وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱرۡكَعُواْ مَعَ ٱلرَّـٰكِعِينَ ﴿٤٣﴾
Muyimirizeewo e sswala, mutoole zzaka, era mukutame n'abo abakutama.
73 Aya · Emitwe · lg
وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱرۡكَعُواْ مَعَ ٱلرَّـٰكِعِينَ ﴿٤٣﴾
Muyimirizeewo e sswala, mutoole zzaka, era mukutame n'abo abakutama.
وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَمَا تُقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُم مِّنۡ خَيۡرٖ تَجِدُوهُ عِندَ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿١١٠﴾
Era muyimirizeewo e sswala, mutoole ne zzaka. Na buli kalungi konna kemwekolera mugenda kukasanga ewa Katonda. Mazima Katonda alaba mu bujjuvu ebyo bye mukola.
يَسۡـَٔلُونَكَ مَاذَا يُنفِقُونَۖ قُلۡ مَآ أَنفَقۡتُم مِّنۡ خَيۡرٖ فَلِلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِۗ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٞ ﴿٢١٥﴾
Bakubuuza biki bye baba bawaayo. Bagambe nti buli kyonna kyemuwaayo mu birungi kiweebwa abazadde ababiri, abooluganda, bamulekwa, abeetaavu nabatambuze. Era (mukimanye) buli kalungi konna kemukola mazima ddala Katonda akamanyi.
مَّثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ كَمَثَلِ حَبَّةٍ أَنۢبَتَتۡ سَبۡعَ سَنَابِلَ فِي كُلِّ سُنۢبُلَةٖ مِّاْئَةُ حَبَّةٖۗ وَٱللَّهُ يُضَٰعِفُ لِمَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٌ ﴿٢٦١﴾
Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya.
ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ لَا يُتۡبِعُونَ مَآ أَنفَقُواْ مَنّٗا وَلَآ أَذٗى لَّهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٢٦٢﴾
Abo abawaayo e mmaali mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala.
إِن تُبۡدُواْ ٱلصَّدَقَٰتِ فَنِعِمَّا هِيَۖ وَإِن تُخۡفُوهَا وَتُؤۡتُوهَا ٱلۡفُقَرَآءَ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۚ وَيُكَفِّرُ عَنكُم مِّن سَيِّـَٔاتِكُمۡۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿٢٧١﴾
Saddaaka bwemuziwa mu lwatu kiba kirungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi, era ekyo kibasonyiyisa ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola.
لِلۡفُقَرَآءِ ٱلَّذِينَ أُحۡصِرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا يَسۡتَطِيعُونَ ضَرۡبٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ يَحۡسَبُهُمُ ٱلۡجَاهِلُ أَغۡنِيَآءَ مِنَ ٱلتَّعَفُّفِ تَعۡرِفُهُم بِسِيمَٰهُمۡ لَا يَسۡـَٔلُونَ ٱلنَّاسَ إِلۡحَافٗاۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٌ ﴿٢٧٣﴾
(Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutakabana nga banoonya riziki mu nsi. Olwensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga osobola okubamanya olwobubonero bwaabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyira ddala.
ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ فَلَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٢٧٤﴾
Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala.
يَمۡحَقُ ٱللَّهُ ٱلرِّبَوٰاْ وَيُرۡبِي ٱلصَّدَقَٰتِۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ كُلَّ كَفَّارٍ أَثِيمٍ ﴿٢٧٦﴾
Katonda agya emikisa mu mmaali ya Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda).
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٢٧٧﴾
Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.
وَإِن كَانَ ذُو عُسۡرَةٖ فَنَظِرَةٌ إِلَىٰ مَيۡسَرَةٖۚ وَأَن تَصَدَّقُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٢٨٠﴾
Abanjibwa bwaba nga ali mu buzibu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi.
مَّن ذَا ٱلَّذِي يُقۡرِضُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا فَيُضَٰعِفَهُۥ لَهُۥٓ أَضۡعَافٗا كَثِيرَةٗۚ وَٱللَّهُ يَقۡبِضُ وَيَبۡصُۜطُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿٢٤٥﴾
Ani oyo awola Katonda okuwola okulungi alyoke abe nga akumubalizaamu emirundi emingi. Era Katonda y'afunza era n'agaziya (enfuna y’omuntu) so nga era gyali gye mulizzibwa.
ٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡمُنفِقِينَ وَٱلۡمُسۡتَغۡفِرِينَ بِٱلۡأَسۡحَارِ ﴿١٧﴾
(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde.
۞وَٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَلَا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗا وَبِذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱلۡجَارِ ذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡجَارِ ٱلۡجُنُبِ وَٱلصَّاحِبِ بِٱلۡجَنۢبِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِ وَمَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ مَن كَانَ مُخۡتَالٗا فَخُورًا ﴿٣٦﴾
Era musinze Katonda awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, nemuliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okumpi n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Katonda tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize.
۞لَّا خَيۡرَ فِي كَثِيرٖ مِّن نَّجۡوَىٰهُمۡ إِلَّا مَنۡ أَمَرَ بِصَدَقَةٍ أَوۡ مَعۡرُوفٍ أَوۡ إِصۡلَٰحِۭ بَيۡنَ ٱلنَّاسِۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِ فَسَوۡفَ نُؤۡتِيهِ أَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿١١٤﴾
Tewali bulungi mu mboozi zaabwe ezisinga obungi, okugyako oyo alagira abantu okusaddaaka oba obuntu bulamu oba okutabaganya wakati w’abantu, omuntu akola ebyo nga anoonya kusiima kwa Katonda tugenda kumuwa empeera ensukkulumu.
۞وَلَقَدۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَبَعَثۡنَا مِنۡهُمُ ٱثۡنَيۡ عَشَرَ نَقِيبٗاۖ وَقَالَ ٱللَّهُ إِنِّي مَعَكُمۡۖ لَئِنۡ أَقَمۡتُمُ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَيۡتُمُ ٱلزَّكَوٰةَ وَءَامَنتُم بِرُسُلِي وَعَزَّرۡتُمُوهُمۡ وَأَقۡرَضۡتُمُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا لَّأُكَفِّرَنَّ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَلَأُدۡخِلَنَّكُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ فَمَن كَفَرَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ مِنكُمۡ فَقَدۡ ضَلَّ سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ ﴿١٢﴾
Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu.
إِنَّمَا وَلِيُّكُمُ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَهُمۡ رَٰكِعُونَ ﴿٥٥﴾
Mazima mukwano gwa mmwe ow’omunda Katonda, n’omubaka we naabo abakkiriza, abo abayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka, era nga bakutama ku maviivi (nga basaala).
إِنَّمَا يَعۡمُرُ مَسَٰجِدَ ٱللَّهِ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَأَقَامَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَى ٱلزَّكَوٰةَ وَلَمۡ يَخۡشَ إِلَّا ٱللَّهَۖ فَعَسَىٰٓ أُوْلَـٰٓئِكَ أَن يَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿١٨﴾
Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, n’ayimirizaawo e sswala, n'atoola zzaka, era n’atatya okugyako Katonda, abo nno be bookubeera mu balungamu.
ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَهَاجَرُواْ وَجَٰهَدُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ بِأَمۡوَٰلِهِمۡ وَأَنفُسِهِمۡ أَعۡظَمُ دَرَجَةً عِندَ ٱللَّهِۚ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ ﴿٢٠﴾
Abo abakkiriza, nebasenguka, era ne balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe n'emyoyo gyabwe, be basinga amadaala ag’a waggulu ewa Katonda, era abo, bo be b'okwesiima.
ٱنفِرُواْ خِفَافٗا وَثِقَالٗا وَجَٰهِدُواْ بِأَمۡوَٰلِكُمۡ وَأَنفُسِكُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٤١﴾
Mufulume n’ebyokulwanyisa e bitonotono oba e bizito, mulafuubane nga muweereza mu kkubo lya Katonda, nga mukozesa e mmaali ya mmwe nemy’oyo gya mmwe, ekyo nno ky’ekirungi gye muli, bwe muba nga mumanyi.
وَمِنۡهُم مَّن يَلۡمِزُكَ فِي ٱلصَّدَقَٰتِ فَإِنۡ أُعۡطُواْ مِنۡهَا رَضُواْ وَإِن لَّمۡ يُعۡطَوۡاْ مِنۡهَآ إِذَا هُمۡ يَسۡخَطُونَ ﴿٥٨﴾
Ate mu bo mulimu abakusongamu e mimwa ku nsonga ya saddaaka, bwe baweebwako basiima, ate bwe bataweebwa, olwo nno nebasunguwala.
۞إِنَّمَا ٱلصَّدَقَٰتُ لِلۡفُقَرَآءِ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱلۡعَٰمِلِينَ عَلَيۡهَا وَٱلۡمُؤَلَّفَةِ قُلُوبُهُمۡ وَفِي ٱلرِّقَابِ وَٱلۡغَٰرِمِينَ وَفِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِۖ فَرِيضَةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿٦٠﴾
Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga.
وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتُ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۚ يَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَيُطِيعُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ أُوْلَـٰٓئِكَ سَيَرۡحَمُهُمُ ٱللَّهُۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٧١﴾
Abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi, abamu mikwano gya bannaabwe, balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi, era ne bayimirizaawo e sswala ne batoola zzaka, era ne bagondera Katonda n’omubakawe, abo Katonda ajja kubasaasira. Anti mazima ddala Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
۞وَمِنۡهُم مَّنۡ عَٰهَدَ ٱللَّهَ لَئِنۡ ءَاتَىٰنَا مِن فَضۡلِهِۦ لَنَصَّدَّقَنَّ وَلَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٧٥﴾
Era mu bo mulimu abo abaalagaanyisa Katonda nga bagamba nti, singa atuwa mu bigabwabye, mazima tujja kusaddaakako era tujja kubeerera ddala mu balongoofu.
ٱلَّذِينَ يَلۡمِزُونَ ٱلۡمُطَّوِّعِينَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ فِي ٱلصَّدَقَٰتِ وَٱلَّذِينَ لَا يَجِدُونَ إِلَّا جُهۡدَهُمۡ فَيَسۡخَرُونَ مِنۡهُمۡ سَخِرَ ٱللَّهُ مِنۡهُمۡ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﴿٧٩﴾
Abo abavumirira abakozi b’obulungi mu bakkiriza olw'okuwaayo saddaaka, era nebavumirira n'abo abatasobola kufuna okugyako akatono, nekibatuusa n’okubagyegya, Katonda abaziimuula era bagenda kussibwako e bibonerezo e biruma.
لَٰكِنِ ٱلرَّسُولُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ جَٰهَدُواْ بِأَمۡوَٰلِهِمۡ وَأَنفُسِهِمۡۚ وَأُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلۡخَيۡرَٰتُۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿٨٨﴾
Naye mazima omubaka n’abo abakkiriza abali awamu naye balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe, n’emyoyo gyabwe, era abo balina obulungi, era abo bbo be balituuka ku buwanguzi.
خُذۡ مِنۡ أَمۡوَٰلِهِمۡ صَدَقَةٗ تُطَهِّرُهُمۡ وَتُزَكِّيهِم بِهَا وَصَلِّ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّ صَلَوٰتَكَ سَكَنٞ لَّهُمۡۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿١٠٣﴾
(Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo mumanyi nnyo.
أَلَمۡ يَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ هُوَ يَقۡبَلُ ٱلتَّوۡبَةَ عَنۡ عِبَادِهِۦ وَيَأۡخُذُ ٱلصَّدَقَٰتِ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٠٤﴾
Tebamanyi nti mazima Katonda yye, yakkiriza okwenenya kwa baddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Katonda yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo.
فَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَيۡهِ قَالُواْ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡعَزِيزُ مَسَّنَا وَأَهۡلَنَا ٱلضُّرُّ وَجِئۡنَا بِبِضَٰعَةٖ مُّزۡجَىٰةٖ فَأَوۡفِ لَنَا ٱلۡكَيۡلَ وَتَصَدَّقۡ عَلَيۡنَآۖ إِنَّ ٱللَّهَ يَجۡزِي ٱلۡمُتَصَدِّقِينَ ﴿٨٨﴾
Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Katonda asasula abasaddaaka.
وَءَاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَلَا تُبَذِّرۡ تَبۡذِيرًا ﴿٢٦﴾
. Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.
وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيّٗا ﴿٣١﴾
. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.
وَكَانَ يَأۡمُرُ أَهۡلَهُۥ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ وَكَانَ عِندَ رَبِّهِۦ مَرۡضِيّٗا ﴿٥٥﴾
. Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe.
وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَهۡدُونَ بِأَمۡرِنَا وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِمۡ فِعۡلَ ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَإِقَامَ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءَ ٱلزَّكَوٰةِۖ وَكَانُواْ لَنَا عَٰبِدِينَ ﴿٧٣﴾
. Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza.
لِّيَشۡهَدُواْ مَنَٰفِعَ لَهُمۡ وَيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ فِيٓ أَيَّامٖ مَّعۡلُومَٰتٍ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۖ فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡبَآئِسَ ٱلۡفَقِيرَ ﴿٢٨﴾
. Bagende balabe ebibagasa, era batendereze erinnya lya Katonda mu nnaku ezimanyiddwa olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo eby'awaka (ebirundibwa) kale mulye ku byo era muliise omwetaavu omwavu.
ٱلَّذِينَ إِن مَّكَّنَّـٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَمَرُواْ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَنَهَوۡاْ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۗ وَلِلَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ ﴿٤١﴾
. (Katonda baataasa) beebo bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka nebalagira okuyisa obulungi, nebaziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Katonda.
وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِلزَّكَوٰةِ فَٰعِلُونَ ﴿٤﴾
. Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka.
رِجَالٞ لَّا تُلۡهِيهِمۡ تِجَٰرَةٞ وَلَا بَيۡعٌ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَإِقَامِ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءِ ٱلزَّكَوٰةِ يَخَافُونَ يَوۡمٗا تَتَقَلَّبُ فِيهِ ٱلۡقُلُوبُ وَٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿٣٧﴾
. Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.
وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ﴿٥٦﴾
. Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa.
فَـَٔاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ يُرِيدُونَ وَجۡهَ ٱللَّهِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿٣٨﴾
. Kale wa ow'olugandalwo olw'okumpi kyateekwa okuweebwa, n'omufuna mpola, n'omutambuze ekyo kye kirungi eri abo abaagala ebiri eri Katonda era abo bbo be bookutuuka ku kigendererwa.
وَمَآ ءَاتَيۡتُم مِّن رِّبٗا لِّيَرۡبُوَاْ فِيٓ أَمۡوَٰلِ ٱلنَّاسِ فَلَا يَرۡبُواْ عِندَ ٱللَّهِۖ وَمَآ ءَاتَيۡتُم مِّن زَكَوٰةٖ تُرِيدُونَ وَجۡهَ ٱللَّهِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُضۡعِفُونَ ﴿٣٩﴾
. Ekyo kyonna kye muba muwaddeyo (nga muwola) mu mmaali ey'ennyongeza (Riba) nti zigende zizaalire mu mmaali y'abantu tezizaala ewa Katonda, ate ekyo kye muba muwaddeyo mu Zzaka nga mwagala ebiri eri Katonda abo nno be basaanira ennyongeza.
وَقَرۡنَ فِي بُيُوتِكُنَّ وَلَا تَبَرَّجۡنَ تَبَرُّجَ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِ ٱلۡأُولَىٰۖ وَأَقِمۡنَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتِينَ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِعۡنَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُذۡهِبَ عَنكُمُ ٱلرِّجۡسَ أَهۡلَ ٱلۡبَيۡتِ وَيُطَهِّرَكُمۡ تَطۡهِيرٗا ﴿٣٣﴾
. Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala.
إِنَّ ٱلۡمُسۡلِمِينَ وَٱلۡمُسۡلِمَٰتِ وَٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡقَٰنِتَٰتِ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلصَّـٰدِقَٰتِ وَٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰبِرَٰتِ وَٱلۡخَٰشِعِينَ وَٱلۡخَٰشِعَٰتِ وَٱلۡمُتَصَدِّقِينَ وَٱلۡمُتَصَدِّقَٰتِ وَٱلصَّـٰٓئِمِينَ وَٱلصَّـٰٓئِمَٰتِ وَٱلۡحَٰفِظِينَ فُرُوجَهُمۡ وَٱلۡحَٰفِظَٰتِ وَٱلذَّـٰكِرِينَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱلذَّـٰكِرَٰتِ أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿٣٥﴾
. Mazima abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Katonda n’abakazi abasinza Katonda, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Katonda n’abakazi abagondera Katonda, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Katonda n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Katonda yabategekera ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
هَـٰٓأَنتُمۡ هَـٰٓؤُلَآءِ تُدۡعَوۡنَ لِتُنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَمِنكُم مَّن يَبۡخَلُۖ وَمَن يَبۡخَلۡ فَإِنَّمَا يَبۡخَلُ عَن نَّفۡسِهِۦۚ وَٱللَّهُ ٱلۡغَنِيُّ وَأَنتُمُ ٱلۡفُقَرَآءُۚ وَإِن تَتَوَلَّوۡاْ يَسۡتَبۡدِلۡ قَوۡمًا غَيۡرَكُمۡ ثُمَّ لَا يَكُونُوٓاْ أَمۡثَٰلَكُم ﴿٣٨﴾
Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe.
إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ ثُمَّ لَمۡ يَرۡتَابُواْ وَجَٰهَدُواْ بِأَمۡوَٰلِهِمۡ وَأَنفُسِهِمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلصَّـٰدِقُونَ ﴿١٥﴾
Mazima abakkiriza abannamaddala beebo abakkiriza Katonda n’omubaka we, ate nebatabuusabuusa (ebyo bye bakkiriza) era nebalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa emmaali yaabwe ne myooyo gyabwe, abonno, bo, be bakkiriza ab’amazima.
وَفِيٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ حَقّٞ لِّلسَّآئِلِ وَٱلۡمَحۡرُومِ ﴿١٩﴾
Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba).
مَّن ذَا ٱلَّذِي يُقۡرِضُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا فَيُضَٰعِفَهُۥ لَهُۥ وَلَهُۥٓ أَجۡرٞ كَرِيمٞ ﴿١١﴾
Ani oyo awola Katonda oluwola olulungi, olwo nno alumubalizeemu, era nga alina empeera eweesa ekitiibwa.
فَمَن لَّمۡ يَجِدۡ فَصِيَامُ شَهۡرَيۡنِ مُتَتَابِعَيۡنِ مِن قَبۡلِ أَن يَتَمَآسَّاۖ فَمَن لَّمۡ يَسۡتَطِعۡ فَإِطۡعَامُ سِتِّينَ مِسۡكِينٗاۚ ذَٰلِكَ لِتُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۚ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِۗ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﴿٤﴾
Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Katonda n'omubakawe, ago mateeka g'aKatonda era bulijjo abawakanya amateeka g'a Katonda bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نَٰجَيۡتُمُ ٱلرَّسُولَ فَقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيۡ نَجۡوَىٰكُمۡ صَدَقَةٗۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ لَّكُمۡ وَأَطۡهَرُۚ فَإِن لَّمۡ تَجِدُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ ﴿١٢﴾
Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa.
وَأَنفِقُواْ مِن مَّا رَزَقۡنَٰكُم مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ فَيَقُولَ رَبِّ لَوۡلَآ أَخَّرۡتَنِيٓ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖ فَأَصَّدَّقَ وَأَكُن مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿١٠﴾
Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu.
إِن تُقۡرِضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا يُضَٰعِفۡهُ لَكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ شَكُورٌ حَلِيمٌ ﴿١٧﴾
Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa.