Al-Baqarah 2:165وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَتَّخِذُ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَندَادٗا يُحِبُّونَهُمۡ كَحُبِّ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَشَدُّ حُبّٗا لِّلَّهِۗ وَلَوۡ يَرَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِذۡ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ أَنَّ ٱلۡقُوَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا وَأَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعَذَابِ ﴿١٦٥﴾
Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza.
Ali 'Imran 3:151سَنُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ بِمَآ أَشۡرَكُواْ بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗاۖ وَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ وَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٥١﴾
Tujja kussa okutya ku mitima gy’abo abaakafuwala kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bujulizi. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abeeyisa obubi buba bubi.
An-Nisa 4:97إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡ قَالُواْ فِيمَ كُنتُمۡۖ قَالُواْ كُنَّا مُسۡتَضۡعَفِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ قَالُوٓاْ أَلَمۡ تَكُنۡ أَرۡضُ ٱللَّهِ وَٰسِعَةٗ فَتُهَاجِرُواْ فِيهَاۚ فَأُوْلَـٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرًا ﴿٩٧﴾
Mazima abo ba Malayika be batuusaako okufa nga bakyeyisa bubi, ba Malayika babagamba nti mubadde mweyisa mutya, bo nebaddamu nti tubadde tunyigirizibwa mu nsi (ba Malayika) nebagamba nti abaffe ensi ya Katonda teyali ngazi nemusengukako, abo nno obuddo bwabwe muliro Jahannama era nga buddo bubi ddala.
An-Nisa 4:153يَسۡـَٔلُكَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَن تُنَزِّلَ عَلَيۡهِمۡ كِتَٰبٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ فَقَدۡ سَأَلُواْ مُوسَىٰٓ أَكۡبَرَ مِن ذَٰلِكَ فَقَالُوٓاْ أَرِنَا ٱللَّهَ جَهۡرَةٗ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّـٰعِقَةُ بِظُلۡمِهِمۡۚ ثُمَّ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ فَعَفَوۡنَا عَن ذَٰلِكَۚ وَءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا ﴿١٥٣﴾
Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa).
An-Nisa 4:168إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَظَلَمُواْ لَمۡ يَكُنِ ٱللَّهُ لِيَغۡفِرَ لَهُمۡ وَلَا لِيَهۡدِيَهُمۡ طَرِيقًا ﴿١٦٨﴾
Mazima abo abaakaafuwala era nebeeyisa obubi, Katonda si waakubasonyiwa wadde okubalungamya mu kkubo.
An-Nisa 4:169إِلَّا طَرِيقَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا ﴿١٦٩﴾
Mpozzi ekkubo erigenda mu muliro Jahannama gwebalibeeramu obugenderevu, era bulijjo ekyo ku Katonda kyangu nnyo.
Al-Ma'idah 5:51۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ ٱلۡيَهُودَ وَٱلنَّصَٰرَىٰٓ أَوۡلِيَآءَۘ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۚ وَمَن يَتَوَلَّهُم مِّنكُمۡ فَإِنَّهُۥ مِنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٥١﴾
Abange mmwe abakkiriza temuufulanga abayudaaya n'abakrisitayo mikwano gyammwe ab'omunda, anti abamu ffa nfe w’abalala, yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse wa mu bo, anti mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
Al-Ma'idah 5:72لَقَدۡ كَفَرَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ مَرۡيَمَۖ وَقَالَ ٱلۡمَسِيحُ يَٰبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمۡۖ إِنَّهُۥ مَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ حَرَّمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ ٱلۡجَنَّةَ وَمَأۡوَىٰهُ ٱلنَّارُۖ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٖ ﴿٧٢﴾
Mazima baakaafuwala abo abagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa mariam, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Israil musinze Katonda Mukama wange era nga ye Mukama wa mmwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. Era abeeyisa obubi tebagenda kuba namutaasa yenna.
Al-An'am 6:21وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ كَذَّبَ بِـَٔايَٰتِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿٢١﴾
Ani yeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda nga ddala amanyi nti alimba! oba n’alimbisa e bigambo bya Katonda. Anti mazima abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.
Al-An'am 6:93وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ قَالَ أُوحِيَ إِلَيَّ وَلَمۡ يُوحَ إِلَيۡهِ شَيۡءٞ وَمَن قَالَ سَأُنزِلُ مِثۡلَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّـٰلِمُونَ فِي غَمَرَٰتِ ٱلۡمَوۡتِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَاسِطُوٓاْ أَيۡدِيهِمۡ أَخۡرِجُوٓاْ أَنفُسَكُمُۖ ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَكُنتُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهِۦ تَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٩٣﴾
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.
Al-An'am 6:135قُلۡ يَٰقَوۡمِ ٱعۡمَلُواْ عَلَىٰ مَكَانَتِكُمۡ إِنِّي عَامِلٞۖ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ مَن تَكُونُ لَهُۥ عَٰقِبَةُ ٱلدَّارِۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿١٣٥﴾
Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) abange abantu bange mubeere ku nkola ya mmwe nange, nkole e byange, kyaddaaki mujja kumanya obuddo obw'enkomerero e nnungi bwani, mazima ddala bulijjo abeeyisa obubi tebagenda kutuuka ku buwanguzi.
Al-A'raf 7:9وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُم بِمَا كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَظۡلِمُونَ ﴿٩﴾
Oyo yenna e biriwewuka e bipimwa bye, abo nno beebo abafaafaaganirwa e myooyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku bigambo byaffe.
Al-A'raf 7:40إِنَّ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَٱسۡتَكۡبَرُواْ عَنۡهَا لَا تُفَتَّحُ لَهُمۡ أَبۡوَٰبُ ٱلسَّمَآءِ وَلَا يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ حَتَّىٰ يَلِجَ ٱلۡجَمَلُ فِي سَمِّ ٱلۡخِيَاطِۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿٤٠﴾
Mazima abo abaalimbisa e bigambo byaffe ne babyekuluntalizaako, e miryango gye ggulu tegigenda kubaggulirwa, era tebagenda kuyingira jjana be ppo nga e ngamiya eyise mu kituli ky'empiso, bwe tutyo nno bwetusasula aboonoonyi.
Al-A'raf 7:41لَهُم مِّن جَهَنَّمَ مِهَادٞ وَمِن فَوۡقِهِمۡ غَوَاشٖۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٤١﴾
Balina obuliri mu muliro Jahannama nga ne byokwebikka waggulu waabwe muliro, era bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi.
Al-A'raf 7:44وَنَادَىٰٓ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ أَن قَدۡ وَجَدۡنَا مَا وَعَدَنَا رَبُّنَا حَقّٗا فَهَلۡ وَجَدتُّم مَّا وَعَدَ رَبُّكُمۡ حَقّٗاۖ قَالُواْ نَعَمۡۚ فَأَذَّنَ مُؤَذِّنُۢ بَيۡنَهُمۡ أَن لَّعۡنَةُ ٱللَّهِ عَلَى ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٤٤﴾
Abantu bo Mu jjana balikowoola abantu b’o mu muliro nga bagamba nti mazima Mukama omulabirizi waffe bye yatulagaanyisa tusanze nga bituufu, nammwe Mukama omulabirizi wa mmwe bye yabalagaanyisa mubisanze nga bye byo, baligamba nti yye olwo nno omulanzi alirangirira wakati waabwe, nti e kikolimo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi (abantu abo abeeyisa obubi).
Al-A'raf 7:45ٱلَّذِينَ يَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَيَبۡغُونَهَا عِوَجٗا وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ كَٰفِرُونَ ﴿٤٥﴾
Beebo abaziyiza abantu okuweereza mu kkubo lya Katonda, era nebalivumirira. Anti bo bawakanya olunaku lw’enkomerero.
Al-A'raf 7:161وَإِذۡ قِيلَ لَهُمُ ٱسۡكُنُواْ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةَ وَكُلُواْ مِنۡهَا حَيۡثُ شِئۡتُمۡ وَقُولُواْ حِطَّةٞ وَٱدۡخُلُواْ ٱلۡبَابَ سُجَّدٗا نَّغۡفِرۡ لَكُمۡ خَطِيٓـَٰٔتِكُمۡۚ سَنَزِيدُ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿١٦١﴾
Era jjukira bwe baalagirwa nti, mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna wemwagala, era mugambe nti, Hittwa (tuggyeko e bibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa e byonoono bya mmwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi.
Al-A'raf 7:162فَبَدَّلَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡ قَوۡلًا غَيۡرَ ٱلَّذِي قِيلَ لَهُمۡ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِجۡزٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ بِمَا كَانُواْ يَظۡلِمُونَ ﴿١٦٢﴾
Abo abeeyisa obubi, baakyusa e kigambo ekyabagambwa, olwo nno ne tubasindikira e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye beeyisangamu obubi.
Al-A'raf 7:164وَإِذۡ قَالَتۡ أُمَّةٞ مِّنۡهُمۡ لِمَ تَعِظُونَ قَوۡمًا ٱللَّهُ مُهۡلِكُهُمۡ أَوۡ مُعَذِّبُهُمۡ عَذَابٗا شَدِيدٗاۖ قَالُواْ مَعۡذِرَةً إِلَىٰ رَبِّكُمۡ وَلَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ ﴿١٦٤﴾
Era jjukira e kibiina mu bo bwe kyagamba nti, lwaki mubuulirira e kibiina kya bantu nga Katonda ajja kubazikiriza, oba ajja kubabonereza n’ebibonerezo e bisuffu, bo nebagamba nti tukikola lwa kweggyako musango ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, ate sinakindi nabo bayinza okutya Katonda.
Al-A'raf 7:165فَلَمَّا نَسُواْ مَا ذُكِّرُواْ بِهِۦٓ أَنجَيۡنَا ٱلَّذِينَ يَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلسُّوٓءِ وَأَخَذۡنَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ بِعَذَابِۭ بَـِٔيسِۭ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿١٦٥﴾
Kebaamala nebeerabira e byababuulirwa, twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola e bibi, ate abo abeeyisa obubi netubassaako e bibonerezo e bikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga.
Yunus 10:54وَلَوۡ أَنَّ لِكُلِّ نَفۡسٖ ظَلَمَتۡ مَا فِي ٱلۡأَرۡضِ لَٱفۡتَدَتۡ بِهِۦۗ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۖ وَقُضِيَ بَيۡنَهُم بِٱلۡقِسۡطِ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿٥٤﴾
Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda), bagenda kulyazanyizibwa. Abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya era tebagenda kuyisibwa bubi.
Hud 11:18وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ يُعۡرَضُونَ عَلَىٰ رَبِّهِمۡ وَيَقُولُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ هَـٰٓؤُلَآءِ ٱلَّذِينَ كَذَبُواْ عَلَىٰ رَبِّهِمۡۚ أَلَا لَعۡنَةُ ٱللَّهِ عَلَى ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٨﴾
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi.
Hud 11:36وَأُوحِيَ إِلَىٰ نُوحٍ أَنَّهُۥ لَن يُؤۡمِنَ مِن قَوۡمِكَ إِلَّا مَن قَدۡ ءَامَنَ فَلَا تَبۡتَئِسۡ بِمَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ ﴿٣٦﴾
Nuhu n'aweebwa obubaka nti mazima tebagenda kukkiriza mu bantubo okugyako abo abakkiriza edda n'olwekyo tonakuwala olw'ebyo bye baali bakola.
Hud 11:37وَٱصۡنَعِ ٱلۡفُلۡكَ بِأَعۡيُنِنَا وَوَحۡيِنَا وَلَا تُخَٰطِبۡنِي فِي ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِنَّهُم مُّغۡرَقُونَ ﴿٣٧﴾
Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi.
Hud 11:38وَيَصۡنَعُ ٱلۡفُلۡكَ وَكُلَّمَا مَرَّ عَلَيۡهِ مَلَأٞ مِّن قَوۡمِهِۦ سَخِرُواْ مِنۡهُۚ قَالَ إِن تَسۡخَرُواْ مِنَّا فَإِنَّا نَسۡخَرُ مِنكُمۡ كَمَا تَسۡخَرُونَ ﴿٣٨﴾
(Nuhu) n'aba nga akola eryato. Buli lwonna abakungu mu bantube webaamuyitirangako baamusekereranga naagamba nti bwe muba nga mutusekerera naffe tujja kubasekerera nga bwe mutusekerera.
Hud 11:39فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ مَن يَأۡتِيهِ عَذَابٞ يُخۡزِيهِ وَيَحِلُّ عَلَيۡهِ عَذَابٞ مُّقِيمٌ ﴿٣٩﴾
Lumu mujja kumanya ani gwe binajjira ebibonerezo ebimuswaza era najjirwa ebibonerezo eby'olubeerera.
Hud 11:40حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَمۡرُنَا وَفَارَ ٱلتَّنُّورُ قُلۡنَا ٱحۡمِلۡ فِيهَا مِن كُلّٖ زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَأَهۡلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيۡهِ ٱلۡقَوۡلُ وَمَنۡ ءَامَنَۚ وَمَآ ءَامَنَ مَعَهُۥٓ إِلَّا قَلِيلٞ ﴿٤٠﴾
(Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kya ffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono.
Hud 11:41۞وَقَالَ ٱرۡكَبُواْ فِيهَا بِسۡمِ ٱللَّهِ مَجۡرٜىٰهَا وَمُرۡسَىٰهَآۚ إِنَّ رَبِّي لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٤١﴾
(Nuhu) naagamba nti mulinnye e lyato, okutambula kwa lyo n'okuyimirira kwa lyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Katonda, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.
Hud 11:42وَهِيَ تَجۡرِي بِهِمۡ فِي مَوۡجٖ كَٱلۡجِبَالِ وَنَادَىٰ نُوحٌ ٱبۡنَهُۥ وَكَانَ فِي مَعۡزِلٖ يَٰبُنَيَّ ٱرۡكَب مَّعَنَا وَلَا تَكُن مَّعَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٤٢﴾
Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira).
Hud 11:43قَالَ سَـَٔاوِيٓ إِلَىٰ جَبَلٖ يَعۡصِمُنِي مِنَ ٱلۡمَآءِۚ قَالَ لَا عَاصِمَ ٱلۡيَوۡمَ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِ إِلَّا مَن رَّحِمَۚ وَحَالَ بَيۡنَهُمَا ٱلۡمَوۡجُ فَكَانَ مِنَ ٱلۡمُغۡرَقِينَ ﴿٤٣﴾
(Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo.
Hud 11:44وَقِيلَ يَـٰٓأَرۡضُ ٱبۡلَعِي مَآءَكِ وَيَٰسَمَآءُ أَقۡلِعِي وَغِيضَ ٱلۡمَآءُ وَقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ وَٱسۡتَوَتۡ عَلَى ٱلۡجُودِيِّۖ وَقِيلَ بُعۡدٗا لِّلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٤٤﴾
(Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi.
Hud 11:66فَلَمَّا جَآءَ أَمۡرُنَا نَجَّيۡنَا صَٰلِحٗا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ بِرَحۡمَةٖ مِّنَّا وَمِنۡ خِزۡيِ يَوۡمِئِذٍۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ ٱلۡقَوِيُّ ٱلۡعَزِيزُ ﴿٦٦﴾
Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja, twawonya Swaleh n'abo abakkiriza abaali naye olw'okusaasira okuva gye tuli era netubawonya ne mu buswavu obw'olunaku olwo, anti mazima Mukama omulabiriziwo ye wa maanyi nantakubwa ku mukono.
Hud 11:67وَأَخَذَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ ٱلصَّيۡحَةُ فَأَصۡبَحُواْ فِي دِيَٰرِهِمۡ جَٰثِمِينَ ﴿٦٧﴾
Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe.
Hud 11:100ذَٰلِكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡقُرَىٰ نَقُصُّهُۥ عَلَيۡكَۖ مِنۡهَا قَآئِمٞ وَحَصِيدٞ ﴿١٠٠﴾
Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo.
Hud 11:101وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡۖ فَمَآ أَغۡنَتۡ عَنۡهُمۡ ءَالِهَتُهُمُ ٱلَّتِي يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٖ لَّمَّا جَآءَ أَمۡرُ رَبِّكَۖ وَمَا زَادُوهُمۡ غَيۡرَ تَتۡبِيبٖ ﴿١٠١﴾
(Okubatuusaako ebyo) tetwabayisa bubi wabula beeyisa bokka obubi, ba Katonda baabwe abo be basaba ne bava ku Katonda omu tebaabagasa kintu kyonna, ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo bwe kyajja, era tebaabongera okugyako okufaafaganirwa.
Hud 11:102وَكَذَٰلِكَ أَخۡذُ رَبِّكَ إِذَآ أَخَذَ ٱلۡقُرَىٰ وَهِيَ ظَٰلِمَةٌۚ إِنَّ أَخۡذَهُۥٓ أَلِيمٞ شَدِيدٌ ﴿١٠٢﴾
Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu.
Hud 11:112فَٱسۡتَقِمۡ كَمَآ أُمِرۡتَ وَمَن تَابَ مَعَكَ وَلَا تَطۡغَوۡاْۚ إِنَّهُۥ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿١١٢﴾
Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba.
Hud 11:113وَلَا تَرۡكَنُوٓاْ إِلَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ فَتَمَسَّكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِنۡ أَوۡلِيَآءَ ثُمَّ لَا تُنصَرُونَ ﴿١١٣﴾
Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa.
Yusuf 12:23وَرَٰوَدَتۡهُ ٱلَّتِي هُوَ فِي بَيۡتِهَا عَن نَّفۡسِهِۦ وَغَلَّقَتِ ٱلۡأَبۡوَٰبَ وَقَالَتۡ هَيۡتَ لَكَۚ قَالَ مَعَاذَ ٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ رَبِّيٓ أَحۡسَنَ مَثۡوَايَۖ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿٢٣﴾
(Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Katonda”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.
Ibrahim 14:13وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِرُسُلِهِمۡ لَنُخۡرِجَنَّكُم مِّنۡ أَرۡضِنَآ أَوۡ لَتَعُودُنَّ فِي مِلَّتِنَاۖ فَأَوۡحَىٰٓ إِلَيۡهِمۡ رَبُّهُمۡ لَنُهۡلِكَنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٣﴾
Era abo abaakaafuwala nebagamba ababaka baabwe nti: tujja kubagoba mu nsi yaffe, oba ssi ekyo mujja kuddira ddala mu ddiini yaffe. Mukama omulabirizi waabwe naabatumira nti ddala tujja kuzikiriza abeeyisa obubi.
Ibrahim 14:27يُثَبِّتُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱلۡقَوۡلِ ٱلثَّابِتِ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَيُضِلُّ ٱللَّهُ ٱلظَّـٰلِمِينَۚ وَيَفۡعَلُ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُ ﴿٢٧﴾
Katonda anyweza abo abakkiriza olw'ekigambo ekinywevu mu bulamu obw'ensi n'obwenkomerero (mu ngeri y'emu), era naabuza abeeyisa obubi. Bulijjo Katonda, akola ekyo kyaba ayagadde.
Ibrahim 14:42وَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱللَّهَ غَٰفِلًا عَمَّا يَعۡمَلُ ٱلظَّـٰلِمُونَۚ إِنَّمَا يُؤَخِّرُهُمۡ لِيَوۡمٖ تَشۡخَصُ فِيهِ ٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿٤٢﴾
Tosuubiranga Katonda okuba nti tafaayo ku ebyo abeeyisa obubi bye bakola, anti mazima abalindiriza okutuusa olunaku amaaso lwe galilalambala lwe lulituuka.
Ibrahim 14:44وَأَنذِرِ ٱلنَّاسَ يَوۡمَ يَأۡتِيهِمُ ٱلۡعَذَابُ فَيَقُولُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ رَبَّنَآ أَخِّرۡنَآ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖ نُّجِبۡ دَعۡوَتَكَ وَنَتَّبِعِ ٱلرُّسُلَۗ أَوَلَمۡ تَكُونُوٓاْ أَقۡسَمۡتُم مِّن قَبۡلُ مَا لَكُم مِّن زَوَالٖ ﴿٤٤﴾
Era tiisa abantu olunaku ebibonerezo lwe biribajjira, abo abeeyisa obubi nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulindirize okumala akaseera katono tusobole okwanukula okukoowoola kwo era tugoberere ababaka, (baligamba) abaffe temwalayira oluberyeberye nti temugenda kuva ku nsi.
An-Nahl 16:28ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡۖ فَأَلۡقَوُاْ ٱلسَّلَمَ مَا كُنَّا نَعۡمَلُ مِن سُوٓءِۭۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٨﴾
Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga.
An-Nahl 16:29فَٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَلَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿٢٩﴾
Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi.
An-Nahl 16:60لِلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ مَثَلُ ٱلسَّوۡءِۖ وَلِلَّهِ ٱلۡمَثَلُ ٱلۡأَعۡلَىٰۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٦٠﴾
Abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero bakubirwako ekifaananyi ekisinga okuba ekibi, (mu bukaafiiri n'obutamanya) so nga ye Katonda alina ebitendo ebisukkulumu, era nga ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
An-Nahl 16:61وَلَوۡ يُؤَاخِذُ ٱللَّهُ ٱلنَّاسَ بِظُلۡمِهِم مَّا تَرَكَ عَلَيۡهَا مِن دَآبَّةٖ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗىۖ فَإِذَا جَآءَ أَجَلُهُمۡ لَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ سَاعَةٗ وَلَا يَسۡتَقۡدِمُونَ ﴿٦١﴾
Singa Katonda yali asasulirawo abantu olw'okweyisa kwabwe obubi, teyaalirese ku nsi kitambula kyonna wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera kyabwe ekigere, olwo nno ekiseera kyabwe ekigere bwe kiba kimaze okutuuka tebayinza kusaba nekyongezebwayo nga bwe batayinza kusaba nekireetebwa mangu.
An-Nahl 16:82فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ﴿٨٢﴾
Naye bwe bava ku ekyo mazima kyoteekwa okukola kwe kutuusa obubaka mu bunnyonnyofu.
An-Nahl 16:83يَعۡرِفُونَ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ ثُمَّ يُنكِرُونَهَا وَأَكۡثَرُهُمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿٨٣﴾
Bamanya ebyengera bya Katonda, naye nebabiwakanya, era abasinga obungi mu bo bakaafiiri.
An-Nahl 16:84وَيَوۡمَ نَبۡعَثُ مِن كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدٗا ثُمَّ لَا يُؤۡذَنُ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ ﴿٨٤﴾
(Bajjukize) olunaku lwe tulizuukiza mu buli kibiina omujulizi, oluvanyuma abo abaakaafuwala tebagenda kukkirizibwa kwetonda, nga era bwe batagenda kusabibwa kwemenya.