quranm◉

Emitwe · lg

26 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:28

كَيۡفَ تَكۡفُرُونَ بِٱللَّهِ وَكُنتُمۡ أَمۡوَٰتٗا فَأَحۡيَٰكُمۡۖ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡ ثُمَّ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿٢٨﴾

Mugaana mutya okukkiriza Katonda nga temwaliwo n'abawa obulamu, oluvanyuma abatta, ate waakubazuukiza era nga gyali gye mugenda okudda!.

Al-Baqarah 2:73

فَقُلۡنَا ٱضۡرِبُوهُ بِبَعۡضِهَاۚ كَذَٰلِكَ يُحۡيِ ٱللَّهُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَيُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿٧٣﴾

Netugamba nti; mumukubeko ebimu ku bitundu by'ente. Bwatyo Katonda bwalizuukiza abafu, era bulijjo abalaga obubonero bwe, (obulaga obuyinza bwe) mulyoke mutegeere.

Al-Baqarah 2:154

وَلَا تَقُولُواْ لِمَن يُقۡتَلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتُۢۚ بَلۡ أَحۡيَآءٞ وَلَٰكِن لَّا تَشۡعُرُونَ ﴿١٥٤﴾

Era temwogeranga kwabo abattibwa mu kkubo lya Katonda mbu bafu. Go amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe).

Al-Baqarah 2:243

۞أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ خَرَجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَهُمۡ أُلُوفٌ حَذَرَ ٱلۡمَوۡتِ فَقَالَ لَهُمُ ٱللَّهُ مُوتُواْ ثُمَّ أَحۡيَٰهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ ﴿٢٤٣﴾

Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi nankumi nga batya okufa, Katonda n'abagamba nti kale mufe, oluvanyuma n'abazuukiza. Mazima Katonda agabirira nnyo abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza.

Al-Baqarah 2:259

أَوۡ كَٱلَّذِي مَرَّ عَلَىٰ قَرۡيَةٖ وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا قَالَ أَنَّىٰ يُحۡيِۦ هَٰذِهِ ٱللَّهُ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۖ فَأَمَاتَهُ ٱللَّهُ مِاْئَةَ عَامٖ ثُمَّ بَعَثَهُۥۖ قَالَ كَمۡ لَبِثۡتَۖ قَالَ لَبِثۡتُ يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۖ قَالَ بَل لَّبِثۡتَ مِاْئَةَ عَامٖ فَٱنظُرۡ إِلَىٰ طَعَامِكَ وَشَرَابِكَ لَمۡ يَتَسَنَّهۡۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰ حِمَارِكَ وَلِنَجۡعَلَكَ ءَايَةٗ لِّلنَّاسِۖ وَٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡعِظَامِ كَيۡفَ نُنشِزُهَا ثُمَّ نَكۡسُوهَا لَحۡمٗاۚ فَلَمَّا تَبَيَّنَ لَهُۥ قَالَ أَعۡلَمُ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٢٥٩﴾

Oba twala ekyokulabirako kyoyo eyayita ku kyalo nga obusolya bwakyo buguddemu naagamba nti ekyalo kino Katonda agenda kukizzaawo atya nga kyafa dda! Katonda naamutta okumala emyaka kikumi oluvanyuma naamuzuukiza naamugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? Naamuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, naamugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule ekyokulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba ge ndogoyi yo nga bwetugayunga olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli naagamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu.

Al-Baqarah 2:260

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٦٠﴾

Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.

Al-An'am 6:122

أَوَمَن كَانَ مَيۡتٗا فَأَحۡيَيۡنَٰهُ وَجَعَلۡنَا لَهُۥ نُورٗا يَمۡشِي بِهِۦ فِي ٱلنَّاسِ كَمَن مَّثَلُهُۥ فِي ٱلظُّلُمَٰتِ لَيۡسَ بِخَارِجٖ مِّنۡهَاۚ كَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِلۡكَٰفِرِينَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٢٢﴾

Omuntu eyali omufu netumuwa obulamu, netumuwa e kitangaala kyakozesa nga atambula mu bantu, ayinza okufaanana ng’oyo ali mu bizikiza byatasobola kufulumamu. Na bwekityo abakaafiiri balaba nga bye bakola nga bye bisinga obulungi.

Maryam 19:15

وَسَلَٰمٌ عَلَيۡهِ يَوۡمَ وُلِدَ وَيَوۡمَ يَمُوتُ وَيَوۡمَ يُبۡعَثُ حَيّٗا ﴿١٥﴾

. Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu.

Al-Anbya 21:30

أَوَلَمۡ يَرَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ كَانَتَا رَتۡقٗا فَفَتَقۡنَٰهُمَاۖ وَجَعَلۡنَا مِنَ ٱلۡمَآءِ كُلَّ شَيۡءٍ حَيٍّۚ أَفَلَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٣٠﴾

. Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza!.

Al-Hajj 22:6

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّهُۥ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَأَنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٦﴾

. Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu.

Al-Hajj 22:66

وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ ﴿٦٦﴾

. Yye yooyo abawa obulamu oluvanyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu mazima omuntu mwewakanyi (wa byengera).

Ash-Shu'ara 26:81

وَٱلَّذِي يُمِيتُنِي ثُمَّ يُحۡيِينِ ﴿٨١﴾

. Era yooyo anzita ate nampa obulamu.

Ar-Rum 30:19

يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَيُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّ وَيُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۚ وَكَذَٰلِكَ تُخۡرَجُونَ ﴿١٩﴾

. (Era Katonda) aggya e kiramu mu kifu era naggya e kifu mu kiramu, era y'awa ensi obulamu oluvanyuma lw'okufa kwayo era bwe mutyo bwe muliggyibwa mu ntaana.

Ar-Rum 30:40

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ ثُمَّ رَزَقَكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۖ هَلۡ مِن شُرَكَآئِكُم مَّن يَفۡعَلُ مِن ذَٰلِكُم مِّن شَيۡءٖۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿٤٠﴾

. Katonda yooyo eyabatonda bwamala naabagabirira bwamala naabatta, oluvanyuma agenda kubawa obulamu, abaffe mu bannammwe be mugatta ku Katonda waliwo akola ku ebyo ekintu kyonna? musukkulumu Katonda era yayawukana ku ebyo bye bamugattako.

Ar-Rum 30:50

فَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ ءَاثَٰرِ رَحۡمَتِ ٱللَّهِ كَيۡفَ يُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ ذَٰلِكَ لَمُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٥٠﴾

. Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Katonda engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima oyo ajja kulamusiza ddala abafu era yye bulijjo muyinza ku buli kintu.

Ya-Sin 36:12

إِنَّا نَحۡنُ نُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَنَكۡتُبُ مَا قَدَّمُواْ وَءَاثَٰرَهُمۡۚ وَكُلَّ شَيۡءٍ أَحۡصَيۡنَٰهُ فِيٓ إِمَامٖ مُّبِينٖ ﴿١٢﴾

. Mazima ffe tuliramusa abafu era tuwandiika ebyo bye baakulembeza ne bye baagoberezaako nga na buli kintu twakikomeka mu kitabo e kikulu e kigenda okulaga buli kimu.

Ya-Sin 36:33

وَءَايَةٞ لَّهُمُ ٱلۡأَرۡضُ ٱلۡمَيۡتَةُ أَحۡيَيۡنَٰهَا وَأَخۡرَجۡنَا مِنۡهَا حَبّٗا فَمِنۡهُ يَأۡكُلُونَ ﴿٣٣﴾

. Ensi efudde (ekaze) kabonero gye bali, tugiwa obulamu (tutonnyesa nkuba) era netumeza mu yo empeke, okwo nno kwe balya.

Ya-Sin 36:78

وَضَرَبَ لَنَا مَثَلٗا وَنَسِيَ خَلۡقَهُۥۖ قَالَ مَن يُحۡيِ ٱلۡعِظَٰمَ وَهِيَ رَمِيمٞ ﴿٧٨﴾

. Naatukubira ekifaananyi neyeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu.

Ya-Sin 36:79

قُلۡ يُحۡيِيهَا ٱلَّذِيٓ أَنشَأَهَآ أَوَّلَ مَرَّةٖۖ وَهُوَ بِكُلِّ خَلۡقٍ عَلِيمٌ ﴿٧٩﴾

. Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde.

Ghafir 40:68

هُوَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ فَإِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿٦٨﴾

(Katonda) yye yooyo awa obulamu era yatta, kale nno bwaba asazeewo ekintu akigamba nti beera nekibeera.

Fussilat 41:39

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنَّكَ تَرَى ٱلۡأَرۡضَ خَٰشِعَةٗ فَإِذَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهَا ٱلۡمَآءَ ٱهۡتَزَّتۡ وَرَبَتۡۚ إِنَّ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاهَا لَمُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰٓۚ إِنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿٣٩﴾

Era mu bubonero bwe (kwe kuba nti) mazima ggwe olaba ensi nga nkalu ketugitonnyesaako amazzi yenyeenya (nefuuka yakiragala) era neyongera okumeza ebimera. Mazima oyo agizzaamu obulamu (neeba ngimu) ddala wa kuzuukiza abafu mazima yye muyinza wa buli kintu kyonna.

Ash-Shuraa 42:9

أَمِ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَۖ فَٱللَّهُ هُوَ ٱلۡوَلِيُّ وَهُوَ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٩﴾

Oba baaleka Katonda nebeeterawo ba katonda (abalala) so nno Katonda ye ye mukuumi, era yye ye wokulamusa abafu, era ye (bulijjo) muyinza ku buli kintu kyonna.

Al-Ahqaf 46:33

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَلَمۡ يَعۡيَ بِخَلۡقِهِنَّ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٣٣﴾

Abaffe mazima Katonda, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu.

Qaf 50:43

إِنَّا نَحۡنُ نُحۡيِۦ وَنُمِيتُ وَإِلَيۡنَا ٱلۡمَصِيرُ ﴿٤٣﴾

Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo.

An-Najm 53:44

وَأَنَّهُۥ هُوَ أَمَاتَ وَأَحۡيَا ﴿٤٤﴾

Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu.

Al-Qiyamah 75:40

أَلَيۡسَ ذَٰلِكَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰ ﴿٤٠﴾

Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu!.

Emitwe