quranm◉

Emitwe · lg

109 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:25

وَبَشِّرِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ كُلَّمَا رُزِقُواْ مِنۡهَا مِن ثَمَرَةٖ رِّزۡقٗا قَالُواْ هَٰذَا ٱلَّذِي رُزِقۡنَا مِن قَبۡلُۖ وَأُتُواْ بِهِۦ مُتَشَٰبِهٗاۖ وَلَهُمۡ فِيهَآ أَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞۖ وَهُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢٥﴾

Ate sanyusa abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi nti bajja kufuna e jjana ezikulukutiramu e migga. Buli lwe banaaweebwanga e kibala mu jjana banaagambanga nti ekyo kye twaweebwanga edda (nga tuli ku nsi), binabaweebwanga nga mundabika bifaanana nabiri ebyo ku nsi (naye nga mu buwoomi byanjawulo), era abasajja baliweebwa abakyala abaatukuzibwa, era ba kubeeramu lubeerera.

Al-Baqarah 2:105

مَّا يَوَدُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَلَا ٱلۡمُشۡرِكِينَ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡكُم مِّنۡ خَيۡرٖ مِّن رَّبِّكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿١٠٥﴾

Abo abajeemu mu bagoberezi b'ebitabo ebyasooka, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gye muli okuva eri Omulezi wa mmwe (Katonda). So ng'ate Katonda assa okusaasira kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Katonda ye nannyini byengera ebingi.

Al-Baqarah 2:212

زُيِّنَ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَيَسۡخَرُونَ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۘ وَٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ فَوۡقَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ وَٱللَّهُ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿٢١٢﴾

Abatakkiriza banyumirwa nnyo obulamu bw'ensi, era bajeeja abakkiriza; wabula abatya Katonda bagenda kubabeera waggulu ku lunaku lw’enkomerero. Katonda agabira gwaba ayagadde awatali kubalirira.

Al-Baqarah 2:247

وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ بَعَثَ لَكُمۡ طَالُوتَ مَلِكٗاۚ قَالُوٓاْ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ عَلَيۡنَا وَنَحۡنُ أَحَقُّ بِٱلۡمُلۡكِ مِنۡهُ وَلَمۡ يُؤۡتَ سَعَةٗ مِّنَ ٱلۡمَالِۚ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰهُ عَلَيۡكُمۡ وَزَادَهُۥ بَسۡطَةٗ فِي ٱلۡعِلۡمِ وَٱلۡجِسۡمِۖ وَٱللَّهُ يُؤۡتِي مُلۡكَهُۥ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿٢٤٧﴾

Nabbi waabwe kwekubaanukula nti mazima Katonda alonze Twaluta okuba kabaka wamwe. Bo kwekugamba nti ayinza atya okuba kabaka waffe songa ffe tusaanira obw’akabaka okumusinga, ng'era teyaweebwa bugazi bwa byanfuna. (Nabbi waabwe) n'abagamba nti Mukama Katonda amulonze mu mmwe era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Katonda awa obufuzi bwe oyo gwaba ayagadde. Era Katonda mugazi era mumanyi.

Ali 'Imran 3:14

زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ﴿١٤﴾

Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.

Ali 'Imran 3:26

قُلِ ٱللَّهُمَّ مَٰلِكَ ٱلۡمُلۡكِ تُؤۡتِي ٱلۡمُلۡكَ مَن تَشَآءُ وَتَنزِعُ ٱلۡمُلۡكَ مِمَّن تَشَآءُ وَتُعِزُّ مَن تَشَآءُ وَتُذِلُّ مَن تَشَآءُۖ بِيَدِكَ ٱلۡخَيۡرُۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٢٦﴾

(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu.

Ali 'Imran 3:37

فَتَقَبَّلَهَا رَبُّهَا بِقَبُولٍ حَسَنٖ وَأَنۢبَتَهَا نَبَاتًا حَسَنٗا وَكَفَّلَهَا زَكَرِيَّاۖ كُلَّمَا دَخَلَ عَلَيۡهَا زَكَرِيَّا ٱلۡمِحۡرَابَ وَجَدَ عِندَهَا رِزۡقٗاۖ قَالَ يَٰمَرۡيَمُ أَنَّىٰ لَكِ هَٰذَاۖ قَالَتۡ هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ إِنَّ ٱللَّهَ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٍ ﴿٣٧﴾

Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era naamukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakaria abe omukuza, buli Zakaria lweyayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olwokusinza ng’amusanga alina ebyokulya. Naagamba nti owange Mariam bino obifuna kuva wa, naamuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gwayagadde awatali kubalirira.

An-Nisa 4:32

وَلَا تَتَمَنَّوۡاْ مَا فَضَّلَ ٱللَّهُ بِهِۦ بَعۡضَكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ لِّلرِّجَالِ نَصِيبٞ مِّمَّا ٱكۡتَسَبُواْۖ وَلِلنِّسَآءِ نَصِيبٞ مِّمَّا ٱكۡتَسَبۡنَۚ وَسۡـَٔلُواْ ٱللَّهَ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا ﴿٣٢﴾

Temuluvuwaliranga ebyo Katonda byeyasukkulumya nabyo abamu mu mmwe ku balala, Abasajja balina omugabo kw’ekyo kyebaba bakoze, nga n’abakyala bwebalina omugabo kwekyo kyebaba bakoze, era bulijjo musabe Katonda abawe ku birungibye, mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.

Al-An'am 6:151

۞قُلۡ تَعَالَوۡاْ أَتۡلُ مَا حَرَّمَ رَبُّكُمۡ عَلَيۡكُمۡۖ أَلَّا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗاۖ وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُم مِّنۡ إِمۡلَٰقٖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكُمۡ وَإِيَّاهُمۡۖ وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلۡفَوَٰحِشَ مَا ظَهَرَ مِنۡهَا وَمَا بَطَنَۖ وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكُمۡ وَصَّىٰكُم بِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ﴿١٥١﴾

Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera.

Al-An'am 6:142

وَمِنَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ حَمُولَةٗ وَفَرۡشٗاۚ كُلُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿١٤٢﴾

Era Katonda yateekawo e bisolo e byetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye mu ebyo Katonda bye yabagabira temugobereranga obuwufu bwa Sitane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango.

Al-Anfal 8:26

وَٱذۡكُرُوٓاْ إِذۡ أَنتُمۡ قَلِيلٞ مُّسۡتَضۡعَفُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ تَخَافُونَ أَن يَتَخَطَّفَكُمُ ٱلنَّاسُ فَـَٔاوَىٰكُمۡ وَأَيَّدَكُم بِنَصۡرِهِۦ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿٢٦﴾

Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza.

At-Tawbah 9:28

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡمُشۡرِكُونَ نَجَسٞ فَلَا يَقۡرَبُواْ ٱلۡمَسۡجِدَ ٱلۡحَرَامَ بَعۡدَ عَامِهِمۡ هَٰذَاۚ وَإِنۡ خِفۡتُمۡ عَيۡلَةٗ فَسَوۡفَ يُغۡنِيكُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦٓ إِن شَآءَۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿٢٨﴾

Abange mmwe abakkiriza (mukimanye nti), mazima abagatta ku Katonda e bintu e birala bajama, tebasembereranga omuzikiti ogw’emizizo oluvanyuma lw’omwaka gwabwe guno. Bwe muba mutidde bwavu, Katonda bwanaaba ayagadde ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye, anti mazima Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

At-Tawbah 9:74

يَحۡلِفُونَ بِٱللَّهِ مَا قَالُواْ وَلَقَدۡ قَالُواْ كَلِمَةَ ٱلۡكُفۡرِ وَكَفَرُواْ بَعۡدَ إِسۡلَٰمِهِمۡ وَهَمُّواْ بِمَا لَمۡ يَنَالُواْۚ وَمَا نَقَمُوٓاْ إِلَّآ أَنۡ أَغۡنَىٰهُمُ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ مِن فَضۡلِهِۦۚ فَإِن يَتُوبُواْ يَكُ خَيۡرٗا لَّهُمۡۖ وَإِن يَتَوَلَّوۡاْ يُعَذِّبۡهُمُ ٱللَّهُ عَذَابًا أَلِيمٗا فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۚ وَمَا لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٖ ﴿٧٤﴾

Balayira Katonda nti tebabyogerangako, naye nga mazima baayatula e kigambo ky'obukaafiiri, olwo nno nebafuuka abakaafiiri oluvanyuma lw'okuba nti baali basiraamu, nebagezaako nnyo okukola kye baali tebasobola kutuukiriza (eky'okutta Nabbi), tewali kyabakozesa mpalana okugyako okuba nti Mukama Katonda n’omubakawe baabagonnomolako e bigabwa bya Katonda, kale nno singa beenenya kiba kirungi gye bali, naye bwe batakikola Katonda agenda ku babonereza olubonereza oluluma ennyo ku nsi, ne ku nkomerero, era nga tebalina ku nsi mukuumi yenna oba mutaasa.

An-Nahl 16:14

وَهُوَ ٱلَّذِي سَخَّرَ ٱلۡبَحۡرَ لِتَأۡكُلُواْ مِنۡهُ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُواْ مِنۡهُ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ مَوَاخِرَ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿١٤﴾

Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza.

Hud 11:88

قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَءَيۡتُمۡ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَرَزَقَنِي مِنۡهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَمَآ أُرِيدُ أَنۡ أُخَالِفَكُمۡ إِلَىٰ مَآ أَنۡهَىٰكُمۡ عَنۡهُۚ إِنۡ أُرِيدُ إِلَّا ٱلۡإِصۡلَٰحَ مَا ٱسۡتَطَعۡتُۚ وَمَا تَوۡفِيقِيٓ إِلَّا بِٱللَّهِۚ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُ وَإِلَيۡهِ أُنِيبُ ﴿٨٨﴾

Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda.

Yunus 10:31

قُلۡ مَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ أَمَّن يَمۡلِكُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَمَن يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَيُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّ وَمَن يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَۚ فَسَيَقُولُونَ ٱللَّهُۚ فَقُلۡ أَفَلَا تَتَّقُونَ ﴿٣١﴾

Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.

Yunus 10:93

وَلَقَدۡ بَوَّأۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ مُبَوَّأَ صِدۡقٖ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ فَمَا ٱخۡتَلَفُواْ حَتَّىٰ جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿٩٣﴾

Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu.

Ar-Ra'd 13:26

ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ وَفَرِحُواْ بِٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا فِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِلَّا مَتَٰعٞ ﴿٢٦﴾

Katonda agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu.

An-Nahl 16:71

وَٱللَّهُ فَضَّلَ بَعۡضَكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلرِّزۡقِۚ فَمَا ٱلَّذِينَ فُضِّلُواْ بِرَآدِّي رِزۡقِهِمۡ عَلَىٰ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَهُمۡ فِيهِ سَوَآءٌۚ أَفَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ ﴿٧١﴾

Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya!.

An-Nahl 16:72

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُم بَنِينَ وَحَفَدَةٗ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ هُمۡ يَكۡفُرُونَ ﴿٧٢﴾

Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya!.

An-Nahl 16:75

۞ضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلًا عَبۡدٗا مَّمۡلُوكٗا لَّا يَقۡدِرُ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَمَن رَّزَقۡنَٰهُ مِنَّا رِزۡقًا حَسَنٗا فَهُوَ يُنفِقُ مِنۡهُ سِرّٗا وَجَهۡرًاۖ هَلۡ يَسۡتَوُۥنَۚ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٧٥﴾

Katonda yakuba ekifaananyi eky'omuntu omufuge nga talina kintu kyonna kyasobola, n'ekifaananyi ekirala eky'oyo gwe tugabirira okuva gye tuli e riziki ennungi, nga naye (omuddu oyo) agaba ku yo mu kyama n'olwatu abaffe benkana?. Ebitendo byonna bya Katonda, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

An-Nahl 16:114

فَكُلُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ حَلَٰلٗا طَيِّبٗا وَٱشۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ ﴿١١٤﴾

Kale mulye mu ebyo Katonda byabagabira kasita biba Halali nga ate birungi, era mwebaze ebyengera bya Katonda bwe muba nga ye yekka gwe musinza.

Al-Isra 17:29

وَلَا تَجۡعَلۡ يَدَكَ مَغۡلُولَةً إِلَىٰ عُنُقِكَ وَلَا تَبۡسُطۡهَا كُلَّ ٱلۡبَسۡطِ فَتَقۡعُدَ مَلُومٗا مَّحۡسُورًا ﴿٢٩﴾

. Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza.

Al-Isra 17:30

إِنَّ رَبَّكَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا ﴿٣٠﴾

. Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba.

Al-Isra 17:70

۞وَلَقَدۡ كَرَّمۡنَا بَنِيٓ ءَادَمَ وَحَمَلۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّمَّنۡ خَلَقۡنَا تَفۡضِيلٗا ﴿٧٠﴾

. Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.

Al-Kahf 18:46

ٱلۡمَالُ وَٱلۡبَنُونَ زِينَةُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّـٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ أَمَلٗا ﴿٤٦﴾

. Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi.

Taha 20:132

وَأۡمُرۡ أَهۡلَكَ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱصۡطَبِرۡ عَلَيۡهَاۖ لَا نَسۡـَٔلُكَ رِزۡقٗاۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكَۗ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلتَّقۡوَىٰ ﴿١٣٢﴾

. Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda.

Al-Hajj 22:58

وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ قُتِلُوٓاْ أَوۡ مَاتُواْ لَيَرۡزُقَنَّهُمُ ٱللَّهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿٥٨﴾

. Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Katonda agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Katonda yye y'asinga abagabi bonna.

An-Nur 24:37

رِجَالٞ لَّا تُلۡهِيهِمۡ تِجَٰرَةٞ وَلَا بَيۡعٌ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَإِقَامِ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءِ ٱلزَّكَوٰةِ يَخَافُونَ يَوۡمٗا تَتَقَلَّبُ فِيهِ ٱلۡقُلُوبُ وَٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿٣٧﴾

. Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.

An-Nur 24:38

لِيَجۡزِيَهُمُ ٱللَّهُ أَحۡسَنَ مَا عَمِلُواْ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضۡلِهِۦۗ وَٱللَّهُ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿٣٨﴾

. Olwo nno Katonda abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungibye, bulijjo Katonda agabirira oyo gwaba ayagadde awatali kubalirira.

Al-Qasas 28:57

وَقَالُوٓاْ إِن نَّتَّبِعِ ٱلۡهُدَىٰ مَعَكَ نُتَخَطَّفۡ مِنۡ أَرۡضِنَآۚ أَوَلَمۡ نُمَكِّن لَّهُمۡ حَرَمًا ءَامِنٗا يُجۡبَىٰٓ إِلَيۡهِ ثَمَرَٰتُ كُلِّ شَيۡءٖ رِّزۡقٗا مِّن لَّدُنَّا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٥٧﴾

. Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

Al-Qasas 28:76

۞إِنَّ قَٰرُونَ كَانَ مِن قَوۡمِ مُوسَىٰ فَبَغَىٰ عَلَيۡهِمۡۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡكُنُوزِ مَآ إِنَّ مَفَاتِحَهُۥ لَتَنُوٓأُ بِٱلۡعُصۡبَةِ أُوْلِي ٱلۡقُوَّةِ إِذۡ قَالَ لَهُۥ قَوۡمُهُۥ لَا تَفۡرَحۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَرِحِينَ ﴿٧٦﴾

. Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu.

An-Naml 27:36

فَلَمَّا جَآءَ سُلَيۡمَٰنَ قَالَ أَتُمِدُّونَنِ بِمَالٖ فَمَآ ءَاتَىٰنِۦَ ٱللَّهُ خَيۡرٞ مِّمَّآ ءَاتَىٰكُمۚ بَلۡ أَنتُم بِهَدِيَّتِكُمۡ تَفۡرَحُونَ ﴿٣٦﴾

. (Abaatumwa) bwe bajja ewa Sulaiman yagamba nti: munsendasenda ne mmaali (olwo nno mbaleke) ebyo Katonda bye yampa bye birungi okusinga bye yabawa, wabula mmwe musanyuukirira nnyo olw'ebirabo bya mmwe.

An-Naml 27:40

قَالَ ٱلَّذِي عِندَهُۥ عِلۡمٞ مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن يَرۡتَدَّ إِلَيۡكَ طَرۡفُكَۚ فَلَمَّا رَءَاهُ مُسۡتَقِرًّا عِندَهُۥ قَالَ هَٰذَا مِن فَضۡلِ رَبِّي لِيَبۡلُوَنِيٓ ءَأَشۡكُرُ أَمۡ أَكۡفُرُۖ وَمَن شَكَرَ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ رَبِّي غَنِيّٞ كَرِيمٞ ﴿٤٠﴾

. (Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu kitabo kya (Katonda) naagamba nti, nze nja kugikuleetera nga eriisolyo terinnadda gyoli (nga tonnatemya), bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti, kino kya mu birungi bya Mukama omulabirizi wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza yebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Mukama omulabirizi wange talina kye yeetaaga, mugabi nnyo.

An-Naml 27:64

أَمَّن يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ وَمَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٦٤﴾

. Abaffe ani oyo atandikawo e bitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! bagambe nti muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga muli ba mazima.

Al-'Ankabut 29:17

إِنَّمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنٗا وَتَخۡلُقُونَ إِفۡكًاۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ لَكُمۡ رِزۡقٗا فَٱبۡتَغُواْ عِندَ ٱللَّهِ ٱلرِّزۡقَ وَٱعۡبُدُوهُ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥٓۖ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿١٧﴾

. Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa.

Al-'Ankabut 29:62

ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿٦٢﴾

. Katonda agaziya ebyenfuna eri omuntu gwaba ayagadde mu baddube ate naafundiza oyo gwaba (ayagadde), mazima Katonda ku buli kintu mumanyi nnyo.

Al-'Ankabut 29:60

وَكَأَيِّن مِّن دَآبَّةٖ لَّا تَحۡمِلُ رِزۡقَهَا ٱللَّهُ يَرۡزُقُهَا وَإِيَّاكُمۡۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٦٠﴾

. Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo.

Ar-Rum 30:37

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿٣٧﴾

. Abaffe tebalaba nti mazima Katonda agaziyiza eby'enfuna eri gwaba ayagadde ate naafundiza oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.

Saba 34:24

۞قُلۡ مَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُلِ ٱللَّهُۖ وَإِنَّآ أَوۡ إِيَّاكُمۡ لَعَلَىٰ هُدًى أَوۡ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿٢٤﴾

. Bagambe ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Katonda. Era mazima ffe oba mmwe tuli ku bulungamu oba ku bubuze obw'olwatu.

Saba 34:36

قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٣٦﴾

. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluriza eby'enfuna oyo gwaba ayagadde ate n’abifundiza gwaba ayagadde, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

Saba 34:39

قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥۚ وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن شَيۡءٖ فَهُوَ يُخۡلِفُهُۥۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰزِقِينَ ﴿٣٩﴾

. Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde mu baddu be ate naagifundiza (gwaba ayagadde), nabuli kintu kyonna kye muwaayo mazima yye akizzaawo era bulijjo yye yaasinga abagabirizi.

Al-Ahzab 33:31

۞وَمَن يَقۡنُتۡ مِنكُنَّ لِلَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَتَعۡمَلۡ صَٰلِحٗا نُّؤۡتِهَآ أَجۡرَهَا مَرَّتَيۡنِ وَأَعۡتَدۡنَا لَهَا رِزۡقٗا كَرِيمٗا ﴿٣١﴾

. N'oyo yenna mu mmwe (baka Nabbi) agondera Katonda n’omubakawe naakola emirimu emirungi tumuwa empeeraye emirundi ebiri, era twamutegekera riziki eweesa ekitiibwa.

Ghafir 40:13

هُوَ ٱلَّذِي يُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُنَزِّلُ لَكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ رِزۡقٗاۚ وَمَا يَتَذَكَّرُ إِلَّا مَن يُنِيبُ ﴿١٣﴾

Yye yooyo abalaga obubonero bwe era abassiza amazzi okuva waggulu nga riziki (gye muli) naye teyebulirira (nabyo) okugyako oyo adda eri (Katonda).

Ghafir 40:64

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ قَرَارٗا وَٱلسَّمَآءَ بِنَآءٗ وَصَوَّرَكُمۡ فَأَحۡسَنَ صُوَرَكُمۡ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡۖ فَتَبَارَكَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٦٤﴾

Katonda yooyo eyabateerawo ensi nga ntebenkevu, nabaterawo eggulu nga kasolya, era nabawa endabika ya mmwe, olwo nno nanyiriza endabika ya mmwe era nabagabirira ebintu ebirungi, oyo nno mmwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, kale nno musukkulumu Katonda, Mukama, omulabirizi w'ebitonde.

Fatir 35:3

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡۚ هَلۡ مِنۡ خَٰلِقٍ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ ﴿٣﴾

. Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!.

Az-Zumar 39:52

أَوَلَمۡ يَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿٥٢﴾

Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde ate oluusi naafunza, mazima mu ekyo mulimu ebyokuyiga eri abantu abakkiriza.

Ash-Shuraa 42:12

لَهُۥ مَقَالِيدُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿١٢﴾

Yekka yaalina ebitambulirwako eggulu omusanvu ne nsi, ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde, ate nafunza (kwoyo gwaba ayagadde) mazima yye ye mumanyi ennyo wa buli kintu.

Ash-Shuraa 42:19

ٱللَّهُ لَطِيفُۢ بِعِبَادِهِۦ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُۖ وَهُوَ ٱلۡقَوِيُّ ٱلۡعَزِيزُ ﴿١٩﴾

Katonda alumirwa abaddu be, agabira oyo gwaba ayagadde era yye ye wamanyi nantakubwa ku mukono.

Ash-Shuraa 42:27

۞وَلَوۡ بَسَطَ ٱللَّهُ ٱلرِّزۡقَ لِعِبَادِهِۦ لَبَغَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَٰكِن يُنَزِّلُ بِقَدَرٖ مَّا يَشَآءُۚ إِنَّهُۥ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرُۢ بَصِيرٞ ﴿٢٧﴾

Singa Katonda yagaziya riziki ku baddu be balyonoonye mu nsi, wabula assa mu kipimo ekyo kyaba ayagadde mazima ye amanyidde ddala ebyomunda era alaba nnyo ebikwata ku baddu be.

Emitwe