quranm◉

Emitwe · lg

211 Aya · Emitwe · lg

Ali 'Imran 3:22

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿٢٢﴾

Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku nsi ne ku nkomerero era tebagenda kufuna wa kubataasa.

Al-Baqarah 2:102

وَٱتَّبَعُواْ مَا تَتۡلُواْ ٱلشَّيَٰطِينُ عَلَىٰ مُلۡكِ سُلَيۡمَٰنَۖ وَمَا كَفَرَ سُلَيۡمَٰنُ وَلَٰكِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ كَفَرُواْ يُعَلِّمُونَ ٱلنَّاسَ ٱلسِّحۡرَ وَمَآ أُنزِلَ عَلَى ٱلۡمَلَكَيۡنِ بِبَابِلَ هَٰرُوتَ وَمَٰرُوتَۚ وَمَا يُعَلِّمَانِ مِنۡ أَحَدٍ حَتَّىٰ يَقُولَآ إِنَّمَا نَحۡنُ فِتۡنَةٞ فَلَا تَكۡفُرۡۖ فَيَتَعَلَّمُونَ مِنۡهُمَا مَا يُفَرِّقُونَ بِهِۦ بَيۡنَ ٱلۡمَرۡءِ وَزَوۡجِهِۦۚ وَمَا هُم بِضَآرِّينَ بِهِۦ مِنۡ أَحَدٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَيَتَعَلَّمُونَ مَا يَضُرُّهُمۡ وَلَا يَنفَعُهُمۡۚ وَلَقَدۡ عَلِمُواْ لَمَنِ ٱشۡتَرَىٰهُ مَا لَهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنۡ خَلَٰقٖۚ وَلَبِئۡسَ مَا شَرَوۡاْ بِهِۦٓ أَنفُسَهُمۡۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿١٠٢﴾

Nebagoberera ebyo sitaani bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulaimani (nga babalowoozesa nti Sulaimani lye yakozesanga), so ng'ate Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula sitaani ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku ba malayika ababiri e Babilooni, Haaruta ne Maaruta.

Ar-Rum 30:21

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنۡ خَلَقَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا لِّتَسۡكُنُوٓاْ إِلَيۡهَا وَجَعَلَ بَيۡنَكُم مَّوَدَّةٗ وَرَحۡمَةًۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿٢١﴾

. Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.

An-Nisa 4:126

وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٖ مُّحِيطٗا ﴿١٢٦﴾

Era bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, era bulijjo Katonda amanyi ekifa ku buli kintu.

Al-An'am 6:7

وَلَوۡ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ كِتَٰبٗا فِي قِرۡطَاسٖ فَلَمَسُوهُ بِأَيۡدِيهِمۡ لَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿٧﴾

Singa twassa ku ggwe e kitabo e kikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaakaafuwala bandigambye nti, bino temuli okugyako ddogo lyennyini.

Al-A'raf 7:104

وَقَالَ مُوسَىٰ يَٰفِرۡعَوۡنُ إِنِّي رَسُولٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٠٤﴾

Musa naagamba nti, owange Firawo mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde.

Al-A'raf 7:105

حَقِيقٌ عَلَىٰٓ أَن لَّآ أَقُولَ عَلَى ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡحَقَّۚ قَدۡ جِئۡتُكُم بِبَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّكُمۡ فَأَرۡسِلۡ مَعِيَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿١٠٥﴾

Kikakafu okuba nga soogera ku Katonda okugyako amazima, mazima mbaleetedde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe obujulizi, n’olwekyo mpa abaana ba Israil (ngende nabo).

Al-A'raf 7:106

قَالَ إِن كُنتَ جِئۡتَ بِـَٔايَةٖ فَأۡتِ بِهَآ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ ﴿١٠٦﴾

(Firawo) naagamba nti oba olina obujulizi bwozze nabwo buleete, bwoba nga ddala oli mu boogera amazima.

Al-A'raf 7:107

فَأَلۡقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعۡبَانٞ مُّبِينٞ ﴿١٠٧﴾

Awo Musa n’asuula omuggogwe, okugenda okwekanga nga gwo, musota ogwannamaddala.

Al-A'raf 7:108

وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿١٠٨﴾

Era naggyayo omukonogwe, okugenda okulaba nga mweru eri buli atunula.

Al-A'raf 7:109

قَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِ فِرۡعَوۡنَ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٌ عَلِيمٞ ﴿١٠٩﴾

Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti mazima ono, mulogo kakensa.

Al-A'raf 7:110

يُرِيدُ أَن يُخۡرِجَكُم مِّنۡ أَرۡضِكُمۡۖ فَمَاذَا تَأۡمُرُونَ ﴿١١٠﴾

Ayagala ku baggya mu nsi ya mmwe, kati mmwe kiki kye mugamba.

Al-A'raf 7:111

قَالُوٓاْ أَرۡجِهۡ وَأَخَاهُ وَأَرۡسِلۡ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ ﴿١١١﴾

Nebagamba nti, mugambe ne mugandawe balindeko, otume mu bitundu byonna abakunga (abalogo).

Al-A'raf 7:112

يَأۡتُوكَ بِكُلِّ سَٰحِرٍ عَلِيمٖ ﴿١١٢﴾

Bajja kukuleetera buli mulogo omukugu.

Al-A'raf 7:113

وَجَآءَ ٱلسَّحَرَةُ فِرۡعَوۡنَ قَالُوٓاْ إِنَّ لَنَا لَأَجۡرًا إِن كُنَّا نَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ﴿١١٣﴾

Era abalogo bajja ewa Firawo ne bagamba nti, mazima tuteekwa okusasulwa, kavuna tuba nga ffe tuwangudde.

Al-A'raf 7:114

قَالَ نَعَمۡ وَإِنَّكُمۡ لَمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ﴿١١٤﴾

Naagamba nti weewaawo, era mazima ddala mujja kubeera mu abo abambeera ku lusegere.

Al-A'raf 7:115

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِمَّآ أَن تُلۡقِيَ وَإِمَّآ أَن نَّكُونَ نَحۡنُ ٱلۡمُلۡقِينَ ﴿١١٥﴾

Nebagamba nti owange Musa ggwe osooka okwanja, oba ffe tusooka okussaawo.

Al-A'raf 7:116

قَالَ أَلۡقُواْۖ فَلَمَّآ أَلۡقَوۡاْ سَحَرُوٓاْ أَعۡيُنَ ٱلنَّاسِ وَٱسۡتَرۡهَبُوهُمۡ وَجَآءُو بِسِحۡرٍ عَظِيمٖ ﴿١١٦﴾

Naagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era nebabatiisa nnyo, anti baaleeta e ddogo e pitirivu.

Al-A'raf 7:117

۞وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَلۡقِ عَصَاكَۖ فَإِذَا هِيَ تَلۡقَفُ مَا يَأۡفِكُونَ ﴿١١٧﴾

Netutumira Musa nti, suula omuggogwo, negutandika okumira byonna, ebyo bye baali bajingiridde.

Al-A'raf 7:118

فَوَقَعَ ٱلۡحَقُّ وَبَطَلَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١١٨﴾

Amazima negalabika, byonna bye baali bakola nebifa.

Al-A'raf 7:119

فَغُلِبُواْ هُنَالِكَ وَٱنقَلَبُواْ صَٰغِرِينَ ﴿١١٩﴾

Bwe batyo nebawangulirwa awo wennyini, nebafuuka abakkakanyiziddwa.

Al-A'raf 7:120

وَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سَٰجِدِينَ ﴿١٢٠﴾

Bbo abalogo beesanga nga bateekwa kuvunnama.

Al-A'raf 7:121

قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٢١﴾

Nebagamba nti tukkirizza Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde.

Al-A'raf 7:122

رَبِّ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ﴿١٢٢﴾

Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna.

Al-A'raf 7:123

قَالَ فِرۡعَوۡنُ ءَامَنتُم بِهِۦ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَمَكۡرٞ مَّكَرۡتُمُوهُ فِي ٱلۡمَدِينَةِ لِتُخۡرِجُواْ مِنۡهَآ أَهۡلَهَاۖ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ ﴿١٢٣﴾

Firawo naagamba nti mumukkirizza nga sibawadde lukusa, (kirabika nti mazima ddala) luno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye muggya ku kimanya.

Al-A'raf 7:124

لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ ثُمَّ لَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿١٢٤﴾

Nja kubatemako e mikono n’amagulu gammwe mu mpuyi ez’enjawulo (Nga bwetutema omukono ogwa ddyo, okugulu tutema kwa kkono) ate oluvanyuma mwenna nja kubakomerera ku misaalaba.

Al-A'raf 7:125

قَالُوٓاْ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ ﴿١٢٥﴾

Nebagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.

Al-A'raf 7:126

وَمَا تَنقِمُ مِنَّآ إِلَّآ أَنۡ ءَامَنَّا بِـَٔايَٰتِ رَبِّنَا لَمَّا جَآءَتۡنَاۚ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَتَوَفَّنَا مُسۡلِمِينَ ﴿١٢٦﴾

Tolina kyotuvunaana okugyako okuba nti tukkirizza e bigambo by’a Mukama omulabirizi waffe e bitujjidde, ayi Mukama omulabirizi waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse e ntuuko yaffe nga tuli basiraamu.

Al-A'raf 7:132

وَقَالُواْ مَهۡمَا تَأۡتِنَا بِهِۦ مِنۡ ءَايَةٖ لِّتَسۡحَرَنَا بِهَا فَمَا نَحۡنُ لَكَ بِمُؤۡمِنِينَ ﴿١٣٢﴾

Era nebagamba nti, buli kabonero konna k’onootuleetera obe nga otuloga nako, tetugenda kukukkiriza.

Al-A'raf 7:139

إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ مُتَبَّرٞ مَّا هُمۡ فِيهِ وَبَٰطِلٞ مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٣٩﴾

Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu.

Al-A'raf 7:147

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَلِقَآءِ ٱلۡأٓخِرَةِ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡۚ هَلۡ يُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٤٧﴾

Naabo abaalimbisa e bigambo byaffe, n’okusisinkana olunaku lw’enkomerero, e mirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, (ate olwo) abaffe balisasulwa okugyako ebyo bye baakolanga!

Al-Anfal 8:7

وَإِذۡ يَعِدُكُمُ ٱللَّهُ إِحۡدَى ٱلطَّآئِفَتَيۡنِ أَنَّهَا لَكُمۡ وَتَوَدُّونَ أَنَّ غَيۡرَ ذَاتِ ٱلشَّوۡكَةِ تَكُونُ لَكُمۡ وَيُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُحِقَّ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَيَقۡطَعَ دَابِرَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٧﴾

Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri.

Al-Anfal 8:8

لِيُحِقَّ ٱلۡحَقَّ وَيُبۡطِلَ ٱلۡبَٰطِلَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٨﴾

Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala.

Yunus 10:2

أَكَانَ لِلنَّاسِ عَجَبًا أَنۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ رَجُلٖ مِّنۡهُمۡ أَنۡ أَنذِرِ ٱلنَّاسَ وَبَشِّرِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنَّ لَهُمۡ قَدَمَ صِدۡقٍ عِندَ رَبِّهِمۡۗ قَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٞ مُّبِينٌ ﴿٢﴾

Abaffe kya kwewuunya eri abantu okuba nti twassa obubaka eri omusajja mu bo, (nga tumulagidde) nti tiisa abantu (abatakkiriza) ate owe amawulire ag'essanyu eri abo abakkiriza (obubaka) nti balina e mpeera e nnungi ewa Mukama omulabirizi waabwe (ku lw'emirimu e mirungi gye bakola). Abakaafiiri (Nabbi bwe yamala okubajjira) ne bagamba nti mazima ono mulogo mweyolefu.

Yunus 10:76

فَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ مِنۡ عِندِنَا قَالُوٓاْ إِنَّ هَٰذَا لَسِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿٧٦﴾

Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu.

Yunus 10:77

قَالَ مُوسَىٰٓ أَتَقُولُونَ لِلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَكُمۡۖ أَسِحۡرٌ هَٰذَا وَلَا يُفۡلِحُ ٱلسَّـٰحِرُونَ ﴿٧٧﴾

Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero).

Yunus 10:78

قَالُوٓاْ أَجِئۡتَنَا لِتَلۡفِتَنَا عَمَّا وَجَدۡنَا عَلَيۡهِ ءَابَآءَنَا وَتَكُونَ لَكُمَا ٱلۡكِبۡرِيَآءُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا نَحۡنُ لَكُمَا بِمُؤۡمِنِينَ ﴿٧٨﴾

Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza.

Yunus 10:79

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ ٱئۡتُونِي بِكُلِّ سَٰحِرٍ عَلِيمٖ ﴿٧٩﴾

Olwo Firawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu.

Yunus 10:80

فَلَمَّا جَآءَ ٱلسَّحَرَةُ قَالَ لَهُم مُّوسَىٰٓ أَلۡقُواْ مَآ أَنتُم مُّلۡقُونَ ﴿٨٠﴾

Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala.

Yunus 10:81

فَلَمَّآ أَلۡقَوۡاْ قَالَ مُوسَىٰ مَا جِئۡتُم بِهِ ٱلسِّحۡرُۖ إِنَّ ٱللَّهَ سَيُبۡطِلُهُۥٓ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُصۡلِحُ عَمَلَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿٨١﴾

Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi.

Yunus 10:82

وَيُحِقُّ ٱللَّهُ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٨٢﴾

Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde.

Hud 11:7

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ وَكَانَ عَرۡشُهُۥ عَلَى ٱلۡمَآءِ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗاۗ وَلَئِن قُلۡتَ إِنَّكُم مَّبۡعُوثُونَ مِنۢ بَعۡدِ ٱلۡمَوۡتِ لَيَقُولَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿٧﴾

Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammad) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu.

Hud 11:16

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَيۡسَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِلَّا ٱلنَّارُۖ وَحَبِطَ مَا صَنَعُواْ فِيهَا وَبَٰطِلٞ مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٦﴾

Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu.

Hud 11:92

قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَهۡطِيٓ أَعَزُّ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱللَّهِ وَٱتَّخَذۡتُمُوهُ وَرَآءَكُمۡ ظِهۡرِيًّاۖ إِنَّ رَبِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ مُحِيطٞ ﴿٩٢﴾

Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola.

Al-Hijr 15:14

وَلَوۡ فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَظَلُّواْ فِيهِ يَعۡرُجُونَ ﴿١٤﴾

Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka).

Al-Hijr 15:15

لَقَالُوٓاْ إِنَّمَا سُكِّرَتۡ أَبۡصَٰرُنَا بَلۡ نَحۡنُ قَوۡمٞ مَّسۡحُورُونَ ﴿١٥﴾

Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge.

Al-Isra 17:45

وَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ جَعَلۡنَا بَيۡنَكَ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ حِجَابٗا مَّسۡتُورٗا ﴿٤٥﴾

. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.

Al-Isra 17:46

وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِذَا ذَكَرۡتَ رَبَّكَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِ وَحۡدَهُۥ وَلَّوۡاْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِمۡ نُفُورٗا ﴿٤٦﴾

. Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka.

Al-Isra 17:47

نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَسۡتَمِعُونَ بِهِۦٓ إِذۡ يَسۡتَمِعُونَ إِلَيۡكَ وَإِذۡ هُمۡ نَجۡوَىٰٓ إِذۡ يَقُولُ ٱلظَّـٰلِمُونَ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا رَجُلٗا مَّسۡحُورًا ﴿٤٧﴾

. Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi webagambira nti mazima gwe mugoberera talina kyali okugyako okubeera omusajja omuloge.

Al-Isra 17:81

وَقُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَزَهَقَ ٱلۡبَٰطِلُۚ إِنَّ ٱلۡبَٰطِلَ كَانَ زَهُوقٗا ﴿٨١﴾

. Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu nebuvaawo, mazima obwonoonefu buba bwakuvaawo.

Emitwe