Al-Baqarah 2:62إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلنَّصَٰرَىٰ وَٱلصَّـٰبِـِٔينَ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٦٢﴾
Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abo abaali ku ddiini y'ekiyudaaya, (ku mulembe gwayo), naabo abaali ku ddiini y’ekinaswara (ku mulembe gwayo), ne ba sswabi-ina (Abo abataasinza masanamu nga Nabbi Muhammad tannatumwa), yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era naakola e mirimu e mirungi, abo nno balina e mpeera zaabwe ew'omulezi waabwe era tewaliba kutya ku bo era tebagenda kunakuwala.
Al-Baqarah 2:105مَّا يَوَدُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَلَا ٱلۡمُشۡرِكِينَ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡكُم مِّنۡ خَيۡرٖ مِّن رَّبِّكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿١٠٥﴾
Abo abajeemu mu bagoberezi b'ebitabo ebyasooka, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gye muli okuva eri Omulezi wa mmwe (Katonda). So ng'ate Katonda assa okusaasira kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Katonda ye nannyini byengera ebingi.
Al-Baqarah 2:109وَدَّ كَثِيرٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَوۡ يَرُدُّونَكُم مِّنۢ بَعۡدِ إِيمَٰنِكُمۡ كُفَّارًا حَسَدٗا مِّنۡ عِندِ أَنفُسِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡحَقُّۖ فَٱعۡفُواْ وَٱصۡفَحُواْ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ ٱللَّهُ بِأَمۡرِهِۦٓۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٠٩﴾
Bangi mu bantu abaaweebwa ekitabo baagala babakyuse oluvanyuma lwo bukkiriza bwa mmwe babafuule abatakkiriza olw'ensaalwa eri mu mitima gyabwe oluvanyuma lw'amazima okubeeyoleka. Kale (mmwe abasiraamu) musonyiwe era mulekere (abo abaaweebwa ekitabo) okutuusa Katonda lw'anaaleeta ekiragiro kye, mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
Al-Baqarah 2:113وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ لَيۡسَتِ ٱلنَّصَٰرَىٰ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَقَالَتِ ٱلنَّصَٰرَىٰ لَيۡسَتِ ٱلۡيَهُودُ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَهُمۡ يَتۡلُونَ ٱلۡكِتَٰبَۗ كَذَٰلِكَ قَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ مِثۡلَ قَوۡلِهِمۡۚ فَٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿١١٣﴾
Abayudaaya baagamba nti Abannaswara tebalina kyebaliko, n'abannaswara ne bagamba nti abayudaaya tebalina kyebaliko, so nga ate bonna basoma ekitabo. Bwe kityo n'abatamanyi kusoma nabo bwe bagamba, nga ekigambo kya bali. Katonda wa kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero ku ebyo byebaalinga baawukanamu.
Al-Baqarah 2:120وَلَن تَرۡضَىٰ عَنكَ ٱلۡيَهُودُ وَلَا ٱلنَّصَٰرَىٰ حَتَّىٰ تَتَّبِعَ مِلَّتَهُمۡۗ قُلۡ إِنَّ هُدَى ٱللَّهِ هُوَ ٱلۡهُدَىٰۗ وَلَئِنِ ٱتَّبَعۡتَ أَهۡوَآءَهُم بَعۡدَ ٱلَّذِي جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَكَ مِنَ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٍ ﴿١٢٠﴾
Abayudaaya yadde abakulisitaayo tebagenda kukusiima okugyako nga ogoberedde enzikiriza yaabwe, bagambe nti mazima okulungamya kwa Katonda bwe bulungamu obwannamaddala. Singa onoogoberera bo bye baagala oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, togenda kufuna gweweesigamirako wadde omutaasa.
Ali 'Imran 3:45إِذۡ قَالَتِ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَٰمَرۡيَمُ إِنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكِ بِكَلِمَةٖ مِّنۡهُ ٱسۡمُهُ ٱلۡمَسِيحُ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ وَجِيهٗا فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ﴿٤٥﴾
Era jjukira ekiseera Malayika bweyagamba Mariam nti; mazima Katonda akuwa amawulire agessanyu ag’ekigambo ekiva gyali (ekyokuzaala omwana) ngerinya lye ye Masiihi Isa mutabani wa Mariam aliba ow'ekitiibwa ku nsi ne ku nkomerero era nga w’amwabo abasembezebwa ewa Katonda.
Ali 'Imran 3:64قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ تَعَالَوۡاْ إِلَىٰ كَلِمَةٖ سَوَآءِۭ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكُمۡ أَلَّا نَعۡبُدَ إِلَّا ٱللَّهَ وَلَا نُشۡرِكَ بِهِۦ شَيۡـٔٗا وَلَا يَتَّخِذَ بَعۡضُنَا بَعۡضًا أَرۡبَابٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِۚ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُولُواْ ٱشۡهَدُواْ بِأَنَّا مُسۡلِمُونَ ﴿٦٤﴾
(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Katonda.
Ali 'Imran 3:65يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تُحَآجُّونَ فِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَمَآ أُنزِلَتِ ٱلتَّوۡرَىٰةُ وَٱلۡإِنجِيلُ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِهِۦٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ﴿٦٥﴾
Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat ne njili tebyajja okugyako oluvanyumalwe. Abaffe temutegeera.
Ali 'Imran 3:69وَدَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَوۡ يُضِلُّونَكُمۡ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿٦٩﴾
Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebabuza okugyako myoyo gyabwe naye tebategeera.
Ali 'Imran 3:70يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَأَنتُمۡ تَشۡهَدُونَ ﴿٧٠﴾
Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima!
Ali 'Imran 3:71يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَلۡبِسُونَ ٱلۡحَقَّ بِٱلۡبَٰطِلِ وَتَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٧١﴾
Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu).
Ali 'Imran 3:75۞وَمِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مَنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِقِنطَارٖ يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِدِينَارٖ لَّا يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ إِلَّا مَا دُمۡتَ عَلَيۡهِ قَآئِمٗاۗ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَيۡسَ عَلَيۡنَا فِي ٱلۡأُمِّيِّـۧنَ سَبِيلٞ وَيَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ﴿٧٥﴾
Mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza obuvunaanyizibwa, ate mu bo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza buvunaanyizibwa, okugyako nga omwewubyeko, ekyo nno lwakuba bo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu.
Ali 'Imran 3:98قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱللَّهُ شَهِيدٌ عَلَىٰ مَا تَعۡمَلُونَ ﴿٩٨﴾
Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba.
Ali 'Imran 3:99قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ مَنۡ ءَامَنَ تَبۡغُونَهَا عِوَجٗا وَأَنتُمۡ شُهَدَآءُۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿٩٩﴾
Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola.
Ali 'Imran 3:110كُنتُمۡ خَيۡرَ أُمَّةٍ أُخۡرِجَتۡ لِلنَّاسِ تَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَتَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِۗ وَلَوۡ ءَامَنَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۚ مِّنۡهُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَأَكۡثَرُهُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿١١٠﴾
Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. singa ab'aweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bo bakkiriza nga n’abasinga obungi bagyemu.
Ali 'Imran 3:113۞لَيۡسُواْ سَوَآءٗۗ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ أُمَّةٞ قَآئِمَةٞ يَتۡلُونَ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ وَهُمۡ يَسۡجُدُونَ ﴿١١٣﴾
Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama.
Ali 'Imran 3:199وَإِنَّ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَمَن يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِمۡ خَٰشِعِينَ لِلَّهِ لَا يَشۡتَرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ ثَمَنٗا قَلِيلًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿١٩٩﴾
Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala.
An-Nisa 4:123لَّيۡسَ بِأَمَانِيِّكُمۡ وَلَآ أَمَانِيِّ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِۗ مَن يَعۡمَلۡ سُوٓءٗا يُجۡزَ بِهِۦ وَلَا يَجِدۡ لَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا ﴿١٢٣﴾
(Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa.
An-Nisa 4:153يَسۡـَٔلُكَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَن تُنَزِّلَ عَلَيۡهِمۡ كِتَٰبٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ فَقَدۡ سَأَلُواْ مُوسَىٰٓ أَكۡبَرَ مِن ذَٰلِكَ فَقَالُوٓاْ أَرِنَا ٱللَّهَ جَهۡرَةٗ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّـٰعِقَةُ بِظُلۡمِهِمۡۚ ثُمَّ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ فَعَفَوۡنَا عَن ذَٰلِكَۚ وَءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا ﴿١٥٣﴾
Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa).
An-Nisa 4:157وَقَوۡلِهِمۡ إِنَّا قَتَلۡنَا ٱلۡمَسِيحَ عِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ رَسُولَ ٱللَّهِ وَمَا قَتَلُوهُ وَمَا صَلَبُوهُ وَلَٰكِن شُبِّهَ لَهُمۡۚ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ لَفِي شَكّٖ مِّنۡهُۚ مَا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٍ إِلَّا ٱتِّبَاعَ ٱلظَّنِّۚ وَمَا قَتَلُوهُ يَقِينَۢا ﴿١٥٧﴾
Era nekulwekigambo kyabwe bwebagamba nti, mazima ffe tumaze okutta Masiya Issa Mutabani wa Mariam omubaka wa Katonda so nga tebaamutta, wadde okumukomerera ku musaalaba, wabula kyabalabikiranga abasse yye, naye mazima ddala abaayawukana mu nsonga eno bali mu kubuusabuusa ku bigikwatako, tebalina bukakafu ku yo wabula okugoberera okuteebereza, naye nga ddala tebaamutta.
An-Nisa 4:159وَإِن مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ إِلَّا لَيُؤۡمِنَنَّ بِهِۦ قَبۡلَ مَوۡتِهِۦۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ شَهِيدٗا ﴿١٥٩﴾
Mazima tewali n’omu mwabo ab'aweebwa e kitabo okugyako nga agenda ku mukkiriza nga tannafa, nga ne ku lunaku lw’enkomerero agenda kubawaako obujulizi.
An-Nisa 4:171يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَا تَغۡلُواْ فِي دِينِكُمۡ وَلَا تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡحَقَّۚ إِنَّمَا ٱلۡمَسِيحُ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ رَسُولُ ٱللَّهِ وَكَلِمَتُهُۥٓ أَلۡقَىٰهَآ إِلَىٰ مَرۡيَمَ وَرُوحٞ مِّنۡهُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۖ وَلَا تَقُولُواْ ثَلَٰثَةٌۚ ٱنتَهُواْ خَيۡرٗا لَّكُمۡۚ إِنَّمَا ٱللَّهُ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ سُبۡحَٰنَهُۥٓ أَن يَكُونَ لَهُۥ وَلَدٞۘ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا ﴿١٧١﴾
Abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekyetaagisa, nga mutuukiriza eddiini yammwe, era temwogeranga ku Katonda okugyako amazima, mazima ddala Masiya Isa mutabani wa Mariam mubaka wa Katonda, era kigambokye, kyeyawa Mariam, era mwoyo ogwava gyali. Kale temugamba nti basatu, ekyo mukikomye, kyekirungi gyemuli, mazima ddala Katonda ali Katonda omu, yayawukana (tasaana) kuba namwana, bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi , bulijjo kimala okuba nti Katonda y’ayimiriddeko ensonga ya buli kintu.
An-Nisa 4:172لَّن يَسۡتَنكِفَ ٱلۡمَسِيحُ أَن يَكُونَ عَبۡدٗا لِّلَّهِ وَلَا ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ٱلۡمُقَرَّبُونَۚ وَمَن يَسۡتَنكِفۡ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَيَسۡتَكۡبِرۡ فَسَيَحۡشُرُهُمۡ إِلَيۡهِ جَمِيعٗا ﴿١٧٢﴾
Masiya tayinza butayagala kuba muddu wa Katonda, wadde ba Malayika abali kumwanjo nabo tebayinza butakyagala, oyo yenna atayagala kuyitibwa muddu wa Katonda neyeekuluntaza, (Katonda) ajja kubazuukiza bonna abazze gyali ku lunaku lw’enkomerero.
Al-Ma'idah 5:17لَّقَدۡ كَفَرَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ مَرۡيَمَۚ قُلۡ فَمَن يَمۡلِكُ مِنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔا إِنۡ أَرَادَ أَن يُهۡلِكَ ٱلۡمَسِيحَ ٱبۡنَ مَرۡيَمَ وَأُمَّهُۥ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗاۗ وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۚ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٧﴾
Mazima baakaafuwala abaagamba nti ddala Masiya mutabani wa Mariam ye Katonda, gamba (Ggwe Muhammad) ani ayinza okukolawo ekintu kyonna singa Katonda aba asazeewo okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariam ne maamawe, n’abantu bonna abali ku nsi, obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi, bwa Katonda, atonda kyaba ayagadde, era Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu.
Al-Ma'idah 5:18وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ وَٱلنَّصَٰرَىٰ نَحۡنُ أَبۡنَـٰٓؤُاْ ٱللَّهِ وَأَحِبَّـٰٓؤُهُۥۚ قُلۡ فَلِمَ يُعَذِّبُكُم بِذُنُوبِكُمۖ بَلۡ أَنتُم بَشَرٞ مِّمَّنۡ خَلَقَۚ يَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۚ وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۖ وَإِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿١٨﴾
Era Abayudaaya n'aba Krisitayo bagamba nti ffe tuli baana ba Katonda era mikwanogye, bagambe ate lwaki alibabonereza olwebyonoono byammwe, ekituufu kiri nti mmwe muli bantu nga abalala beyatonda, asonyiwa gwaba ayagadde, era naabonereza gwaba ayagadde, era obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi bya Katonda, ate nga gyali yeeri obuddo.
Al-Ma'idah 5:19يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ قَدۡ جَآءَكُمۡ رَسُولُنَا يُبَيِّنُ لَكُمۡ عَلَىٰ فَتۡرَةٖ مِّنَ ٱلرُّسُلِ أَن تَقُولُواْ مَا جَآءَنَا مِنۢ بَشِيرٖ وَلَا نَذِيرٖۖ فَقَدۡ جَآءَكُم بَشِيرٞ وَنَذِيرٞۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٩﴾
Abange mmwe abaweebwa ekitabo, mazima abagyidde omubaka waffe nga abayigiriza oluvanyuma lwokuyitawo akaseera nga tewali mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’ejjana oba okututiisa omuliro, ekituufu kiri nti abawa amawulire agessanyu, era nga abatiisa n’omuliro yabajjira. Bulijjo Katonda muyinza waabuli kintu.
Al-Ma'idah 5:51۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ ٱلۡيَهُودَ وَٱلنَّصَٰرَىٰٓ أَوۡلِيَآءَۘ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۚ وَمَن يَتَوَلَّهُم مِّنكُمۡ فَإِنَّهُۥ مِنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٥١﴾
Abange mmwe abakkiriza temuufulanga abayudaaya n'abakrisitayo mikwano gyammwe ab'omunda, anti abamu ffa nfe w’abalala, yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse wa mu bo, anti mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
Al-Ma'idah 5:59قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ هَلۡ تَنقِمُونَ مِنَّآ إِلَّآ أَنۡ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡنَا وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلُ وَأَنَّ أَكۡثَرَكُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿٥٩﴾
Gamba nti: abange mmwe abaaweebwa e kitabo, abaffe waliwo kyemutunyiigira okugyako okuba nti tukkiriza Katonda n'ebyo e byassibwa gyetuli, n'ebyo e byassibwa oluberyeberye era nga na lwakuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi.
Al-Ma'idah 5:65وَلَوۡ أَنَّ أَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ ءَامَنُواْ وَٱتَّقَوۡاْ لَكَفَّرۡنَا عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَأَدۡخَلۡنَٰهُمۡ جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ ﴿٦٥﴾
So singa ddala abaaweebwa e kitabo bakkiriza nebatya Katonda twandibasonyiye e byonoono byabwe, era twandibayingizza e jjana ey’ebyengera.
Al-Ma'idah 5:68قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَسۡتُمۡ عَلَىٰ شَيۡءٍ حَتَّىٰ تُقِيمُواْ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُم مِّن رَّبِّكُمۡۗ وَلَيَزِيدَنَّ كَثِيرٗا مِّنۡهُم مَّآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗاۖ فَلَا تَأۡسَ عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٦٨﴾
Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti temulina kyemuliko okugyako nga muyimirizzaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gyemuli okuva ewa mukama omulabirizi wa mmwe. ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabirizi wo bijja kwongera bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, tonakuwala olwa bantu abakaafiiri.
Al-Ma'idah 5:69إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلصَّـٰبِـُٔونَ وَٱلنَّصَٰرَىٰ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٦٩﴾
Mazima abo abakkiriza, na Bayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Katonda omu so nga ate tebaalina ddini ya mu ggulu yonna gyebaaliko) n'abakrisitayo, oyo yenna eyakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero naakola e mirimu e mirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala.
Al-Ma'idah 5:72لَقَدۡ كَفَرَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ مَرۡيَمَۖ وَقَالَ ٱلۡمَسِيحُ يَٰبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمۡۖ إِنَّهُۥ مَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ حَرَّمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ ٱلۡجَنَّةَ وَمَأۡوَىٰهُ ٱلنَّارُۖ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٖ ﴿٧٢﴾
Mazima baakaafuwala abo abagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa mariam, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Israil musinze Katonda Mukama wange era nga ye Mukama wa mmwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. Era abeeyisa obubi tebagenda kuba namutaasa yenna.
Al-Ma'idah 5:73لَّقَدۡ كَفَرَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ ثَالِثُ ثَلَٰثَةٖۘ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّآ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۚ وَإِن لَّمۡ يَنتَهُواْ عَمَّا يَقُولُونَ لَيَمَسَّنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﴿٧٣﴾
Mazima baakaafuwala abo abagamba nti mazima ddala Katonda yoomu ku basatu (abakola Katonda omu) ekituufu kiri nti tewali Katonda yenna okugyako Katonda omu era bwe bateekomeko ku bye boogera, abo abaakafuwala mu bo bajja kutuukwako e bibonerezo e biruma.
Al-Ma'idah 5:74أَفَلَا يَتُوبُونَ إِلَى ٱللَّهِ وَيَسۡتَغۡفِرُونَهُۥۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٧٤﴾
Abaffe, tebayinza kwenenyeza Katonda nebamusaba ekisonyiwo. Ate nga bulijjo Katonda musonyiyi waakisa.
Al-Ma'idah 5:75مَّا ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ مَرۡيَمَ إِلَّا رَسُولٞ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهِ ٱلرُّسُلُ وَأُمُّهُۥ صِدِّيقَةٞۖ كَانَا يَأۡكُلَانِ ٱلطَّعَامَۗ ٱنظُرۡ كَيۡفَ نُبَيِّنُ لَهُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ ثُمَّ ٱنظُرۡ أَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ﴿٧٥﴾
Masiya mutabani wa Mariam tali kintu kirala kyonna okugyako okuba nti Mubaka wa Katonda era nga ddala ababaka bangi abaamukulembera, ne Maama we yali Mukazi omukkiriza ow'amazima bombi baalyanga emmere, tunula olabe engeri gyetubannyonnyolamu ebigambo ate tunula olabe engeri gyebawugulwa.
Al-Ma'idah 5:76قُلۡ أَتَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَمۡلِكُ لَكُمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗاۚ وَٱللَّهُ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٧٦﴾
Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe musinza ebintu ebitali Katonda, ebitayinza kubatuusaako kabi konna wadde ekirungi, era Katonda yye bulijjo awulira era amanyi nnyo.
Al-Ma'idah 5:77قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَا تَغۡلُواْ فِي دِينِكُمۡ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَلَا تَتَّبِعُوٓاْ أَهۡوَآءَ قَوۡمٖ قَدۡ ضَلُّواْ مِن قَبۡلُ وَأَضَلُّواْ كَثِيرٗا وَضَلُّواْ عَن سَوَآءِ ٱلسَّبِيلِ ﴿٧٧﴾
Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola eddiini yammwe ebyobutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, mazima bo basooka nebabula era nebabuza n’abantu bangi, era nebabulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu.
Al-Ma'idah 5:82۞لَتَجِدَنَّ أَشَدَّ ٱلنَّاسِ عَدَٰوَةٗ لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱلۡيَهُودَ وَٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْۖ وَلَتَجِدَنَّ أَقۡرَبَهُم مَّوَدَّةٗ لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّا نَصَٰرَىٰۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّ مِنۡهُمۡ قِسِّيسِينَ وَرُهۡبَانٗا وَأَنَّهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٨٢﴾
Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be bayudaaya naabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli ba Kristayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu bye ddiini, na Basosorodoti era nalwakuba nti bo tebeekuluntaza.
Al-Ma'idah 5:83وَإِذَا سَمِعُواْ مَآ أُنزِلَ إِلَى ٱلرَّسُولِ تَرَىٰٓ أَعۡيُنَهُمۡ تَفِيضُ مِنَ ٱلدَّمۡعِ مِمَّا عَرَفُواْ مِنَ ٱلۡحَقِّۖ يَقُولُونَ رَبَّنَآ ءَامَنَّا فَٱكۡتُبۡنَا مَعَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿٨٣﴾
Bwebaba bawulidde e byassibwa ku Mubaka, olaba amaaso gaabwe nga gakulukusa amaziga olwamazima gebaba bategedde nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe tukkirizza tuwandiike mu bajulizi.
Al-Ma'idah 5:84وَمَا لَنَا لَا نُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَمَا جَآءَنَا مِنَ ٱلۡحَقِّ وَنَطۡمَعُ أَن يُدۡخِلَنَا رَبُّنَا مَعَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٨٤﴾
Tuyinza tutya obutakkiriza Katonda ku mazima gano agamaze okutujjira! ate nga era tuyaayaanira okuba nga Mukama omukuumi waffe atuyingiza e jjana awamu n'abantu abalongoofu.
Al-Ma'idah 5:85فَأَثَٰبَهُمُ ٱللَّهُ بِمَا قَالُواْ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ جَزَآءُ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٨٥﴾
Olwo nno Katonda naabasasula ku lw'ebyo bye bayogera (n'abayingiza) e jjana e zikulukutiramu e migga, mwebalibeera olubeerera era eyo y'empeera y’abakozi b’obulungi.
Al-Ma'idah 5:86وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَحِيمِ ﴿٨٦﴾
N'abo abaakaafuwala nebalimbisa e bigambo byaffe, abo be bantu bo muliro.
At-Tawbah 9:30وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ عُزَيۡرٌ ٱبۡنُ ٱللَّهِ وَقَالَتِ ٱلنَّصَٰرَى ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ ٱللَّهِۖ ذَٰلِكَ قَوۡلُهُم بِأَفۡوَٰهِهِمۡۖ يُضَٰهِـُٔونَ قَوۡلَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَبۡلُۚ قَٰتَلَهُمُ ٱللَّهُۖ أَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ﴿٣٠﴾
Abayudaaya baagamba nti Uzairu mwana wa Katonda, ate Abanaswara ne bagamba nti Masiya mwana w’a Katonda, ekyo kigambo kyabwe kye boogera n’emimwa gyabwe, nebifaanana e kigambo ky'abo abaakaafuwala oluberyeberye. Katonda yabakolimira, bawugulwa batya (okuva ku mazima)!.
At-Tawbah 9:31ٱتَّخَذُوٓاْ أَحۡبَارَهُمۡ وَرُهۡبَٰنَهُمۡ أَرۡبَابٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِ وَٱلۡمَسِيحَ ٱبۡنَ مَرۡيَمَ وَمَآ أُمِرُوٓاْ إِلَّا لِيَعۡبُدُوٓاْ إِلَٰهٗا وَٰحِدٗاۖ لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ سُبۡحَٰنَهُۥ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿٣١﴾
Bafuula ba kabona baabwe n’a basosodooti okuba abasinzibwa, nebaleka Katonda. Mu ngeri y’emu ne Masiya mutabani wa Mariam baamufuula bwe batyo, so ng’ate tebaalagirwanga okugyako okusinza Katonda omu. Tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye, musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamugattako.
Al-Hajj 22:17إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلصَّـٰبِـِٔينَ وَٱلنَّصَٰرَىٰ وَٱلۡمَجُوسَ وَٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡصِلُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ ﴿١٧﴾
. Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abakkiriza eddiini ye Kiyudaaya (ku mulembe gwayo) n'abatasinza masanamu (nga Nabbi Muhammad tannatumwa) n'abakkiriza mu ddiini ye Kikurisitaayo (ku mulembe gwayo) n'abo abasinza omuliro, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala mazima Katonda agenda kusalawo wakati waabwe (ku ebyo bye baali basinza) ku lunaku lw'enkomerero. Anti mazima Katonda ku buli kintu mujulizi.
Al-Hadid 57:29لِّئَلَّا يَعۡلَمَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَلَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَأَنَّ ٱلۡفَضۡلَ بِيَدِ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿٢٩﴾
(Ebyo byonna lwakuba nti) abaweebwa ekitabo babe nga bamanya nti tebalina kintu kyonna ku bigabwa bya Katonda kye balinako buyinza, era bamanye nti ebigabwa byonna biri mu mukono gwa Katonda, abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda ye nanyini bigabwa ebisuffu.
Al-Hashr 59:2هُوَ ٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن دِيَٰرِهِمۡ لِأَوَّلِ ٱلۡحَشۡرِۚ مَا ظَنَنتُمۡ أَن يَخۡرُجُواْۖ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُم مَّانِعَتُهُمۡ حُصُونُهُم مِّنَ ٱللَّهِ فَأَتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِنۡ حَيۡثُ لَمۡ يَحۡتَسِبُواْۖ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَۚ يُخۡرِبُونَ بُيُوتَهُم بِأَيۡدِيهِمۡ وَأَيۡدِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ فَٱعۡتَبِرُواْ يَـٰٓأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿٢﴾
Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga.
Al-Hashr 59:11۞أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ نَافَقُواْ يَقُولُونَ لِإِخۡوَٰنِهِمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَئِنۡ أُخۡرِجۡتُمۡ لَنَخۡرُجَنَّ مَعَكُمۡ وَلَا نُطِيعُ فِيكُمۡ أَحَدًا أَبَدٗا وَإِن قُوتِلۡتُمۡ لَنَنصُرَنَّكُمۡ وَٱللَّهُ يَشۡهَدُ إِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ﴿١١﴾
Abaffe tolaba (ggwe Nabbi Muhammad) abananfunsi abagamba bannabwe abaakafuwala mu bayudaaya nti singa munaaba mugobeddwa naffe tujja kugenda nammwe. Era tetulikkiriza kigambo kyamuntu yenna ku bikwata ku mmwe. Era bwemulirwanyisibwa tugenda kubataasa. Ne Katonda akakasa nti mazima ddala baali balimba.
As-Saf 61:14يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُونُوٓاْ أَنصَارَ ٱللَّهِ كَمَا قَالَ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ لِلۡحَوَارِيِّـۧنَ مَنۡ أَنصَارِيٓ إِلَى ٱللَّهِۖ قَالَ ٱلۡحَوَارِيُّونَ نَحۡنُ أَنصَارُ ٱللَّهِۖ فَـَٔامَنَت طَّآئِفَةٞ مِّنۢ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَكَفَرَت طَّآئِفَةٞۖ فَأَيَّدۡنَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ عَلَىٰ عَدُوِّهِمۡ فَأَصۡبَحُواْ ظَٰهِرِينَ ﴿١٤﴾
Abange mmwe abakkiriza musituke mutaase e ddiini y'a Katonda. Kibe nga Issa mutabani wa Mariam bwe yagamba abagoberezibe abenjawulo nti, baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda. Abagoberezibe abenjawulo kwe kuddamu nti ffe twewaddeyo okutaasa e ddiini ya Katonda. Ekyavaako ogutundu ku baana ba Israel okukkiriza, n'ekitundu ekirala okukaafuwala. Naffe ne tutaasa abo abakkiriza ku mulabe waabwe, ne bukya enkya nga be bali waggulu.