quranm◉

Emitwe · lg

183 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:211

سَلۡ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ كَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُم مِّنۡ ءَايَةِۭ بَيِّنَةٖۗ وَمَن يُبَدِّلۡ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿٢١١﴾

Buuza abaana ba Yisirayiri nti, obujulizi obunnyonnyofu bumeka bwennabawa. Naye nno omuntu akyusa ekyengera kya Katonda nga amaze okukifuna, mazima ddala Katonda ebibonerezobye byamaanyi.

Al-Baqarah 2:246

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ مِنۢ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ مِنۢ بَعۡدِ مُوسَىٰٓ إِذۡ قَالُواْ لِنَبِيّٖ لَّهُمُ ٱبۡعَثۡ لَنَا مَلِكٗا نُّقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ قَالَ هَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِتَالُ أَلَّا تُقَٰتِلُواْۖ قَالُواْ وَمَا لَنَآ أَلَّا نُقَٰتِلَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَقَدۡ أُخۡرِجۡنَا مِن دِيَٰرِنَا وَأَبۡنَآئِنَاۖ فَلَمَّا كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقِتَالُ تَوَلَّوۡاْ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنۡهُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٢٤٦﴾

Tolaba abakungu mu baana ba Israel abaaliwo oluvanyuma lwa Musa bwe baatuuka okugamba nabbi waabwe nti tuteerewo kabaka (atukulembere) tusobole okulwana mu kkubo lya Katonda. (Nabbi) naabagamba nti ‘kyemugamba nti singa mulalikiddwako okulwana nga muli ne kabaka oyo temuugaane kulwana?’ Nebagamba nti ‘Ate lwaki tetulwana mu kkubo lya Katonda nga twagobaganyizibwa dda ffe n’abaana baffe okuva munsi yaffe? Wabula bwebaalaalikibwako okulwana baakyuka okuva ku bigambo byabwe okugyako batono mubo. Wabula nga bulijjo Katonda amanyi abalyazaamanyi.

Al-Baqarah 2:247

وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ بَعَثَ لَكُمۡ طَالُوتَ مَلِكٗاۚ قَالُوٓاْ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ عَلَيۡنَا وَنَحۡنُ أَحَقُّ بِٱلۡمُلۡكِ مِنۡهُ وَلَمۡ يُؤۡتَ سَعَةٗ مِّنَ ٱلۡمَالِۚ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰهُ عَلَيۡكُمۡ وَزَادَهُۥ بَسۡطَةٗ فِي ٱلۡعِلۡمِ وَٱلۡجِسۡمِۖ وَٱللَّهُ يُؤۡتِي مُلۡكَهُۥ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿٢٤٧﴾

Nabbi waabwe kwekubaanukula nti mazima Katonda alonze Twaluta okuba kabaka wamwe. Bo kwekugamba nti ayinza atya okuba kabaka waffe songa ffe tusaanira obw’akabaka okumusinga, ng'era teyaweebwa bugazi bwa byanfuna. (Nabbi waabwe) n'abagamba nti Mukama Katonda amulonze mu mmwe era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Katonda awa obufuzi bwe oyo gwaba ayagadde. Era Katonda mugazi era mumanyi.

Al-Baqarah 2:248

وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ءَايَةَ مُلۡكِهِۦٓ أَن يَأۡتِيَكُمُ ٱلتَّابُوتُ فِيهِ سَكِينَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَبَقِيَّةٞ مِّمَّا تَرَكَ ءَالُ مُوسَىٰ وَءَالُ هَٰرُونَ تَحۡمِلُهُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿٢٤٨﴾

Nabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwekuba nti mujja kujjirwa essanduuke ng'erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda wa mmwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haruna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba esituddwa ba malayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu obujulizi gyemuli, bwe muba ddala nga muli bakkiriza.

Ali 'Imran 3:64

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ تَعَالَوۡاْ إِلَىٰ كَلِمَةٖ سَوَآءِۭ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكُمۡ أَلَّا نَعۡبُدَ إِلَّا ٱللَّهَ وَلَا نُشۡرِكَ بِهِۦ شَيۡـٔٗا وَلَا يَتَّخِذَ بَعۡضُنَا بَعۡضًا أَرۡبَابٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِۚ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُولُواْ ٱشۡهَدُواْ بِأَنَّا مُسۡلِمُونَ ﴿٦٤﴾

(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Katonda.

Ali 'Imran 3:65

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تُحَآجُّونَ فِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَمَآ أُنزِلَتِ ٱلتَّوۡرَىٰةُ وَٱلۡإِنجِيلُ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِهِۦٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿٦٥﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat ne njili tebyajja okugyako oluvanyumalwe. Abaffe temutegeera.

Ali 'Imran 3:66

هَـٰٓأَنتُمۡ هَـٰٓؤُلَآءِ حَٰجَجۡتُمۡ فِيمَا لَكُم بِهِۦ عِلۡمٞ فَلِمَ تُحَآجُّونَ فِيمَا لَيۡسَ لَكُم بِهِۦ عِلۡمٞۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٦٦﴾

(Mwewunyisa) okuba nga mwe mwennyini mwawakana ku kyemulinako okumanya, ate kati lwaki muwakana ku kintu kyemutalinaako kumanya! so nga Katonda amanyi ate mmwe nga temumanyi.

Ali 'Imran 3:67

مَا كَانَ إِبۡرَٰهِيمُ يَهُودِيّٗا وَلَا نَصۡرَانِيّٗا وَلَٰكِن كَانَ حَنِيفٗا مُّسۡلِمٗا وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿٦٧﴾

Ibrahim tabeerangako mu yudaaya wadde omukulisitayo wabula yali mukkiriza owa nnamaddala eyewaayo ewa Katonda, era tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.

Ali 'Imran 3:68

إِنَّ أَوۡلَى ٱلنَّاسِ بِإِبۡرَٰهِيمَ لَلَّذِينَ ٱتَّبَعُوهُ وَهَٰذَا ٱلنَّبِيُّ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۗ وَٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٦٨﴾

Mazima omuntu asinga okuba okumpi ne Ibrahim, beebo abaamugoberera, noono Nabbi n’abo Abakkiriza, bulijjo Katonda abeera munne wabakkiriza.

Ali 'Imran 3:69

وَدَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَوۡ يُضِلُّونَكُمۡ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿٦٩﴾

Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebabuza okugyako myoyo gyabwe naye tebategeera.

Ali 'Imran 3:70

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَأَنتُمۡ تَشۡهَدُونَ ﴿٧٠﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima!

Ali 'Imran 3:71

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَلۡبِسُونَ ٱلۡحَقَّ بِٱلۡبَٰطِلِ وَتَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٧١﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu).

Ali 'Imran 3:72

وَقَالَت طَّآئِفَةٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ ءَامِنُواْ بِٱلَّذِيٓ أُنزِلَ عَلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَجۡهَ ٱلنَّهَارِ وَٱكۡفُرُوٓاْ ءَاخِرَهُۥ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿٧٢﴾

Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo baagamba nti mukkirize ebyassibwa kwabo abakkiriza kumakya ate mubiwakanye olweggulo oba olyawo ekyo kinaayambako nebakyusa.

Ali 'Imran 3:73

وَلَا تُؤۡمِنُوٓاْ إِلَّا لِمَن تَبِعَ دِينَكُمۡ قُلۡ إِنَّ ٱلۡهُدَىٰ هُدَى ٱللَّهِ أَن يُؤۡتَىٰٓ أَحَدٞ مِّثۡلَ مَآ أُوتِيتُمۡ أَوۡ يُحَآجُّوكُمۡ عِندَ رَبِّكُمۡۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡفَضۡلَ بِيَدِ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿٧٣﴾

Era temukkirizanga okugyako oyo ali ku ddiini yammwe, Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti: mazima obulungamu obwannamaddala bulungamu bwa Katonda, abaffe ekibakozesa ekyo lwakuba nti temwagala muntu mulala yenna kuweebwa ekiringa kyemwaweebwa (obwa Nabbi)! oba lwakutya nti bayinza okuvuganya nammwe ku lwekyo mumaaso ga Katonda (Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti mazima ebirungi biri mu mikono gya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi nnyo era mumanyi mu buli kintu.

Ali 'Imran 3:74

يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿٧٤﴾

Ayawula gwaba ayagadde mu mmwe naamuwa okusaasira kwe era Katonda ye nannyini birungi ebingi.

Ali 'Imran 3:75

۞وَمِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مَنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِقِنطَارٖ يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِدِينَارٖ لَّا يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ إِلَّا مَا دُمۡتَ عَلَيۡهِ قَآئِمٗاۗ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَيۡسَ عَلَيۡنَا فِي ٱلۡأُمِّيِّـۧنَ سَبِيلٞ وَيَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿٧٥﴾

Mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza obuvunaanyizibwa, ate mu bo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza buvunaanyizibwa, okugyako nga omwewubyeko, ekyo nno lwakuba bo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu.

Ali 'Imran 3:84

قُلۡ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا وَمَآ أُنزِلَ عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَٱلۡأَسۡبَاطِ وَمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ وَعِيسَىٰ وَٱلنَّبِيُّونَ مِن رَّبِّهِمۡ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّنۡهُمۡ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ ﴿٨٤﴾

Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti tukkiriza Katonda netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulube, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe.

Ali 'Imran 3:93

۞كُلُّ ٱلطَّعَامِ كَانَ حِلّٗا لِّبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ إِلَّا مَا حَرَّمَ إِسۡرَـٰٓءِيلُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ مِن قَبۡلِ أَن تُنَزَّلَ ٱلتَّوۡرَىٰةُۚ قُلۡ فَأۡتُواْ بِٱلتَّوۡرَىٰةِ فَٱتۡلُوهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٩٣﴾

Ebyokulya byonna byali Halali eri abaana ba Israil okugyako ebyo Israil (Yakubu) byeyeeziyiza nga Taurat tennaba kussibwa, bagambe nti muleete Taurat mugisome bwe muba nga mwogera mazima.

Ali 'Imran 3:98

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱللَّهُ شَهِيدٌ عَلَىٰ مَا تَعۡمَلُونَ ﴿٩٨﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba.

Ali 'Imran 3:99

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ مَنۡ ءَامَنَ تَبۡغُونَهَا عِوَجٗا وَأَنتُمۡ شُهَدَآءُۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿٩٩﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola.

Ali 'Imran 3:110

كُنتُمۡ خَيۡرَ أُمَّةٍ أُخۡرِجَتۡ لِلنَّاسِ تَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَتَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِۗ وَلَوۡ ءَامَنَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۚ مِّنۡهُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَأَكۡثَرُهُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿١١٠﴾

Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. singa ab'aweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bo bakkiriza nga n’abasinga obungi bagyemu.

Ali 'Imran 3:113

۞لَيۡسُواْ سَوَآءٗۗ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ أُمَّةٞ قَآئِمَةٞ يَتۡلُونَ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ وَهُمۡ يَسۡجُدُونَ ﴿١١٣﴾

Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama.

Ali 'Imran 3:199

وَإِنَّ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَمَن يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِمۡ خَٰشِعِينَ لِلَّهِ لَا يَشۡتَرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ ثَمَنٗا قَلِيلًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿١٩٩﴾

Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala.

An-Nisa 4:46

مِّنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْ يُحَرِّفُونَ ٱلۡكَلِمَ عَن مَّوَاضِعِهِۦ وَيَقُولُونَ سَمِعۡنَا وَعَصَيۡنَا وَٱسۡمَعۡ غَيۡرَ مُسۡمَعٖ وَرَٰعِنَا لَيَّۢا بِأَلۡسِنَتِهِمۡ وَطَعۡنٗا فِي ٱلدِّينِۚ وَلَوۡ أَنَّهُمۡ قَالُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَا وَٱسۡمَعۡ وَٱنظُرۡنَا لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡ وَأَقۡوَمَ وَلَٰكِن لَّعَنَهُمُ ٱللَّهُ بِكُفۡرِهِمۡ فَلَا يُؤۡمِنُونَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٤٦﴾

Mu Bayudaaya, mulimu abakyusa ebigambo nebabikozesa mu bukyamu, nebaba nga bagamba nti tuwulidde era tujeemye. Wulira naye Katonda aleme kukuwuliza, era siriwala. Nga bakyusakyusa ebigambo nennimi zaabwe, era nga bagezaako okussa ebituli mu ddiini. Singa bagamba nti tuwulidde era tugonze wulira era tulabirire, kyandibadde kirungi nnyo gyebali era nga kituufu, wabula Katonda yabakolimira olwobukafiiri bwabwe, tebakkiriza okugyako katono nnyo.

An-Nisa 4:123

لَّيۡسَ بِأَمَانِيِّكُمۡ وَلَآ أَمَانِيِّ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِۗ مَن يَعۡمَلۡ سُوٓءٗا يُجۡزَ بِهِۦ وَلَا يَجِدۡ لَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿١٢٣﴾

(Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa.

An-Nisa 4:153

يَسۡـَٔلُكَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَن تُنَزِّلَ عَلَيۡهِمۡ كِتَٰبٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ فَقَدۡ سَأَلُواْ مُوسَىٰٓ أَكۡبَرَ مِن ذَٰلِكَ فَقَالُوٓاْ أَرِنَا ٱللَّهَ جَهۡرَةٗ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّـٰعِقَةُ بِظُلۡمِهِمۡۚ ثُمَّ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ فَعَفَوۡنَا عَن ذَٰلِكَۚ وَءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا ﴿١٥٣﴾

Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa).

An-Nisa 4:159

وَإِن مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ إِلَّا لَيُؤۡمِنَنَّ بِهِۦ قَبۡلَ مَوۡتِهِۦۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ شَهِيدٗا ﴿١٥٩﴾

Mazima tewali n’omu mwabo ab'aweebwa e kitabo okugyako nga agenda ku mukkiriza nga tannafa, nga ne ku lunaku lw’enkomerero agenda kubawaako obujulizi.

An-Nisa 4:160

فَبِظُلۡمٖ مِّنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا عَلَيۡهِمۡ طَيِّبَٰتٍ أُحِلَّتۡ لَهُمۡ وَبِصَدِّهِمۡ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ كَثِيرٗا ﴿١٦٠﴾

Okusinziira kukweyisa obubi kwa ba Yudaaya, twaziza ku bo ebirungi ebyali bibakkiriziddwa, ne ku lwo kwekiika kwabwe mu kkubo lya Katonda.

An-Nisa 4:164

وَرُسُلٗا قَدۡ قَصَصۡنَٰهُمۡ عَلَيۡكَ مِن قَبۡلُ وَرُسُلٗا لَّمۡ نَقۡصُصۡهُمۡ عَلَيۡكَۚ وَكَلَّمَ ٱللَّهُ مُوسَىٰ تَكۡلِيمٗا ﴿١٦٤﴾

N’ababaka abalala twabakunyumiza dda ate nga ababaka abalala tetwabakunyumiza, era mazima Katonda yayogera ne Musa olwogera (nga tewali Mubaka wakati waabwe).

An-Nisa 4:171

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَا تَغۡلُواْ فِي دِينِكُمۡ وَلَا تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡحَقَّۚ إِنَّمَا ٱلۡمَسِيحُ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ رَسُولُ ٱللَّهِ وَكَلِمَتُهُۥٓ أَلۡقَىٰهَآ إِلَىٰ مَرۡيَمَ وَرُوحٞ مِّنۡهُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۖ وَلَا تَقُولُواْ ثَلَٰثَةٌۚ ٱنتَهُواْ خَيۡرٗا لَّكُمۡۚ إِنَّمَا ٱللَّهُ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ سُبۡحَٰنَهُۥٓ أَن يَكُونَ لَهُۥ وَلَدٞۘ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا ﴿١٧١﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekyetaagisa, nga mutuukiriza eddiini yammwe, era temwogeranga ku Katonda okugyako amazima, mazima ddala Masiya Isa mutabani wa Mariam mubaka wa Katonda, era kigambokye, kyeyawa Mariam, era mwoyo ogwava gyali. Kale temugamba nti basatu, ekyo mukikomye, kyekirungi gyemuli, mazima ddala Katonda ali Katonda omu, yayawukana (tasaana) kuba namwana, bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi , bulijjo kimala okuba nti Katonda y’ayimiriddeko ensonga ya buli kintu.

Al-Ma'idah 5:12

۞وَلَقَدۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَبَعَثۡنَا مِنۡهُمُ ٱثۡنَيۡ عَشَرَ نَقِيبٗاۖ وَقَالَ ٱللَّهُ إِنِّي مَعَكُمۡۖ لَئِنۡ أَقَمۡتُمُ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَيۡتُمُ ٱلزَّكَوٰةَ وَءَامَنتُم بِرُسُلِي وَعَزَّرۡتُمُوهُمۡ وَأَقۡرَضۡتُمُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا لَّأُكَفِّرَنَّ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَلَأُدۡخِلَنَّكُمۡ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ فَمَن كَفَرَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ مِنكُمۡ فَقَدۡ ضَلَّ سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ ﴿١٢﴾

Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu.

Al-Ma'idah 5:15

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ قَدۡ جَآءَكُمۡ رَسُولُنَا يُبَيِّنُ لَكُمۡ كَثِيرٗا مِّمَّا كُنتُمۡ تُخۡفُونَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَيَعۡفُواْ عَن كَثِيرٖۚ قَدۡ جَآءَكُم مِّنَ ٱللَّهِ نُورٞ وَكِتَٰبٞ مُّبِينٞ ﴿١٥﴾

Abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mazima omubaka waffe yabajjira abategeeze bingi byemwaali mukweka mu kitabo, mu ngeri yeemu asonyiwe bingi, mazima kyabajjira ekitangaala n’ekitabo ekyeyolefu okuva eri Katonda.

Al-Ma'idah 5:18

وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ وَٱلنَّصَٰرَىٰ نَحۡنُ أَبۡنَـٰٓؤُاْ ٱللَّهِ وَأَحِبَّـٰٓؤُهُۥۚ قُلۡ فَلِمَ يُعَذِّبُكُم بِذُنُوبِكُمۖ بَلۡ أَنتُم بَشَرٞ مِّمَّنۡ خَلَقَۚ يَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۚ وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۖ وَإِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿١٨﴾

Era Abayudaaya n'aba Krisitayo bagamba nti ffe tuli baana ba Katonda era mikwanogye, bagambe ate lwaki alibabonereza olwebyonoono byammwe, ekituufu kiri nti mmwe muli bantu nga abalala beyatonda, asonyiwa gwaba ayagadde, era naabonereza gwaba ayagadde, era obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi bya Katonda, ate nga gyali yeeri obuddo.

Al-Ma'idah 5:19

يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ قَدۡ جَآءَكُمۡ رَسُولُنَا يُبَيِّنُ لَكُمۡ عَلَىٰ فَتۡرَةٖ مِّنَ ٱلرُّسُلِ أَن تَقُولُواْ مَا جَآءَنَا مِنۢ بَشِيرٖ وَلَا نَذِيرٖۖ فَقَدۡ جَآءَكُم بَشِيرٞ وَنَذِيرٞۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٩﴾

Abange mmwe abaweebwa ekitabo, mazima abagyidde omubaka waffe nga abayigiriza oluvanyuma lwokuyitawo akaseera nga tewali mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’ejjana oba okututiisa omuliro, ekituufu kiri nti abawa amawulire agessanyu, era nga abatiisa n’omuliro yabajjira. Bulijjo Katonda muyinza waabuli kintu.

Al-Ma'idah 5:20

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ جَعَلَ فِيكُمۡ أَنۢبِيَآءَ وَجَعَلَكُم مُّلُوكٗا وَءَاتَىٰكُم مَّا لَمۡ يُؤۡتِ أَحَدٗا مِّنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٠﴾

Era mujjukire Musa bweyagamba abantu be nti abange, bantu bange, mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa bwe yabassaamu ba Nabbi (abangi), era mmwe n'abawa obuyinza era n'abawa ebintu byataawa muntu mulala yenna mu bitondebye.

Al-Ma'idah 5:21

يَٰقَوۡمِ ٱدۡخُلُواْ ٱلۡأَرۡضَ ٱلۡمُقَدَّسَةَ ٱلَّتِي كَتَبَ ٱللَّهُ لَكُمۡ وَلَا تَرۡتَدُّواْ عَلَىٰٓ أَدۡبَارِكُمۡ فَتَنقَلِبُواْ خَٰسِرِينَ ﴿٢١﴾

Abange bantu bange (mulwane) muyingire ensi entukuvu eyo Katonda gyeyabalagaanyisa, temukyukanga nemukubayo amabega (nemudduka) nemufuuka abafaafaganiddwa.

Al-Ma'idah 5:22

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّ فِيهَا قَوۡمٗا جَبَّارِينَ وَإِنَّا لَن نَّدۡخُلَهَا حَتَّىٰ يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا فَإِن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا فَإِنَّا دَٰخِلُونَ ﴿٢٢﴾

Nebagamba nti owange Musa mazima ensi eyo, erimu abantu bakirimaanyi, era mazima tetuyinza kuyingira mpozzi nga bagifulumye, bwebagifuluma olwo ffe nga tuyingira.

Al-Ma'idah 5:23

قَالَ رَجُلَانِ مِنَ ٱلَّذِينَ يَخَافُونَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمَا ٱدۡخُلُواْ عَلَيۡهِمُ ٱلۡبَابَ فَإِذَا دَخَلۡتُمُوهُ فَإِنَّكُمۡ غَٰلِبُونَۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَتَوَكَّلُوٓاْ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿٢٣﴾

Abasajja babiri mwabo abatya Katonda, nga era Katonda yabawa ekyengera kyobukkiriza nebagamba nti, mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, kemuyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Katonda yekka gwemuba mwekwatako, bwe muba nga muli bakkiriza.

Al-Ma'idah 5:24

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّا لَن نَّدۡخُلَهَآ أَبَدٗا مَّا دَامُواْ فِيهَا فَٱذۡهَبۡ أَنتَ وَرَبُّكَ فَقَٰتِلَآ إِنَّا هَٰهُنَا قَٰعِدُونَ ﴿٢٤﴾

Nebagamba nti owange Musa, mazima ffe tetujja kukiyingira ebbanga lye banaamala nga bakyakirimu, ggwe ne Katonda wo mugende mulwane ffe tusigadde wano.

Al-Ma'idah 5:32

مِنۡ أَجۡلِ ذَٰلِكَ كَتَبۡنَا عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ أَنَّهُۥ مَن قَتَلَ نَفۡسَۢا بِغَيۡرِ نَفۡسٍ أَوۡ فَسَادٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَكَأَنَّمَا قَتَلَ ٱلنَّاسَ جَمِيعٗا وَمَنۡ أَحۡيَاهَا فَكَأَنَّمَآ أَحۡيَا ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۚ وَلَقَدۡ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُنَا بِٱلۡبَيِّنَٰتِ ثُمَّ إِنَّ كَثِيرٗا مِّنۡهُم بَعۡدَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡأَرۡضِ لَمُسۡرِفُونَ ﴿٣٢﴾

Okusinziira ku ekyo twassa etteeka ku baana ba Israil nti mazima oyo atta omuntu atatemudde muntu, oba atakoze bwonoonefu mu nsi, mazima ddala aba nga asse abantu bonna., ate ataasa obulamu bw'omuntu omu aba nga ataasizza obulamu bwa bantu bonna, (ebyo abayudaaya baalibadde babitegeera) anti mazima ababaka baffe babaleetera amateeka amannyonnyofu, naye ate oluvanyuma lwekyo mazima bangi ku bo baasigala beeyisa bubi mu nsi.

Al-Ma'idah 5:41

۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلرَّسُولُ لَا يَحۡزُنكَ ٱلَّذِينَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡكُفۡرِ مِنَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِأَفۡوَٰهِهِمۡ وَلَمۡ تُؤۡمِن قُلُوبُهُمۡۛ وَمِنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْۛ سَمَّـٰعُونَ لِلۡكَذِبِ سَمَّـٰعُونَ لِقَوۡمٍ ءَاخَرِينَ لَمۡ يَأۡتُوكَۖ يُحَرِّفُونَ ٱلۡكَلِمَ مِنۢ بَعۡدِ مَوَاضِعِهِۦۖ يَقُولُونَ إِنۡ أُوتِيتُمۡ هَٰذَا فَخُذُوهُ وَإِن لَّمۡ تُؤۡتَوۡهُ فَٱحۡذَرُواْۚ وَمَن يُرِدِ ٱللَّهُ فِتۡنَتَهُۥ فَلَن تَمۡلِكَ لَهُۥ مِنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَمۡ يُرِدِ ٱللَّهُ أَن يُطَهِّرَ قُلُوبَهُمۡۚ لَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٞ ﴿٤١﴾

Owange ggwe omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo abagamba n'emimwa gyaabwe nti tukkirizza so nga e mitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza e bigambo byobulimba, era abawuliriza kulwa bantu abalala ababa tebazze mu nkungaanazo nebakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwemuweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Katonda gwaba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Katonda, abo beebo Katonda baatayagala kutukuza mitima gyaabwe, obuswaavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kussibwaako ebibonerezo ebikambwe.

Al-Ma'idah 5:44

إِنَّآ أَنزَلۡنَا ٱلتَّوۡرَىٰةَ فِيهَا هُدٗى وَنُورٞۚ يَحۡكُمُ بِهَا ٱلنَّبِيُّونَ ٱلَّذِينَ أَسۡلَمُواْ لِلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلرَّبَّـٰنِيُّونَ وَٱلۡأَحۡبَارُ بِمَا ٱسۡتُحۡفِظُواْ مِن كِتَٰبِ ٱللَّهِ وَكَانُواْ عَلَيۡهِ شُهَدَآءَۚ فَلَا تَخۡشَوُاْ ٱلنَّاسَ وَٱخۡشَوۡنِ وَلَا تَشۡتَرُواْ بِـَٔايَٰتِي ثَمَنٗا قَلِيلٗاۚ وَمَن لَّمۡ يَحۡكُم بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿٤٤﴾

Mazima ffe twassa Taurat nga erimu obulungamu nekitangaala, bannabbi ba bayudaaya era bulijjo abamanyiddwa nti beewaayo eri Katonda, nga gyebakozesa okulamula abayudaaya, nga ne banna ddiini n'abakugu mu ddiini nga gyebalamuza olwobwesigwa obwabakwasibwa nga buva mu Kitabo kya Katonda babe nga bakuuma Taurat, era ku ekyo baali bajulizi kale nno temutyanga abantu mutye nze, ebigambo byange temubiwanyisangamu omuwendo omutono, oyo yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa, abo nno be bakaafiiri abannamaddala.

Al-Ma'idah 5:51

۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ ٱلۡيَهُودَ وَٱلنَّصَٰرَىٰٓ أَوۡلِيَآءَۘ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۚ وَمَن يَتَوَلَّهُم مِّنكُمۡ فَإِنَّهُۥ مِنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٥١﴾

Abange mmwe abakkiriza temuufulanga abayudaaya n'abakrisitayo mikwano gyammwe ab'omunda, anti abamu ffa nfe w’abalala, yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse wa mu bo, anti mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

Al-Ma'idah 5:59

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ هَلۡ تَنقِمُونَ مِنَّآ إِلَّآ أَنۡ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡنَا وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلُ وَأَنَّ أَكۡثَرَكُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿٥٩﴾

Gamba nti: abange mmwe abaaweebwa e kitabo, abaffe waliwo kyemutunyiigira okugyako okuba nti tukkiriza Katonda n'ebyo e byassibwa gyetuli, n'ebyo e byassibwa oluberyeberye era nga na lwakuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi.

Al-Ma'idah 5:64

وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ يَدُ ٱللَّهِ مَغۡلُولَةٌۚ غُلَّتۡ أَيۡدِيهِمۡ وَلُعِنُواْ بِمَا قَالُواْۘ بَلۡ يَدَاهُ مَبۡسُوطَتَانِ يُنفِقُ كَيۡفَ يَشَآءُۚ وَلَيَزِيدَنَّ كَثِيرٗا مِّنۡهُم مَّآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗاۚ وَأَلۡقَيۡنَا بَيۡنَهُمُ ٱلۡعَدَٰوَةَ وَٱلۡبَغۡضَآءَ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ كُلَّمَآ أَوۡقَدُواْ نَارٗا لِّلۡحَرۡبِ أَطۡفَأَهَا ٱللَّهُۚ وَيَسۡعَوۡنَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَسَادٗاۚ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿٦٤﴾

Abayudaaya baagamba nti omukono gwa Katonda mu kolige, emikono gyabwe gye gyakoligibwa, ne bakolimirwa olwebyo byebayogera, e kituufu kiri nti e mikono gye gyombiriri myanjulukufu agaba nga bwayagala, e byo ebyassibwa gyoli okuva ewa Katonda wo bijja kwongerera ddala bangi mu bo obubuze nobukafiiri, era twassa wakati waabwe obulabe n'obukyayi okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, buli lwonna lwe bakoleeza omuliro gw’olutalo nga Katonda aguzikiza, era basaasaanya mu nsi obwonoonefu, naye bulijjo Katonda tayagala boonoonyi.

Al-Ma'idah 5:65

وَلَوۡ أَنَّ أَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ ءَامَنُواْ وَٱتَّقَوۡاْ لَكَفَّرۡنَا عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَأَدۡخَلۡنَٰهُمۡ جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ ﴿٦٥﴾

So singa ddala abaaweebwa e kitabo bakkiriza nebatya Katonda twandibasonyiye e byonoono byabwe, era twandibayingizza e jjana ey’ebyengera.

Al-Ma'idah 5:66

وَلَوۡ أَنَّهُمۡ أَقَامُواْ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِم مِّن رَّبِّهِمۡ لَأَكَلُواْ مِن فَوۡقِهِمۡ وَمِن تَحۡتِ أَرۡجُلِهِمۚ مِّنۡهُمۡ أُمَّةٞ مُّقۡتَصِدَةٞۖ وَكَثِيرٞ مِّنۡهُمۡ سَآءَ مَا يَعۡمَلُونَ ﴿٦٦﴾

Era mazima singa bo bayimirizaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gye bali okuva ewa Katonda waabwe, bandiridde okuva waggulu waabwe ne wansi w'ebigere byabwe, mu bo mulimu Abantu abeesimbu naye abangi mu bo byebakola bibi.

Al-Ma'idah 5:67

۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلرَّسُولُ بَلِّغۡ مَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَۖ وَإِن لَّمۡ تَفۡعَلۡ فَمَا بَلَّغۡتَ رِسَالَتَهُۥۚ وَٱللَّهُ يَعۡصِمُكَ مِنَ ٱلنَّاسِۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٦٧﴾

Owange Ggwe omubaka tuusa gyebali ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Katondawo, bwotakikole ojja kuba totuukirizza bubakabwe (totya) Katonda ajja kukuuma ku Bantu, mazima Katonda talungamya kibiina kya bakaafiiri.

Al-Ma'idah 5:68

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَسۡتُمۡ عَلَىٰ شَيۡءٍ حَتَّىٰ تُقِيمُواْ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُم مِّن رَّبِّكُمۡۗ وَلَيَزِيدَنَّ كَثِيرٗا مِّنۡهُم مَّآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗاۖ فَلَا تَأۡسَ عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٦٨﴾

Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti temulina kyemuliko okugyako nga muyimirizzaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gyemuli okuva ewa mukama omulabirizi wa mmwe. ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabirizi wo bijja kwongera bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, tonakuwala olwa bantu abakaafiiri.

Emitwe