Al-Baqarah 2:30وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنِّي جَاعِلٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ خَلِيفَةٗۖ قَالُوٓاْ أَتَجۡعَلُ فِيهَا مَن يُفۡسِدُ فِيهَا وَيَسۡفِكُ ٱلدِّمَآءَ وَنَحۡنُ نُسَبِّحُ بِحَمۡدِكَ وَنُقَدِّسُ لَكَۖ قَالَ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٣٠﴾
Jjukira Mukama (Katonda) wo bwe yagamba ba malayika nti mazima nja kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, ng'ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! Katonda (naddamu) n’abagamba nti nze mmanyi ebyo byemutamanyi.
Al-Baqarah 2:35وَقُلۡنَا يَـٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ وَكُلَا مِنۡهَا رَغَدًا حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٣٥﴾
Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi.
Al-Baqarah 2:72وَإِذۡ قَتَلۡتُمۡ نَفۡسٗا فَٱدَّـٰرَ ٰٔتُمۡ فِيهَاۖ وَٱللَّهُ مُخۡرِجٞ مَّا كُنتُمۡ تَكۡتُمُونَ ﴿٧٢﴾
Era mujjukire lwe mwatta omuntu, ensonga yokutemulwa kwe nemugikaayaniramu (ani yamusse). So nga ate Katonda yali wakuggyayo ebyo byemwali mukisizza.
Al-Baqarah 2:102وَٱتَّبَعُواْ مَا تَتۡلُواْ ٱلشَّيَٰطِينُ عَلَىٰ مُلۡكِ سُلَيۡمَٰنَۖ وَمَا كَفَرَ سُلَيۡمَٰنُ وَلَٰكِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ كَفَرُواْ يُعَلِّمُونَ ٱلنَّاسَ ٱلسِّحۡرَ وَمَآ أُنزِلَ عَلَى ٱلۡمَلَكَيۡنِ بِبَابِلَ هَٰرُوتَ وَمَٰرُوتَۚ وَمَا يُعَلِّمَانِ مِنۡ أَحَدٍ حَتَّىٰ يَقُولَآ إِنَّمَا نَحۡنُ فِتۡنَةٞ فَلَا تَكۡفُرۡۖ فَيَتَعَلَّمُونَ مِنۡهُمَا مَا يُفَرِّقُونَ بِهِۦ بَيۡنَ ٱلۡمَرۡءِ وَزَوۡجِهِۦۚ وَمَا هُم بِضَآرِّينَ بِهِۦ مِنۡ أَحَدٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَيَتَعَلَّمُونَ مَا يَضُرُّهُمۡ وَلَا يَنفَعُهُمۡۚ وَلَقَدۡ عَلِمُواْ لَمَنِ ٱشۡتَرَىٰهُ مَا لَهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنۡ خَلَٰقٖۚ وَلَبِئۡسَ مَا شَرَوۡاْ بِهِۦٓ أَنفُسَهُمۡۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿١٠٢﴾
Nebagoberera ebyo sitaani bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulaimani (nga babalowoozesa nti Sulaimani lye yakozesanga), so ng'ate Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula sitaani ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku ba malayika ababiri e Babilooni, Haaruta ne Maaruta.
Al-Baqarah 2:128رَبَّنَا وَٱجۡعَلۡنَا مُسۡلِمَيۡنِ لَكَ وَمِن ذُرِّيَّتِنَآ أُمَّةٗ مُّسۡلِمَةٗ لَّكَ وَأَرِنَا مَنَاسِكَنَا وَتُبۡ عَلَيۡنَآۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٢٨﴾
Ayi mukama omulezi waffe (Katonda), tufuule ffembiriri abeewaayo gyoli era ne mu zzadde lyaffe oggyemu abalyewaayo gy'oli, era otulage engeri gye tuteekwa okukolamu emirimu gyaffe (egya Hijja). Era tusonyiwe, mazima ggwe oli musonyiyi oweekisa.
Al-Baqarah 2:187أُحِلَّ لَكُمۡ لَيۡلَةَ ٱلصِّيَامِ ٱلرَّفَثُ إِلَىٰ نِسَآئِكُمۡۚ هُنَّ لِبَاسٞ لَّكُمۡ وَأَنتُمۡ لِبَاسٞ لَّهُنَّۗ عَلِمَ ٱللَّهُ أَنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَخۡتَانُونَ أَنفُسَكُمۡ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡ وَعَفَا عَنكُمۡۖ فَٱلۡـَٰٔنَ بَٰشِرُوهُنَّ وَٱبۡتَغُواْ مَا كَتَبَ ٱللَّهُ لَكُمۡۚ وَكُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ حَتَّىٰ يَتَبَيَّنَ لَكُمُ ٱلۡخَيۡطُ ٱلۡأَبۡيَضُ مِنَ ٱلۡخَيۡطِ ٱلۡأَسۡوَدِ مِنَ ٱلۡفَجۡرِۖ ثُمَّ أَتِمُّواْ ٱلصِّيَامَ إِلَى ٱلَّيۡلِۚ وَلَا تُبَٰشِرُوهُنَّ وَأَنتُمۡ عَٰكِفُونَ فِي ٱلۡمَسَٰجِدِۗ تِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ فَلَا تَقۡرَبُوهَاۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦ لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ ﴿١٨٧﴾
Mukkirizibwa mu kiro ky'okusiiba okukiika eri bakyala ba mmwe, abakyala abo byambalo byammwe nga nammwe bwemuli ebyambalo by'abwe. Katonda amanyi nti mazima ddala mmwe mubadde mwebbirira, Katonda kwekukkiriza okwenenya kwa mmwe era n'abasonyiwa. Kaakati mugende gyebali era mukole ekyo Katonda kye yabakkiriza. Mulye era munywe okutuusizza ddala ewuzi enjeru (nga kye kitangaala) bwenebeeyolekera okuva mu wuzi enzirugavu (nga ye nzikiza) ng'okwo kwe kusala kw'emmambya. Olwo nno musiibe okutuusa obudde okuziba. Temukiikanga gye bali nga mutudde Itikaafu mu mizigiti. Ezo z'ensalosalo za Katonda, temuzisembereranga. Bwatyo nno Katonda bw'annyonnyola amateekage eri abantu balyoke bamutye.
Al-Baqarah 2:205وَإِذَا تَوَلَّىٰ سَعَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ لِيُفۡسِدَ فِيهَا وَيُهۡلِكَ ٱلۡحَرۡثَ وَٱلنَّسۡلَۚ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَسَادَ ﴿٢٠٥﴾
Bw'ava awo assa amaanyi mu kusaasanya obwonoonefu mu nsi, era n'azikiriza ebirime n'ebisolo, ngate Katonda tayagala bwonoonefu.
Al-Baqarah 2:222وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡمَحِيضِۖ قُلۡ هُوَ أَذٗى فَٱعۡتَزِلُواْ ٱلنِّسَآءَ فِي ٱلۡمَحِيضِ وَلَا تَقۡرَبُوهُنَّ حَتَّىٰ يَطۡهُرۡنَۖ فَإِذَا تَطَهَّرۡنَ فَأۡتُوهُنَّ مِنۡ حَيۡثُ أَمَرَكُمُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلتَّوَّـٰبِينَ وَيُحِبُّ ٱلۡمُتَطَهِّرِينَ ﴿٢٢٢﴾
Era bakubuuza ebikwata ku kusuulumba, bagambe nti kyo kyabulabe, kale nno mwesambe abakyala nga bali mu kusuulumba, era temubasemberera okutuusa lwe batukula, olwo nno bwe beetukuza mugende gye bali nga muyita mu kkubo eryo Katonda lye yabalagira. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abeenenya era nga bw'ayagala abeetukuza.
Al-Baqarah 2:223نِسَآؤُكُمۡ حَرۡثٞ لَّكُمۡ فَأۡتُواْ حَرۡثَكُمۡ أَنَّىٰ شِئۡتُمۡۖ وَقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُمۡۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّكُم مُّلَٰقُوهُۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٢٢٣﴾
Bakyala ba mmwe nnimiro zammwe musobola okugenda mu nnimiro zammwe nga muyita wonna wemuba mwagadde era bulijjo mwetegekere (nga mukola emirimu emirungi) era mutye Katonda mumanye nti mazima ddala mugenda kumusisinkana, era sanyusa abakkiriza.
Al-Baqarah 2:228وَٱلۡمُطَلَّقَٰتُ يَتَرَبَّصۡنَ بِأَنفُسِهِنَّ ثَلَٰثَةَ قُرُوٓءٖۚ وَلَا يَحِلُّ لَهُنَّ أَن يَكۡتُمۡنَ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ فِيٓ أَرۡحَامِهِنَّ إِن كُنَّ يُؤۡمِنَّ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ وَبُعُولَتُهُنَّ أَحَقُّ بِرَدِّهِنَّ فِي ذَٰلِكَ إِنۡ أَرَادُوٓاْ إِصۡلَٰحٗاۚ وَلَهُنَّ مِثۡلُ ٱلَّذِي عَلَيۡهِنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ وَلِلرِّجَالِ عَلَيۡهِنَّ دَرَجَةٞۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ ﴿٢٢٨﴾
Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okumala ebbanga lya ntukula ssatu era tebakkirizibwa kukweka ekyo Katonda kyaba atonze mu nnabaana waabwe bwe baba ddala nga bakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero. Era (mu kiseera ekyo) ba bbaabwe be balina okubaddira. Ekyo nno bwe baba nga bagenderera kulongoosa. Abakyala abo bateekeddwa okuweebwa nga ekyo nabo kyebateekeddwa okuwaayo mu ngeri ennungi, naye nga abasajja babalinako enkizo. Anti Katonda y'asinga okuba ow'obuyinza era nga bwa singa okuba ow'amagezi.
Al-Baqarah 2:229ٱلطَّلَٰقُ مَرَّتَانِۖ فَإِمۡسَاكُۢ بِمَعۡرُوفٍ أَوۡ تَسۡرِيحُۢ بِإِحۡسَٰنٖۗ وَلَا يَحِلُّ لَكُمۡ أَن تَأۡخُذُواْ مِمَّآ ءَاتَيۡتُمُوهُنَّ شَيۡـًٔا إِلَّآ أَن يَخَافَآ أَلَّا يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِۖ فَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَا فِيمَا ٱفۡتَدَتۡ بِهِۦۗ تِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ فَلَا تَعۡتَدُوهَاۚ وَمَن يَتَعَدَّ حُدُودَ ٱللَّهِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿٢٢٩﴾
Okuta omukyala (nga omwami aweebwa omukisa okumuddira) kibaawo emirundi ebiri. Mu kiseera ekyo omwami ayinza okusalawo okuddira mukyalawe mu mwoyo mulungi, oba okumuta mu ngeri ennungi. Era temukkirizibwa kujja ku bakyala ba mmwe (be mutadde) kintu kyonna kwebyo bye mwabawa okugyako nga beekengedde obutatuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo. Kati bwekiba nga mutidde (mwe abatabaganya) nti abafumbo bombi tebajja kusobola kutuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo, tebalina musango gwonna mu kutwala ekyo omukyala kyaba yeenunula nakyo. Ago ge mateeka ga Katonda temugasukkanga. Oyo yenna amenya amateeka ga Katonda; abo nno be balyazamaanyi.
Al-Baqarah 2:230فَإِن طَلَّقَهَا فَلَا تَحِلُّ لَهُۥ مِنۢ بَعۡدُ حَتَّىٰ تَنكِحَ زَوۡجًا غَيۡرَهُۥۗ فَإِن طَلَّقَهَا فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَآ أَن يَتَرَاجَعَآ إِن ظَنَّآ أَن يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِۗ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ يُبَيِّنُهَا لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٢٣٠﴾
Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okugyako nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddingana (N'oli eyasooka okumuta enta essatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno gemateeka ga Katonda agannyonnyola abantu abategeera.
Al-Baqarah 2:232وَإِذَا طَلَّقۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ فَبَلَغۡنَ أَجَلَهُنَّ فَلَا تَعۡضُلُوهُنَّ أَن يَنكِحۡنَ أَزۡوَٰجَهُنَّ إِذَا تَرَٰضَوۡاْ بَيۡنَهُم بِٱلۡمَعۡرُوفِۗ ذَٰلِكَ يُوعَظُ بِهِۦ مَن كَانَ مِنكُمۡ يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۗ ذَٰلِكُمۡ أَزۡكَىٰ لَكُمۡ وَأَطۡهَرُۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٢٣٢﴾
Bwe muba nga mutadde abakyala ebbanga lyabwe lyebatuula nga tebannafumbirwa (Idda) ne liggwaako temubagaananga okudda eri ba bbaabwe bwebaba bakkirizigannyiza mu ngeri ennungi. Etteka eryo libuulirwa oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Ekyo nno kyekisinga okuba ekyensa n'obutukuvu gyemuli. Katonda y'asinga okumanya (ekirimu omugaso gyemuli) naye mmwe temumanyi.
Al-Baqarah 2:233۞وَٱلۡوَٰلِدَٰتُ يُرۡضِعۡنَ أَوۡلَٰدَهُنَّ حَوۡلَيۡنِ كَامِلَيۡنِۖ لِمَنۡ أَرَادَ أَن يُتِمَّ ٱلرَّضَاعَةَۚ وَعَلَى ٱلۡمَوۡلُودِ لَهُۥ رِزۡقُهُنَّ وَكِسۡوَتُهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ لَا تُكَلَّفُ نَفۡسٌ إِلَّا وُسۡعَهَاۚ لَا تُضَآرَّ وَٰلِدَةُۢ بِوَلَدِهَا وَلَا مَوۡلُودٞ لَّهُۥ بِوَلَدِهِۦۚ وَعَلَى ٱلۡوَارِثِ مِثۡلُ ذَٰلِكَۗ فَإِنۡ أَرَادَا فِصَالًا عَن تَرَاضٖ مِّنۡهُمَا وَتَشَاوُرٖ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَاۗ وَإِنۡ أَرَدتُّمۡ أَن تَسۡتَرۡضِعُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُمۡ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِذَا سَلَّمۡتُم مَّآ ءَاتَيۡتُم بِٱلۡمَعۡرُوفِۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿٢٣٣﴾
Abazadde (abakyala) balina okuyonsa abaana baabwe emyaka ebiri egijjudde, eri abo ababa baagadde okuyonsa okujjuvu. Kikakata ku ba taata b'abaana okubalabirira n'okubambaza mu ngeri esaana, omuntu taakakibwenga ky'atasobola. N'omukyala taayisibwenga bubi olw'omwana gw'ayonsa. Wadde kitaawe w'omwana naye tasaanidde kuyisibwa bubi olw'omwanawe. N'oyo aba asikidde taata wa baana ayisibwa mu ngeri y'emu. Bwebaba nga bakkiriziganyizza bombi okuggya omwana ku mabeere nga bayise mu kuteesa olwo tewaba namusango gwonna. Bwe muba mwagadde omukyala omulala okubayonseza omwana temulina musango gwonna kasita muba nga muwaddeyo ebyo byemukkiriziganyizzaako mu ngeri ennungi. Era mutye Katonda, era mumanye nti mazima Katonda alaba byonna bye mukola.
Ali 'Imran 3:6هُوَ ٱلَّذِي يُصَوِّرُكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ كَيۡفَ يَشَآءُۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٦﴾
Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
Ali 'Imran 3:36فَلَمَّا وَضَعَتۡهَا قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي وَضَعۡتُهَآ أُنثَىٰ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا وَضَعَتۡ وَلَيۡسَ ٱلذَّكَرُ كَٱلۡأُنثَىٰۖ وَإِنِّي سَمَّيۡتُهَا مَرۡيَمَ وَإِنِّيٓ أُعِيذُهَا بِكَ وَذُرِّيَّتَهَا مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ ﴿٣٦﴾
(Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo.
Ali 'Imran 3:38هُنَالِكَ دَعَا زَكَرِيَّا رَبَّهُۥۖ قَالَ رَبِّ هَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ ذُرِّيَّةٗ طَيِّبَةًۖ إِنَّكَ سَمِيعُ ٱلدُّعَآءِ ﴿٣٨﴾
Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gyoli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira edduwa y’omusabi.
Ali 'Imran 3:39فَنَادَتۡهُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَهُوَ قَآئِمٞ يُصَلِّي فِي ٱلۡمِحۡرَابِ أَنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكَ بِيَحۡيَىٰ مُصَدِّقَۢا بِكَلِمَةٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَسَيِّدٗا وَحَصُورٗا وَنَبِيّٗا مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٣٩﴾
Malayika naamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ngasaba n’amugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu.
Ali 'Imran 3:40قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَقَدۡ بَلَغَنِيَ ٱلۡكِبَرُ وَٱمۡرَأَتِي عَاقِرٞۖ قَالَ كَذَٰلِكَ ٱللَّهُ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ ﴿٤٠﴾
Zakaria naagamba nti; Mukama wange nnaafuna ntya omwana nga nkaddiye bwenti, era nga ne mukyala wange mugumba! (Malayika) naagamba nti bwatyo Katonda akola kyaba ayagadde.
Ali 'Imran 3:47قَالَتۡ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي وَلَدٞ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٞۖ قَالَ كَذَٰلِكِ ٱللَّهُ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ إِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿٤٧﴾
(Mariam) naagamba nti Mukama wange naafuna ntya omwana nga tewali muntu yali ankutteko (Malayika) naagamba nti bwekityo (bwekijja akuba) Katonda atonda nga bwaba ayagadde bwasalawo ekintu mazima akigamba bugambi nti ba ne kiba.
Ali 'Imran 3:103وَٱعۡتَصِمُواْ بِحَبۡلِ ٱللَّهِ جَمِيعٗا وَلَا تَفَرَّقُواْۚ وَٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ كُنتُمۡ أَعۡدَآءٗ فَأَلَّفَ بَيۡنَ قُلُوبِكُمۡ فَأَصۡبَحۡتُم بِنِعۡمَتِهِۦٓ إِخۡوَٰنٗا وَكُنتُمۡ عَلَىٰ شَفَا حُفۡرَةٖ مِّنَ ٱلنَّارِ فَأَنقَذَكُم مِّنۡهَاۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿١٠٣﴾
Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olwekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gwekinnya kyomuliro n'agubatasaako, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo bye mube nga mulungama.
An-Nisa 4:1يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَخَلَقَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا وَبَثَّ مِنۡهُمَا رِجَالٗا كَثِيرٗا وَنِسَآءٗۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِي تَسَآءَلُونَ بِهِۦ وَٱلۡأَرۡحَامَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَيۡكُمۡ رَقِيبٗا ﴿١﴾
Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga agya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi nagyamu abasajja n’abakyala bangi, era mutye Katonda oyo gwemukozesa erinnya lye nga musaba, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abataddeko eriiso egyogi.
An-Nisa 4:3وَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تُقۡسِطُواْ فِي ٱلۡيَتَٰمَىٰ فَٱنكِحُواْ مَا طَابَ لَكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ مَثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۖ فَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تَعۡدِلُواْ فَوَٰحِدَةً أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَعُولُواْ ﴿٣﴾
Bwemutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muwase abakyala abalala abo ababa babasanyusizza owa babiri, owa basatu, n’owabana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, kale omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kyekirungi okuwona obuzibu bwokwekubiira.
An-Nisa 4:19يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا يَحِلُّ لَكُمۡ أَن تَرِثُواْ ٱلنِّسَآءَ كَرۡهٗاۖ وَلَا تَعۡضُلُوهُنَّ لِتَذۡهَبُواْ بِبَعۡضِ مَآ ءَاتَيۡتُمُوهُنَّ إِلَّآ أَن يَأۡتِينَ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖۚ وَعَاشِرُوهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ فَإِن كَرِهۡتُمُوهُنَّ فَعَسَىٰٓ أَن تَكۡرَهُواْ شَيۡـٔٗا وَيَجۡعَلَ ٱللَّهُ فِيهِ خَيۡرٗا كَثِيرٗا ﴿١٩﴾
Abange mmwe abakkiriza temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka, era temubanyigirizanga mube nga mutwala ebimu kwebyo byemwabawa, mpozzi nga bakoze obwenzi obweyolefu, (bwekiba ekyo) mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda naakissaamu ebirungi bingi.
An-Nisa 4:57وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ سَنُدۡخِلُهُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ لَّهُمۡ فِيهَآ أَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞۖ وَنُدۡخِلُهُمۡ ظِلّٗا ظَلِيلًا ﴿٥٧﴾
Ate bbo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi, tujja kubayingiza mu jjana ezikulukutiramu emigga, nga baakubeeramu lubeerera, balina mu zo Abakyala abatukuvu era tugenda kubakkiriza batuule mu bisiikirize ebisaakaativu.
An-Nisa 4:93وَمَن يَقۡتُلۡ مُؤۡمِنٗا مُّتَعَمِّدٗا فَجَزَآؤُهُۥ جَهَنَّمُ خَٰلِدٗا فِيهَا وَغَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ وَلَعَنَهُۥ وَأَعَدَّ لَهُۥ عَذَابًا عَظِيمٗا ﴿٩٣﴾
Omuntu atta omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, w'akugubeeramu bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, naamukolimira, era naamutegekera ebibonerezo ebiyitirivu.
Al-An'am 6:143ثَمَٰنِيَةَ أَزۡوَٰجٖۖ مِّنَ ٱلضَّأۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَمِنَ ٱلۡمَعۡزِ ٱثۡنَيۡنِۗ قُلۡ ءَآلذَّكَرَيۡنِ حَرَّمَ أَمِ ٱلۡأُنثَيَيۡنِ أَمَّا ٱشۡتَمَلَتۡ عَلَيۡهِ أَرۡحَامُ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۖ نَبِّـُٔونِي بِعِلۡمٍ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿١٤٣﴾
E bisolo e birundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, e biri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti e nsajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba e nkazi, oba amawako g’azombiriri, mumbulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima.
Al-An'am 6:151۞قُلۡ تَعَالَوۡاْ أَتۡلُ مَا حَرَّمَ رَبُّكُمۡ عَلَيۡكُمۡۖ أَلَّا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗاۖ وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُم مِّنۡ إِمۡلَٰقٖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكُمۡ وَإِيَّاهُمۡۖ وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلۡفَوَٰحِشَ مَا ظَهَرَ مِنۡهَا وَمَا بَطَنَۖ وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿١٥١﴾
Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera.
Al-A'raf 7:19وَيَـٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ فَكُلَا مِنۡ حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٩﴾
Era netugamba Adam nti ggwe ne Mukyalawo mubeere mu jjana mwembi mulye wonna wemwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi.
Al-A'raf 7:127وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِ فِرۡعَوۡنَ أَتَذَرُ مُوسَىٰ وَقَوۡمَهُۥ لِيُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَيَذَرَكَ وَءَالِهَتَكَۚ قَالَ سَنُقَتِّلُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَنَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡ وَإِنَّا فَوۡقَهُمۡ قَٰهِرُونَ ﴿١٢٧﴾
Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi.
Al-A'raf 7:189۞هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَجَعَلَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا لِيَسۡكُنَ إِلَيۡهَاۖ فَلَمَّا تَغَشَّىٰهَا حَمَلَتۡ حَمۡلًا خَفِيفٗا فَمَرَّتۡ بِهِۦۖ فَلَمَّآ أَثۡقَلَت دَّعَوَا ٱللَّهَ رَبَّهُمَا لَئِنۡ ءَاتَيۡتَنَا صَٰلِحٗا لَّنَكُونَنَّ مِنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿١٨٩﴾
Katonda yye yooyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, ng’ate mu ye mwe yaggya mukyalawe, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu, bwe yamala okulabagana naye, naafuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera (olubuto mweruyita) olw’amala okukula, baasaba Mukama omulabirizi waabwe, nebagamba nti, singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza.
Al-Anfal 8:62وَإِن يُرِيدُوٓاْ أَن يَخۡدَعُوكَ فَإِنَّ حَسۡبَكَ ٱللَّهُۚ هُوَ ٱلَّذِيٓ أَيَّدَكَ بِنَصۡرِهِۦ وَبِٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٦٢﴾
Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza.
Al-Anfal 8:63وَأَلَّفَ بَيۡنَ قُلُوبِهِمۡۚ لَوۡ أَنفَقۡتَ مَا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا مَّآ أَلَّفۡتَ بَيۡنَ قُلُوبِهِمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ أَلَّفَ بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّهُۥ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٦٣﴾
Era naagatta wakati w’emitima gyabwe, nga singa wawaayo ebiri mu nsi byonna, tewandigasse wakati w’a mitima gyabwe, naye mazima ddala Katonda yagatta wakati waabwe, anti mazima ddala yye ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
Al-Anfal 8:75وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنۢ بَعۡدُ وَهَاجَرُواْ وَجَٰهَدُواْ مَعَكُمۡ فَأُوْلَـٰٓئِكَ مِنكُمۡۚ وَأُوْلُواْ ٱلۡأَرۡحَامِ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلَىٰ بِبَعۡضٖ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمُۢ ﴿٧٥﴾
Ate abo abakkiriza, oluvanyuma ne balafuubana wamu nammwe mu kkubo lya Katonda, abo nno ba mu mmwe, naye nga ab'oluganda abamu ku bo be basinga okukwatibwako ensonga z’a bannaabwe. Ebyo nga biri mu kitabo kya Katonda. Nga bulijjo mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.
Hud 11:69وَلَقَدۡ جَآءَتۡ رُسُلُنَآ إِبۡرَٰهِيمَ بِٱلۡبُشۡرَىٰ قَالُواْ سَلَٰمٗاۖ قَالَ سَلَٰمٞۖ فَمَا لَبِثَ أَن جَآءَ بِعِجۡلٍ حَنِيذٖ ﴿٦٩﴾
Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye.
Hud 11:70فَلَمَّا رَءَآ أَيۡدِيَهُمۡ لَا تَصِلُ إِلَيۡهِ نَكِرَهُمۡ وَأَوۡجَسَ مِنۡهُمۡ خِيفَةٗۚ قَالُواْ لَا تَخَفۡ إِنَّآ أُرۡسِلۡنَآ إِلَىٰ قَوۡمِ لُوطٖ ﴿٧٠﴾
(Ibrahim) bwe yalaba emikono gya bwe nga tegituuka ku nnyama naabekengera, (Ba Malayika) bo kwe kumugamba nti totutya, mazima ffe tuli ba Malayika tutumiddwa eri abantu ba Luutu (okubazikiriza).
Hud 11:71وَٱمۡرَأَتُهُۥ قَآئِمَةٞ فَضَحِكَتۡ فَبَشَّرۡنَٰهَا بِإِسۡحَٰقَ وَمِن وَرَآءِ إِسۡحَٰقَ يَعۡقُوبَ ﴿٧١﴾
Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu).
Hud 11:72قَالَتۡ يَٰوَيۡلَتَىٰٓ ءَأَلِدُ وَأَنَا۠ عَجُوزٞ وَهَٰذَا بَعۡلِي شَيۡخًاۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٌ عَجِيبٞ ﴿٧٢﴾
(Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu ekye wuunyisa nnyo.
Hud 11:73قَالُوٓاْ أَتَعۡجَبِينَ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِۖ رَحۡمَتُ ٱللَّهِ وَبَرَكَٰتُهُۥ عَلَيۡكُمۡ أَهۡلَ ٱلۡبَيۡتِۚ إِنَّهُۥ حَمِيدٞ مَّجِيدٞ ﴿٧٣﴾
(Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Katonda! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Katonda atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo.
Ar-Ra'd 13:8ٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَحۡمِلُ كُلُّ أُنثَىٰ وَمَا تَغِيضُ ٱلۡأَرۡحَامُ وَمَا تَزۡدَادُۚ وَكُلُّ شَيۡءٍ عِندَهُۥ بِمِقۡدَارٍ ﴿٨﴾
Katonda amanyi buli kikazi ekyo kye kiba kirina mu lubuto lwa kyo, n'ekyo nnabaana kyayongera ne kyakendeeza, (ku bbanga olubuto lye lumala) era buli kintu kyonna ewa Mukama Katonda kikolera ku kigero (ekyakiweebwa).
Ar-Ra'd 13:23جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا وَمَن صَلَحَ مِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَأَزۡوَٰجِهِمۡ وَذُرِّيَّـٰتِهِمۡۖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَدۡخُلُونَ عَلَيۡهِم مِّن كُلِّ بَابٖ ﴿٢٣﴾
(Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango.
Ar-Ra'd 13:38وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلٗا مِّن قَبۡلِكَ وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَذُرِّيَّةٗۚ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأۡتِيَ بِـَٔايَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ لِكُلِّ أَجَلٖ كِتَابٞ ﴿٣٨﴾
Mazima twatuma ababaka bangi oluberyeberyelwo, netubawa abakyala n'ezadde, tewali Mubaka yenna yali asobola kuleeta kyamagero kyonna okugyako kulwa kukkiriza kwa Katonda. Buli ntuuko eba mpandiike ewa Katonda.
Ibrahim 14:39ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي وَهَبَ لِي عَلَى ٱلۡكِبَرِ إِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَۚ إِنَّ رَبِّي لَسَمِيعُ ٱلدُّعَآءِ ﴿٣٩﴾
Ebitendo bya Katonda, oyo eyampa Ismail ne Ishaka mu bukadde. Mazima Mukama omulabirizi wange awulirira ddala okusaba.
Ibrahim 14:40رَبِّ ٱجۡعَلۡنِي مُقِيمَ ٱلصَّلَوٰةِ وَمِن ذُرِّيَّتِيۚ رَبَّنَا وَتَقَبَّلۡ دُعَآءِ ﴿٤٠﴾
Ayi Mukama omulabirizi wange nfuula ayimirizaawo e sswala, ne muzadde lyange (ojjemu abakola ekyo) ayi Mukama omulabirizi waffe nkusaba okkirize okusaba kwange.
Al-Hijr 15:53قَالُواْ لَا تَوۡجَلۡ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ عَلِيمٖ ﴿٥٣﴾
Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo.
Al-Hijr 15:54قَالَ أَبَشَّرۡتُمُونِي عَلَىٰٓ أَن مَّسَّنِيَ ٱلۡكِبَرُ فَبِمَ تُبَشِّرُونَ ﴿٥٤﴾
(Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki?.
Al-Hijr 15:55قَالُواْ بَشَّرۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ فَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡقَٰنِطِينَ ﴿٥٥﴾
Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira.
Al-Hijr 15:56قَالَ وَمَن يَقۡنَطُ مِن رَّحۡمَةِ رَبِّهِۦٓ إِلَّا ٱلضَّآلُّونَ ﴿٥٦﴾
Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze!.
Al-Hijr 15:88لَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٨٨﴾
Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza.
An-Nahl 16:72وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُم بَنِينَ وَحَفَدَةٗ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ هُمۡ يَكۡفُرُونَ ﴿٧٢﴾
Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya!.