Al-An'am 6:97وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلنُّجُومَ لِتَهۡتَدُواْ بِهَا فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٩٧﴾
Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi.
Al-A'raf 7:54إِنَّ رَبَّكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ يُغۡشِي ٱلَّيۡلَ ٱلنَّهَارَ يَطۡلُبُهُۥ حَثِيثٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ وَٱلنُّجُومَ مُسَخَّرَٰتِۭ بِأَمۡرِهِۦٓۗ أَلَا لَهُ ٱلۡخَلۡقُ وَٱلۡأَمۡرُۗ تَبَارَكَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٥٤﴾
Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe Katonda, yooyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi mu nnaku mukaaga, olwo nno naatuula ku Arish, e kiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda e njuba n’omwezi ne munyenye nga byonna bitambulira ku kiragiro kye, abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde.
An-Nahl 16:12وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ وَٱلنُّجُومُ مُسَخَّرَٰتُۢ بِأَمۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿١٢﴾
Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera.
Al-Hajj 22:18أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يَسۡجُدُۤ لَهُۥۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ وَٱلنُّجُومُ وَٱلۡجِبَالُ وَٱلشَّجَرُ وَٱلدَّوَآبُّ وَكَثِيرٞ مِّنَ ٱلنَّاسِۖ وَكَثِيرٌ حَقَّ عَلَيۡهِ ٱلۡعَذَابُۗ وَمَن يُهِنِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِن مُّكۡرِمٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ۩ ﴿١٨﴾
. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emunyenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi bakakatwako ebibonerezo (olwo butamuvunnamira) era omuntu Katonda gwaba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.
As-Saffat 37:88فَنَظَرَ نَظۡرَةٗ فِي ٱلنُّجُومِ ﴿٨٨﴾
Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali).
As-Saffat 37:89فَقَالَ إِنِّي سَقِيمٞ ﴿٨٩﴾
(Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde.
At-Tur 52:48وَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعۡيُنِنَاۖ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ ﴿٤٨﴾
Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala).
At-Tur 52:49وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَإِدۡبَٰرَ ٱلنُّجُومِ ﴿٤٩﴾
Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira.
An-Najm 53:1وَٱلنَّجۡمِ إِذَا هَوَىٰ ﴿١﴾
Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde.
Ar-Rahman 55:1ٱلرَّحۡمَٰنُ ﴿١﴾
(Katonda) omusaasizi ennyo.
Ar-Rahman 55:2عَلَّمَ ٱلۡقُرۡءَانَ ﴿٢﴾
Yayigiriza (omuntu) Kur’ani.
Ar-Rahman 55:3خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ ﴿٣﴾
Yatonda omuntu.
Ar-Rahman 55:4عَلَّمَهُ ٱلۡبَيَانَ ﴿٤﴾
Yamuyizigiriza okunnyonnyola.
Ar-Rahman 55:5ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ بِحُسۡبَانٖ ﴿٥﴾
Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa).
Ar-Rahman 55:6وَٱلنَّجۡمُ وَٱلشَّجَرُ يَسۡجُدَانِ ﴿٦﴾
Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda).
Al-Waqi'ah 56:75۞فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَوَٰقِعِ ٱلنُّجُومِ ﴿٧٥﴾
Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye.
Al-Waqi'ah 56:76وَإِنَّهُۥ لَقَسَمٞ لَّوۡ تَعۡلَمُونَ عَظِيمٌ ﴿٧٦﴾
Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi.
Al-Mursalat 77:7إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَٰقِعٞ ﴿٧﴾
Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo.
Al-Mursalat 77:8فَإِذَا ٱلنُّجُومُ طُمِسَتۡ ﴿٨﴾
Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo).
Al-Mursalat 77:9وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ فُرِجَتۡ ﴿٩﴾
Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango).
Al-Mursalat 77:10وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ نُسِفَتۡ ﴿١٠﴾
Era ensozi bwezirimerengulwa.
At-Takwir 81:1إِذَا ٱلشَّمۡسُ كُوِّرَتۡ ﴿١﴾
Enjuba bw'erizingwako.
At-Takwir 81:2وَإِذَا ٱلنُّجُومُ ٱنكَدَرَتۡ ﴿٢﴾
Nga n’emunyeenye zikunkumuse.
At-Takwir 81:3وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ ﴿٣﴾
Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo).
At-Takwir 81:4وَإِذَا ٱلۡعِشَارُ عُطِّلَتۡ ﴿٤﴾
Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako).
At-Takwir 81:5وَإِذَا ٱلۡوُحُوشُ حُشِرَتۡ ﴿٥﴾
N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa.
At-Takwir 81:6وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ سُجِّرَتۡ ﴿٦﴾
Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja).
At-Takwir 81:7وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ ﴿٧﴾
Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi).
At-Tariq 86:1وَٱلسَّمَآءِ وَٱلطَّارِقِ ﴿١﴾
Ndayira e ggulu ne munyeenye ezirabika e kiro.
At-Tariq 86:2وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلطَّارِقُ ﴿٢﴾
Naye omanyi e munyeenye ezirabika ekiro kye ki?
At-Tariq 86:3ٱلنَّجۡمُ ٱلثَّاقِبُ ﴿٣﴾
Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi.
At-Tariq 86:4إِن كُلُّ نَفۡسٖ لَّمَّا عَلَيۡهَا حَافِظٞ ﴿٤﴾
Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika).
An-Nur 24:35۞ٱللَّهُ نُورُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ مَثَلُ نُورِهِۦ كَمِشۡكَوٰةٖ فِيهَا مِصۡبَاحٌۖ ٱلۡمِصۡبَاحُ فِي زُجَاجَةٍۖ ٱلزُّجَاجَةُ كَأَنَّهَا كَوۡكَبٞ دُرِّيّٞ يُوقَدُ مِن شَجَرَةٖ مُّبَٰرَكَةٖ زَيۡتُونَةٖ لَّا شَرۡقِيَّةٖ وَلَا غَرۡبِيَّةٖ يَكَادُ زَيۡتُهَا يُضِيٓءُ وَلَوۡ لَمۡ تَمۡسَسۡهُ نَارٞۚ نُّورٌ عَلَىٰ نُورٖۚ يَهۡدِي ٱللَّهُ لِنُورِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَيَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَ لِلنَّاسِۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿٣٥﴾
. Katonda kitangaala ky'eggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaalakye kiringa akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bwe yaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge kya kafo ako, ekiyamba abali mu kisenge kya kafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, nekiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala kye ttaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bwogattako amafuta amalungi ennyo negubula asala). Katonda alungamya eri ekitangaalakye oyo gwaba ayagadde era Katonda akubira abantu ebifaananyi era Katonda bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu.
As-Saffat 37:6إِنَّا زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِزِينَةٍ ٱلۡكَوَاكِبِ ﴿٦﴾
Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde).
Al-An'am 6:75وَكَذَٰلِكَ نُرِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ مَلَكُوتَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلِيَكُونَ مِنَ ٱلۡمُوقِنِينَ ﴿٧٥﴾
Mu ngeri y’emu twalaga Ibrahim ebiri mu bwengula ne nsi (nengeri namateeka kwebitambulira) alyoke abeere mu baddu abannyikivu mu bukkiriza.
Al-An'am 6:76فَلَمَّا جَنَّ عَلَيۡهِ ٱلَّيۡلُ رَءَا كَوۡكَبٗاۖ قَالَ هَٰذَا رَبِّيۖ فَلَمَّآ أَفَلَ قَالَ لَآ أُحِبُّ ٱلۡأٓفِلِينَ ﴿٧٦﴾
Ekiro bwe kyamubikka, yalaba e munyenye naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, e munyenye bweyabula (Ibrahim) naagamba nti nze saagala ba katonda babulawo.
Al-An'am 6:77فَلَمَّا رَءَا ٱلۡقَمَرَ بَازِغٗا قَالَ هَٰذَا رَبِّيۖ فَلَمَّآ أَفَلَ قَالَ لَئِن لَّمۡ يَهۡدِنِي رَبِّي لَأَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلضَّآلِّينَ ﴿٧٧﴾
Bweyalaba omwezi nga gwetadde naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, omwezi bwe gwabula (Ibrahim) naagamba nti Mukama omulabirizi wange bwatannungamye nja kubeerera ddala mu bantu ababuze.
Al-An'am 6:78فَلَمَّا رَءَا ٱلشَّمۡسَ بَازِغَةٗ قَالَ هَٰذَا رَبِّي هَٰذَآ أَكۡبَرُۖ فَلَمَّآ أَفَلَتۡ قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تُشۡرِكُونَ ﴿٧٨﴾
Ate nno bweyalaba nga e njuba evuddeyo naagamba nti: ono ye Mukama omulabirizi wange, ono ye munene ddala, (Enjuba) bweyagwa naagamba nti abange abantu bange nze e byokugatta ku Katonda e bintu e birala si biriimu.
Al-An'am 6:79إِنِّي وَجَّهۡتُ وَجۡهِيَ لِلَّذِي فَطَرَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ حَنِيفٗاۖ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿٧٩﴾
Mazima nze njolekezza e kyenyi kyange eri oyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, nga njawukanira ddala ku nsinza zonna. Siri wa mu bagatta Katonda na bintu birala.
Al-An'am 6:80وَحَآجَّهُۥ قَوۡمُهُۥۚ قَالَ أَتُحَـٰٓجُّوٓنِّي فِي ٱللَّهِ وَقَدۡ هَدَىٰنِۚ وَلَآ أَخَافُ مَا تُشۡرِكُونَ بِهِۦٓ إِلَّآ أَن يَشَآءَ رَبِّي شَيۡـٔٗاۚ وَسِعَ رَبِّي كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمًاۚ أَفَلَا تَتَذَكَّرُونَ ﴿٨٠﴾
Abantube ne bamuwakanya naagamba nti mumpakanya ku Katonda nga ate mazima yannungamya, era nga sitya e byo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), be ppo nga Mukama omulabirizi wange alina kyakkirizza, Mukama omulabirizi wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, abaffe temwebuulirira.
Al-An'am 6:81وَكَيۡفَ أَخَافُ مَآ أَشۡرَكۡتُمۡ وَلَا تَخَافُونَ أَنَّكُمۡ أَشۡرَكۡتُم بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ عَلَيۡكُمۡ سُلۡطَٰنٗاۚ فَأَيُّ ٱلۡفَرِيقَيۡنِ أَحَقُّ بِٱلۡأَمۡنِۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٨١﴾
Nyinza ntya okutya e byo bye mugatta ku Katonda, nga ate mmwe temutya kugatta ku Katonda bintu birala bya tabassizangako bujulizi. ku bibinja byombi (ffe nammwe) kiriwa e kisaanidde okulowooza nti kiri mirembe bwe muba nga mumanyi.
Yusuf 12:4إِذۡ قَالَ يُوسُفُ لِأَبِيهِ يَـٰٓأَبَتِ إِنِّي رَأَيۡتُ أَحَدَ عَشَرَ كَوۡكَبٗا وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ رَأَيۡتُهُمۡ لِي سَٰجِدِينَ ﴿٤﴾
Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde.
Yusuf 12:5قَالَ يَٰبُنَيَّ لَا تَقۡصُصۡ رُءۡيَاكَ عَلَىٰٓ إِخۡوَتِكَ فَيَكِيدُواْ لَكَ كَيۡدًاۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿٥﴾
(Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu.
Al-Infitar 82:1إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنفَطَرَتۡ ﴿١﴾
E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu.
Al-Infitar 82:2وَإِذَا ٱلۡكَوَاكِبُ ٱنتَثَرَتۡ ﴿٢﴾
N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana.
Al-Infitar 82:3وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ فُجِّرَتۡ ﴿٣﴾
N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde.
Al-Infitar 82:4وَإِذَا ٱلۡقُبُورُ بُعۡثِرَتۡ ﴿٤﴾
Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo).
Al-Infitar 82:5عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّا قَدَّمَتۡ وَأَخَّرَتۡ ﴿٥﴾
Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo.
An-Nisa 4:78أَيۡنَمَا تَكُونُواْ يُدۡرِككُّمُ ٱلۡمَوۡتُ وَلَوۡ كُنتُمۡ فِي بُرُوجٖ مُّشَيَّدَةٖۗ وَإِن تُصِبۡهُمۡ حَسَنَةٞ يَقُولُواْ هَٰذِهِۦ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةٞ يَقُولُواْ هَٰذِهِۦ مِنۡ عِندِكَۚ قُلۡ كُلّٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ فَمَالِ هَـٰٓؤُلَآءِ ٱلۡقَوۡمِ لَا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ حَدِيثٗا ﴿٧٨﴾
Wonna wemuba muli okufa kugenda kubatuukako, newaakubadde nga muli mu mizimbo eminywevu (bankers), abantu abamu bwebatuukwako ekirungi bagamba nti ekyo kivudde wa Katonda, so nga bwebatuukwako ekibi bagamba nti kino kivudde ku ggwe, Gamba (Ggwe Muhammad) byonna biva wa Katonda, abantu abo bali kumpi babe nga tebategeera kintu kyonna.
Al-Hijr 15:16وَلَقَدۡ جَعَلۡنَا فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَزَيَّنَّـٰهَا لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿١٦﴾
Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi.