وَٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ وَإِنَّهَا لَكَبِيرَةٌ إِلَّا عَلَى ٱلۡخَٰشِعِينَ ﴿٤٥﴾
Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo e sswala ekaluubirira nnyo abantu, okugyako abo abagondera Katonda.
139 Aya · Emitwe · lg
وَٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ وَإِنَّهَا لَكَبِيرَةٌ إِلَّا عَلَى ٱلۡخَٰشِعِينَ ﴿٤٥﴾
Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo e sswala ekaluubirira nnyo abantu, okugyako abo abagondera Katonda.
ٱلَّذِينَ يَظُنُّونَ أَنَّهُم مُّلَٰقُواْ رَبِّهِمۡ وَأَنَّهُمۡ إِلَيۡهِ رَٰجِعُونَ ﴿٤٦﴾
Abo abakakasa nti bakusisinkana Omulezi waabwe (Katonda), era gyali gye bagenda okudda.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿١٥٣﴾
Abange mmwe abakkiriza mwekwate ku bugumiikiriza n'esswala ku lw'okubanga mazima Katonda ali wamu na baguminkiriza.
وَلَا تَقُولُواْ لِمَن يُقۡتَلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتُۢۚ بَلۡ أَحۡيَآءٞ وَلَٰكِن لَّا تَشۡعُرُونَ ﴿١٥٤﴾
Era temwogeranga kwabo abattibwa mu kkubo lya Katonda mbu bafu. Go amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe).
وَلَنَبۡلُوَنَّكُم بِشَيۡءٖ مِّنَ ٱلۡخَوۡفِ وَٱلۡجُوعِ وَنَقۡصٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَنفُسِ وَٱلثَّمَرَٰتِۗ وَبَشِّرِ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿١٥٥﴾
Era ddala tujja kubagezesa, mu bintu nga okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kwa bantu, n'okukendeera kwe bibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza.
ٱلَّذِينَ إِذَآ أَصَٰبَتۡهُم مُّصِيبَةٞ قَالُوٓاْ إِنَّا لِلَّهِ وَإِنَّآ إِلَيۡهِ رَٰجِعُونَ ﴿١٥٦﴾
Abo b'ebo bwe baba nga batuukiddwako obuzibu bwonna bagamba (nti) mazima ffe twava eri Katonda era ddala tuli bakudda gy'ali.
أُوْلَـٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ صَلَوَٰتٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَرَحۡمَةٞۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُهۡتَدُونَ ﴿١٥٧﴾
Abo nno balina okusonyiyibwa n'okusaasirwa okuva eri mukama Katonda waabwe, era abo be baluŋŋamu.
إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡتُمُونَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَيَشۡتَرُونَ بِهِۦ ثَمَنٗا قَلِيلًا أُوْلَـٰٓئِكَ مَا يَأۡكُلُونَ فِي بُطُونِهِمۡ إِلَّا ٱلنَّارَ وَلَا يُكَلِّمُهُمُ ٱللَّهُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَلَا يُزَكِّيهِمۡ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﴿١٧٤﴾
Mazima abo abakweka ebyo Katonda bye yassa mu kitabo nebabiwanyisaamu eby'okufuna ebitono, abo nno buli kyebalya guba muliro mumbuto zaabwe era Katonda tagenda kwogera nabo ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda ku batukuza. Era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma.
أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلضَّلَٰلَةَ بِٱلۡهُدَىٰ وَٱلۡعَذَابَ بِٱلۡمَغۡفِرَةِۚ فَمَآ أَصۡبَرَهُمۡ عَلَى ٱلنَّارِ ﴿١٧٥﴾
Abo nno b'ebo abaawaanyisa obubuze mu bulungamu. N'okubonerezebwa mu kifo ky'okusonyiyibwa. Baliggyawa obuvumu obugumira omuliro.
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ نَزَّلَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّۗ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ ٱخۡتَلَفُواْ فِي ٱلۡكِتَٰبِ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ ﴿١٧٦﴾
Ekyo kiriba bwekityo kubanga Katonda yassa ekitabo nga kiraga amazima. Naye nno abo abatakkaanya ku biri mu kitabo okwawukana kwabwe kuli wala nnyo n'ebyo ebikirimu.
۞لَّيۡسَ ٱلۡبِرَّ أَن تُوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ قِبَلَ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَلَٰكِنَّ ٱلۡبِرَّ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ وَٱلۡكِتَٰبِ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ وَءَاتَى ٱلۡمَالَ عَلَىٰ حُبِّهِۦ ذَوِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَٱلسَّآئِلِينَ وَفِي ٱلرِّقَابِ وَأَقَامَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَى ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُوفُونَ بِعَهۡدِهِمۡ إِذَا عَٰهَدُواْۖ وَٱلصَّـٰبِرِينَ فِي ٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ وَحِينَ ٱلۡبَأۡسِۗ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ صَدَقُواْۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُتَّقُونَ ﴿١٧٧﴾
Obulungi obubalibwa eri Katonda, tebwemalidde mu kwolekera kwa mmwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, ne ba malayika n'ekitabo (Kur’ani) ne bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugaggabwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa abooluganda olwokumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo e sswala, n'atoola ne zzaka mu by'obugaggabwe. N abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwebaba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera bye ntalo. Abo nno be bakkiriza okukkiriza okwannamaddala, era abo bo be batya Katonda.
فَلَمَّا فَصَلَ طَالُوتُ بِٱلۡجُنُودِ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ مُبۡتَلِيكُم بِنَهَرٖ فَمَن شَرِبَ مِنۡهُ فَلَيۡسَ مِنِّي وَمَن لَّمۡ يَطۡعَمۡهُ فَإِنَّهُۥ مِنِّيٓ إِلَّا مَنِ ٱغۡتَرَفَ غُرۡفَةَۢ بِيَدِهِۦۚ فَشَرِبُواْ مِنۡهُ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنۡهُمۡۚ فَلَمَّا جَاوَزَهُۥ هُوَ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ قَالُواْ لَا طَاقَةَ لَنَا ٱلۡيَوۡمَ بِجَالُوتَ وَجُنُودِهِۦۚ قَالَ ٱلَّذِينَ يَظُنُّونَ أَنَّهُم مُّلَٰقُواْ ٱللَّهِ كَم مِّن فِئَةٖ قَلِيلَةٍ غَلَبَتۡ فِئَةٗ كَثِيرَةَۢ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿٢٤٩﴾
Twaluta bweyatandika okutambula n’eggye yabagamba nti (okugenda tugenda naye mukimanye) Mazima ddala Katonda ajja kubagezesa nga akozesa omugga. Oyo yenna anaagunywako ajja kuba takyali wamuggye lyange. Naye oyo ataagekatankire oyo nno yewange ddala, mpozzi omuntu asobola okusenayo olusena lumu n’olubatulwe. Bonna baaganywa okugyako batono mubo. Bweyamala okugusomoka wamu n'abakkiriza abaali naye, nebagamba nti olwaleero luno tetuyinza kusobola Jjaluuta n'eggye lye. Bo abaakakasa nti bagenda kusisinkana Katonda kwe kugamba nti bimeka ebibiina ebitono ku lw'obuyinza bwa Katonda ebiwangula ebibiina eby'abantu abangi, era bulijjo Katonda abeera wamu n'abagumiikiriza.
وَلَمَّا بَرَزُواْ لِجَالُوتَ وَجُنُودِهِۦ قَالُواْ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَثَبِّتۡ أَقۡدَامَنَا وَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٥٠﴾
Bwebaayolekaganya obwanga ne Jaaluuta n'eggye lye nebagamba nti, Ayi Katonda waffe tuwe obugumiikiriza otunyweze, era otutaase ku bantu abakaafiiri.
فَهَزَمُوهُم بِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَقَتَلَ دَاوُۥدُ جَالُوتَ وَءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَهُۥ مِمَّا يَشَآءُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّفَسَدَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٥١﴾
Ku lw'obuyinza bwa Katonda baabawangula. Dauda natta Jaaluuta era Katonda naamuwa obufuzi n'amagezi era nga bweyamuwa okumanya ebyo byeyayagala amanye. Singa tekyali nti Katonda aggyawo abantu nga akozesa abamu okugyawo bannaabwe, ensi yandiyonoonese. Naye mazima ddala Katonda ebitondebye abyagaliza bulungi.
۞قُلۡ أَؤُنَبِّئُكُم بِخَيۡرٖ مِّن ذَٰلِكُمۡۖ لِلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا وَأَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞ وَرِضۡوَٰنٞ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ﴿١٥﴾
Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda bategekerwa ewa Katonda waabwe e jjana nga emigga gikulukutira mu yo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe nabakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be.
ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَآ إِنَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿١٦﴾
(Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olwekyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro.
ٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡمُنفِقِينَ وَٱلۡمُسۡتَغۡفِرِينَ بِٱلۡأَسۡحَارِ ﴿١٧﴾
(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde.
إِن تَمۡسَسۡكُمۡ حَسَنَةٞ تَسُؤۡهُمۡ وَإِن تُصِبۡكُمۡ سَيِّئَةٞ يَفۡرَحُواْ بِهَاۖ وَإِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ لَا يَضُرُّكُمۡ كَيۡدُهُمۡ شَيۡـًٔاۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطٞ ﴿١٢٠﴾
Bwemutuukwako ekirungi kibanakuwaza, naye bwemugwibwako akabi (olwonno) nebasanyuka nakyo, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda enkwe zaabwe tezigenda kubatuusaako kabi konna, anti mazima Katonda byonna byebakola abyetoolodde.
وَلَقَدۡ نَصَرَكُمُ ٱللَّهُ بِبَدۡرٖ وَأَنتُمۡ أَذِلَّةٞۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿١٢٣﴾
Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, kale mutye Katonda mulyoke mube abeebaza.
إِذۡ تَقُولُ لِلۡمُؤۡمِنِينَ أَلَن يَكۡفِيَكُمۡ أَن يُمِدَّكُمۡ رَبُّكُم بِثَلَٰثَةِ ءَالَٰفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُنزَلِينَ ﴿١٢٤﴾
Jjukira bwewagamba abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu.
بَلَىٰٓۚ إِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ وَيَأۡتُوكُم مِّن فَوۡرِهِمۡ هَٰذَا يُمۡدِدۡكُمۡ رَبُّكُم بِخَمۡسَةِ ءَالَٰفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ مُسَوِّمِينَ ﴿١٢٥﴾
So nno, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga basibye ebiremba.
وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ لَكُمۡ وَلِتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُكُم بِهِۦۗ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ﴿١٢٦﴾
Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
۞لَتُبۡلَوُنَّ فِيٓ أَمۡوَٰلِكُمۡ وَأَنفُسِكُمۡ وَلَتَسۡمَعُنَّ مِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَمِنَ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ أَذٗى كَثِيرٗاۚ وَإِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ذَٰلِكَ مِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ ﴿١٨٦﴾
Mujja kugezesebwa nnyo mu mmaali zammwe nemubulamu bwa mmwe, era mujja kutuukibwako ebitasanyusa bingi okuva mwabo ab'aweebwa ekitabo oluberyeberye, n'okuva mwabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda mazima ekyo kyekimu ku bintu ebikulu.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱصۡبِرُواْ وَصَابِرُواْ وَرَابِطُواْ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿٢٠٠﴾
Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize (wabula mukimanye nti n’omulabe gwe mulwana naye agumiikiriza) n’olwekyo muvuganye naye mu kugumiikiriza (mulabe nga mumuwangula nemwekyo kibasobozese okuwangula olutalo) era munyweere nga muli mu lutalo era mutye Katonda mulyoke mubeere abalyesiima ku lunaku lw’enkomerero.
وَلَقَدۡ كُذِّبَتۡ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِكَ فَصَبَرُواْ عَلَىٰ مَا كُذِّبُواْ وَأُوذُواْ حَتَّىٰٓ أَتَىٰهُمۡ نَصۡرُنَاۚ وَلَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِ ٱللَّهِۚ وَلَقَدۡ جَآءَكَ مِن نَّبَإِيْ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿٣٤﴾
Mazima ababaka bangi olubereberye lwo baalimbisibwa ne bagumiikiriza ku e byo byebalimbisibwa, era ne bayisibwa bubi okutuusa okutaasa kwaffe lwe kwabajjira era tewali akyusa bigambo bya Katonda. Mazima ojjiddwa e bimu ku bigambo e bikwata ku babaka.
وَإِن كَانَ طَآئِفَةٞ مِّنكُمۡ ءَامَنُواْ بِٱلَّذِيٓ أُرۡسِلۡتُ بِهِۦ وَطَآئِفَةٞ لَّمۡ يُؤۡمِنُواْ فَٱصۡبِرُواْ حَتَّىٰ يَحۡكُمَ ٱللَّهُ بَيۡنَنَاۚ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلۡحَٰكِمِينَ ﴿٨٧﴾
Era bwekiba nga e kitundu ku mmwe bakkiriza ekyo kye nnatumwa nakyo, ng’ate e kitundu e kirala tebakkiriza, kale mulinde okutuusa Katonda lwanaatulamula, anti nga bulijjo yaasinga abalamuzi.
قَالَ فِرۡعَوۡنُ ءَامَنتُم بِهِۦ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَمَكۡرٞ مَّكَرۡتُمُوهُ فِي ٱلۡمَدِينَةِ لِتُخۡرِجُواْ مِنۡهَآ أَهۡلَهَاۖ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ ﴿١٢٣﴾
Firawo naagamba nti mumukkirizza nga sibawadde lukusa, (kirabika nti mazima ddala) luno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye muggya ku kimanya.
لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ ثُمَّ لَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿١٢٤﴾
Nja kubatemako e mikono n’amagulu gammwe mu mpuyi ez’enjawulo (Nga bwetutema omukono ogwa ddyo, okugulu tutema kwa kkono) ate oluvanyuma mwenna nja kubakomerera ku misaalaba.
قَالُوٓاْ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ ﴿١٢٥﴾
Nebagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.
وَمَا تَنقِمُ مِنَّآ إِلَّآ أَنۡ ءَامَنَّا بِـَٔايَٰتِ رَبِّنَا لَمَّا جَآءَتۡنَاۚ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَتَوَفَّنَا مُسۡلِمِينَ ﴿١٢٦﴾
Tolina kyotuvunaana okugyako okuba nti tukkirizza e bigambo by’a Mukama omulabirizi waffe e bitujjidde, ayi Mukama omulabirizi waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse e ntuuko yaffe nga tuli basiraamu.
وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِ فِرۡعَوۡنَ أَتَذَرُ مُوسَىٰ وَقَوۡمَهُۥ لِيُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَيَذَرَكَ وَءَالِهَتَكَۚ قَالَ سَنُقَتِّلُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَنَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡ وَإِنَّا فَوۡقَهُمۡ قَٰهِرُونَ ﴿١٢٧﴾
Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi.
قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱللَّهِ وَٱصۡبِرُوٓاْۖ إِنَّ ٱلۡأَرۡضَ لِلَّهِ يُورِثُهَا مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۖ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿١٢٨﴾
Musa naagamba abantube nti, mwekwate ku Katonda era mugumiikirize, mazima ddala ensi y’aKatonda, agisikiza abo b’aba ayagadde mu baddube, era e nkomerero (e nnungi), y'abo abatya Katonda.
قَالُوٓاْ أُوذِينَا مِن قَبۡلِ أَن تَأۡتِيَنَا وَمِنۢ بَعۡدِ مَا جِئۡتَنَاۚ قَالَ عَسَىٰ رَبُّكُمۡ أَن يُهۡلِكَ عَدُوَّكُمۡ وَيَسۡتَخۡلِفَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرَ كَيۡفَ تَعۡمَلُونَ ﴿١٢٩﴾
Nebagamba nti, mazima twabonyabonyezebwa nga tonnatujjira, n’oluvanyuma lw’okutujjira! (Musa) naagamba nti, Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kuzikiriza omulabe wa mmwe, mu kifo kya bwe azzeewo mmwe, nga abasigire mu nsi, olwo nno atunuulire alabe bwe mukola.
وَأَوۡرَثۡنَا ٱلۡقَوۡمَ ٱلَّذِينَ كَانُواْ يُسۡتَضۡعَفُونَ مَشَٰرِقَ ٱلۡأَرۡضِ وَمَغَٰرِبَهَا ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَاۖ وَتَمَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ ٱلۡحُسۡنَىٰ عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ بِمَا صَبَرُواْۖ وَدَمَّرۡنَا مَا كَانَ يَصۡنَعُ فِرۡعَوۡنُ وَقَوۡمُهُۥ وَمَا كَانُواْ يَعۡرِشُونَ ﴿١٣٧﴾
Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا لَقِيتُمۡ فِئَةٗ فَٱثۡبُتُواْ وَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرٗا لَّعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿٤٥﴾
Abange mmwe abakkiriza bwe musisinkananga e kibinja kya balabe munywere, mwogere nnyo ku Katonda, mulyoke muwangule.
وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَلَا تَنَٰزَعُواْ فَتَفۡشَلُواْ وَتَذۡهَبَ رِيحُكُمۡۖ وَٱصۡبِرُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿٤٦﴾
Era mugondere Katonda n’omubakawe, temukubagananga e mpawa ne kibanafuya, nemuggwamu amaanyi, era mugumiikirize, anti Katonda ali wamu n'abagumiikiriza.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ حَسۡبُكَ ٱللَّهُ وَمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٦٤﴾
Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ حَرِّضِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ عَلَى ٱلۡقِتَالِۚ إِن يَكُن مِّنكُمۡ عِشۡرُونَ صَٰبِرُونَ يَغۡلِبُواْ مِاْئَتَيۡنِۚ وَإِن يَكُن مِّنكُم مِّاْئَةٞ يَغۡلِبُوٓاْ أَلۡفٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِأَنَّهُمۡ قَوۡمٞ لَّا يَفۡقَهُونَ ﴿٦٥﴾
Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera.
ٱلۡـَٰٔنَ خَفَّفَ ٱللَّهُ عَنكُمۡ وَعَلِمَ أَنَّ فِيكُمۡ ضَعۡفٗاۚ فَإِن يَكُن مِّنكُم مِّاْئَةٞ صَابِرَةٞ يَغۡلِبُواْ مِاْئَتَيۡنِۚ وَإِن يَكُن مِّنكُمۡ أَلۡفٞ يَغۡلِبُوٓاْ أَلۡفَيۡنِ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿٦٦﴾
Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza.
وَٱتَّبِعۡ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيۡكَ وَٱصۡبِرۡ حَتَّىٰ يَحۡكُمَ ٱللَّهُۚ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلۡحَٰكِمِينَ ﴿١٠٩﴾
Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna.
وَلَئِنۡ أَذَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِنَّا رَحۡمَةٗ ثُمَّ نَزَعۡنَٰهَا مِنۡهُ إِنَّهُۥ لَيَـُٔوسٞ كَفُورٞ ﴿٩﴾
Omuntu bwe tumukombesa ku kusaasira okuva gye tuli ate oluvanyuma ne tukumuggyako mazima yye akutuka n'okusuubira n'akaafuwala.
وَلَئِنۡ أَذَقۡنَٰهُ نَعۡمَآءَ بَعۡدَ ضَرَّآءَ مَسَّتۡهُ لَيَقُولَنَّ ذَهَبَ ٱلسَّيِّـَٔاتُ عَنِّيٓۚ إِنَّهُۥ لَفَرِحٞ فَخُورٌ ﴿١٠﴾
Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga.
إِلَّا ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٞ ﴿١١﴾
Okugyako abo abagumiikiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'empeera ennene.
تِلۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡغَيۡبِ نُوحِيهَآ إِلَيۡكَۖ مَا كُنتَ تَعۡلَمُهَآ أَنتَ وَلَا قَوۡمُكَ مِن قَبۡلِ هَٰذَاۖ فَٱصۡبِرۡۖ إِنَّ ٱلۡعَٰقِبَةَ لِلۡمُتَّقِينَ ﴿٤٩﴾
Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammad) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (e nnungi) y’abatya Katonda.
وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ طَرَفَيِ ٱلنَّهَارِ وَزُلَفٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِۚ إِنَّ ٱلۡحَسَنَٰتِ يُذۡهِبۡنَ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ ذَٰلِكَ ذِكۡرَىٰ لِلذَّـٰكِرِينَ ﴿١١٤﴾
Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira.
وَٱصۡبِرۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿١١٥﴾
Era gumiikiriza, bulijjo Katonda tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi.
وَجَآءُو عَلَىٰ قَمِيصِهِۦ بِدَمٖ كَذِبٖۚ قَالَ بَلۡ سَوَّلَتۡ لَكُمۡ أَنفُسُكُمۡ أَمۡرٗاۖ فَصَبۡرٞ جَمِيلٞۖ وَٱللَّهُ ٱلۡمُسۡتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ ﴿١٨﴾
Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negilungiya ekintu kino gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera.
قَالَ بَلۡ سَوَّلَتۡ لَكُمۡ أَنفُسُكُمۡ أَمۡرٗاۖ فَصَبۡرٞ جَمِيلٌۖ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَأۡتِيَنِي بِهِمۡ جَمِيعًاۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٨٣﴾
(Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gya mmwe gyabayiiyirizza ekintu. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Katonda agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsonga.
قَالُوٓاْ أَءِنَّكَ لَأَنتَ يُوسُفُۖ قَالَ أَنَا۠ يُوسُفُ وَهَٰذَآ أَخِيۖ قَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَآۖ إِنَّهُۥ مَن يَتَّقِ وَيَصۡبِرۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٩٠﴾
Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi.
وَٱلَّذِينَ صَبَرُواْ ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ رَبِّهِمۡ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عُقۡبَى ٱلدَّارِ ﴿٢٢﴾
Era abo abagumiikiriza ku lw'okwagala okubeera ku ludda lwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo e sswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero.