quranm◉

Emitwe · lg

128 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:54

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ إِنَّكُمۡ ظَلَمۡتُمۡ أَنفُسَكُم بِٱتِّخَاذِكُمُ ٱلۡعِجۡلَ فَتُوبُوٓاْ إِلَىٰ بَارِئِكُمۡ فَٱقۡتُلُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ عِندَ بَارِئِكُمۡ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ ﴿٥٤﴾

Era mujjukire Musa, lwe yagamba abantu be; abange (mmwe) abantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olwokusinza e nnyana. Nolw’ekyo mwenenyeze omutonzi wa mmwe. Mukutuukiriza ekyo mwette mwekka. Ekyo kye kirungi gye muli ew'omutonzi wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala ye, yakkiriza okwenenya era omusaasizi.

Al-Baqarah 2:85

ثُمَّ أَنتُمۡ هَـٰٓؤُلَآءِ تَقۡتُلُونَ أَنفُسَكُمۡ وَتُخۡرِجُونَ فَرِيقٗا مِّنكُم مِّن دِيَٰرِهِمۡ تَظَٰهَرُونَ عَلَيۡهِم بِٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡعُدۡوَٰنِ وَإِن يَأۡتُوكُمۡ أُسَٰرَىٰ تُفَٰدُوهُمۡ وَهُوَ مُحَرَّمٌ عَلَيۡكُمۡ إِخۡرَاجُهُمۡۚ أَفَتُؤۡمِنُونَ بِبَعۡضِ ٱلۡكِتَٰبِ وَتَكۡفُرُونَ بِبَعۡضٖۚ فَمَا جَزَآءُ مَن يَفۡعَلُ ذَٰلِكَ مِنكُمۡ إِلَّا خِزۡيٞ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يُرَدُّونَ إِلَىٰٓ أَشَدِّ ٱلۡعَذَابِۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿٨٥﴾

Wabula ate mmwe mwennyini muttiηηana era nga mugobaganya abamu ku mmwe mu mayumba gabwe. Muyamba abamu ku bannammwe mu ngeri emenya amateeka, era mu ngeri y'obulumbaganyi. So nga ate abawambe bwebaba babajjidde mubanunula. Awamu n'okuba nga eky'okubagobaganya mu mayumba gabwe kyaziyizibwa. Abaffe ekitabo mukkirizaako kitundu ne muwakanya ekitundu ekirala? Kaakano kiki kyemusuubira okuba empeera y'omu mu mmwe akola ekikolwa ekyo, okugyako okuswazibwa mu bulamu obw'ensi ng'ate ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kuzzibwa eri ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali. Katonda tasudde muguluka ebyo bye mukola.

Al-Baqarah 2:161

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٌ أُوْلَـٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ لَعۡنَةُ ٱللَّهِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ﴿١٦١﴾

Mazima abo abaakaafuwala ne bafiira ku bukaafiiri; Abo baliko ekikolimo okuva ewa Katonda n'okuva eri ba malayika n'abantu bonna.

Al-Baqarah 2:162

خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿١٦٢﴾

(Abantu abo) Baakubeera mu muliro obugenderevu, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo ng'era bwebatagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa).

Al-Baqarah 2:178

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِصَاصُ فِي ٱلۡقَتۡلَىۖ ٱلۡحُرُّ بِٱلۡحُرِّ وَٱلۡعَبۡدُ بِٱلۡعَبۡدِ وَٱلۡأُنثَىٰ بِٱلۡأُنثَىٰۚ فَمَنۡ عُفِيَ لَهُۥ مِنۡ أَخِيهِ شَيۡءٞ فَٱتِّبَاعُۢ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَأَدَآءٌ إِلَيۡهِ بِإِحۡسَٰنٖۗ ذَٰلِكَ تَخۡفِيفٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَرَحۡمَةٞۗ فَمَنِ ٱعۡتَدَىٰ بَعۡدَ ذَٰلِكَ فَلَهُۥ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿١٧٨﴾

Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwako nti ekibonerezo ky'oyo aba atemudde kumutta; omwana waboowo attibwa olw'okutta omwana wabobwe, n'omuddu attibwa olw'okutta muddu munne, n'omukazi attibwa ku lwokutta mukazi munne. Asse, bannannyini mufu bwe baba bamusonyiye ekintu kyonna, ababanja bateekwa okubanja mu ngeri nnungi, n'abasasula basasule mu ngeri y'emu. Okwo kwe kuwewula n'okusaasira, ebyava eri Katonda wa mmwe. (Oluvanyuma lw'okusasula) oyo alumba n'atta eyasonyiyiddwa naye ateekwa okuweebwa ekibonerezo ekiruma nga ky'akuttibwa (awatali kusonyiyibwa oba okuwa engassi).

Al-Baqarah 2:190

وَقَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ٱلَّذِينَ يُقَٰتِلُونَكُمۡ وَلَا تَعۡتَدُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُعۡتَدِينَ ﴿١٩٠﴾

Mulwane mu kkubo lya Katonda nga mulwanyisa abo ababa babalwanyisizza. Wabula temusosonkerezanga, mazima Katonda tayagala balumbaganyi.

Al-Baqarah 2:191

وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ ثَقِفۡتُمُوهُمۡ وَأَخۡرِجُوهُم مِّنۡ حَيۡثُ أَخۡرَجُوكُمۡۚ وَٱلۡفِتۡنَةُ أَشَدُّ مِنَ ٱلۡقَتۡلِۚ وَلَا تُقَٰتِلُوهُمۡ عِندَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ حَتَّىٰ يُقَٰتِلُوكُمۡ فِيهِۖ فَإِن قَٰتَلُوكُمۡ فَٱقۡتُلُوهُمۡۗ كَذَٰلِكَ جَزَآءُ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿١٩١﴾

Mubattenga wonna wemubanga mu basanze, era mubaggye mu bifo ebyo bye babaggyamu kubanga bulijjo effitina mbi nnyo okusinga okutta. Temubalwanyisizanga mu muzigiti ogw'emizizo okugyako nga babalwanyisizzaamu, bwe baba babalwanyisizza nammwe mubalwanyise; empeera y'abatakkiriza bw'etyo bwebeera.

Al-Baqarah 2:192

فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٩٢﴾

Bwe baba beekomyeko mazima Katonda musonyiyi, musaasizi.

Al-Baqarah 2:193

وَقَٰتِلُوهُمۡ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتۡنَةٞ وَيَكُونَ ٱلدِّينُ لِلَّهِۖ فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَلَا عُدۡوَٰنَ إِلَّا عَلَى ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٩٣﴾

Mubalwanyise waleme kubaawo misanvu gyonna, olwo nno okusinza kwonna kube kwa Katonda yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulabe okugyako ku balyazamaanyi.

Al-Baqarah 2:216

كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِتَالُ وَهُوَ كُرۡهٞ لَّكُمۡۖ وَعَسَىٰٓ أَن تَكۡرَهُواْ شَيۡـٔٗا وَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۖ وَعَسَىٰٓ أَن تُحِبُّواْ شَيۡـٔٗا وَهُوَ شَرّٞ لَّكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٢١٦﴾

Mulaalikiddwako okulwana (mu kkubo lya Katonda) awamu nokuba nga temwandikyagadde. Naye, muyinza obutayagala kintu nga ate kye kirungi gy'emuli, nga bwemuyinza okwagala ekintu naye nga kibi gy'emuli; anti Katonda amanyi ate nga mmwe temumanyi.

Al-Baqarah 2:217

يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلشَّهۡرِ ٱلۡحَرَامِ قِتَالٖ فِيهِۖ قُلۡ قِتَالٞ فِيهِ كَبِيرٞۚ وَصَدٌّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَكُفۡرُۢ بِهِۦ وَٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ وَإِخۡرَاجُ أَهۡلِهِۦ مِنۡهُ أَكۡبَرُ عِندَ ٱللَّهِۚ وَٱلۡفِتۡنَةُ أَكۡبَرُ مِنَ ٱلۡقَتۡلِۗ وَلَا يَزَالُونَ يُقَٰتِلُونَكُمۡ حَتَّىٰ يَرُدُّوكُمۡ عَن دِينِكُمۡ إِنِ ٱسۡتَطَٰعُواْۚ وَمَن يَرۡتَدِدۡ مِنكُمۡ عَن دِينِهِۦ فَيَمُتۡ وَهُوَ كَافِرٞ فَأُوْلَـٰٓئِكَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢١٧﴾

Bakubuuza ku nsonga y'okulwanira mu mwezi ogw'emizizo. Bagambe nti okugulwaniramu kibi kinene, wabula okulemesa abantu okukola emirimu gya Katonda n'okumujeemera n'okulemesa abantu okutuuka ku muzikiti ogw'emizizo n'okugobaganya abantu baamu, bye bisinga obubi mu maaso ga Katonda. Kubanga (bulijjo) effitina mbi nnyo okusinga okutta.

Al-Baqarah 2:243

۞أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ خَرَجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَهُمۡ أُلُوفٌ حَذَرَ ٱلۡمَوۡتِ فَقَالَ لَهُمُ ٱللَّهُ مُوتُواْ ثُمَّ أَحۡيَٰهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ ﴿٢٤٣﴾

Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi nankumi nga batya okufa, Katonda n'abagamba nti kale mufe, oluvanyuma n'abazuukiza. Mazima Katonda agabirira nnyo abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza.

Al-Baqarah 2:250

وَلَمَّا بَرَزُواْ لِجَالُوتَ وَجُنُودِهِۦ قَالُواْ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَثَبِّتۡ أَقۡدَامَنَا وَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٥٠﴾

Bwebaayolekaganya obwanga ne Jaaluuta n'eggye lye nebagamba nti, Ayi Katonda waffe tuwe obugumiikiriza otunyweze, era otutaase ku bantu abakaafiiri.

Al-Baqarah 2:251

فَهَزَمُوهُم بِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَقَتَلَ دَاوُۥدُ جَالُوتَ وَءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَهُۥ مِمَّا يَشَآءُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّفَسَدَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٥١﴾

Ku lw'obuyinza bwa Katonda baabawangula. Dauda natta Jaaluuta era Katonda naamuwa obufuzi n'amagezi era nga bweyamuwa okumanya ebyo byeyayagala amanye. Singa tekyali nti Katonda aggyawo abantu nga akozesa abamu okugyawo bannaabwe, ensi yandiyonoonese. Naye mazima ddala Katonda ebitondebye abyagaliza bulungi.

Ali 'Imran 3:12

قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ سَتُغۡلَبُونَ وَتُحۡشَرُونَ إِلَىٰ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿١٢﴾

Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo.

Ali 'Imran 3:13

قَدۡ كَانَ لَكُمۡ ءَايَةٞ فِي فِئَتَيۡنِ ٱلۡتَقَتَاۖ فِئَةٞ تُقَٰتِلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَأُخۡرَىٰ كَافِرَةٞ يَرَوۡنَهُم مِّثۡلَيۡهِمۡ رَأۡيَ ٱلۡعَيۡنِۚ وَٱللَّهُ يُؤَيِّدُ بِنَصۡرِهِۦ مَن يَشَآءُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿١٣﴾

Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu.

Ali 'Imran 3:111

لَن يَضُرُّوكُمۡ إِلَّآ أَذٗىۖ وَإِن يُقَٰتِلُوكُمۡ يُوَلُّوكُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ثُمَّ لَا يُنصَرُونَ ﴿١١١﴾

Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa.

Ali 'Imran 3:119

هَـٰٓأَنتُمۡ أُوْلَآءِ تُحِبُّونَهُمۡ وَلَا يُحِبُّونَكُمۡ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱلۡكِتَٰبِ كُلِّهِۦ وَإِذَا لَقُوكُمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ عَضُّواْ عَلَيۡكُمُ ٱلۡأَنَامِلَ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۚ قُلۡ مُوتُواْ بِغَيۡظِكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿١١٩﴾

(Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

Ali 'Imran 3:121

وَإِذۡ غَدَوۡتَ مِنۡ أَهۡلِكَ تُبَوِّئُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مَقَٰعِدَ لِلۡقِتَالِۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿١٢١﴾

Era jjukira (Ggwe Muhammad) bwewakeera n’oleka ab'omumaka go n’ogenda otegekere abakkiriza ebifo mwebanaalwanira, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna.

Ali 'Imran 3:122

إِذۡ هَمَّت طَّآئِفَتَانِ مِنكُمۡ أَن تَفۡشَلَا وَٱللَّهُ وَلِيُّهُمَاۗ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿١٢٢﴾

Jjukira ebibiina ebibiri mu mmwe lwebyayagala okufotookerera, Katonda yeeyali omukuumi wa byombi, bulijjo abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda.

Ali 'Imran 3:123

وَلَقَدۡ نَصَرَكُمُ ٱللَّهُ بِبَدۡرٖ وَأَنتُمۡ أَذِلَّةٞۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿١٢٣﴾

Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, kale mutye Katonda mulyoke mube abeebaza.

Ali 'Imran 3:124

إِذۡ تَقُولُ لِلۡمُؤۡمِنِينَ أَلَن يَكۡفِيَكُمۡ أَن يُمِدَّكُمۡ رَبُّكُم بِثَلَٰثَةِ ءَالَٰفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُنزَلِينَ ﴿١٢٤﴾

Jjukira bwewagamba abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu.

Ali 'Imran 3:125

بَلَىٰٓۚ إِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ وَيَأۡتُوكُم مِّن فَوۡرِهِمۡ هَٰذَا يُمۡدِدۡكُمۡ رَبُّكُم بِخَمۡسَةِ ءَالَٰفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُسَوِّمِينَ ﴿١٢٥﴾

So nno, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga basibye ebiremba.

Ali 'Imran 3:126

وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ لَكُمۡ وَلِتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُكُم بِهِۦۗ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿١٢٦﴾

Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

Ali 'Imran 3:127

لِيَقۡطَعَ طَرَفٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَوۡ يَكۡبِتَهُمۡ فَيَنقَلِبُواْ خَآئِبِينَ ﴿١٢٧﴾

(Ekyo Katonda yakikola) abe nga ajjawo ekitundu ekimu ekya baakafiiri oba abanakuwaze (Bawangulwe) baddeyo nga baswavu.

Ali 'Imran 3:154

ثُمَّ أَنزَلَ عَلَيۡكُم مِّنۢ بَعۡدِ ٱلۡغَمِّ أَمَنَةٗ نُّعَاسٗا يَغۡشَىٰ طَآئِفَةٗ مِّنكُمۡۖ وَطَآئِفَةٞ قَدۡ أَهَمَّتۡهُمۡ أَنفُسُهُمۡ يَظُنُّونَ بِٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ ظَنَّ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِۖ يَقُولُونَ هَل لَّنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ مِن شَيۡءٖۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَمۡرَ كُلَّهُۥ لِلَّهِۗ يُخۡفُونَ فِيٓ أَنفُسِهِم مَّا لَا يُبۡدُونَ لَكَۖ يَقُولُونَ لَوۡ كَانَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ شَيۡءٞ مَّا قُتِلۡنَا هَٰهُنَاۗ قُل لَّوۡ كُنتُمۡ فِي بُيُوتِكُمۡ لَبَرَزَ ٱلَّذِينَ كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَتۡلُ إِلَىٰ مَضَاجِعِهِمۡۖ وَلِيَبۡتَلِيَ ٱللَّهُ مَا فِي صُدُورِكُمۡ وَلِيُمَحِّصَ مَا فِي قُلُوبِكُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿١٥٤﴾

Ate oluvanyuma lwokwelariikirira Katonda yassa kummwe akalembereza kokwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyaabwe byebatakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba.

Ali 'Imran 3:185

كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۗ وَإِنَّمَا تُوَفَّوۡنَ أُجُورَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ فَمَن زُحۡزِحَ عَنِ ٱلنَّارِ وَأُدۡخِلَ ٱلۡجَنَّةَ فَقَدۡ فَازَۗ وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا مَتَٰعُ ٱلۡغُرُورِ ﴿١٨٥﴾

Buli muntu yenna wa kukomba ku kufa, era mazima ddala mugenda kusasulwa mu bujjuvu empeera zammwe ku lunaku lw’enkomerero oyo yenna aliwonyezebwa omuliro naayingizibwa e jjana aliba yeesiimye, obulamu bwensi tebuliimu kantu konna okugyako okweyagala okwokugayaaza.

An-Nisa 4:66

وَلَوۡ أَنَّا كَتَبۡنَا عَلَيۡهِمۡ أَنِ ٱقۡتُلُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ أَوِ ٱخۡرُجُواْ مِن دِيَٰرِكُم مَّا فَعَلُوهُ إِلَّا قَلِيلٞ مِّنۡهُمۡۖ وَلَوۡ أَنَّهُمۡ فَعَلُواْ مَا يُوعَظُونَ بِهِۦ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡ وَأَشَدَّ تَثۡبِيتٗا ﴿٦٦﴾

Singa mazima ddala ffe twalaalika ku bo nti mwette, oba muve mu mayumba gammwe tebandikikoze okugyako batono ku bo, singa baakola ebyo ebibabuulirwa kyandibadde kirungi gyebali, era kyekyalisinze okubanywereza ku bukkiriza.

An-Nisa 4:78

أَيۡنَمَا تَكُونُواْ يُدۡرِككُّمُ ٱلۡمَوۡتُ وَلَوۡ كُنتُمۡ فِي بُرُوجٖ مُّشَيَّدَةٖۗ وَإِن تُصِبۡهُمۡ حَسَنَةٞ يَقُولُواْ هَٰذِهِۦ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةٞ يَقُولُواْ هَٰذِهِۦ مِنۡ عِندِكَۚ قُلۡ كُلّٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ فَمَالِ هَـٰٓؤُلَآءِ ٱلۡقَوۡمِ لَا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ حَدِيثٗا ﴿٧٨﴾

Wonna wemuba muli okufa kugenda kubatuukako, newaakubadde nga muli mu mizimbo eminywevu (bankers), abantu abamu bwebatuukwako ekirungi bagamba nti ekyo kivudde wa Katonda, so nga bwebatuukwako ekibi bagamba nti kino kivudde ku ggwe, Gamba (Ggwe Muhammad) byonna biva wa Katonda, abantu abo bali kumpi babe nga tebategeera kintu kyonna.

An-Nisa 4:84

فَقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا تُكَلَّفُ إِلَّا نَفۡسَكَۚ وَحَرِّضِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَكُفَّ بَأۡسَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ وَٱللَّهُ أَشَدُّ بَأۡسٗا وَأَشَدُّ تَنكِيلٗا ﴿٨٤﴾

Kale nno lwaana ng’oweereza mu kkubo lya Katonda, towalirizibwa (kutwala muntu yenna ku lutalo) okugyako mwoyo gwo. Bo abakkiriza bakubirize (okulwana) olwo nno Katonda abe nga akomya akabi kaabo ab'akaafuwala, bulijjo Katonda y’asinga amaanyi era y’asinga okubonereza.

An-Nisa 4:89

وَدُّواْ لَوۡ تَكۡفُرُونَ كَمَا كَفَرُواْ فَتَكُونُونَ سَوَآءٗۖ فَلَا تَتَّخِذُواْ مِنۡهُمۡ أَوۡلِيَآءَ حَتَّىٰ يُهَاجِرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۚ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَخُذُوهُمۡ وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ وَجَدتُّمُوهُمۡۖ وَلَا تَتَّخِذُواْ مِنۡهُمۡ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرًا ﴿٨٩﴾

Beegomba nnyo okuba nga mukaafuwala nga bwe baakaafuwala, olwo nno mufaanagane, temuggya mu bo ab'emikwano beppo nga basenguse nebadda ku kkubo lya Katonda, naye bwe batakikola mubakwate, mubatte wonna wemubagwikiriza, temuggya mu bo wa mukwano yenna wadde omutaasa.

An-Nisa 4:91

سَتَجِدُونَ ءَاخَرِينَ يُرِيدُونَ أَن يَأۡمَنُوكُمۡ وَيَأۡمَنُواْ قَوۡمَهُمۡ كُلَّ مَا رُدُّوٓاْ إِلَى ٱلۡفِتۡنَةِ أُرۡكِسُواْ فِيهَاۚ فَإِن لَّمۡ يَعۡتَزِلُوكُمۡ وَيُلۡقُوٓاْ إِلَيۡكُمُ ٱلسَّلَمَ وَيَكُفُّوٓاْ أَيۡدِيَهُمۡ فَخُذُوهُمۡ وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ ثَقِفۡتُمُوهُمۡۚ وَأُوْلَـٰٓئِكُمۡ جَعَلۡنَا لَكُمۡ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا ﴿٩١﴾

Ate mujja kusanga abalala nga bo baagala babe mirembe nammwe, mu kiseera kyekimu babe mirembe n'abantu baabwe, buli wonna webaddizibwa eri obukafiiri babubbinkiramu. Bwebaba tebabavuddeeko era nebalangirira e mirembe ku mmwe, nebaziyiza e mikono gyabwe, (abo) mubakwate era mubatte wonna wemubagwikiriza, era kwabo twabawa mmwe olukusa olujjuvu okubakolako.

An-Nisa 4:93

وَمَن يَقۡتُلۡ مُؤۡمِنٗا مُّتَعَمِّدٗا فَجَزَآؤُهُۥ جَهَنَّمُ خَٰلِدٗا فِيهَا وَغَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ وَلَعَنَهُۥ وَأَعَدَّ لَهُۥ عَذَابًا عَظِيمٗا ﴿٩٣﴾

Omuntu atta omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, w'akugubeeramu bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, naamukolimira, era naamutegekera ebibonerezo ebiyitirivu.

An-Nisa 4:97

إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡ قَالُواْ فِيمَ كُنتُمۡۖ قَالُواْ كُنَّا مُسۡتَضۡعَفِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ قَالُوٓاْ أَلَمۡ تَكُنۡ أَرۡضُ ٱللَّهِ وَٰسِعَةٗ فَتُهَاجِرُواْ فِيهَاۚ فَأُوْلَـٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرًا ﴿٩٧﴾

Mazima abo ba Malayika be batuusaako okufa nga bakyeyisa bubi, ba Malayika babagamba nti mubadde mweyisa mutya, bo nebaddamu nti tubadde tunyigirizibwa mu nsi (ba Malayika) nebagamba nti abaffe ensi ya Katonda teyali ngazi nemusengukako, abo nno obuddo bwabwe muliro Jahannama era nga buddo bubi ddala.

An-Nisa 4:102

وَإِذَا كُنتَ فِيهِمۡ فَأَقَمۡتَ لَهُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَلۡتَقُمۡ طَآئِفَةٞ مِّنۡهُم مَّعَكَ وَلۡيَأۡخُذُوٓاْ أَسۡلِحَتَهُمۡۖ فَإِذَا سَجَدُواْ فَلۡيَكُونُواْ مِن وَرَآئِكُمۡ وَلۡتَأۡتِ طَآئِفَةٌ أُخۡرَىٰ لَمۡ يُصَلُّواْ فَلۡيُصَلُّواْ مَعَكَ وَلۡيَأۡخُذُواْ حِذۡرَهُمۡ وَأَسۡلِحَتَهُمۡۗ وَدَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡ تَغۡفُلُونَ عَنۡ أَسۡلِحَتِكُمۡ وَأَمۡتِعَتِكُمۡ فَيَمِيلُونَ عَلَيۡكُم مَّيۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِن كَانَ بِكُمۡ أَذٗى مِّن مَّطَرٍ أَوۡ كُنتُم مَّرۡضَىٰٓ أَن تَضَعُوٓاْ أَسۡلِحَتَكُمۡۖ وَخُذُواْ حِذۡرَكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ أَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا ﴿١٠٢﴾

Ggwe (Nabbi Muhammad) bwobanga mu lutalo n’abakkiriza, nobakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bo kiyimiriranga naawe musaale, era nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, bwebamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala naawe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, abo Abakaafuwala bandyagadde singa mugayaalirira ebyokulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olwenkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi ebyokulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abakafiiri ebibonerezo ebinyoomesa.

An-Nisa 4:104

وَلَا تَهِنُواْ فِي ٱبۡتِغَآءِ ٱلۡقَوۡمِۖ إِن تَكُونُواْ تَأۡلَمُونَ فَإِنَّهُمۡ يَأۡلَمُونَ كَمَا تَأۡلَمُونَۖ وَتَرۡجُونَ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا يَرۡجُونَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمًا ﴿١٠٤﴾

Temunafuwa nga mulondoola omulabe, bwe muba nga mulumwa mazima nabo balumwa nga bwemulumwa, ate nga mmwe musuubira ewa Katonda bo kyebatasuubira, bulijjo Katonda amanyi nnyo era mugoba nsonga.

Al-Ma'idah 5:23

قَالَ رَجُلَانِ مِنَ ٱلَّذِينَ يَخَافُونَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمَا ٱدۡخُلُواْ عَلَيۡهِمُ ٱلۡبَابَ فَإِذَا دَخَلۡتُمُوهُ فَإِنَّكُمۡ غَٰلِبُونَۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَتَوَكَّلُوٓاْ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿٢٣﴾

Abasajja babiri mwabo abatya Katonda, nga era Katonda yabawa ekyengera kyobukkiriza nebagamba nti, mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, kemuyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Katonda yekka gwemuba mwekwatako, bwe muba nga muli bakkiriza.

Al-Ma'idah 5:32

مِنۡ أَجۡلِ ذَٰلِكَ كَتَبۡنَا عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ أَنَّهُۥ مَن قَتَلَ نَفۡسَۢا بِغَيۡرِ نَفۡسٍ أَوۡ فَسَادٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَكَأَنَّمَا قَتَلَ ٱلنَّاسَ جَمِيعٗا وَمَنۡ أَحۡيَاهَا فَكَأَنَّمَآ أَحۡيَا ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۚ وَلَقَدۡ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُنَا بِٱلۡبَيِّنَٰتِ ثُمَّ إِنَّ كَثِيرٗا مِّنۡهُم بَعۡدَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡأَرۡضِ لَمُسۡرِفُونَ ﴿٣٢﴾

Okusinziira ku ekyo twassa etteeka ku baana ba Israil nti mazima oyo atta omuntu atatemudde muntu, oba atakoze bwonoonefu mu nsi, mazima ddala aba nga asse abantu bonna., ate ataasa obulamu bw'omuntu omu aba nga ataasizza obulamu bwa bantu bonna, (ebyo abayudaaya baalibadde babitegeera) anti mazima ababaka baffe babaleetera amateeka amannyonnyofu, naye ate oluvanyuma lwekyo mazima bangi ku bo baasigala beeyisa bubi mu nsi.

Al-Ma'idah 5:33

إِنَّمَا جَزَـٰٓؤُاْ ٱلَّذِينَ يُحَارِبُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَسۡعَوۡنَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَسَادًا أَن يُقَتَّلُوٓاْ أَوۡ يُصَلَّبُوٓاْ أَوۡ تُقَطَّعَ أَيۡدِيهِمۡ وَأَرۡجُلُهُم مِّنۡ خِلَٰفٍ أَوۡ يُنفَوۡاْ مِنَ ٱلۡأَرۡضِۚ ذَٰلِكَ لَهُمۡ خِزۡيٞ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٌ ﴿٣٣﴾

Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali.

Al-An'am 6:61

وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۖ وَيُرۡسِلُ عَلَيۡكُمۡ حَفَظَةً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ تَوَفَّتۡهُ رُسُلُنَا وَهُمۡ لَا يُفَرِّطُونَ ﴿٦١﴾

Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa.

Al-An'am 6:93

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ قَالَ أُوحِيَ إِلَيَّ وَلَمۡ يُوحَ إِلَيۡهِ شَيۡءٞ وَمَن قَالَ سَأُنزِلُ مِثۡلَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّـٰلِمُونَ فِي غَمَرَٰتِ ٱلۡمَوۡتِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَاسِطُوٓاْ أَيۡدِيهِمۡ أَخۡرِجُوٓاْ أَنفُسَكُمُۖ ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَكُنتُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهِۦ تَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٩٣﴾

Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.

Al-A'raf 7:25

قَالَ فِيهَا تَحۡيَوۡنَ وَفِيهَا تَمُوتُونَ وَمِنۡهَا تُخۡرَجُونَ ﴿٢٥﴾

(Katonda) naagamba nti mu yo mwemujja okuwangaaliranga, mu yo mwemulifiira, era nga mu yo mwemugenda okujjibwa (muzuukire).

Al-A'raf 7:127

وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِ فِرۡعَوۡنَ أَتَذَرُ مُوسَىٰ وَقَوۡمَهُۥ لِيُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَيَذَرَكَ وَءَالِهَتَكَۚ قَالَ سَنُقَتِّلُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَنَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡ وَإِنَّا فَوۡقَهُمۡ قَٰهِرُونَ ﴿١٢٧﴾

Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi.

Al-A'raf 7:150

وَلَمَّا رَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗا قَالَ بِئۡسَمَا خَلَفۡتُمُونِي مِنۢ بَعۡدِيٓۖ أَعَجِلۡتُمۡ أَمۡرَ رَبِّكُمۡۖ وَأَلۡقَى ٱلۡأَلۡوَاحَ وَأَخَذَ بِرَأۡسِ أَخِيهِ يَجُرُّهُۥٓ إِلَيۡهِۚ قَالَ ٱبۡنَ أُمَّ إِنَّ ٱلۡقَوۡمَ ٱسۡتَضۡعَفُونِي وَكَادُواْ يَقۡتُلُونَنِي فَلَا تُشۡمِتۡ بِيَ ٱلۡأَعۡدَآءَ وَلَا تَجۡعَلۡنِي مَعَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٥٠﴾

Musa bwe yamala okudda eri abantube, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayaanguyirizza e kigambo ky’a Mukama omulabirizi wa mmwe! olwo nno kwe kukasuka e mbaawo, n’akwata omutwe gw’a mugandawe, nga amusika amuzza gyali, (Haruna) naagamba nti mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonzisa mu bantu abeeyisa obubi.

Al-Anfal 8:6

يُجَٰدِلُونَكَ فِي ٱلۡحَقِّ بَعۡدَ مَا تَبَيَّنَ كَأَنَّمَا يُسَاقُونَ إِلَى ٱلۡمَوۡتِ وَهُمۡ يَنظُرُونَ ﴿٦﴾

Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula.

Al-Anfal 8:7

وَإِذۡ يَعِدُكُمُ ٱللَّهُ إِحۡدَى ٱلطَّآئِفَتَيۡنِ أَنَّهَا لَكُمۡ وَتَوَدُّونَ أَنَّ غَيۡرَ ذَاتِ ٱلشَّوۡكَةِ تَكُونُ لَكُمۡ وَيُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُحِقَّ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَيَقۡطَعَ دَابِرَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٧﴾

Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri.

Al-Anfal 8:8

لِيُحِقَّ ٱلۡحَقَّ وَيُبۡطِلَ ٱلۡبَٰطِلَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٨﴾

Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala.

Al-Anfal 8:9

إِذۡ تَسۡتَغِيثُونَ رَبَّكُمۡ فَٱسۡتَجَابَ لَكُمۡ أَنِّي مُمِدُّكُم بِأَلۡفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُرۡدِفِينَ ﴿٩﴾

Mujjukire bwe mwasaba Mukama omulabirizi wa mmwe obuyambi, n’abaanukula nti mazima nze, nja ku badduukirira ne ba Malayika lukumi nga bagoberagana.

Al-Anfal 8:10

وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ وَلِتَطۡمَئِنَّ بِهِۦ قُلُوبُكُمۡۚ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ ﴿١٠﴾

Kino tewali Katonda kyeyakireetera okugyako nti kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gya mmwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako ewa Katonda, bulijjo mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

Al-Anfal 8:11

إِذۡ يُغَشِّيكُمُ ٱلنُّعَاسَ أَمَنَةٗ مِّنۡهُ وَيُنَزِّلُ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ لِّيُطَهِّرَكُم بِهِۦ وَيُذۡهِبَ عَنكُمۡ رِجۡزَ ٱلشَّيۡطَٰنِ وَلِيَرۡبِطَ عَلَىٰ قُلُوبِكُمۡ وَيُثَبِّتَ بِهِ ٱلۡأَقۡدَامَ ﴿١١﴾

Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe.

Emitwe