quranm◉

Emitwe · lg

36 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:260

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٦٠﴾

Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.

Al-A'raf 7:74

وَٱذۡكُرُوٓاْ إِذۡ جَعَلَكُمۡ خُلَفَآءَ مِنۢ بَعۡدِ عَادٖ وَبَوَّأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ تَتَّخِذُونَ مِن سُهُولِهَا قُصُورٗا وَتَنۡحِتُونَ ٱلۡجِبَالَ بُيُوتٗاۖ فَٱذۡكُرُوٓاْ ءَالَآءَ ٱللَّهِ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ ﴿٧٤﴾

Era mujjukire Katonda bwe yabazza mu bigere byaba Aadi, naabatebenkeza mu nsi, nga mu bifo ebya wansi mu yo, muzimbamu amayumba amatiribona, ng’ate e nsozi muzisima nezifuuka amayumba, kale nno mujjukire e byengera bya Katonda, era temugufuula omulimu okugenda nga mwonoona ku nsi.

Al-A'raf 7:143

وَلَمَّا جَآءَ مُوسَىٰ لِمِيقَٰتِنَا وَكَلَّمَهُۥ رَبُّهُۥ قَالَ رَبِّ أَرِنِيٓ أَنظُرۡ إِلَيۡكَۚ قَالَ لَن تَرَىٰنِي وَلَٰكِنِ ٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡجَبَلِ فَإِنِ ٱسۡتَقَرَّ مَكَانَهُۥ فَسَوۡفَ تَرَىٰنِيۚ فَلَمَّا تَجَلَّىٰ رَبُّهُۥ لِلۡجَبَلِ جَعَلَهُۥ دَكّٗا وَخَرَّ مُوسَىٰ صَعِقٗاۚ فَلَمَّآ أَفَاقَ قَالَ سُبۡحَٰنَكَ تُبۡتُ إِلَيۡكَ وَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٤٣﴾

Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama omulabiriziwe n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama omulabiriziwe bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula e nsaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda e ngulu yagamba nti, oli musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu bakkiriza.

Al-A'raf 7:171

۞وَإِذۡ نَتَقۡنَا ٱلۡجَبَلَ فَوۡقَهُمۡ كَأَنَّهُۥ ظُلَّةٞ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُۥ وَاقِعُۢ بِهِمۡ خُذُواْ مَآ ءَاتَيۡنَٰكُم بِقُوَّةٖ وَٱذۡكُرُواْ مَا فِيهِ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ ﴿١٧١﴾

Era jjukira bwe twatengeesa olusozi waggulu waabwe, neruba nga manvuli, nebatuuka okulowooza nti mazima ddala lugenda kubagwako (awonno netubagamba nti) bye tubawadde mubikwate butiribiri, era mujjukire ebibirimu, olwo nno mube abatya Katonda.

Hud 11:42

وَهِيَ تَجۡرِي بِهِمۡ فِي مَوۡجٖ كَٱلۡجِبَالِ وَنَادَىٰ نُوحٌ ٱبۡنَهُۥ وَكَانَ فِي مَعۡزِلٖ يَٰبُنَيَّ ٱرۡكَب مَّعَنَا وَلَا تَكُن مَّعَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٤٢﴾

Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira).

Hud 11:43

قَالَ سَـَٔاوِيٓ إِلَىٰ جَبَلٖ يَعۡصِمُنِي مِنَ ٱلۡمَآءِۚ قَالَ لَا عَاصِمَ ٱلۡيَوۡمَ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِ إِلَّا مَن رَّحِمَۚ وَحَالَ بَيۡنَهُمَا ٱلۡمَوۡجُ فَكَانَ مِنَ ٱلۡمُغۡرَقِينَ ﴿٤٣﴾

(Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo.

Ar-Ra'd 13:31

وَلَوۡ أَنَّ قُرۡءَانٗا سُيِّرَتۡ بِهِ ٱلۡجِبَالُ أَوۡ قُطِّعَتۡ بِهِ ٱلۡأَرۡضُ أَوۡ كُلِّمَ بِهِ ٱلۡمَوۡتَىٰۗ بَل لِّلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ جَمِيعًاۗ أَفَلَمۡ يَاْيۡـَٔسِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَهَدَى ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۗ وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ تُصِيبُهُم بِمَا صَنَعُواْ قَارِعَةٌ أَوۡ تَحُلُّ قَرِيبٗا مِّن دَارِهِمۡ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ وَعۡدُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿٣١﴾

Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano.

Ibrahim 14:46

وَقَدۡ مَكَرُواْ مَكۡرَهُمۡ وَعِندَ ٱللَّهِ مَكۡرُهُمۡ وَإِن كَانَ مَكۡرُهُمۡ لِتَزُولَ مِنۡهُ ٱلۡجِبَالُ ﴿٤٦﴾

Mazima ddala bakola enkwe zaabwe naye nga enkwe zaabwe zonna ewa Katonda weziggwera, era ensozi tezibangako zaakuvaawo olw'enkwe zaabwe.

Al-Hijr 15:82

وَكَانُواْ يَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتًا ءَامِنِينَ ﴿٨٢﴾

Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe.

An-Nahl 16:68

وَأَوۡحَىٰ رَبُّكَ إِلَى ٱلنَّحۡلِ أَنِ ٱتَّخِذِي مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا وَمِنَ ٱلشَّجَرِ وَمِمَّا يَعۡرِشُونَ ﴿٦٨﴾

Era Mukama omulabiriziwo yatumira enjuki nti mukole mu nsozi amayumba (emizinga), ne mu miti ne mu ebyo bye babazimbira.

An-Nahl 16:81

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّمَّا خَلَقَ ظِلَٰلٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلۡجِبَالِ أَكۡنَٰنٗا وَجَعَلَ لَكُمۡ سَرَٰبِيلَ تَقِيكُمُ ٱلۡحَرَّ وَسَرَٰبِيلَ تَقِيكُم بَأۡسَكُمۡۚ كَذَٰلِكَ يُتِمُّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُسۡلِمُونَ ﴿٨١﴾

Era Katonda yabateerawo ebisiikirize nga bikolebwa ebimu ku ebyo bye yatonda era naabateera mu nsozi empuku (wemwekukuma) era naabateerawo ebyambalo ebibajuna ku bbugumu n'ebyambalo (ebirala) ebibakuuma mu ntalo zammwe bwatyo bwajjuliza ebyengerabye ku mmwe kibayambe okukkiriza.

Al-Isra 17:37

وَلَا تَمۡشِ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَحًاۖ إِنَّكَ لَن تَخۡرِقَ ٱلۡأَرۡضَ وَلَن تَبۡلُغَ ٱلۡجِبَالَ طُولٗا ﴿٣٧﴾

. Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu.

Al-Kahf 18:47

وَيَوۡمَ نُسَيِّرُ ٱلۡجِبَالَ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ بَارِزَةٗ وَحَشَرۡنَٰهُمۡ فَلَمۡ نُغَادِرۡ مِنۡهُمۡ أَحَدٗا ﴿٤٧﴾

. Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna.

Maryam 19:90

تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِنۡهُ وَتَنشَقُّ ٱلۡأَرۡضُ وَتَخِرُّ ٱلۡجِبَالُ هَدًّا ﴿٩٠﴾

. Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose.

Taha 20:105

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡجِبَالِ فَقُلۡ يَنسِفُهَا رَبِّي نَسۡفٗا ﴿١٠٥﴾

. Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu).

Al-Anbya 21:79

فَفَهَّمۡنَٰهَا سُلَيۡمَٰنَۚ وَكُلًّا ءَاتَيۡنَا حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَسَخَّرۡنَا مَعَ دَاوُۥدَ ٱلۡجِبَالَ يُسَبِّحۡنَ وَٱلطَّيۡرَۚ وَكُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿٧٩﴾

. (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.

Al-Hajj 22:18

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يَسۡجُدُۤ لَهُۥۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ وَٱلنُّجُومُ وَٱلۡجِبَالُ وَٱلشَّجَرُ وَٱلدَّوَآبُّ وَكَثِيرٞ مِّنَ ٱلنَّاسِۖ وَكَثِيرٌ حَقَّ عَلَيۡهِ ٱلۡعَذَابُۗ وَمَن يُهِنِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِن مُّكۡرِمٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ۩ ﴿١٨﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emunyenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi bakakatwako ebibonerezo (olwo butamuvunnamira) era omuntu Katonda gwaba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.

An-Nur 24:43

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُزۡجِي سَحَابٗا ثُمَّ يُؤَلِّفُ بَيۡنَهُۥ ثُمَّ يَجۡعَلُهُۥ رُكَامٗا فَتَرَى ٱلۡوَدۡقَ يَخۡرُجُ مِنۡ خِلَٰلِهِۦ وَيُنَزِّلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن جِبَالٖ فِيهَا مِنۢ بَرَدٖ فَيُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ وَيَصۡرِفُهُۥ عَن مَّن يَشَآءُۖ يَكَادُ سَنَا بَرۡقِهِۦ يَذۡهَبُ بِٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿٤٣﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda atambuza ebire bwamala naabikungaanya wamu oluvanyuma n'abifuula entuumu olwo n'olaba nga enkuba etonnya okuva mu byo era atonnyesa omuzira okuva waggulu mu nsozi (ez'amazzi agakutte ebitole mu bbanga) n'atuusa n'omuzira ku oyo gwaba ayagadde ate n'aguwonya oyo gwaba ayagadde. Ekitangaala ky'e kimyanso kya byo kumpi kizibe amaaso (g'abantu).

Ash-Shu'ara 26:149

وَتَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا فَٰرِهِينَ ﴿١٤٩﴾

. Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu.

An-Naml 27:88

وَتَرَى ٱلۡجِبَالَ تَحۡسَبُهَا جَامِدَةٗ وَهِيَ تَمُرُّ مَرَّ ٱلسَّحَابِۚ صُنۡعَ ٱللَّهِ ٱلَّذِيٓ أَتۡقَنَ كُلَّ شَيۡءٍۚ إِنَّهُۥ خَبِيرُۢ بِمَا تَفۡعَلُونَ ﴿٨٨﴾

. Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde ziriba zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Katonda oyo eyakola buli kintu mu nkola e singa okuba eya waggulu, mazima yye amanyidde ddala ebyo bye mukola.

Al-Ahzab 33:72

إِنَّا عَرَضۡنَا ٱلۡأَمَانَةَ عَلَى ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡجِبَالِ فَأَبَيۡنَ أَن يَحۡمِلۡنَهَا وَأَشۡفَقۡنَ مِنۡهَا وَحَمَلَهَا ٱلۡإِنسَٰنُۖ إِنَّهُۥ كَانَ ظَلُومٗا جَهُولٗا ﴿٧٢﴾

. Mazima ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye nebigaana okubwetikka nebibwesamba, ye omuntu naabwetikka (naatatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi.

Saba 34:10

۞وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ مِنَّا فَضۡلٗاۖ يَٰجِبَالُ أَوِّبِي مَعَهُۥ وَٱلطَّيۡرَۖ وَأَلَنَّا لَهُ ٱلۡحَدِيدَ ﴿١٠﴾

. Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma.

Fatir 35:27

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦ ثَمَرَٰتٖ مُّخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهَاۚ وَمِنَ ٱلۡجِبَالِ جُدَدُۢ بِيضٞ وَحُمۡرٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهَا وَغَرَابِيبُ سُودٞ ﴿٢٧﴾

. Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi.

Sad 38:18

إِنَّا سَخَّرۡنَا ٱلۡجِبَالَ مَعَهُۥ يُسَبِّحۡنَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِشۡرَاقِ ﴿١٨﴾

Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana.

Al-Waqi'ah 56:5

وَبُسَّتِ ٱلۡجِبَالُ بَسّٗا ﴿٥﴾

N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa.

Al-Hashr 59:21

لَوۡ أَنزَلۡنَا هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ عَلَىٰ جَبَلٖ لَّرَأَيۡتَهُۥ خَٰشِعٗا مُّتَصَدِّعٗا مِّنۡ خَشۡيَةِ ٱللَّهِۚ وَتِلۡكَ ٱلۡأَمۡثَٰلُ نَضۡرِبُهَا لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَتَفَكَّرُونَ ﴿٢١﴾

Singa twassa Kur'ani eno ku nsozi wandizirabye nga zigonze, era nga zimerenguse olw'okutya Katonda. Ebifaananyi ng'ebyo tubikubira abantu bibasoboseze okufumitiriza (bategeere Katonda).

Al-Haqqah 69:14

وَحُمِلَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَٱلۡجِبَالُ فَدُكَّتَا دَكَّةٗ وَٰحِدَةٗ ﴿١٤﴾

Ensi nensozi birisitulwa nebimementulwa omulundi gumu.

Al-Ma'arij 70:9

وَتَكُونُ ٱلۡجِبَالُ كَٱلۡعِهۡنِ ﴿٩﴾

Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa.

Al-Muzzammil 73:14

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلۡأَرۡضُ وَٱلۡجِبَالُ وَكَانَتِ ٱلۡجِبَالُ كَثِيبٗا مَّهِيلًا ﴿١٤﴾

Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka.

Al-Mursalat 77:10

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ نُسِفَتۡ ﴿١٠﴾

Era ensozi bwezirimerengulwa.

An-Naba 78:7

وَٱلۡجِبَالَ أَوۡتَادٗا ﴿٧﴾

N’ensozi ne tuzifuula enkondo (eziginyweza obutayuuga).

An-Naba 78:20

وَسُيِّرَتِ ٱلۡجِبَالُ فَكَانَتۡ سَرَابًا ﴿٢٠﴾

N’ensozi nezikungunsibwa ne ziba nga ezitabangawo.

An-Nazi'at 79:32

وَٱلۡجِبَالَ أَرۡسَىٰهَا ﴿٣٢﴾

N’ensozi yazisimba n'azinyweeza.

At-Takwir 81:3

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ ﴿٣﴾

Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo).

Al-Ghashiyah 88:19

وَإِلَى ٱلۡجِبَالِ كَيۡفَ نُصِبَتۡ ﴿١٩﴾

N’ensozi engeri gye zaasimbwamu?

Al-Qari'ah 101:5

وَتَكُونُ ٱلۡجِبَالُ كَٱلۡعِهۡنِ ٱلۡمَنفُوشِ ﴿٥﴾

N’ensozi lwe zirifuuka nga pamba omusuunsule afuumuuka.

Emitwe