quranm◉

Emitwe · lg

103 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:165

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَتَّخِذُ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَندَادٗا يُحِبُّونَهُمۡ كَحُبِّ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَشَدُّ حُبّٗا لِّلَّهِۗ وَلَوۡ يَرَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِذۡ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ أَنَّ ٱلۡقُوَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا وَأَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعَذَابِ ﴿١٦٥﴾

Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza.

Ali 'Imran 3:11

كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿١١﴾

Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza.

Al-Anfal 8:60

وَأَعِدُّواْ لَهُم مَّا ٱسۡتَطَعۡتُم مِّن قُوَّةٖ وَمِن رِّبَاطِ ٱلۡخَيۡلِ تُرۡهِبُونَ بِهِۦ عَدُوَّ ٱللَّهِ وَعَدُوَّكُمۡ وَءَاخَرِينَ مِن دُونِهِمۡ لَا تَعۡلَمُونَهُمُ ٱللَّهُ يَعۡلَمُهُمۡۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِن شَيۡءٖ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ يُوَفَّ إِلَيۡكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تُظۡلَمُونَ ﴿٦٠﴾

Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi.

At-Tawbah 9:69

كَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ كَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنكُمۡ قُوَّةٗ وَأَكۡثَرَ أَمۡوَٰلٗا وَأَوۡلَٰدٗا فَٱسۡتَمۡتَعُواْ بِخَلَٰقِهِمۡ فَٱسۡتَمۡتَعۡتُم بِخَلَٰقِكُمۡ كَمَا ٱسۡتَمۡتَعَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُم بِخَلَٰقِهِمۡ وَخُضۡتُمۡ كَٱلَّذِي خَاضُوٓاْۚ أُوْلَـٰٓئِكَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ﴿٦٩﴾

Bafaananako nga abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe, baali ba maanyi nnyo okusinga mmwe, era nga beebasinza e mmaali n’abaana, olwo nno ne beeyagala olw'ebyo bye baafuna nga nammwe bwe mweyagadde olw'ebyo bye mufunye, nga abaabakulembera bwe beeyagala olw'ebyo bye baafuna, era ne mudda mu kukuba olwali nga bali lwe baalimu, abo nno e mirimu gya bwe gyayonooneka ku nsi ne ku nkomerero, era abo be b'okufaafaaganirwa.

Al-Kahf 18:39

وَلَوۡلَآ إِذۡ دَخَلۡتَ جَنَّتَكَ قُلۡتَ مَا شَآءَ ٱللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ إِن تَرَنِ أَنَا۠ أَقَلَّ مِنكَ مَالٗا وَوَلَدٗا ﴿٣٩﴾

. Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.

Al-Kahf 18:95

قَالَ مَا مَكَّنِّي فِيهِ رَبِّي خَيۡرٞ فَأَعِينُونِي بِقُوَّةٍ أَجۡعَلۡ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُمۡ رَدۡمًا ﴿٩٥﴾

. Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu).

Al-Hajj 22:40

ٱلَّذِينَ أُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِم بِغَيۡرِ حَقٍّ إِلَّآ أَن يَقُولُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّهُدِّمَتۡ صَوَٰمِعُ وَبِيَعٞ وَصَلَوَٰتٞ وَمَسَٰجِدُ يُذۡكَرُ فِيهَا ٱسۡمُ ٱللَّهِ كَثِيرٗاۗ وَلَيَنصُرَنَّ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿٤٠﴾

. (Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga okugyako okuba nga bagamba nti: Katonda ye Mukama omulabirizi waffe, singa Katonda tajjawo bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga ba Kurisitayo, n'amasinzizo ga ba Yudaaya n'emizikiti gy'abasiraamu, omwogererwa ennyo ku linnya lya Katonda byandimenyeddwa era Katonda ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Katonda wa maanyi Nantakubwa ku mukono.

Al-Hajj 22:74

مَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿٧٤﴾

. Tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira mazima Katonda wa maanyi nnyo Nantakubwa ku mukono.

An-Naml 27:39

قَالَ عِفۡرِيتٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن تَقُومَ مِن مَّقَامِكَۖ وَإِنِّي عَلَيۡهِ لَقَوِيٌّ أَمِينٞ ﴿٣٩﴾

. Ejinni ery'amaanyi nerigamba nti, nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifokyo, era mazima nze ku ekyo ndi wa maanyi omwesigwa.

Al-Qasas 28:76

۞إِنَّ قَٰرُونَ كَانَ مِن قَوۡمِ مُوسَىٰ فَبَغَىٰ عَلَيۡهِمۡۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡكُنُوزِ مَآ إِنَّ مَفَاتِحَهُۥ لَتَنُوٓأُ بِٱلۡعُصۡبَةِ أُوْلِي ٱلۡقُوَّةِ إِذۡ قَالَ لَهُۥ قَوۡمُهُۥ لَا تَفۡرَحۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَرِحِينَ ﴿٧٦﴾

. Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu.

Al-Qasas 28:78

قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمٍ عِندِيٓۚ أَوَلَمۡ يَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَهۡلَكَ مِن قَبۡلِهِۦ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مَنۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُ قُوَّةٗ وَأَكۡثَرُ جَمۡعٗاۚ وَلَا يُسۡـَٔلُ عَن ذُنُوبِهِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٧٨﴾

. (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).

Ar-Rum 30:9

أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَأَثَارُواْ ٱلۡأَرۡضَ وَعَمَرُوهَآ أَكۡثَرَ مِمَّا عَمَرُوهَا وَجَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ فَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿٩﴾

. Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Katonda teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.

Al-Ahzab 33:25

وَرَدَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِغَيۡظِهِمۡ لَمۡ يَنَالُواْ خَيۡرٗاۚ وَكَفَى ٱللَّهُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلۡقِتَالَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ قَوِيًّا عَزِيزٗا ﴿٢٥﴾

. Era Katonda yazzaayo abo abaakaafuwala n'obusungu bwa bwe, tebalina kalungi kebaafuna, era Katonda yamalira abakkiriza olutalo, era bulijjo Katonda wa maanyi nantakubwa ku mukono.

Fatir 35:44

أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَكَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُعۡجِزَهُۥ مِن شَيۡءٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَلِيمٗا قَدِيرٗا ﴿٤٤﴾

. Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza.

Ghafir 40:21

۞أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ كَانُواْ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُواْ هُمۡ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡ وَمَا كَانَ لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن وَاقٖ ﴿٢١﴾

Abaffe tebatambulako mu nsi ne balala enkomerero yaabo ababasooka nga bwe yali, bo be baali babasinga amaanyi n'ebintu bye baaleka mu nsi Katonda yabakwata olwebyonoono byabwe tewaaliwo abawonya ku Katonda.

Ghafir 40:22

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَانَت تَّأۡتِيهِمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَكَفَرُواْ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ قَوِيّٞ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿٢٢﴾

Ekyo (kyali bwekityo) lwakuba nti mazima bo ababaka baabwe babajjiranga n'obunnyonnyofu nebajeema, olwo nno Katonda nabakwata, mazima ye wamaanyi muyitirivu wa kubonereza.

Ghafir 40:82

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَكۡثَرَ مِنۡهُمۡ وَأَشَدَّ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿٨٢﴾

Abaffe tebatambulako mu nsi nebalala yali etya enkomerero yaabo ababakulembera, (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula tebyabagasa ebyo bye baakola.

Fussilat 41:15

فَأَمَّا عَادٞ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَقَالُواْ مَنۡ أَشَدُّ مِنَّا قُوَّةًۖ أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَهُمۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗۖ وَكَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَجۡحَدُونَ ﴿١٥﴾

Bo abantu ba A-adi anti beekuza mu nsi mu butali butuufu, era nebagamba nti ani atusinga amaanyi? abaffe baali tebakiraba nti mazima Katonda oyo eyabatonda, yye yaabasinga amaanyi. Okukola ekyo baali bawakanya obubonero bwaffe.

Muhammad 47:13

وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ هِيَ أَشَدُّ قُوَّةٗ مِّن قَرۡيَتِكَ ٱلَّتِيٓ أَخۡرَجَتۡكَ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ فَلَا نَاصِرَ لَهُمۡ ﴿١٣﴾

Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira.

Al-Hadid 57:25

لَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلَنَا بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَأَنزَلۡنَا مَعَهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمِيزَانَ لِيَقُومَ ٱلنَّاسُ بِٱلۡقِسۡطِۖ وَأَنزَلۡنَا ٱلۡحَدِيدَ فِيهِ بَأۡسٞ شَدِيدٞ وَمَنَٰفِعُ لِلنَّاسِ وَلِيَعۡلَمَ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥ وَرُسُلَهُۥ بِٱلۡغَيۡبِۚ إِنَّ ٱللَّهَ قَوِيٌّ عَزِيزٞ ﴿٢٥﴾

Ddala twatuma ababaka baffe nga baleeta obunnyonnyofu netubassaako ekitabo (nga kirimu amateeka) era netubalagira okukozesa Minzaani, abantu babe nga bayimirizaawo obwenkanya, era netussa (wo) ekyuma nga kirimu amaanyi amasuffu n’emigaso (nfaafa) eri abantu, olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutaasa era nataasa ababaka be, awamu n’okuba nti (Katonda) talabwa. Mazima Katonda wa maanyi, nantakubwa ku mukono.

Al-Mujadila 58:20

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُحَآدُّونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓ أُوْلَـٰٓئِكَ فِي ٱلۡأَذَلِّينَ ﴿٢٠﴾

Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe ba mu bantu abanyoomebwa.

Al-Mujadila 58:21

كَتَبَ ٱللَّهُ لَأَغۡلِبَنَّ أَنَا۠ وَرُسُلِيٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ قَوِيٌّ عَزِيزٞ ﴿٢١﴾

(Katonda) yakakasa dda nti nze Katonda n'ababaka bange tuli baakuwangula anti Katonda wamaanyi. Nnantakubwa ku mukono.

Al-A'raf 7:195

أَلَهُمۡ أَرۡجُلٞ يَمۡشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَيۡدٖ يَبۡطِشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَعۡيُنٞ يُبۡصِرُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۗ قُلِ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ ثُمَّ كِيدُونِ فَلَا تُنظِرُونِ ﴿١٩٥﴾

Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza.

Al-Qasas 28:19

فَلَمَّآ أَنۡ أَرَادَ أَن يَبۡطِشَ بِٱلَّذِي هُوَ عَدُوّٞ لَّهُمَا قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ أَتُرِيدُ أَن تَقۡتُلَنِي كَمَا قَتَلۡتَ نَفۡسَۢا بِٱلۡأَمۡسِۖ إِن تُرِيدُ إِلَّآ أَن تَكُونَ جَبَّارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا تُرِيدُ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ ﴿١٩﴾

. Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi.

Az-Zukhruf 43:8

فَأَهۡلَكۡنَآ أَشَدَّ مِنۡهُم بَطۡشٗا وَمَضَىٰ مَثَلُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿٨﴾

Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga).

Ad-Dukhan 44:15

إِنَّا كَاشِفُواْ ٱلۡعَذَابِ قَلِيلًاۚ إِنَّكُمۡ عَآئِدُونَ ﴿١٥﴾

Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe).

Ad-Dukhan 44:16

يَوۡمَ نَبۡطِشُ ٱلۡبَطۡشَةَ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ إِنَّا مُنتَقِمُونَ ﴿١٦﴾

(Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza.

Qaf 50:36

وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هُمۡ أَشَدُّ مِنۡهُم بَطۡشٗا فَنَقَّبُواْ فِي ٱلۡبِلَٰدِ هَلۡ مِن مَّحِيصٍ ﴿٣٦﴾

Era emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammad), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero.

Al-Qamar 54:36

وَلَقَدۡ أَنذَرَهُم بَطۡشَتَنَا فَتَمَارَوۡاْ بِٱلنُّذُرِ ﴿٣٦﴾

Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe).

Al-Ma'idah 5:22

قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّ فِيهَا قَوۡمٗا جَبَّارِينَ وَإِنَّا لَن نَّدۡخُلَهَا حَتَّىٰ يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا فَإِن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا فَإِنَّا دَٰخِلُونَ ﴿٢٢﴾

Nebagamba nti owange Musa mazima ensi eyo, erimu abantu bakirimaanyi, era mazima tetuyinza kuyingira mpozzi nga bagifulumye, bwebagifuluma olwo ffe nga tuyingira.

Hud 11:59

وَتِلۡكَ عَادٞۖ جَحَدُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ وَعَصَوۡاْ رُسُلَهُۥ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَمۡرَ كُلِّ جَبَّارٍ عَنِيدٖ ﴿٥٩﴾

Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka.

Ibrahim 14:15

وَٱسۡتَفۡتَحُواْ وَخَابَ كُلُّ جَبَّارٍ عَنِيدٖ ﴿١٥﴾

(Ababaka) nebasaba (Katonda) okubataasa, naawemuka buli mwekuza ow'amawaggali.

Maryam 19:14

وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَيۡهِ وَلَمۡ يَكُن جَبَّارًا عَصِيّٗا ﴿١٤﴾

. Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu.

Maryam 19:32

وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَتِي وَلَمۡ يَجۡعَلۡنِي جَبَّارٗا شَقِيّٗا ﴿٣٢﴾

. Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu.

Ghafir 40:35

ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ سُلۡطَٰنٍ أَتَىٰهُمۡۖ كَبُرَ مَقۡتًا عِندَ ٱللَّهِ وَعِندَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ قَلۡبِ مُتَكَبِّرٖ جَبَّارٖ ﴿٣٥﴾

Abo abawakana ku bikwata ku bigambo bya Katonda awatali bujulizi bubajjidde (ekikolwa ekyo) kibi, kinene nnyo ewa Katonda, newaabo abakkiriza, bwatyo Katonda bwazibikira ku buli mutima gwo mwekuza, kiwagi.

Qaf 50:45

نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَۖ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡهِم بِجَبَّارٖۖ فَذَكِّرۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مَن يَخَافُ وَعِيدِ ﴿٤٥﴾

Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kur’ani, oyo yenna atya ebitiisa byange.

Al-Hashr 59:23

هُوَ ٱللَّهُ ٱلَّذِي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡقُدُّوسُ ٱلسَّلَٰمُ ٱلۡمُؤۡمِنُ ٱلۡمُهَيۡمِنُ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡجَبَّارُ ٱلۡمُتَكَبِّرُۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿٢٣﴾

Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, omufuzi wa buli kintu, atuukiridde mu buli kimu, kiwamirembe, akakasa obukkiriza bwa baddube, kalondoozi wa buli kintu, nantakubwa ku mukono, kkirimaanyi, kabwejungira. Katonda wanjawulo nnyo kwe byo bye bamugattako.

An-Nisa 4:84

فَقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا تُكَلَّفُ إِلَّا نَفۡسَكَۚ وَحَرِّضِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَكُفَّ بَأۡسَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ وَٱللَّهُ أَشَدُّ بَأۡسٗا وَأَشَدُّ تَنكِيلٗا ﴿٨٤﴾

Kale nno lwaana ng’oweereza mu kkubo lya Katonda, towalirizibwa (kutwala muntu yenna ku lutalo) okugyako mwoyo gwo. Bo abakkiriza bakubirize (okulwana) olwo nno Katonda abe nga akomya akabi kaabo ab'akaafuwala, bulijjo Katonda y’asinga amaanyi era y’asinga okubonereza.

Yunus 10:70

مَتَٰعٞ فِي ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ ٱلۡعَذَابَ ٱلشَّدِيدَ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿٧٠﴾

Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga.

Yunus 10:88

وَقَالَ مُوسَىٰ رَبَّنَآ إِنَّكَ ءَاتَيۡتَ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَأَهُۥ زِينَةٗ وَأَمۡوَٰلٗا فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا رَبَّنَا لِيُضِلُّواْ عَن سَبِيلِكَۖ رَبَّنَا ٱطۡمِسۡ عَلَىٰٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ وَٱشۡدُدۡ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ فَلَا يُؤۡمِنُواْ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ ﴿٨٨﴾

Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Firawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo e mmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa).

Hud 11:102

وَكَذَٰلِكَ أَخۡذُ رَبِّكَ إِذَآ أَخَذَ ٱلۡقُرَىٰ وَهِيَ ظَٰلِمَةٌۚ إِنَّ أَخۡذَهُۥٓ أَلِيمٞ شَدِيدٌ ﴿١٠٢﴾

Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu.

Ibrahim 14:7

وَإِذۡ تَأَذَّنَ رَبُّكُمۡ لَئِن شَكَرۡتُمۡ لَأَزِيدَنَّكُمۡۖ وَلَئِن كَفَرۡتُمۡ إِنَّ عَذَابِي لَشَدِيدٞ ﴿٧﴾

Era mujjukire Mukama omulabirizi wa mmwe bwe yalangirira nti singa mwebaza nja kubongerera ddala naye singa mukaafuwala mazima ebibonerezo byange bikakali.

Al-Isra 17:5

فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ أُولَىٰهُمَا بَعَثۡنَا عَلَيۡكُمۡ عِبَادٗا لَّنَآ أُوْلِي بَأۡسٖ شَدِيدٖ فَجَاسُواْ خِلَٰلَ ٱلدِّيَارِۚ وَكَانَ وَعۡدٗا مَّفۡعُولٗا ﴿٥﴾

. Bwerituuka endagaano y'omulundi ogusooka ku gyombi, tugenda kubatumira abaddu baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) neeba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa.

Al-Isra 17:6

ثُمَّ رَدَدۡنَا لَكُمُ ٱلۡكَرَّةَ عَلَيۡهِمۡ وَأَمۡدَدۡنَٰكُم بِأَمۡوَٰلٖ وَبَنِينَ وَجَعَلۡنَٰكُمۡ أَكۡثَرَ نَفِيرًا ﴿٦﴾

. Oluvanyuma twabaddiza mmwe amaanyi ku bo (nemubawangula) era netubawa emmaali, n'abaana era netubafuula mmwe nga mwe musinga obungi.

Al-Isra 17:58

وَإِن مِّن قَرۡيَةٍ إِلَّا نَحۡنُ مُهۡلِكُوهَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَوۡ مُعَذِّبُوهَا عَذَابٗا شَدِيدٗاۚ كَانَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَسۡطُورٗا ﴿٥٨﴾

. Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okugyako okuba nga tugenda kukisanyaawo nga olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo.

Maryam 19:68

فَوَرَبِّكَ لَنَحۡشُرَنَّهُمۡ وَٱلشَّيَٰطِينَ ثُمَّ لَنُحۡضِرَنَّهُمۡ حَوۡلَ جَهَنَّمَ جِثِيّٗا ﴿٦٨﴾

. N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde.

Maryam 19:69

ثُمَّ لَنَنزِعَنَّ مِن كُلِّ شِيعَةٍ أَيُّهُمۡ أَشَدُّ عَلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ عِتِيّٗا ﴿٦٩﴾

. Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi.

Al-Mu'minun 23:77

حَتَّىٰٓ إِذَا فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابٗا ذَا عَذَابٖ شَدِيدٍ إِذَا هُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ ﴿٧٧﴾

. Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa.

Fatir 35:7

ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٌ ﴿٧﴾

. Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

Fatir 35:10

مَن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡعِزَّةَ فَلِلَّهِ ٱلۡعِزَّةُ جَمِيعًاۚ إِلَيۡهِ يَصۡعَدُ ٱلۡكَلِمُ ٱلطَّيِّبُ وَٱلۡعَمَلُ ٱلصَّـٰلِحُ يَرۡفَعُهُۥۚ وَٱلَّذِينَ يَمۡكُرُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۖ وَمَكۡرُ أُوْلَـٰٓئِكَ هُوَ يَبُورُ ﴿١٠﴾

. Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka.

Emitwe