quranm◉

Emitwe · lg

52 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:50

وَإِذۡ فَرَقۡنَا بِكُمُ ٱلۡبَحۡرَ فَأَنجَيۡنَٰكُمۡ وَأَغۡرَقۡنَآ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ وَأَنتُمۡ تَنظُرُونَ ﴿٥٠﴾

Era mujjukire lwe twabakubira e kkubo mu nnyanja ne tubawonya, ate ne tuzikiriza abantu ba Firaawo nga nammwe mulaba.

Al-Baqarah 2:164

إِنَّ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَٱلۡفُلۡكِ ٱلَّتِي تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِمَا يَنفَعُ ٱلنَّاسَ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن مَّآءٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَآبَّةٖ وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ وَٱلسَّحَابِ ٱلۡمُسَخَّرِ بَيۡنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿١٦٤﴾

Mazima mu kutonda eggulu ery'emiko omusanvu ne nsi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Katonda gassa okuva wa ggulu, n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okuba nga efudde, nassa mu nsi buli kiramu ekigiriko, n'okutambuza empewo era n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu ne nsi. (Ebyo byonna) bubonero obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe eri abantu abategeera.

Al-Ma'idah 5:96

أُحِلَّ لَكُمۡ صَيۡدُ ٱلۡبَحۡرِ وَطَعَامُهُۥ مَتَٰعٗا لَّكُمۡ وَلِلسَّيَّارَةِۖ وَحُرِّمَ عَلَيۡكُمۡ صَيۡدُ ٱلۡبَرِّ مَا دُمۡتُمۡ حُرُمٗاۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِيٓ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ﴿٩٦﴾

Mukkirizibwa okuvuba n'okulya e biva mu nnyanja ku lw'okuyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'obwabatambuze naye mugaaniddwa okuyigga ku lukalu ebbanga lyemumala nga muli mu mizizo gya Hijja ne Umrah, bulijjo mutye Katonda oyo gyali gye mulikunganyizibwa.

Al-An'am 6:59

۞وَعِندَهُۥ مَفَاتِحُ ٱلۡغَيۡبِ لَا يَعۡلَمُهَآ إِلَّا هُوَۚ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۚ وَمَا تَسۡقُطُ مِن وَرَقَةٍ إِلَّا يَعۡلَمُهَا وَلَا حَبَّةٖ فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡأَرۡضِ وَلَا رَطۡبٖ وَلَا يَابِسٍ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ ﴿٥٩﴾

Era yye y'alina e bisumuluzo bye by’ekusifu tewali abimanyi okugyako yye, era amanyi e biri ku lukalu ne mu nyanja, era tewali kikoola kigwa okugyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza bye ttaka wadde e kibisi oba e kikalu kyonna okugyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu.

Al-An'am 6:63

قُلۡ مَن يُنَجِّيكُم مِّن ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ تَدۡعُونَهُۥ تَضَرُّعٗا وَخُفۡيَةٗ لَّئِنۡ أَنجَىٰنَا مِنۡ هَٰذِهِۦ لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿٦٣﴾

Gamba ani ayinza okubataasa ku nzikiza yo'lukalu n’enizikiza y'enyanja, nemuba nga mumusaba olw'okulaga obugonvu mu lwatu ne mu kyama nemutuuka n'okugamba nti singa (gwetusaba) atuwonya obuzibu buno tujja kubeerera ddala mu beebaza.

Al-An'am 6:97

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلنُّجُومَ لِتَهۡتَدُواْ بِهَا فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٩٧﴾

Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi.

Al-A'raf 7:138

وَجَٰوَزۡنَا بِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡبَحۡرَ فَأَتَوۡاْ عَلَىٰ قَوۡمٖ يَعۡكُفُونَ عَلَىٰٓ أَصۡنَامٖ لَّهُمۡۚ قَالُواْ يَٰمُوسَى ٱجۡعَل لَّنَآ إِلَٰهٗا كَمَا لَهُمۡ ءَالِهَةٞۚ قَالَ إِنَّكُمۡ قَوۡمٞ تَجۡهَلُونَ ﴿١٣٨﴾

Netusomosa abaana ba Israil e nnyanja, nebayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, nebagamba nti owange (Musa) tuteerewo e kisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) naagamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera.

Al-A'raf 7:163

وَسۡـَٔلۡهُمۡ عَنِ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَتۡ حَاضِرَةَ ٱلۡبَحۡرِ إِذۡ يَعۡدُونَ فِي ٱلسَّبۡتِ إِذۡ تَأۡتِيهِمۡ حِيتَانُهُمۡ يَوۡمَ سَبۡتِهِمۡ شُرَّعٗا وَيَوۡمَ لَا يَسۡبِتُونَ لَا تَأۡتِيهِمۡۚ كَذَٰلِكَ نَبۡلُوهُم بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿١٦٣﴾

Babuuze ebikwata ku kitundu e kyali ku lubalama lwe nyanja, bwe baamenya e tteeka erikwata ku lunaku lw’omukaaga, olw'okuba e byennyanja byabwe bya bajjiranga, mu bungi ate nga ku lunaku olutali lw’amukaaga nga tebibajjira, bwe tutyo bwe tubakema olw'ebyo bye baakola mu bwonoonyi.

Yunus 10:22

هُوَ ٱلَّذِي يُسَيِّرُكُمۡ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِۖ حَتَّىٰٓ إِذَا كُنتُمۡ فِي ٱلۡفُلۡكِ وَجَرَيۡنَ بِهِم بِرِيحٖ طَيِّبَةٖ وَفَرِحُواْ بِهَا جَآءَتۡهَا رِيحٌ عَاصِفٞ وَجَآءَهُمُ ٱلۡمَوۡجُ مِن كُلِّ مَكَانٖ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ أُحِيطَ بِهِمۡ دَعَوُاْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ لَئِنۡ أَنجَيۡتَنَا مِنۡ هَٰذِهِۦ لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿٢٢﴾

(Katonda) yye yooyo abatambuza ku lukalu ne ku mazzi okutuusa bwe muba nga muli mu lyato (amaato) negatambula n'abantu abagaliko nga gaseeyeeya mu mpewo e nnungi era negabasanyusa ate nno baba balyawo e mpewo erimu kibuyaga neebajjira n'amayengo negabajjira okuva mu mpuyi zonna, nebatuuka n'okulowooza nti obwabwe bukomye, awo nno basaba Katonda ng'okusaba kwonna bakwolekeza ye yekka era nga bagamba nti n'omala otuwonya e kizibu kino tujja kubeerera ddala mubeebaza.

Yunus 10:90

۞وَجَٰوَزۡنَا بِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡبَحۡرَ فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ وَجُنُودُهُۥ بَغۡيٗا وَعَدۡوًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَآ أَدۡرَكَهُ ٱلۡغَرَقُ قَالَ ءَامَنتُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱلَّذِيٓ ءَامَنَتۡ بِهِۦ بَنُوٓاْ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَأَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ ﴿٩٠﴾

Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Firawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okugyako oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse.

Ibrahim 14:32

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجَ بِهِۦ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ رِزۡقٗا لَّكُمۡۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡفُلۡكَ لِتَجۡرِيَ فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡأَنۡهَٰرَ ﴿٣٢﴾

Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naatonnyesa okuva waggulu, amazzi n'ameza nago ebibala nga bya kulya bya mmwe, era yabagondeza amaato okuba nga gatambulira ku nyanja ku lw'obuyinzabwe era naabagondeza emigga.

An-Nahl 16:14

وَهُوَ ٱلَّذِي سَخَّرَ ٱلۡبَحۡرَ لِتَأۡكُلُواْ مِنۡهُ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُواْ مِنۡهُ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ مَوَاخِرَ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿١٤﴾

Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza.

Al-Isra 17:66

رَّبُّكُمُ ٱلَّذِي يُزۡجِي لَكُمُ ٱلۡفُلۡكَ فِي ٱلۡبَحۡرِ لِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِكُمۡ رَحِيمٗا ﴿٦٦﴾

. Mukama Katonda wa mmwe yooyo abatambuliza amaato mu nyanja musobole okunoonya ebimu ku bigabwabye, mazima yye ku mmwe musaasizi nnyo.

Al-Isra 17:67

وَإِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فِي ٱلۡبَحۡرِ ضَلَّ مَن تَدۡعُونَ إِلَّآ إِيَّاهُۖ فَلَمَّا نَجَّىٰكُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ أَعۡرَضۡتُمۡۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ كَفُورًا ﴿٦٧﴾

. Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okugyako yye, naye bwabawonya nemudda ku lukalu ate olwo nemuddayo. Era anti bulijjo omuntu mwegaanyi.

Al-Isra 17:70

۞وَلَقَدۡ كَرَّمۡنَا بَنِيٓ ءَادَمَ وَحَمَلۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّمَّنۡ خَلَقۡنَا تَفۡضِيلٗا ﴿٧٠﴾

. Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.

Al-Kahf 18:60

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِفَتَىٰهُ لَآ أَبۡرَحُ حَتَّىٰٓ أَبۡلُغَ مَجۡمَعَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ أَوۡ أَمۡضِيَ حُقُبٗا ﴿٦٠﴾

. Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale).

Al-Kahf 18:61

فَلَمَّا بَلَغَا مَجۡمَعَ بَيۡنِهِمَا نَسِيَا حُوتَهُمَا فَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ سَرَبٗا ﴿٦١﴾

. Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa.

Al-Kahf 18:63

قَالَ أَرَءَيۡتَ إِذۡ أَوَيۡنَآ إِلَى ٱلصَّخۡرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ ٱلۡحُوتَ وَمَآ أَنسَىٰنِيهُ إِلَّا ٱلشَّيۡطَٰنُ أَنۡ أَذۡكُرَهُۥۚ وَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ عَجَبٗا ﴿٦٣﴾

. (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa.

Al-Kahf 18:79

أَمَّا ٱلسَّفِينَةُ فَكَانَتۡ لِمَسَٰكِينَ يَعۡمَلُونَ فِي ٱلۡبَحۡرِ فَأَرَدتُّ أَنۡ أَعِيبَهَا وَكَانَ وَرَآءَهُم مَّلِكٞ يَأۡخُذُ كُلَّ سَفِينَةٍ غَصۡبٗا ﴿٧٩﴾

. Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi.

Al-Kahf 18:109

قُل لَّوۡ كَانَ ٱلۡبَحۡرُ مِدَادٗا لِّكَلِمَٰتِ رَبِّي لَنَفِدَ ٱلۡبَحۡرُ قَبۡلَ أَن تَنفَدَ كَلِمَٰتُ رَبِّي وَلَوۡ جِئۡنَا بِمِثۡلِهِۦ مَدَدٗا ﴿١٠٩﴾

. Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) ebigambo bya Mukama omulabirizi wange, ennyanja zandikalidde, nga ebigambo bya Mukama omulabirizi wange tebinnagwayo, nebwetandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba.

Taha 20:77

وَلَقَدۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِي فَٱضۡرِبۡ لَهُمۡ طَرِيقٗا فِي ٱلۡبَحۡرِ يَبَسٗا لَّا تَخَٰفُ دَرَكٗا وَلَا تَخۡشَىٰ ﴿٧٧﴾

. Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo).

Al-Hajj 22:65

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦ وَيُمۡسِكُ ٱلسَّمَآءَ أَن تَقَعَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿٦٥﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeya ku nnyanja olw'ekiragirokye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Katonda mukwata mpola musaasizi nnyo eri abantu.

Al-Furqan 25:53

۞وَهُوَ ٱلَّذِي مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞ وَجَعَلَ بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٗا وَحِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا ﴿٥٣﴾

. Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.

Ash-Shu'ara 26:63

فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡبَحۡرَۖ فَٱنفَلَقَ فَكَانَ كُلُّ فِرۡقٖ كَٱلطَّوۡدِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿٦٣﴾

. Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene.

An-Naml 27:61

أَمَّن جَعَلَ ٱلۡأَرۡضَ قَرَارٗا وَجَعَلَ خِلَٰلَهَآ أَنۡهَٰرٗا وَجَعَلَ لَهَا رَوَٰسِيَ وَجَعَلَ بَيۡنَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ حَاجِزًاۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٦١﴾

. Abaffe ani oyo eyassaawo ensi nga nteefu naagissaamu e migga, naagiwa ensozi (nga nkondo) n'assa wakati w'ennyanja e bbiri (ey'omunnyu ne etali) ekyayawula (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! wabula (ekibakozesa ekyo) lwakuba nti abasinga obungi mu bo tebamanyi.

An-Naml 27:63

أَمَّن يَهۡدِيكُمۡ فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَمَن يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦٓۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ تَعَٰلَى ٱللَّهُ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿٦٣﴾

. Abaffe ani oyo abalaga ekkubo mu bizikiza by'olukalu ne nnyanja era ani oyo asindika e mpewo nga zireeta essanyu (e nkuba) nga liva mu mikono gy'okusaasirakwe (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, Katonda musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.

Ar-Rum 30:41

ظَهَرَ ٱلۡفَسَادُ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ بِمَا كَسَبَتۡ أَيۡدِي ٱلنَّاسِ لِيُذِيقَهُم بَعۡضَ ٱلَّذِي عَمِلُواْ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿٤١﴾

. Obwonoonefu bweyolese ku lukalu ne ku nnyanja olw'ebyo emikono gy'abantu bye gikola, (Katonda) alyoke abakombese ku bukaawu bw'ebimu ku ebyo bye baakola, balyoke beekomeko.

Luqman 31:27

وَلَوۡ أَنَّمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن شَجَرَةٍ أَقۡلَٰمٞ وَٱلۡبَحۡرُ يَمُدُّهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦ سَبۡعَةُ أَبۡحُرٖ مَّا نَفِدَتۡ كَلِمَٰتُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٧﴾

. Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

Luqman 31:31

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ لِيُرِيَكُم مِّنۡ ءَايَٰتِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ ﴿٣١﴾

. Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza.

Fatir 35:12

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡبَحۡرَانِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ سَآئِغٞ شَرَابُهُۥ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞۖ وَمِن كُلّٖ تَأۡكُلُونَ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُونَ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ فِيهِ مَوَاخِرَ لِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿١٢﴾

. Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza.

Ash-Shuraa 42:32

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلۡجَوَارِ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ﴿٣٢﴾

Era mu bubonero bwe g’emaato agaseyeeya ku nyanja nga galinga ensozi.

Ad-Dukhan 44:24

وَٱتۡرُكِ ٱلۡبَحۡرَ رَهۡوًاۖ إِنَّهُمۡ جُندٞ مُّغۡرَقُونَ ﴿٢٤﴾

(Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa.

At-Tur 52:6

وَٱلۡبَحۡرِ ٱلۡمَسۡجُورِ ﴿٦﴾

Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi.

Ar-Rahman 55:19

مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ يَلۡتَقِيَانِ ﴿١٩﴾

Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana.

Ar-Rahman 55:24

وَلَهُ ٱلۡجَوَارِ ٱلۡمُنشَـَٔاتُ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ﴿٢٤﴾

Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi.

Al-A'raf 7:136

فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّ بِأَنَّهُمۡ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ عَنۡهَا غَٰفِلِينَ ﴿١٣٦﴾

Olwo nno netubalaga obusungu bwaffe, netubazikiriza mu nnyanja olw'okuba nti, mazima bo baalimbisa e bigambo byaffe, era nga ku byo baali bagayaavu.

An-Nahl 16:48

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٖ يَتَفَيَّؤُاْ ظِلَٰلُهُۥ عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَٱلشَّمَآئِلِ سُجَّدٗا لِّلَّهِ وَهُمۡ دَٰخِرُونَ ﴿٤٨﴾

Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera.

Taha 20:39

أَنِ ٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلتَّابُوتِ فَٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ فَلۡيُلۡقِهِ ٱلۡيَمُّ بِٱلسَّاحِلِ يَأۡخُذۡهُ عَدُوّٞ لِّي وَعَدُوّٞ لَّهُۥۚ وَأَلۡقَيۡتُ عَلَيۡكَ مَحَبَّةٗ مِّنِّي وَلِتُصۡنَعَ عَلَىٰ عَيۡنِيٓ ﴿٣٩﴾

. (Netumugamba) nti musse mu sanduke (bwomala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva gyendi, era olyoke obeere mu kulabirirwa kwange.

Taha 20:78

فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ بِجُنُودِهِۦ فَغَشِيَهُم مِّنَ ٱلۡيَمِّ مَا غَشِيَهُمۡ ﴿٧٨﴾

. Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke.

Taha 20:97

قَالَ فَٱذۡهَبۡ فَإِنَّ لَكَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ أَن تَقُولَ لَا مِسَاسَۖ وَإِنَّ لَكَ مَوۡعِدٗا لَّن تُخۡلَفَهُۥۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ إِلَٰهِكَ ٱلَّذِي ظَلۡتَ عَلَيۡهِ عَاكِفٗاۖ لَّنُحَرِّقَنَّهُۥ ثُمَّ لَنَنسِفَنَّهُۥ فِي ٱلۡيَمِّ نَسۡفًا ﴿٩٧﴾

. (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa.

Al-Qasas 28:7

وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَرۡضِعِيهِۖ فَإِذَا خِفۡتِ عَلَيۡهِ فَأَلۡقِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ وَلَا تَخَافِي وَلَا تَحۡزَنِيٓۖ إِنَّا رَآدُّوهُ إِلَيۡكِ وَجَاعِلُوهُ مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿٧﴾

. Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka.

Al-Qasas 28:40

فَأَخَذۡنَٰهُ وَجُنُودَهُۥ فَنَبَذۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٤٠﴾

. Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali.

Adh-Dhariyat 51:40

فَأَخَذۡنَٰهُ وَجُنُودَهُۥ فَنَبَذۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّ وَهُوَ مُلِيمٞ ﴿٤٠﴾

Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa.

Al-Isra 17:69

أَمۡ أَمِنتُمۡ أَن يُعِيدَكُمۡ فِيهِ تَارَةً أُخۡرَىٰ فَيُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ قَاصِفٗا مِّنَ ٱلرِّيحِ فَيُغۡرِقَكُم بِمَا كَفَرۡتُمۡ ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ عَلَيۡنَا بِهِۦ تَبِيعٗا ﴿٦٩﴾

. Oba mulina obukakafu nti Katonda tayinza kubazzaayo mu yo (enyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunira kuffe olw'ekintu ekyo muntu alondoola.

An-Nazi'at 79:1

وَٱلنَّـٰزِعَٰتِ غَرۡقٗا ﴿١﴾

Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe.

Al-Anbya 21:82

وَمِنَ ٱلشَّيَٰطِينِ مَن يَغُوصُونَ لَهُۥ وَيَعۡمَلُونَ عَمَلٗا دُونَ ذَٰلِكَۖ وَكُنَّا لَهُمۡ حَٰفِظِينَ ﴿٨٢﴾

. Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga.

Sad 38:37

وَٱلشَّيَٰطِينَ كُلَّ بَنَّآءٖ وَغَوَّاصٖ ﴿٣٧﴾

Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja.

Ar-Rahman 55:22

يَخۡرُجُ مِنۡهُمَا ٱللُّؤۡلُؤُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ﴿٢٢﴾

Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo).

Al-Waqi'ah 56:23

كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ ﴿٢٣﴾

Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri.

Ar-Rahman 55:58

كَأَنَّهُنَّ ٱلۡيَاقُوتُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ﴿٥٨﴾

(Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo).

Emitwe