Al-Ma'idah 5:6يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا قُمۡتُمۡ إِلَى ٱلصَّلَوٰةِ فَٱغۡسِلُواْ وُجُوهَكُمۡ وَأَيۡدِيَكُمۡ إِلَى ٱلۡمَرَافِقِ وَٱمۡسَحُواْ بِرُءُوسِكُمۡ وَأَرۡجُلَكُمۡ إِلَى ٱلۡكَعۡبَيۡنِۚ وَإِن كُنتُمۡ جُنُبٗا فَٱطَّهَّرُواْۚ وَإِن كُنتُم مَّرۡضَىٰٓ أَوۡ عَلَىٰ سَفَرٍ أَوۡ جَآءَ أَحَدٞ مِّنكُم مِّنَ ٱلۡغَآئِطِ أَوۡ لَٰمَسۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ فَلَمۡ تَجِدُواْ مَآءٗ فَتَيَمَّمُواْ صَعِيدٗا طَيِّبٗا فَٱمۡسَحُواْ بِوُجُوهِكُمۡ وَأَيۡدِيكُم مِّنۡهُۚ مَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيَجۡعَلَ عَلَيۡكُم مِّنۡ حَرَجٖ وَلَٰكِن يُرِيدُ لِيُطَهِّرَكُمۡ وَلِيُتِمَّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿٦﴾
Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugenda okusaala muteekeddwa okunaaza ebyenyi byammwe, n’emikono gyammwe okutuusa mu nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe, munaaze n’ebigere byammwe okutuuka ku bukongovule, bwe muba nga mulina Janaba muteekeddwa okunaaba naye bwe mubanga abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe nga avudde mukumala ekyetaago ekyobutonde, oba nemukwata ku bakyala (mumbera ezo zonna) nemutafuna mazzi, kale nno, mutayammame, nga mukozesa ettaka eddungi, (ekyo mukikola) nga musiiga ku byenyi byammwe n’emikono gyammwe, Katonda tayagalangako kubateerawo bukalubo bwonna, naye ayagala kubatukuza era abajjulize ekyengerakye musobole okubeera nga mwebaza.
Al-Ma'idah 5:33إِنَّمَا جَزَـٰٓؤُاْ ٱلَّذِينَ يُحَارِبُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَسۡعَوۡنَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَسَادًا أَن يُقَتَّلُوٓاْ أَوۡ يُصَلَّبُوٓاْ أَوۡ تُقَطَّعَ أَيۡدِيهِمۡ وَأَرۡجُلُهُم مِّنۡ خِلَٰفٍ أَوۡ يُنفَوۡاْ مِنَ ٱلۡأَرۡضِۚ ذَٰلِكَ لَهُمۡ خِزۡيٞ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٌ ﴿٣٣﴾
Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali.
Al-Ma'idah 5:66وَلَوۡ أَنَّهُمۡ أَقَامُواْ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِم مِّن رَّبِّهِمۡ لَأَكَلُواْ مِن فَوۡقِهِمۡ وَمِن تَحۡتِ أَرۡجُلِهِمۚ مِّنۡهُمۡ أُمَّةٞ مُّقۡتَصِدَةٞۖ وَكَثِيرٞ مِّنۡهُمۡ سَآءَ مَا يَعۡمَلُونَ ﴿٦٦﴾
Era mazima singa bo bayimirizaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gye bali okuva ewa Katonda waabwe, bandiridde okuva waggulu waabwe ne wansi w'ebigere byabwe, mu bo mulimu Abantu abeesimbu naye abangi mu bo byebakola bibi.
Al-An'am 6:65قُلۡ هُوَ ٱلۡقَادِرُ عَلَىٰٓ أَن يَبۡعَثَ عَلَيۡكُمۡ عَذَابٗا مِّن فَوۡقِكُمۡ أَوۡ مِن تَحۡتِ أَرۡجُلِكُمۡ أَوۡ يَلۡبِسَكُمۡ شِيَعٗا وَيُذِيقَ بَعۡضَكُم بَأۡسَ بَعۡضٍۗ ٱنظُرۡ كَيۡفَ نُصَرِّفُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّهُمۡ يَفۡقَهُونَ ﴿٦٥﴾
Gamba nti yye (Katonda) yaasobola okubasindikira e kibonerezo kyonna, nga kiva wa ggulu ne wansi w'ebigere bya mmwe, n’abafuula e bibinja e byenjawulo n’akombesa abamu mu mmwe ku bukaawu bwa bannaabwe. Weetegereze engeri gyetunnyonnyolamu e bigambo balyoke babe nga bategeera.
Al-A'raf 7:195أَلَهُمۡ أَرۡجُلٞ يَمۡشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَيۡدٖ يَبۡطِشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَعۡيُنٞ يُبۡصِرُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۗ قُلِ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ ثُمَّ كِيدُونِ فَلَا تُنظِرُونِ ﴿١٩٥﴾
Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza.
Taha 20:71قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَۖ فَلَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ فِي جُذُوعِ ٱلنَّخۡلِ وَلَتَعۡلَمُنَّ أَيُّنَآ أَشَدُّ عَذَابٗا وَأَبۡقَىٰ ﴿٧١﴾
. (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo.
An-Nur 24:24يَوۡمَ تَشۡهَدُ عَلَيۡهِمۡ أَلۡسِنَتُهُمۡ وَأَيۡدِيهِمۡ وَأَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿٢٤﴾
. Ku lunaku ennimi zaabwe n'emikono gya bwe lwe biribawaako obujulizi olw'ebyo bye baakolanga.
An-Nur 24:31وَقُل لِّلۡمُؤۡمِنَٰتِ يَغۡضُضۡنَ مِنۡ أَبۡصَٰرِهِنَّ وَيَحۡفَظۡنَ فُرُوجَهُنَّ وَلَا يُبۡدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا مَا ظَهَرَ مِنۡهَاۖ وَلۡيَضۡرِبۡنَ بِخُمُرِهِنَّ عَلَىٰ جُيُوبِهِنَّۖ وَلَا يُبۡدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا لِبُعُولَتِهِنَّ أَوۡ ءَابَآئِهِنَّ أَوۡ ءَابَآءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوۡ أَبۡنَآئِهِنَّ أَوۡ أَبۡنَآءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوۡ إِخۡوَٰنِهِنَّ أَوۡ بَنِيٓ إِخۡوَٰنِهِنَّ أَوۡ بَنِيٓ أَخَوَٰتِهِنَّ أَوۡ نِسَآئِهِنَّ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُنَّ أَوِ ٱلتَّـٰبِعِينَ غَيۡرِ أُوْلِي ٱلۡإِرۡبَةِ مِنَ ٱلرِّجَالِ أَوِ ٱلطِّفۡلِ ٱلَّذِينَ لَمۡ يَظۡهَرُواْ عَلَىٰ عَوۡرَٰتِ ٱلنِّسَآءِۖ وَلَا يَضۡرِبۡنَ بِأَرۡجُلِهِنَّ لِيُعۡلَمَ مَا يُخۡفِينَ مِن زِينَتِهِنَّۚ وَتُوبُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ جَمِيعًا أَيُّهَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿٣١﴾
. Era gamba abakyala abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwa bwe, era teboolesa eby'okwewunda bya bwe okugyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda bya bwe okugyako eri ba bbaabwe, oba ba kitaabwe, oba ba taata ba ba bbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba ba bbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bbo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere bya bwe kibe nga kituuka okumanyika ekyo kye bakusise mu by'okwewunda bya bwe. Mwenna mwenenyeze Katonda abange mmwe abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi.
An-Nur 24:45وَٱللَّهُ خَلَقَ كُلَّ دَآبَّةٖ مِّن مَّآءٖۖ فَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰ بَطۡنِهِۦ وَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰ رِجۡلَيۡنِ وَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰٓ أَرۡبَعٖۚ يَخۡلُقُ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٤٥﴾
. Katonda yatonda buli kiramu nga akiggya mu mazzi, mu byo mulimu ekitambulira ku lubuto lwa kyo, ne mu byo mulimu ekitambulira ku magulu abiri, era mulimu ekitambulira ku ana, Katonda atonda ekyo ky'aba ayagadde. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
Al-'Ankabut 29:55يَوۡمَ يَغۡشَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَمِن تَحۡتِ أَرۡجُلِهِمۡ وَيَقُولُ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٥٥﴾
. Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola.
Ya-Sin 36:65ٱلۡيَوۡمَ نَخۡتِمُ عَلَىٰٓ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَتُكَلِّمُنَآ أَيۡدِيهِمۡ وَتَشۡهَدُ أَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿٦٥﴾
. Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola.
Sad 38:42ٱرۡكُضۡ بِرِجۡلِكَۖ هَٰذَا مُغۡتَسَلُۢ بَارِدٞ وَشَرَابٞ ﴿٤٢﴾
(Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa).
Al-Mumtahanah 60:12يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِذَا جَآءَكَ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتُ يُبَايِعۡنَكَ عَلَىٰٓ أَن لَّا يُشۡرِكۡنَ بِٱللَّهِ شَيۡـٔٗا وَلَا يَسۡرِقۡنَ وَلَا يَزۡنِينَ وَلَا يَقۡتُلۡنَ أَوۡلَٰدَهُنَّ وَلَا يَأۡتِينَ بِبُهۡتَٰنٖ يَفۡتَرِينَهُۥ بَيۡنَ أَيۡدِيهِنَّ وَأَرۡجُلِهِنَّ وَلَا يَعۡصِينَكَ فِي مَعۡرُوفٖ فَبَايِعۡهُنَّ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لَهُنَّ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٢﴾
Owange ggwe Nabbi abakkiriza abakyala bwebajja gyoli nga bakuba ekirayiro mu maasogo, nti tebagenda kugatta ku Katonda kintu kyonna, era nga tebagenda kubba, wadde okwenda oba okutta abaana baabwe, era nti tebagenda kuwaayiriza nga bajingirira wakati w'emikono gyabwe n'amagulu gaabwe, nga era bwe batagenda kukujeemera mu kukola ekirungi kyonna, naawe nno bawe obukakafu era wegayirire Katonda abasonyiwe, anti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi.