quranm◉

Emitwe · lg

26 Aya · Emitwe · lg

Ali 'Imran 3:14

زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ﴿١٤﴾

Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.

Ali 'Imran 3:197

مَتَٰعٞ قَلِيلٞ ثُمَّ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿١٩٧﴾

Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvanyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era obwo buddo bubi.

An-Nisa 4:24

۞وَٱلۡمُحۡصَنَٰتُ مِنَ ٱلنِّسَآءِ إِلَّا مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۖ كِتَٰبَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡۚ وَأُحِلَّ لَكُم مَّا وَرَآءَ ذَٰلِكُمۡ أَن تَبۡتَغُواْ بِأَمۡوَٰلِكُم مُّحۡصِنِينَ غَيۡرَ مُسَٰفِحِينَۚ فَمَا ٱسۡتَمۡتَعۡتُم بِهِۦ مِنۡهُنَّ فَـَٔاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ فَرِيضَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا تَرَٰضَيۡتُم بِهِۦ مِنۢ بَعۡدِ ٱلۡفَرِيضَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا ﴿٢٤﴾

Era temukkirizibwa kuwasa bakyala bafumbo mpozzi abo bemuba mufunye mu mikono gyammwe mu ngeri yo bufuge, bino byonna Katonda abibataddeko nga kiragiro ekiva gyali. Mukkirizibwa okuwasa abatali abo, nga mukozesa emmaali yammwe. Mubafune mu bufumbo obutukuvu so ssi mu bwenzi, abo bwe mubanga musanyuse nabo, mubawe Amahare gaabwe, nga Katonda bweyakiraalika. Temulina kibi kwekyo kyemuba mukkaanyizzaako oluvanyuma lw’okugereka Amahare. Mazima ddala Katonda bulijjo mumanyi nnyo ate agoba nsonga.

An-Nisa 4:77

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ قِيلَ لَهُمۡ كُفُّوٓاْ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ فَلَمَّا كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقِتَالُ إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ يَخۡشَوۡنَ ٱلنَّاسَ كَخَشۡيَةِ ٱللَّهِ أَوۡ أَشَدَّ خَشۡيَةٗۚ وَقَالُواْ رَبَّنَا لِمَ كَتَبۡتَ عَلَيۡنَا ٱلۡقِتَالَ لَوۡلَآ أَخَّرۡتَنَآ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖۗ قُلۡ مَتَٰعُ ٱلدُّنۡيَا قَلِيلٞ وَٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لِّمَنِ ٱتَّقَىٰ وَلَا تُظۡلَمُونَ فَتِيلًا ﴿٧٧﴾

Tolaba abo abaagambwa nti mulekere awo okulwana, era muyimirizeewo e sswala, era mutoole e Zakka, naye ate bwe baalagirwa okulwana, wagenda okulaba ng’abamu mu bo batya abantu, nga balinga abatya Katonda. Si nakindi n’okusingawo, nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe lwaki otulaaliseeko okulwana, singa otulindirizzaako okumala akaseera katono, gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) nti ebyokweyagala kwensi byabutaliimu, era enkomerero yenungi eri atya Katonda, era nga temugenda kulyazamanyizibwa wadde omuwula gwe ntende.

Al-An'am 6:128

وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ قَدِ ٱسۡتَكۡثَرۡتُم مِّنَ ٱلۡإِنسِۖ وَقَالَ أَوۡلِيَآؤُهُم مِّنَ ٱلۡإِنسِ رَبَّنَا ٱسۡتَمۡتَعَ بَعۡضُنَا بِبَعۡضٖ وَبَلَغۡنَآ أَجَلَنَا ٱلَّذِيٓ أَجَّلۡتَ لَنَاۚ قَالَ ٱلنَّارُ مَثۡوَىٰكُمۡ خَٰلِدِينَ فِيهَآ إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿١٢٨﴾

(Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya.

Al-A'raf 7:24

قَالَ ٱهۡبِطُواْ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ وَلَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُسۡتَقَرّٞ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ ﴿٢٤﴾

(Katonda) naagamba nti mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa e kiseera e kigere.

Yunus 10:23

فَلَمَّآ أَنجَىٰهُمۡ إِذَا هُمۡ يَبۡغُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّۗ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّمَا بَغۡيُكُمۡ عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۖ مَّتَٰعَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُكُمۡ فَنُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٣﴾

Naye ate bwamala okubawonya ogenda okubalaba nga bakola obwonoonefu mu nsi awatali nsonga yonna ntuufu. Abange mmwe abantu mazima obwonoonefu bwa mmwe bufiiriza mmwe, (anti bwo) kweyagala kwa bulamu bwa nsi oluvanyuma gyetuli y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno tubamanyise byonna bye mwakolanga.

Yunus 10:70

مَتَٰعٞ فِي ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ ٱلۡعَذَابَ ٱلشَّدِيدَ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿٧٠﴾

Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga.

Hud 11:48

قِيلَ يَٰنُوحُ ٱهۡبِطۡ بِسَلَٰمٖ مِّنَّا وَبَرَكَٰتٍ عَلَيۡكَ وَعَلَىٰٓ أُمَمٖ مِّمَّن مَّعَكَۚ وَأُمَمٞ سَنُمَتِّعُهُمۡ ثُمَّ يَمَسُّهُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٤٨﴾

Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli.

Hud 11:65

فَعَقَرُوهَا فَقَالَ تَمَتَّعُواْ فِي دَارِكُمۡ ثَلَٰثَةَ أَيَّامٖۖ ذَٰلِكَ وَعۡدٌ غَيۡرُ مَكۡذُوبٖ ﴿٦٥﴾

(Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa.

Ar-Ra'd 13:26

ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ وَفَرِحُواْ بِٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا فِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِلَّا مَتَٰعٞ ﴿٢٦﴾

Katonda agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu.

Ibrahim 14:30

وَجَعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلُّواْ عَن سَبِيلِهِۦۗ قُلۡ تَمَتَّعُواْ فَإِنَّ مَصِيرَكُمۡ إِلَى ٱلنَّارِ ﴿٣٠﴾

Nebateeka ku Katonda ebisinzibwa ebirala babe nga babuza abantu okubaggya ku kkubolye, bagambe nti mweyagale, mazima ddala obuddo bwa mmwe buli mu muliro.

Al-Hijr 15:3

ذَرۡهُمۡ يَأۡكُلُواْ وَيَتَمَتَّعُواْ وَيُلۡهِهِمُ ٱلۡأَمَلُۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ﴿٣﴾

Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya.

Al-Hijr 15:88

لَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٨٨﴾

Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza.

An-Nahl 16:117

مَتَٰعٞ قَلِيلٞ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿١١٧﴾

Okwo kweyagala kutono era bagenda kutuukwako ebibonerezo ebiruma.

Ash-Shu'ara 26:205

أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ ﴿٢٠٥﴾

. Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera).

Ash-Shu'ara 26:206

ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ ﴿٢٠٦﴾

. Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa.

Ash-Shu'ara 26:207

مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يُمَتَّعُونَ ﴿٢٠٧﴾

. Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu.

Al-Qasas 28:61

أَفَمَن وَعَدۡنَٰهُ وَعۡدًا حَسَنٗا فَهُوَ لَٰقِيهِ كَمَن مَّتَّعۡنَٰهُ مَتَٰعَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ هُوَ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ مِنَ ٱلۡمُحۡضَرِينَ ﴿٦١﴾

. Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa.

Al-'Ankabut 29:66

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ وَلِيَتَمَتَّعُواْۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ﴿٦٦﴾

. Kale baleke beewakane bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya.

Luqman 31:24

نُمَتِّعُهُمۡ قَلِيلٗا ثُمَّ نَضۡطَرُّهُمۡ إِلَىٰ عَذَابٍ غَلِيظٖ ﴿٢٤﴾

. Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito.

Az-Zumar 39:8

۞وَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ضُرّٞ دَعَا رَبَّهُۥ مُنِيبًا إِلَيۡهِ ثُمَّ إِذَا خَوَّلَهُۥ نِعۡمَةٗ مِّنۡهُ نَسِيَ مَا كَانَ يَدۡعُوٓاْ إِلَيۡهِ مِن قَبۡلُ وَجَعَلَ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلَّ عَن سَبِيلِهِۦۚ قُلۡ تَمَتَّعۡ بِكُفۡرِكَ قَلِيلًا إِنَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلنَّارِ ﴿٨﴾

Akabi bwe katuuka ku muntu asaba Mukama omulabiriziwe ng'amwenenyeza, oluvanyuma bwamuwa ekyengera kyonna okuva gyali, nga yeerabira oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno nassa ku Katonda abasinzibwa abalala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku kkubo lye (Katonda). Gamba nti weeyagale katono n'obukaafiiri bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu bo mu muliro.

Ghafir 40:39

يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا مَتَٰعٞ وَإِنَّ ٱلۡأٓخِرَةَ هِيَ دَارُ ٱلۡقَرَارِ ﴿٣٩﴾

Abange bantu bange mazima obulamu bwe nsi buno bwakiyita mu lujja, era mazima enkomerero, y’enyumba eyolubereera.

Al-Ahqaf 46:20

وَيَوۡمَ يُعۡرَضُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ عَلَى ٱلنَّارِ أَذۡهَبۡتُمۡ طَيِّبَٰتِكُمۡ فِي حَيَاتِكُمُ ٱلدُّنۡيَا وَٱسۡتَمۡتَعۡتُم بِهَا فَٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَسۡتَكۡبِرُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَبِمَا كُنتُمۡ تَفۡسُقُونَ ﴿٢٠﴾

Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona.

Muhammad 47:12

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَتَمَتَّعُونَ وَيَأۡكُلُونَ كَمَا تَأۡكُلُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ وَٱلنَّارُ مَثۡوٗى لَّهُمۡ ﴿١٢﴾

Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe.

Al-Mursalat 77:46

كُلُواْ وَتَمَتَّعُواْ قَلِيلًا إِنَّكُم مُّجۡرِمُونَ ﴿٤٦﴾

(Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero).

Emitwe