiyingira wabula nga bali mu kutya. Balina obuswavu mu nsi, nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kufuna ebibonerezo ebikakali.

Al-Baqarah 2:121

ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَتۡلُونَهُۥ حَقَّ تِلَاوَتِهِۦٓ أُوْلَـٰٓئِكَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۗ وَمَن يَكۡفُرۡ بِهِۦ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿١٢١﴾

Abo betwawa ekitabo ne bakisoma mu utuufu bw'okukisoma, bo bakikkiriza, wabula abo abakiwakanya abo nno be 'okufaafaaganirwa.

Al-Baqarah 2:129

رَبَّنَا وَٱبۡعَثۡ فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡهُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِكَ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَيُزَكِّيهِمۡۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١٢٩﴾

Ayi mukama omulezi waffe (Katonda) batumire omubaka ng'ava mu bo ng'abasomera abigambo byo era ng'abayigiriza ekitabo n'ebintu ebyamagezi era abatukuze. Mazima ggwe wakitiibwa asinga okuba ow'amagezi.

Al-Baqarah 2:151

كَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِيكُمۡ رَسُولٗا مِّنكُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِنَا وَيُزَكِّيكُمۡ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَيُعَلِّمُكُم مَّا لَمۡ تَكُونُواْ تَعۡلَمُونَ ﴿١٥١﴾

Kino kiringa bwe twabatumira omubaka ng'ava mu mmwe n'abeera ng'abasomera ebigambo byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza ekitabo n'abayigiriza n'okunnyonnyola, n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi.

Al-Baqarah 2:247

وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ بَعَثَ لَكُمۡ طَالُوتَ مَلِكٗاۚ قَالُوٓاْ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ عَلَيۡنَا وَنَحۡنُ أَحَقُّ بِٱلۡمُلۡكِ مِنۡهُ وَلَمۡ يُؤۡتَ سَعَةٗ مِّنَ ٱلۡمَالِۚ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰهُ عَلَيۡكُمۡ وَزَادَهُۥ بَسۡطَةٗ فِي ٱلۡعِلۡمِ وَٱلۡجِسۡمِۖ وَٱللَّهُ يُؤۡتِي مُلۡكَهُۥ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿٢٤٧﴾

Nabbi waabwe kwekubaanukula nti mazima Katonda alonze Twaluta okuba kabaka wamwe. Bo kwekugamba nti ayinza atya okuba kabaka waffe songa ffe tusaanira obw’akabaka okumusinga, ng'era teyaweebwa bugazi bwa byanfuna. (Nabbi waabwe) n'abagamba nti Mukama Katonda amulonze mu mmwe era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Katonda awa obufuzi bwe oyo gwaba ayagadde. Era Katonda mugazi era mumanyi.

Al-Baqarah 2:251

فَهَزَمُوهُم بِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَقَتَلَ دَاوُۥدُ جَالُوتَ وَءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَهُۥ مِمَّا يَشَآءُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّفَسَدَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٥١﴾

Ku lw'obuyinza bwa Katonda baabawangula. Dauda natta Jaaluuta era Katonda naamuwa obufuzi n'amagezi era nga bweyamuwa okumanya ebyo byeyayagala amanye. Singa tekyali nti Katonda aggyawo abantu nga akozesa abamu okugyawo bannaabwe, ensi yandiyonoonese. Naye mazima ddala Katonda ebitondebye abyagaliza bulungi.

Al-Baqarah 2:269

يُؤۡتِي ٱلۡحِكۡمَةَ مَن يَشَآءُۚ وَمَن يُؤۡتَ ٱلۡحِكۡمَةَ فَقَدۡ أُوتِيَ خَيۡرٗا كَثِيرٗاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٢٦٩﴾

Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gwaba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo.

Al-Baqarah 2:282

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا تَدَايَنتُم بِدَيۡنٍ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى فَٱكۡتُبُوهُۚ وَلۡيَكۡتُب بَّيۡنَكُمۡ كَاتِبُۢ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَلَا يَأۡبَ كَاتِبٌ أَن يَكۡتُبَ كَمَا عَلَّمَهُ ٱللَّهُۚ فَلۡيَكۡتُبۡ وَلۡيُمۡلِلِ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥ وَلَا يَبۡخَسۡ مِنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ فَإِن كَانَ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ سَفِيهًا أَوۡ ضَعِيفًا أَوۡ لَا يَسۡتَطِيعُ أَن يُمِلَّ هُوَ فَلۡيُمۡلِلۡ وَلِيُّهُۥ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَٱسۡتَشۡهِدُواْ شَهِيدَيۡنِ مِن رِّجَالِكُمۡۖ فَإِن لَّمۡ يَكُونَا رَجُلَيۡنِ فَرَجُلٞ وَٱمۡرَأَتَانِ مِمَّن تَرۡضَوۡنَ مِنَ ٱلشُّهَدَآءِ أَن تَضِلَّ إِحۡدَىٰهُمَا فَتُذَكِّرَ إِحۡدَىٰهُمَا ٱلۡأُخۡرَىٰۚ وَلَا يَأۡبَ ٱلشُّهَدَآءُ إِذَا مَا دُعُواْۚ وَلَا تَسۡـَٔمُوٓاْ أَن تَكۡتُبُوهُ صَغِيرًا أَوۡ كَبِيرًا إِلَىٰٓ أَجَلِهِۦۚ ذَٰلِكُمۡ أَقۡسَطُ عِندَ ٱللَّهِ وَأَقۡوَمُ لِلشَّهَٰدَةِ وَأَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَرۡتَابُوٓاْ إِلَّآ أَن تَكُونَ تِجَٰرَةً حَاضِرَةٗ تُدِيرُونَهَا بَيۡنَكُمۡ فَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَلَّا تَكۡتُبُوهَاۗ وَأَشۡهِدُوٓاْ إِذَا تَبَايَعۡتُمۡۚ وَلَا يُضَآرَّ كَاتِبٞ وَلَا شَهِيدٞۚ وَإِن تَفۡعَلُواْ فَإِنَّهُۥ فُسُوقُۢ بِكُمۡۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱللَّهُۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿٢٨٢﴾

Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye nga ebbanja liriko ekiseera ekigere muwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bwaba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olwobutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano zino) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mwabo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, era nga singa omukyala omu obujulizi buba bumutabuseeko mu mmwe, munne asobola okumujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo werigwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri yeemu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lyenkanawa oba lyakusasula ddi) okugyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mwekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era nebwe muba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu.

Ali 'Imran 3:7

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ مِنۡهُ ءَايَٰتٞ مُّحۡكَمَٰتٌ هُنَّ أُمُّ ٱلۡكِتَٰبِ وَأُخَرُ مُتَشَٰبِهَٰتٞۖ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِمۡ زَيۡغٞ فَيَتَّبِعُونَ مَا تَشَٰبَهَ مِنۡهُ ٱبۡتِغَآءَ ٱلۡفِتۡنَةِ وَٱبۡتِغَآءَ تَأۡوِيلِهِۦۖ وَمَا يَعۡلَمُ تَأۡوِيلَهُۥٓ إِلَّا ٱللَّهُۗ وَٱلرَّـٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ يَقُولُونَ ءَامَنَّا بِهِۦ كُلّٞ مِّنۡ عِندِ رَبِّنَاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٧﴾

Yye, yooyo eyassa ku ggwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mulimu mu kyo ebitundu nga aya zaamu nyinyonnyofu ebyo ngagwemusingi gwekitabo (Kur’ani). Era mulimu ebitundu ebirala nga Aya zaamu ziwa amakulu agafaanagana (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okugyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okugyako ba nannyini magezi amasukkulumu.

Ali 'Imran 3:18

شَهِدَ ٱللَّهُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَأُوْلُواْ ٱلۡعِلۡمِ قَآئِمَۢا بِٱلۡقِسۡطِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١٨﴾

Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.

Ali 'Imran 3:79

مَا كَانَ لِبَشَرٍ أَن يُؤۡتِيَهُ ٱللَّهُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ ثُمَّ يَقُولَ لِلنَّاسِ كُونُواْ عِبَادٗا لِّي مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلَٰكِن كُونُواْ رَبَّـٰنِيِّـۧنَ بِمَا كُنتُمۡ تُعَلِّمُونَ ٱلۡكِتَٰبَ وَبِمَا كُنتُمۡ تَدۡرُسُونَ ﴿٧٩﴾

Tekigwanira muntu yenna okuba nga Katonda amuwa ekitabo n’okumanya ensonga, n'obwa Nabbi, ate naagamba Abantu nti mubeere baddu bange (munsinze) muve ku Katonda. (kyeyandibagambye kyandibadde nti:) Naye mubeere abasinza Katonda okusinziira ku kuba nti mmwe mubadde muyigiriza abantu abalala ekitabo, era n'olwokuba nti mubadde mukisoma (n'olwekyo mumanyi ekituufu ekyokukola).

Ali 'Imran 3:113

۞لَيۡسُواْ سَوَآءٗۗ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ أُمَّةٞ قَآئِمَةٞ يَتۡلُونَ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ وَهُمۡ يَسۡجُدُونَ ﴿١١٣﴾

Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama.

Ali 'Imran 3:164

لَقَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذۡ بَعَثَ فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡ أَنفُسِهِمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُزَكِّيهِمۡ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلُ لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿١٦٤﴾

Mazima Katonda yawa Abakkiriza ekyengera bweyabatumamu omubaka nga ava mu bo, nga abasomera ebigambo by’a Katonda, era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebyamagezi (Hadith) newaakubadde nga mu kusooka baali mu bubuze obweyolefu.

Ali 'Imran 3:191

ٱلَّذِينَ يَذۡكُرُونَ ٱللَّهَ قِيَٰمٗا وَقُعُودٗا وَعَلَىٰ جُنُوبِهِمۡ وَيَتَفَكَّرُونَ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبَّنَا مَا خَلَقۡتَ هَٰذَا بَٰطِلٗا سُبۡحَٰنَكَ فَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿١٩١﴾

Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde oba nga batudde, oba nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri eggulu omusanvu ne nsi gyebyatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olwekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro.

An-Nisa 4:54

أَمۡ يَحۡسُدُونَ ٱلنَّاسَ عَلَىٰ مَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦۖ فَقَدۡ ءَاتَيۡنَآ ءَالَ إِبۡرَٰهِيمَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَءَاتَيۡنَٰهُم مُّلۡكًا عَظِيمٗا ﴿٥٤﴾

Oba bakwatibwa ensalwa olwebyo Katonda byeyawa abantu (Nabbi Muhammad n’abamukkiriza) so nga ate twawa aboolulyo lwa Nabbi Ibrahim ekitabo n’ebigambo ebyamagezi era netubawa obufuzi obugazi.

An-Nisa 4:83

وَإِذَا جَآءَهُمۡ أَمۡرٞ مِّنَ ٱلۡأَمۡنِ أَوِ ٱلۡخَوۡفِ أَذَاعُواْ بِهِۦۖ وَلَوۡ رَدُّوهُ إِلَى ٱلرَّسُولِ وَإِلَىٰٓ أُوْلِي ٱلۡأَمۡرِ مِنۡهُمۡ لَعَلِمَهُ ٱلَّذِينَ يَسۡتَنۢبِطُونَهُۥ مِنۡهُمۡۗ وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ لَٱتَّبَعۡتُمُ ٱلشَّيۡطَٰنَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٨٣﴾

Bwebajjirwa e kigambo e kyemirembe oba e kyentiisa bakiraalaasa, so singa bakizza eri omubaka oba abo abakwatibwako ensonga mu bo, bandikitegedde abo abalina obusobozi bwokusengejja amakulu gaayo, singa tebyali birungi Katonda byabawa n’okusaasira kwe mwandigoberedde Sitane mpozzi abatono mu mmwe.

An-Nisa 4:113

وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ وَرَحۡمَتُهُۥ لَهَمَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ أَن يُضِلُّوكَ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡۖ وَمَا يَضُرُّونَكَ مِن شَيۡءٖۚ وَأَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَكَ مَا لَمۡ تَكُن تَعۡلَمُۚ وَكَانَ فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ عَظِيمٗا ﴿١١٣﴾

Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo.

An-Nisa 4:162

لَّـٰكِنِ ٱلرَّـٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ مِنۡهُمۡ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ يُؤۡمِنُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَۚ وَٱلۡمُقِيمِينَ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَٱلۡمُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ أُوْلَـٰٓئِكَ سَنُؤۡتِيهِمۡ أَجۡرًا عَظِيمًا ﴿١٦٢﴾

Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’abakkiriza ebyassibwa gyoli, n'ebyassibwa oluberyeberyelwo, era abayimirizaawo e sswala, nebawaayo nezzaka, era abakkiriza Katonda n’olunaku lwe nkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu.

Al-Ma'idah 5:4

يَسۡـَٔلُونَكَ مَاذَآ أُحِلَّ لَهُمۡۖ قُلۡ أُحِلَّ لَكُمُ ٱلطَّيِّبَٰتُ وَمَا عَلَّمۡتُم مِّنَ ٱلۡجَوَارِحِ مُكَلِّبِينَ تُعَلِّمُونَهُنَّ مِمَّا عَلَّمَكُمُ ٱللَّهُۖ فَكُلُواْ مِمَّآ أَمۡسَكۡنَ عَلَيۡكُمۡ وَٱذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَيۡهِۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿٤﴾

Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) ebibakkirizibwa (okulya), gamba nti mukkirizibwa okulya ebirungi, era (mukkirizibwa okulya) n’okulya ebyo ebikwatiddwa ebiyigga byemutendese nemuyigiriza ddala okusinziira nga Katonda bweyabayigiriza, bweguba gutyo mulye ebyo bye bibakwatira, era mubyogerereko erinnya lya Katonda (nga mubisindika okugenda okukwata ensolo) era mutye Katonda, anti mazima Katonda mwangu wa kubala.

Al-An'am 6:83

وَتِلۡكَ حُجَّتُنَآ ءَاتَيۡنَٰهَآ إِبۡرَٰهِيمَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦۚ نَرۡفَعُ دَرَجَٰتٖ مَّن نَّشَآءُۗ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿٨٣﴾

Obwo bwe bujulizi bwaffe bwe twawa Ibrahim akozese ku bantube (e kyamussa mu kifo e kyenjawulo), bulijjo tusitula amadaala gw’oyo gwetuba twagadde, anti mazima ddala Mukama omulabiriziwo agoba nsonga mumanyi nnyo.

Al-An'am 6:89

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَۚ فَإِن يَكۡفُرۡ بِهَا هَـٰٓؤُلَآءِ فَقَدۡ وَكَّلۡنَا بِهَا قَوۡمٗا لَّيۡسُواْ بِهَا بِكَٰفِرِينَ ﴿٨٩﴾

Abo beebo be twawa e kitabo n’obufuzi n’obwa Nabbi, kati bano bwe baba nga bawakanya e bintu e byo, mazima twabikwasa abantu abatagenda kubiwakanya.

Al-An'am 6:91

وَمَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓ إِذۡ قَالُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَىٰ بَشَرٖ مِّن شَيۡءٖۗ قُلۡ مَنۡ أَنزَلَ ٱلۡكِتَٰبَ ٱلَّذِي جَآءَ بِهِۦ مُوسَىٰ نُورٗا وَهُدٗى لِّلنَّاسِۖ تَجۡعَلُونَهُۥ قَرَاطِيسَ تُبۡدُونَهَا وَتُخۡفُونَ كَثِيرٗاۖ وَعُلِّمۡتُم مَّا لَمۡ تَعۡلَمُوٓاْ أَنتُمۡ وَلَآ ءَابَآؤُكُمۡۖ قُلِ ٱللَّهُۖ ثُمَّ ذَرۡهُمۡ فِي خَوۡضِهِمۡ يَلۡعَبُونَ ﴿٩١﴾

(Wabula Abayudaaya) tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Katonda tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (gwe Nnabbi Muhammad) nti ani yassa e kitabo e kyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era e kyokulungama eri abantu, (mmwe) kye mwafuula e mpapula zemulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde ba mmwe, bagambe nti Katonda ye yassa e kitabo e kyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya.

Al-An'am 6:148

سَيَقُولُ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ لَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَآ أَشۡرَكۡنَا وَلَآ ءَابَآؤُنَا وَلَا حَرَّمۡنَا مِن شَيۡءٖۚ كَذَٰلِكَ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ حَتَّىٰ ذَاقُواْ بَأۡسَنَاۗ قُلۡ هَلۡ عِندَكُم مِّنۡ عِلۡمٖ فَتُخۡرِجُوهُ لَنَآۖ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَإِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا تَخۡرُصُونَ ﴿١٤٨﴾

Abo abagatta ebintu e birala ku Katonda bajja kugamba nti singa Katonda yayagala ffe ne bakadde baffe tetwandigasse kintu kirala ku Katonda, era tewali kintu kye twandifudde Haramu, bwe batyo n'abaakulembera bwe baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bwe bibonerezo byaffe, gamba nti abaffe (mwogera e byo) nga mulina kye musinziirako! kale mu kitulage, tewali kye mugoberera okugyako okufumiitiriza era kye mukola si kirala okugyako okuteebereza.

Al-A'raf 7:61

قَالَ يَٰقَوۡمِ لَيۡسَ بِي ضَلَٰلَةٞ وَلَٰكِنِّي رَسُولٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٦١﴾

Naagamba nti bantu bange siriiko bubuze bwonna naye mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.

Al-A'raf 7:62

أُبَلِّغُكُمۡ رِسَٰلَٰتِ رَبِّي وَأَنصَحُ لَكُمۡ وَأَعۡلَمُ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٦٢﴾

Nga mbatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nga mbabuulirira, era nga mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi.

At-Tawbah 9:122

۞وَمَا كَانَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ لِيَنفِرُواْ كَآفَّةٗۚ فَلَوۡلَا نَفَرَ مِن كُلِّ فِرۡقَةٖ مِّنۡهُمۡ طَآئِفَةٞ لِّيَتَفَقَّهُواْ فِي ٱلدِّينِ وَلِيُنذِرُواْ قَوۡمَهُمۡ إِذَا رَجَعُوٓاْ إِلَيۡهِمۡ لَعَلَّهُمۡ يَحۡذَرُونَ ﴿١٢٢﴾

Abakkiriza tebateekwa bonna kufuluma kugenda (kulafuubana mu kkubo lya Katonda) naye singa mu buli bantu muvaamu e kibinja ne bagenda bakuguka mu kumanya e ddiini olwo nno bagende babuulirire abantu baabwe nga bakomyewo gye bali ekyo nno kibasobozese okwekeka (ebitakkirizibwa).

Yunus 10:39

بَلۡ كَذَّبُواْ بِمَا لَمۡ يُحِيطُواْ بِعِلۡمِهِۦ وَلَمَّا يَأۡتِهِمۡ تَأۡوِيلُهُۥۚ كَذَٰلِكَ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٣٩﴾

Wabula baalimbisa ebyo bye bataamanyira ddala mu bujjuvu, nga n'enzivuunula y'abyo tennabajjira bwe batyo abaabakulembera bwe baalimbisa naye tunula olabe enkomerero y'a beeyisa obubi yali etya!.

Hud 11:49

تِلۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡغَيۡبِ نُوحِيهَآ إِلَيۡكَۖ مَا كُنتَ تَعۡلَمُهَآ أَنتَ وَلَا قَوۡمُكَ مِن قَبۡلِ هَٰذَاۖ فَٱصۡبِرۡۖ إِنَّ ٱلۡعَٰقِبَةَ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿٤٩﴾

Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammad) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (e nnungi) y’abatya Katonda.

Yusuf 12:6

وَكَذَٰلِكَ يَجۡتَبِيكَ رَبُّكَ وَيُعَلِّمُكَ مِن تَأۡوِيلِ ٱلۡأَحَادِيثِ وَيُتِمُّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكَ وَعَلَىٰٓ ءَالِ يَعۡقُوبَ كَمَآ أَتَمَّهَا عَلَىٰٓ أَبَوَيۡكَ مِن قَبۡلُ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَۚ إِنَّ رَبَّكَ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿٦﴾

Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga.

Yusuf 12:21

وَقَالَ ٱلَّذِي ٱشۡتَرَىٰهُ مِن مِّصۡرَ لِٱمۡرَأَتِهِۦٓ أَكۡرِمِي مَثۡوَىٰهُ عَسَىٰٓ أَن يَنفَعَنَآ أَوۡ نَتَّخِذَهُۥ وَلَدٗاۚ وَكَذَٰلِكَ مَكَّنَّا لِيُوسُفَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلِنُعَلِّمَهُۥ مِن تَأۡوِيلِ ٱلۡأَحَادِيثِۚ وَٱللَّهُ غَالِبٌ عَلَىٰٓ أَمۡرِهِۦ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٢١﴾

Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Katonda ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi.

Yusuf 12:22

وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُۥٓ ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٢٢﴾

Bwe yasajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya, era bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi.

Yusuf 12:37

قَالَ لَا يَأۡتِيكُمَا طَعَامٞ تُرۡزَقَانِهِۦٓ إِلَّا نَبَّأۡتُكُمَا بِتَأۡوِيلِهِۦ قَبۡلَ أَن يَأۡتِيَكُمَاۚ ذَٰلِكُمَا مِمَّا عَلَّمَنِي رَبِّيٓۚ إِنِّي تَرَكۡتُ مِلَّةَ قَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ كَٰفِرُونَ ﴿٣٧﴾

(Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Katonda, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero.

Yusuf 12:46

يُوسُفُ أَيُّهَا ٱلصِّدِّيقُ أَفۡتِنَا فِي سَبۡعِ بَقَرَٰتٖ سِمَانٖ يَأۡكُلُهُنَّ سَبۡعٌ عِجَافٞ وَسَبۡعِ سُنۢبُلَٰتٍ خُضۡرٖ وَأُخَرَ يَابِسَٰتٖ لَّعَلِّيٓ أَرۡجِعُ إِلَى ٱلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿٤٦﴾

(Bwe yatuuka mu kkomera) naagamba nti Yusuf owange ggwe omwogera mazima tubuulire amakulu g'ekirooto nga ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gy'ente musanvu, ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebirala musanvu bikalu, olwo nno nzire eri abantu mbabuulire babe nga bamanya.

Yusuf 12:68

وَلَمَّا دَخَلُواْ مِنۡ حَيۡثُ أَمَرَهُمۡ أَبُوهُم مَّا كَانَ يُغۡنِي عَنۡهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٍ إِلَّا حَاجَةٗ فِي نَفۡسِ يَعۡقُوبَ قَضَىٰهَاۚ وَإِنَّهُۥ لَذُو عِلۡمٖ لِّمَا عَلَّمۡنَٰهُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٦٨﴾

Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

Yusuf 12:76

فَبَدَأَ بِأَوۡعِيَتِهِمۡ قَبۡلَ وِعَآءِ أَخِيهِ ثُمَّ ٱسۡتَخۡرَجَهَا مِن وِعَآءِ أَخِيهِۚ كَذَٰلِكَ كِدۡنَا لِيُوسُفَۖ مَا كَانَ لِيَأۡخُذَ أَخَاهُ فِي دِينِ ٱلۡمَلِكِ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ نَرۡفَعُ دَرَجَٰتٖ مَّن نَّشَآءُۗ وَفَوۡقَ كُلِّ ذِي عِلۡمٍ عَلِيمٞ ﴿٧٦﴾

(Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Katonda teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako).

Yusuf 12:86

قَالَ إِنَّمَآ أَشۡكُواْ بَثِّي وَحُزۡنِيٓ إِلَى ٱللَّهِ وَأَعۡلَمُ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٨٦﴾

Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Katonda era mmanyi okuva eri Katonda bye mutamanyi.

Yusuf 12:96

فَلَمَّآ أَن جَآءَ ٱلۡبَشِيرُ أَلۡقَىٰهُ عَلَىٰ وَجۡهِهِۦ فَٱرۡتَدَّ بَصِيرٗاۖ قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٩٦﴾

Eyaleeta amawulire ag'esssanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa ku kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi.

Yusuf 12:101

۞رَبِّ قَدۡ ءَاتَيۡتَنِي مِنَ ٱلۡمُلۡكِ وَعَلَّمۡتَنِي مِن تَأۡوِيلِ ٱلۡأَحَادِيثِۚ فَاطِرَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ أَنتَ وَلِيِّۦ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۖ تَوَفَّنِي مُسۡلِمٗا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿١٠١﴾

Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde kyompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi.

Ar-Ra'd 13:19

۞أَفَمَن يَعۡلَمُ أَنَّمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ ٱلۡحَقُّ كَمَنۡ هُوَ أَعۡمَىٰٓۚ إِنَّمَا يَتَذَكَّرُ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿١٩﴾

Abaffe oyo amanyi nti ebyassibwa ku ggwe okuva ewa Mukama omulabiriziwo ge mazima ayinza okuba nga oyo muzibe (atalaba mazima ago). Mazima aba magezi be bajjukira.

Ar-Ra'd 13:43

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَسۡتَ مُرۡسَلٗاۚ قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدَۢا بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡ وَمَنۡ عِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلۡكِتَٰبِ ﴿٤٣﴾

Era abo abaakaafuwala bagamba nti toli mutume, bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange na mmwe, n'abo abalina okumanya nga kuva mu kitabo (Abayudaaya na Banaswara).

Ibrahim 14:4

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن رَّسُولٍ إِلَّا بِلِسَانِ قَوۡمِهِۦ لِيُبَيِّنَ لَهُمۡۖ فَيُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٤﴾

Tetutumanga Mubaka yenna okugyako mu lulimi lwa bantube, alyoke abe nga abannyonnyola (buli nsonga etegeerekeke) olwo nno Katonda abuze gwaba ayagadde era alungamye gwaba ayagadde, anti yye nga bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

Al-Hijr 15:53

قَالُواْ لَا تَوۡجَلۡ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ عَلِيمٖ ﴿٥٣﴾

Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo.

An-Nahl 16:27

ثُمَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يُخۡزِيهِمۡ وَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تُشَـٰٓقُّونَ فِيهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ إِنَّ ٱلۡخِزۡيَ ٱلۡيَوۡمَ وَٱلسُّوٓءَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٧﴾

Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri.

An-Nahl 16:43

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٤٣﴾

Tetutumanga oluberyeberyelwo okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze ba nannyini kumanya bwe muba nga temumanyi.

An-Nahl 16:70

وَٱللَّهُ خَلَقَكُمۡ ثُمَّ يَتَوَفَّىٰكُمۡۚ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡ لَا يَعۡلَمَ بَعۡدَ عِلۡمٖ شَيۡـًٔاۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٞ قَدِيرٞ ﴿٧٠﴾

Era Katonda yeeyabatonda oluvanyuma y’abatta, era mu mmwe mulimu abazzibwa eri obulamu obusinga okuba obwa wansi, olwo nno (omuntu) atuuke okuba nga takyamanyi kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nti yali amanyi. Mazima Katonda amanyi nnyo muyinza.

An-Nahl 16:78

وَٱللَّهُ أَخۡرَجَكُم مِّنۢ بُطُونِ أُمَّهَٰتِكُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ شَيۡـٔٗا وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿٧٨﴾

Era Katonda yabagya mu mbuto za bannyamwe nga temulina kyemumanyi, naabawa amatu, n'amaaso, n'emitima mube nga mwebaza.

Emitwe